Ensonga Ekukwatako Ggwe
Essuula 5
Ensonga Ekukwatako Ggwe
1. Lwaki abantu bakisanze nga kizibu okutegeera lwaki Katonda akkirizza obubi okuba mu bantu?
WADDE ng’ekyegombebwa bulijjo gye mirembe n’obutebenkevu, ebyafaayo by’omuntu byonooneddwa n’okuyiwa omusaayi era n’okulumyagana. Okuva Baibuli bw’eraga nti Katonda akyawa ebintu ng’ebyo, lwaki takomyanga mbeera zino okutuusa kaakano? Ddala tekisobola kuba nti tayagala bwagazi. Baibuli, era n’obulungi bw’emirimu gya Katonda egy’oku nsi egy’obutonzi, biwa obujulirwa obw’amaanyi obukakasa okwagala kwe n’okufaayo ku bantu. (1 Yokaana 4:8) Ekisingawo obukulu, ekitiibwa ky’erinnya lya Katonda lyennyini kikwatibwako, olw’okuba embeera zino zireetedde abantu okumuvuma. Olwo, wandibaddewo nsonga ki, ye okugumiikiriza emyaka enkumi n’enkumi egy’obutabanguko n’ettemu?
2. (a) Wa mu Baibuli we tusanga ensonga lwaki Katonda akkirizza embeera embi okumala ebbanga ddene bwe lityo? (b) Kiki ekikakasa ng’ebyawandiikibwa mu Baibuli ebikwata ku Adamu ne Kaawa byafaayo byennyini?
2 Eky’okuddamu kisangibwa mu byawandiikibwa ebisooka mu Baibuli ebikwata ku Adamu ne Kaawa. Bino si lugero bugero. Byafaayo byennyini. Baibuli erimu obuwandiike obujjuvu era obukakafu obw’olunyiriri lw’obuzaale bw’abantu okuviira ddala mu kyasa ekyasooka eky’Embala yaffe okuddirayo ddala ku bantu abaasooka. (Lukka 3:23-38; Olubereberye 5:1-32; 11:10-32) Nga bwe baali bajjajjaffe ababereberye, Adamu ne Kaawa baalina kye baatuleetako. Era Baibuli ky’etubuulira ku bo kituyamba okutegeera embeera ezikwata ku bulamu bwaffe leero.
3. Bintu bya ngeri ki Katonda bye yawa abantu mu ntandikwa?
Olubereberye 1:28, 29; 2:8, 9, 15) Ani eyandibadde n’ensonga okusaba ebisinga awo?
3 Baibuli eraga nti ebyo byonna Katonda bye yawa abantu ababiri abaasooka byali birungi nnyo. Baali balina buli kintu okuba n’obulamu obw’essanyu—amaka agali mu lusuku Adeni, eby’okulya eby’enjawulo bingi, omulimu ogumatiza, essuubi ly’okulaba amaka gaabwe nga gakula okujjuza ensi, era n’emikisa gy’Omutonzi waabwe. (4. (a) Mu kutondebwa kwabwe, abantu baali ba njawulo okuva ku bitonde ebirala eby’ensi mu ngeri ki? (b) Okuluŋŋamizibwa okwetaagibwa kwabaweebwa mu ngeri ki?
4 Ebiwandiiko ebyaluŋŋamizibwa eby’omu Lubereberye biraga nti abantu baali bali mu kifo eky’enkizo mu nsi. Obutafaanana ng’ebisolo, baalina obusobozi bw’okumanyanga ekisaanidde era ne baweebwa ebbeetu ery’okwesalirawo. Kyebaava baweebwa obusobozi bw’okukubaganya ebirowoozo era n’okusalawo. Okubaluŋŋamya, Katonda yateeka mu musajja ne mu mukazi ekiyitibwa omuntu ow’omunda kale, ng’abantu abatuukiridde, endowooza yaabwe bulijjo ebeere nga yeekubidde ku kukola bulungi. (Abaruumi 2:15) Nga bino byonna obitadde ku bbali, Katonda yabategeeza ensonga lwaki baali balamu, bye baali ab’okukola, era n’eyali abawadde ebintu ebyo byonna eby’ekitalo ebyali bibeetoolodde. (Olubereberye 1:28-30) Olwo, tuyinza kunnyonnyola tutya ensonga lwaki embeera embi nga zino we ziri kaakano?
5. (a) Kiragiro ki ekyangu Katonda kye yassaawo eri abantu ababiri abaasooka, era lwa nsonga ki? (b) Lwaki essuubi lyabwe ery’okubeerawo nga balamu mu biseera eby’omu maaso lyali likwatibwako?
5 Ebyawandiikibwa biraga nti wajjawo ensonga enkulu—ensonga ekwata ku buli omu ku ffe leero. Yajjawo okusinziira mu ebyo ebyaliwo ebbanga si ddene oluvannyuma lw’okutondebwa kw’abantu ababiri abaasooka. Katonda yawa omusajja n’omukazi omukisa okwoleka okusiima Olubereberye 2:16, 17) Ekiragiro kino kyali tekifiiriza bantu ababiri abaasooka kintu kyonna ekyetaagibwa okubeera abalamu. Bandisobodde okulya okuva ku miti emirala gyonna egy’omu lusuku. Kyokka essuubi lyabwe ery’okubeerawo nga balamu mu biseera eby’omu maaso lyali likwatibwako, era lwa nsonga. Lwaki? Kubanga Oyo eyali yeetaaga obuwulize ye yali Ensibuko era Abeesaawo obulamu bw’omuntu.
okw’okwagala eri Omutonzi waabwe nga balaga obuwulize eri ekiragiro. Ekiragiro tekyali kintu ekyanditegeezezza nti baalina endowooza ez’obugwenyufu ezaalina okuziyizibwa. Wabula, kyali kitwaliramu ekintu mu bwakyo ekyali ekya bulijjo era ekisaana—okulya emmere. Nga Katonda bwe yagamba omuntu nti: “Buli muti ogw’omu lusuku olyangako nga bw’onooyagalanga: naye omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi togulyangako: kubanga olunaku lw’oligulyako tolirema kufa.” (6. (a) Abazadde baffe abaasooka bandisobodde okuba abalamu emirembe gyonna singa baali bakkirizaganyizza na mazima ki amasinziivu agakwata ku bufuzi? (b) Lwaki bandibadde beewulira nga baagala okugondera Katonda?
6 Ekigendererwa kya Katonda tekyali bantu kufa. Okufa tekwayogerwako eri Adamu ne Kaawa wabula ng’ekibonerezo ky’obujeemu. Abazadde baffe abaasooka baalina mu maaso gaabwe omukisa ogw’okuba abalamu emirembe gyonna mu maka gaabwe ag’emirembe ag’omu lusuku. Okufuna ekyo, kiki ekyali kibeetaagisibwa? Baalina okutegeera nti ensi kwe baali bali ya Oyo eyagikola, era nti, ng’Omutonzi, Katonda mu butuufu alina obuyinza ku bitonde bye. (Zabbuli 24:1, 10) Ddala Ono, eyali awadde omuntu buli kye yeetaaga, nga mw’otwalidde n’obulamu bwennyini, yali asaana obuwulize mu buli kintu ky’aba abasabye. Kyokka nno, yali tayagala buwulize kukakibwa. Wabula, buteekwa okuva mu mitima egyagala, nga bukubirizibwa kwagala. (1 Yokaana 5:3) Naye abazadde baffe abaasooka baalemwa okulaga okwagala okw’engeri eyo. Kino kyajja kitya?
Ensibuko y’Okuziyiza Obufuzi bwa Katonda
7. (a) Okusinziira ku Baibuli, okuziyiza obufuzi bwa Katonda kwatandikira wa? (b) Lwaki kya nsonga okukkiririza mu ttwale ery’emyoyo?
7 Baibuli eraga nti okuziyiza obufuzi bwa Katonda tekwasookera ku nsi, naye mu ttwale eritalabika eri amaaso g’abantu. Ng’abangi bwe bakola, ffe naffe twandibuusizzabuusizza oba ettwale ng’eryo we liri olw’okuba tetusobola kuliraba? Amaanyi ag’omu bbanga tetuyinza kugalaba, wadde empewo. Naye obukakafu bw’emirimu gyabyo we buli ddala. Bwe kityo nno, n’emirimu gy’ettwale ery’emyoyo giyinza okulabibwa. Newakubadde ‘Katonda mwoyo,’ emirimu gye egy’obutonzi giyinza okulabibwa wonna okutwetooloola. Singa tumukkiririzaamu, tuteekeddwa okukkiririza mu ttwale ery’emyoyo. (Yokaana 4:24; Abaruumi 1:20) Naye waliyo omulala yenna abeera mu ttwale eryo?
8. Bamalayika bantu ba ngeri ki?
8 Okusinziira ku Baibuli, obukadde n’obukadde bw’abantu ab’omwoyo, bamalayika, baatondebwa ng’omuntu tannabaawo. (Yobu 38:4, 7; Zabbuli 103:20; Danyeri 7:10) Bano bonna baatondebwa nga batuukiridde, nga tebalina ndowooza zeekubidde ku bubi. Kyokka, okufaanana ng’ekitonde kya Katonda eky’oluvannyuma, omuntu, baaweebwa ebbeetu ery’okwesalirawo. N’olwekyo bandisobodde okulondawo ekkubo ery’okubeera abeesigwa oba ery’obutabeera beesigwa eri Katonda.
9, 10. (a) Kisoboka kitya ekitonde eky’omwoyo ekituukiridde okufuna endowooza ey’okukola ekikyamu? (b) Bwe kityo, omu ku bamalayika yafuuka atya Setaani?
9 Naye ekibuuzo ekibuuzibwa abangi kiri nti: Nga bwe byali ebitonde ebituukiridde, ekimu ku byo kyandisobodde kitya okufuna endowooza ey’okukola ekikyamu? Kale nno, emirundi emeka mu bulamu bwaffe ffennyini lwe twolekana n’embeera nga tulina eby’okulondako eby’enjawulo bingi—ebimu nga birungi, ebimu nga bibi? Okuba n’amagezi Yakobo 1:14, 15.
okutegeera ebintu ebisobola okuba ebibi ku bwakwo tekutufuula babi? Ekyebuuzibwa kyennyini kiba nti: Ku kkubo ki kwe tunassa ebirowoozo byaffe n’omutima? Singa tussa omwoyo ku birowoozo ebikyamu, tuyinza okutandika okukuza okwegomba okubi mu mitima gyaffe. Okwegomba ng’okwo mu nkomerero kuyinza okutuleetera okukola ebikolwa ebikyamu. Engeri eno ey’ekintu ekimu okuzaala kinnaakyo yannyonnyolebwa omuwandiisi wa Baibuli Yakobo: “Buli muntu akemebwa, ng’awalulwa okwegomba kwe ye n’asendebwasendebwa. Okwegomba okwo ne kulyoka kuba olubuto ne kuzaala okwonoona: n’okwonoona okwo, bwe kumala okukula ne kuzaala okufa.”—10 Ebyawandiikibwa biraga nti kino kye kyaliwo ku omu ku baana ab’omwoyo aba Katonda. Yasendebwasendebwa okwegomba kwe ye. Alina kye yalaba nga kisoboka okufunibwa mu kitonde kya Katonda eky’omuntu. Bandiyinzizza okumugondera mu kifo ky’okugondera Katonda? Ddala yatandika okwegomba waakiri afuneko ekitundu ku kusinza okuweebwa Katonda. (Lukka 4:5-8) Ng’akolera ku kwegomba kwe, yafuuka omuziyiza wa Katonda. Olw’ensonga eyo ayogerwako mu Baibuli nga Setaani, ekitegeeza Omuziyiza.—Yobu 1:6.
11. Musingi ki omunywevu oguliwo okukkiriza nti Setaani ddala gy’ali?
11 Mu kyasa kino eky’amakumi abiri ekyagazi ky’ebintu, okukkiririza mu muntu ow’omwoyo nga Setaani si kiganzi. Naye endowooza eŋŋanzi zaali zibaddeko ekiruŋŋamya ekikakafu ku bikwata ku mazima? Mu abo abayiga eby’endwadde, waaliwo lwe kitaali kiganzi okukkiriza nti obuwuka obutalabika bwali buyinza okusibukako endwadde. Naye kaakano amaanyi gaabwo gamanyiddwa bulungi. Bwe kityo nno, ekintu obutabeera kiganzi tekitegeeza nti kiyinza okubuusibwa amaaso. Yesu Kristo yennyini yali avudde mu ttwale ery’emyoyo era bwe kityo yandisobodde okwogera Yokaana 8:23; Lukka 13:16; 22:31) Okuggyako nga tukakasizza okubeerawo kw’omulabe ono ow’omwoyo lwe kisoboka okutegeera engeri embeera embi bwe zityo gye zaatandikamu ku nsi eno.
n’obukakafu ku bulamu obuliyo. Yategeeza nga Setaani bw’ali ddala omuntu omubi ow’omwoyo. (12. Setaani yayogera atya n’omukazi Kaawa, era lwaki mu ngeri eyo?
12 Ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa, mu Lubereberye essuula 3, binnyonnyola engeri Setaani gye yatandika okukkusa okwegomba kwe okukyamu. Mu lusuku Adeni yatuukirira omukazi Kaawa mu ngeri eyali ey’okwekwekakweka. Yakozesa ekisolo abantu ababiri abo kye bateranga okulaba bulijjo—omusota. Mu butuufu ng’akozesa kye twandiyise akakodyo ak’okulabisa eddoboozi ng’eriva awantu awamu, yasobola okukirabisa ng’ebigambo bye ebyali biva mu kitonde kino. Engeri yaakyo mu butonde ey’obukalabakalaba yatuukana bulungi n’ekyo Setaani kye yali ayagala okutuukiriza.—Olubereberye 3:1; Okubikkulirwa 12:9.
13. Kiki Setaani kye yagamba Kaawa, era kiki kye yali agenderera?
13 Mu kifo ky’okulagira obutereevu omukazi okutunuulira ye ng’omufuzi we, Setaani yasooka okunoonya okuteeka okubuusabuusa mu birowoozo bye, ng’abuuza nti: “Bw’atyo bwe yayogera Katonda nti Temulyanga ku miti gyonna egy’omu lusuku?” Mu butuufu, yali agamba nti: ‘Kibi nnyo ddala okuba nti Katonda yagamba nti temuyinza kulya ku miti gyonna egy’omu lusuku.’ Mu kino yali ategeeza nti kisoboka okuba nga Katonda yali abamma ekintu ekirungi. Kaawa yaddamu ng’ajuliza ekiragiro kya Katonda, ekyali kigaana omuti gumu gwokka, era n’okutegeeza nti ekibonerezo ky’obujeemu kwali kufa. Awo nno, Setaani yagezaako okusekeeterera ekitiibwa kye yali assa mu tteeka lya Katonda, ng’agamba nti: “Okufa temulifa. Kubanga Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako mmwe, amaaso gammwe lwe Olubereberye 3:1-5) Ng’oyolekaganye n’embeera efanaana ng’eyo, wandikoze ki?
galizibuka, nammwe muliba nga Katonda okumanyanga obulungi n’obubi.” (14. (a) Lwaki Kaawa yagwa mu mutego gwa Setaani? (b) Adamu yakola ki?
14 Kaawa yakkiriza okuwalulwa okwegomba kwe okw’okwerowoozaako. Yalya Katonda kye yali agaanye. Oluvannyuma, olw’okukubirizibwa kwe, bbaawe Adamu naye yalya. Yalondawo okudda ku ludda lwa mukyala we mu kifo ky’Omutonzi we. (Olubereberye 3:6; 1 Timoseewo 2:14) Biki ebyavaamu?
15. Bwe kityo nno, kiki ekivaako obumenyi bw’amateeka n’ettemu, era n’endwadde n’okufa, ebibaddewo mu kubeerawo kw’omuntu?
15 Olulyo lw’abantu lwonna lwasuulibwa mu kibi n’obutatuukiridde. Kaakano Adamu ne Kaawa tebandisobodde kusiiga baana baabwe okutuukirira kwe baalina okusooka. Ng’ebyapa ebikubiddwa okuva mu ekyo ekiriko obukyamu byonna bwe bibaako obukyamu bwe bumu, bwe kityo abaana baabwe bonna baazaalibwa mu kibi, nga balina endowooza gye basikidde eyeekubidde ku kwerowoozaako. (Olubereberye 8:21) Endowooza eno, awatali kugikugira, evuddemu obubi obuggyeko abantu emirembe n’obutebenkevu. Obusika buno obw’ekibi era bwe buvuddemu endwadde n’okufa.—Abaruumi 5:12.
Ensonga Ezaaleetebwawo
16, 17. (a) Okutegeera ensonga lwaki Katonda agumiikirizza embeera eno okumala ebbanga eddene, kiki kye tuteekwa okumanya? (b) Ddala nsonga ki eyaleetebwawo?
16 Bwe tulowooza ku bino, ebirowoozo byaffe biddayo ku kibuuzo ekya lwaki Katonda agumiikirizza embeera eno, n’agikkiriza okutuuka w’etuuse. Lwa nsonga enkulu eyaleetebwawo era n’engeri gy’ekwata ku butonde bwonna. Ekyo kiba kitya bwe kityo?
Olubereberye 3:4, 5) Naye, mu mazima, mu kukola bwe batyo bandibadde bagoberera obukulembeze bw’omulabe wa Katonda.
17 Olw’enkayaana ye nti etteeka lya Katonda eri Adamu ne Kaawa teryali ddungi eri bo era n’olw’okuwakanya Katonda kye yayogera ekyandivudde mu bujeemu, Setaani yali abuusabuusisa obufuzi bwa Katonda. Nedda, yali tawakanya mazima nti Katonda mufuzi. Wabula, ensonga Setaani gye yaleetawo yali ekwata ku butuufu bw’obufuzi bwa Yakuwa, obukulu Bwe, era n’obutuukirivu bw’amakubo Ge. Mu bulimbalimba, Setaani yalumiriza nti abantu bandibadde bulungi okusingawo nga beetwala bokka, nga beesalirawo bokka mu kifo ky’okugondera obukulembeze bwa Katonda. (18. (a) Nsonga ki endala eyali ekwatibwako, era kino kiragibwa wa mu Baibuli? (b) Ensonga eno etukwatako etya?
18 Ensonga endala yali ekwatibwako. Okuva ebitonde bya Katonda bino bwe byali bimujeemedde awo mu Adeni, ebitonde ebirala byandikoze ki? Oluvannyuma, mu nnaku z’omusajja Yobu, Setaani yalumiriza lwatu nti abo abaweereza Katonda bakikola, si lwa kwagala Katonda n’obufuzi bwe, naye lwa kwefunira, kubanga Katonda abawa buli kimu. Setaani yategeeza nti tewali n’omu ateekeddwako okunyigirizibwa eyandinyweredde ku kuwagira obufuzi bwa Yakuwa. Bwe kityo obunywevu n’obugolokofu bwa buli kitonde eky’amagezi mu ggulu ne ku nsi byabuusabuusibwa. Bwe kityo nno ensonga ekukwatako.—Yobu 1:8-12; 2:4, 5.
19, 20. Olw’obutazikiririzaawo bajeemu, mukisa ki Yakuwa gwe yasobozesa ebitonde bye okuba nagwo, emyoyo n’abantu?
19 Ng’ayolekaganye n’okusoomooza okw’engeri eyo, Yakuwa yandikoze ki? Yandiyinzizza awatali bukalubo bwonna okuzikiriza Setaani, Adamu ne Kaawa. Ekyo kyandiraze obuyinza bwa Yakuwa obw’obufuzi. Naye kyandizzeemu ebibuuzo kaakano ebireeteddwawo mu birowoozo by’ebitonde bya Katonda byonna ebyali birabye ebibaddewo bino?
Emirembe n’obutebenkevu eby’olubeerera eby’obutonde bwonna byali byetaaga ebibuuzo bino biddibwemu ddala, omulundi gumu era nga gwa nkomerero. Ng’oggyeko ekyo, obugolokofu n’obunywevu bw’ebitonde bya Katonda byonna eby’amagezi byali bibuusibwabuusibwa. Singa byali bimwagala, byandyagadde okwanukula byo byennyini okulumiriza okwo okw’obulimba. Yakuwa yabiwa omukisa okukola bwe bityo. Era, olw’okukkiriza Adamu ne Kaawa okuzaala abaana (wadde nga tebatuukiridde), Katonda yandiziyizza okuggwaawo kw’olulyo lw’abantu—olulyo olutuuse okubaamu ffe ffenna abalamu leero. Kino kyandiwadde abazzukulu bano omukisa okweronderawo obanga banaagondera obufuzi bwa Katonda. Okulondawo okwo kw’oyolekaganye nakwo kaakano!20 Bwe kityo, mu kifo ky’okutuukiriza ekibonerezo ky’okufa amangu ago, Yakuwa yakkiriza abajeemu abo okusigalawo okumala akaseera. Adamu ne Kaawa baagobebwa mu Adeni, nga ba kufa ng’emyaka olukumi teginnaba kuwera. (Olubereberye 5:5; geraageranya Olubereberye 2:17 ne 2 Peetero 3:8.) Setaani era yali wa kuzikirizibwa mu kiseera ekitegeke, ng’alinga omusota ogubetenteddwa omutwe.—Olubereberye 3:15; Abaruumi 16:20.
Okuyitawo kw’Ekiseera Bye Kulaze
21, 22. (a) Ku bikwata ku bufuzi, Setaani n’abantu babadde bakola ki mu kiseera ekibaweereddwa Katonda? (b) Ebyafaayo by’omuntu biraga ki ku bikwata ku gavumenti egezaako okusuula Katonda omuguluka?
21 Biki ebivudde mu kusoomooza obutuufu bw’obufuzi bwa Katonda? Omuntu aganyuddwa mu kugezaako okwetwala yekka? Abantu baweereddwa omukisa okugezaako buli ngeri ya gavumenti erowoozebwako. Yakuwa teyakomya kaweefube w’abantu nga bukyali ebivuddemu ebijjuvu bisobole okulabibwa. Wadde ekyasa ekiyise kyandibadde bukyali nnyo. Omuntu olwo yali yaakayingira “omulembe gw’okuyiiya kwa sayansi” era nga yali atandika butandisi okwewaana mu ebyo bye yali agenda okukola.
22 Naye ekyasa ky’emyaka ekirala kyetaagibwa okulaba eby’okuva mu kkubo ly’omuntu ery’okwetwala yekka okuva ku Katonda? N’abantu abamanyifu mu by’obufuzi ne mu bya sayansi bakkiriza nti ensi eyolekedde akabi akanene ak’okuzikirira. Ddala Katonda teyeetaaga kuleka kuzikirira ddala kubaawo okukakasa okulemererwa kw’obufuzi bw’omuntu obw’okwetwala yekka. N’obujulirwa obw’emyaka
akakaaga obulaga ebibaawo gavumenti bw’esuula Katonda omuguluka, tekiriyinza kugambibwa nti tewaaliwo bbanga limala okutuukiriza obufuzi bw’omuntu. Ebiriwo biraga nti tewali gavumenti eya kyetwala okuva ku Katonda eyinza okuleeta emirembe n’obutebenkevu eby’amazima eri abantu bonna.23. Kiki ekinaatera okubaawo ekijja okwerulira ekkubo obufuzi obutuukirivu obw’ensi obw’Omwana wa Katonda?
23 Nga bwe tunaalaba oluvannyuma, dda nnyo era mu kukuuma ebiseera okuyitirivu Yakuwa Katonda yalamba omulembe gwennyini gwe yandirongooserezaamu obutonde bwonna okuggyawo obujeemu eri obufuzi bwe. Si bantu babi bokka be bajja okuzikirizibwa naye Setaani ne balubaale be bajja kuziyizibwa okuba ng’abali mu bunnya obutakoma, nga tebakyayinza kuleeta maanyi gaabwe mu nsonga z’abantu oba bamalayika. Kino kya kuggulira ekkubo obufuzi obutuukirivu obw’ensi obwa gavumenti y’Omwana wa Katonda. Mu bbanga lya myaka lukumi, gavumenti eyo ejja kumalawo obubi bwonna obuleeteddwa obufuzi bw’omuntu obw’okwerowoozaako obw’enkumi n’enkumi z’emyaka. Ejja kuzzaayo ensi eno ku bulungi bw’olusuku lwa Katonda era ejja kuzza abantu abawulize ku kutuukirira okwaliwo mu Adeni.—Okubikkulirwa 20:1, 2; 21:1-5; 1 Abakkolinso 15:25, 26.
24. (a) Lwaki Setaani ne balubaale be ba kuteebwa ku nkomerero y’emyaka olukumi? (b) Kiki ekirivaamu?
24 Baibuli etegeeza nti ku nkomerero y’obufuzi obw’emyaka olukumi obwo, Setaani ne balubaale be bajja kuteebwa okuva mu kkomera lyabwe okumala akaseera katono. Lwaki? Abantu bonna abaliba abalamu basobole okufuna omukisa okulaga nti banyweredde ku bufuzi bwa Yakuwa. Omuwendo ogutagambika guliba gumaze okuzuukizibwa. Bangi ku bo guno gwe guliba omukisa gwabwe ogw’olubereberye okulaga okwagala kwabwe eri Katonda wansi Okubikkulirwa 20:7-10.
w’ekigezo. Ensonga eriba y’emu ng’emu ku ezo ezaaleetebwawo mu Adeni—obanga banaawagira obufuzi bwa Yakuwa nga balaga obuwulize obw’obwesigwa. Yakuwa ayagala mu b’afuga okubaamu abo bokka okwagala kwabwe okubaleetera okuba n’obunywevu bwe butyo. Abo abaagala okudda ku ludda lw’omulabe wa Katonda ne balubaale be mu kaweefube waabwe yenna alikolebwa okuddamu okutabangula emirembe gy’obutonde bwonna obwa Katonda baliba ba ddembe okulondawo ekyo. Naye mu kwesamba bwe batyo obufuzi bwa Katonda, bajja kuba basaanira kuzikirizibwa. Era ku mulundi guno kujja kujja mbagirawo, ng’omuliro oguva mu ggulu. Abajeemu bonna, emyoyo n’abantu, olwo baliba bazikiriziddwa ddala.—25, 26. Engeri Yakuwa gy’akuttemu ebintu evuddemu etya emiganyulo eri buli omu ku ffe?
25 Kya mazima, okumala emyaka nkumi na nkumi abantu babonyeebonye nnyo. Naye kino kyaleetebwa kusalawo kw’abazadde baffe ababereberye, si Katonda. Katonda agumiikirizza okuvumibwa era n’ebintu eby’omuzizo gy’ali ekiseera kino kyonna. Naye Katonda, nga gy’ali ‘emyaka olukumi giri ng’olunaku olumu,’ alengera wala mu nsonga, era kino kivaamu birungi eri ebitonde bye. Ng’omutume eyaluŋŋamizibwa bwe yawandiika nti: “[Yakuwa, NW] talwisa kye yasuubiza, ng’abalala bwe balowooza okulwa, naye agumiikiriza gye muli, nga tayagala muntu yenna [kuzikirizibwa, NW], naye bonna batuuke okwenenya.” (2 Peetero 3:8, 9) Singa tekwali kugumiikiriza kwa Katonda n’obutakoowa, tewali n’omu ku ffe yandifunye mukisa ogw’okulokolebwa.
26 Kyokka nno, tetusaanidde kusalawo nti mu kiseera eky’emyaka akakaaga ekiyiseewo Katonda tabaddeko ky’akola. Nedda, tabadde awo ng’agumiikiriza bugumiikiriza obubi, ng’alindirira kakisa ke era nga talina ky’akola ku bubwe. Nga bwe tunaalaba, ebiriwo biraga kirala.
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 51]
Setaani yalumiriza nti wansi w’ekigezo abantu bonna bandivudde ku bugolokofu ne beetwala bokka okuva ku Katonda