Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Katonda Abadde Akola Ki?

Katonda Abadde Akola Ki?

Essuula 6

Katonda Abadde Akola Ki?

1. Kiki abantu bangi leero kye bakkiriza ekikwata ku Katonda, naye kya mazima?

ABANTU bangi ennaku zino bakkiriza nti Katonda tafaayo ku nsi oba nti taliiko ky’akola ku bizibu ebitawaanya abantu. Naye amazima gali nti Katonda afaayo nnyo ddala. Kya mazima, ayinza okuba nga takoze ekyo abantu kye bamusuubira okukola. Naye kino tekitegeeza nti tabaddeko ky’akola. Mu butuufu, abaddeko by’akola ku lw’abantu okuva ku lubereberye lw’ebyafaayo by’abantu okutuusiza ddala ku lunaku olwa leero.

2. Ebbanga ettono ery’obulamu bwabwe likwata litya ku ndowooza y’abantu ku nsonga eno?

2 Ensonga emu ereetera abamu okutuuka ku ndowooza nti Katonda taliiko ky’akola lye bbanga ettono ery’obulamu bwabwe. Kino kye kibapapisa okulaba ng’ebintu bikolebwa mu kiseera ekitono obulamu bwabwe kye bubawa. Bwe kityo okwegomba okulaba enkyukakyuka mu kiseera ky’obulamu bwabwe kwe kufuga endowooza yaabwe. Olwo, endowooza yaabwe, ebeera okusalira Katonda omusango okusinziira ku bumanyirivu bw’abantu ng’obwo, awamu n’obutaba na busobozi bujjuvu.

3. Obuwanvu bw’obulamu bwa Yakuwa bukwata butya ku busobozi bwe obw’okuba ne ky’akola ku mbeera zonna mu kiseera ekisingiridde obulungi ekisoboka?

3 Ku luuyi olulala, Yakuwa abaawo emirembe gyonna. (Zabbuli 90:2, 4; Isaaya 44:6) Ku ludda lwe asobola okulabira ddala okusinziira ku biseera nga bwe bitambula wa ebikolwa bye we binaatuukiriza ekisingiridde obulungi eri buli gwe kikwatako era n’okutwala mu maaso ekigendererwa kye. (Isaaya 40:22; 2 Peetero 3:8, 9) Ekyo kye kiikyo kyennyini Katonda ky’abadde akola.

Engeri Katonda Gye Yeeyolesezza

4. Kiki Yakuwa ky’ategeezezza nga kye kigendererwa kye, era bwe kityo kutegeera ki kw’awadde abantu?

4 Ekigendererwa kya Yakuwa kwe kuteekawo obufuzi obutuukirivu eri ebitonde byonna, obunaateeka abantu awamu mu mirembe n’obumu, nga banyumirwa obutebenkevu obujjuvu. (Abaefeso 1:9, 10; Engero 1:33) Kyokka, Katonda tawaliriza muntu yenna kujja wansi wa bufuzi bwe. Abo bokka abamuweereza era abaagala engeri gy’afugamu be baanirizibwa. Ng’aluubirira okussaawo omusingi gw’ensi eneegoberera emitindo gy’obufuzi bwe egy’obutuukirivu, Katonda awadde okutegeera eri abantu ku mitindo egyo era n’engeri obufuzi bwe gye bukolamu. Mu kiseera kye kimu Katonda abadde asobozesa abantu okufuna okutegeera okukulu ennyo ebimukwatako ye era n’engeri ze.—Yokaana 17:3.

5. Okuva ku mirimu gy’obutonzi biki bye tuyinza okuyiga ku Katonda?

5 Nga bw’ali omwoyo, Yakuwa, mu mazima, talabika eri omuntu. Kale, yandisobozesezza atya abantu ab’omubiri n’omusaayi okutegeera ebintu bino? Engeri emu, bingi nnyo ebiyinza okuyigibwa ku ngeri z’Omutonzi okuva ku mirimu egy’engalo ze. (Abaruumi 1:20) Enkolagana ez’ekitalo eziriwo mu biramu era n’amateeka agafuga obutonde bujulirwa obulaga amagezi ge. Amaanyi ag’ekitalo agalabikira mu gayanja, mu mbeera z’obudde, era mu maanyi g’emmunyeenye biwa obujulizi obulaga obuyinza bwe obw’ebintu byonna. (Yobu 38:8-11, 22-33; 40:2) Era ebika by’emmere eby’enjawulo ebiwooma okulya, obulungi bw’ebimuli, ebinyonyi, enjuba okuvaayo n’okugwa, obuzannyiikirizi bw’ebisolo—byonna bitegeeza ku kwagala kw’Omutonzi eri abantu era n’okutwagaliza tusange obulamu nga bwa ssanyu. Kyokka okweyolesa kwa Katonda tekukoma mu bintu bino byokka.

6. (a) Ngeri ki Katonda z’ayiseemu okutegeeza ebikwata ku by’ayagala? (b) Ngeri ki endala Katonda mw’ayitidde okutegeeza emisingi n’engeri ze eri abantu?

6 Ku mirundi egitali gimu ayogedde okuva mu ggulu. Emirundi egimu kino yakikola ye kennyini. Emirundi emirala yayogeranga ng’ayitira mu bamalayika, nga bwe kyali ku Lusozi Sinaayi mu Kyondo kya Buwalabu, gye yaweera amateeka ge eri obukadde bw’Abaisiraeri. (Okuva 20:22; Abaebbulaniya 2:2) Ate ng’ayitira mu bannabbi be yayogeraganyanga n’abantu okumala ebyasa by’emyaka bingi era n’abawandiikisa ebibikkuliddwa eby’ekigendererwa kye. (2 Peetero 1:21) Bwe kityo, mpolampola Yakuwa ategeezezza abantu emitindo Gye egy’obutuukirivu era ne by’Ayagala. Ekitundu ekimu ekikulu mu bino ye ngeri gy’alazemu emisingi gye n’engeri ze mu nkolagana ze n’abantu. Kino kyongedde ebbugumu ery’obumanyirivu bw’omuntu ku Kigambo kye ekiwandiike. Nga kiba kiyigiriza nnyo era nga kimatiza si okuwulira obuwulizi era n’okusoma obusomi ebirangiriro by’ekigendererwa kya Katonda naye era okuba ne mu Baibuli ebyokulabirako ebiramu ebituyamba okutegeera by’ayagala obulungi! (1 Abakkolinso 10:11) Era ebyawandiikibwa ebyo byo biraga ki?

7. (a) Katonda alaze atya nti tagumiikiriza butali butuukirivu mirembe gyonna? (b) Oluvannyuma lw’okuyiga engeri Katonda gy’alabamu empisa ng’ezo, tusaanidde kukola ki?

7 Biwa obujulizi obulaga nti Katonda tagumiikiriza butali butuukirivu mirembe gyonna. Kya mazima, yakkiriza abaana ba Adamu ne Kaawa okukola kye baagala, ne bassaawo embeera eteewalika eraga ng’omuntu bw’atasobola kwefuga bulungi yekka. Naye Katonda teyaleka bantu nga tebalina bujulizi obulaga nga bw’Asalira omusango amakubo gaabwe ag’obutali butuukirivu. Bwe kityo yaleeta amataba mu nnaku za Nuuwa kubanga ‘ensi yali ejjudde ettemu.’ (Olubereberye 6:11-13, NW) Yazikiriza ebibuga ebyali bijjudde obugwenyufu ebya Sodomu ne Ggomola. (Olubereberye 19:24, 25; Yuda 7) Yakkiriza eggwanga lya Isiraeri, eryali ligamba nti limuweereza, okugenda mu buwaŋŋanguse kubanga beetaba mu ddiini ez’obulimba. (Yeremiya 13:19, 25) Nga tuyize engeri Katonda gy’alabamu empisa ng’ezo, tuba tulina omukisa okukola enkyukakyuka mu bulamu bwaffe okulaga okwagala kwaffe eri ekituufu. Tunaazikola?

8. Katonda bw’aleeta okuzikirizibwa, wabaawo abawona? Wa ebyokulabirako.

8 Ebyawandiikibwa mu Baibuli era biraga nti Katonda ayawulawo wakati w’abatuukirivu n’ababi. Mu Mataba agaabuna ensi, Katonda teyazikiriza Nuuwa, eyali “omubuulizi w’obutuukirivu,” naye yamuwonya wamu n’abalala musanvu. (2 Peetero 2:5) Era, ng’omuliro n’ekibiriiti tebinnatonnya ku Sodomu, okuwonyezebwa kwassibwawo eri omutuukirivu Lutti n’ab’omu nnyumba ye.—Olubereberye 19:15-17; 2 Peetero 2:7.

9. Kiki kye tuyiga okuva ku ngeri Yakuwa gye yakolaganamu ne Isiraeri ow’edda?

9 Abantu ba Isiraeri, abaali beerayiridde okuweereza Katonda, bwe baafuuka abatali beesigwa teyabasuulirawo. Yabagamba nti: “Nnabatumira abaddu bange bonna bannabbi, buli lunaku nga ngolokoka ku makya ne mbatuma.” Naye tebaawulira. (Yeremiya 7:25, 26) Ekiseera ne bwe kyali nti kisembedde eky’okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi, Yakuwa yabagamba nti: “Nnina essanyu lye nsanyukira okufa kw’omubi? . . . naye saagala bwagazi akomewo okuva mu kkubo lye abeere omulamu? . . . kale mwekyuse mube abalamu.”—Ezeekyeri 18:23, 32.

10. Ng’oggyeko okubeera omugumiikiriza, kiki ekirala ebyawandiikibwa bino kye bituyigiriza ku Katonda?

10 Olwo nno, tulaba ki? Nti mu ngeri ekwatira ddala ennyo ku mutima gw’abantu abaagala obutuukirivu, Yakuwa alaze mu lwatu obugumiikiriza bwe obunene eri abantu. Mu kiseera kye kimu, enkolagana ze nazo zitulagira ddala n’amaanyi okwagala kwe okw’obutuukirivu n’obukulu bw’okubeera nga tutuukiriza ebisaanyizo bye.

11. (a) Bigambo ki eby’ekigendererwa Yakuwa bye yayogera mu Adeni? (b) Katonda abadde akola ki okuva olwo?

11 Ekintu ekirala, ekisinziivu ennyo, kyolesebwa. Okuva ku lubereberye kirabika lwatu nti Katonda abadde alina ekigendererwa ekikakafu mu ebyo byonna by’akoze. Era talemwangako okukolawo ekintu ng’okutuukirizibwa kw’ekigendererwa kye kwetaagisa abeeko ky’akola. Ekigendererwa kino ekikulu kyategeezebwa awo mu Adeni wennyini. Ng’asalira Setaani omusango, Yakuwa yalagula nti Setaani yali wa kuba n’omukisa okuteekawo “ezzadde,” abo abandyolesezza engeri ze era n’okumuwagira. Era yalagula okuteekebwawo kwa “ezzadde” eddala, omununuzi omutuukirivu. Ono yandibetense “omusota ogw’edda, oguyitibwa Omulyolyomi era Setaani,” bw’atyo n’asumulula abantu okuva mu bufuge bwe obw’akabi. (Olubereberye 3:15; Okubikkulirwa 12:9) Oluvannyuma lw’okutegeeza ekigendererwa kino, Yakuwa n’atanula okukola enteekateeka zennyini ez’obufuzi obw’omu maaso obw’okulabirira ensonga z’ensi wansi wa “ezzadde” essuubize. Omulimu guno ogw’okuteekateeka gwanditutte ekiseera, nga bwe tunaalaba.

Ensonga Kyeyava Akolagana ne Isiraeri ow’Edda mu Ngeri ey’Enjawulo

12, 13. (a) Lwaki Katonda yalonda Isiraeri era n’awa amateeka ge eri eggwanga limu eryo lyokka? (b) Bwe kityo, tuyinza kuyiga ki okuva mu byafaayo bya Isiraeri n’ebyo eby’amawanga amalala?

12 Dda nnyo ng’amawanga ag’omu kiseera kino tegannabaawo, Katonda yalondamu eggwanga limu lye yakozesa ebikumi by’emyaka ng’abantu be. Lwaki? Okusobola okussaawo ekyokulabirako ekiramu ekiraga enkola y’emisingi gye egy’obutuurivu. Eggwanga eryo, Isiraeri ow’edda, lyalimu abazzukulu ba Ibulayimu, omusajja eyalaga okukkiriza okw’amaanyi mu Mutonzi. Yakuwa yabagamba nti: “[Yakuwa, NW] teyabassaako kwagala kwe, so teyabalonda, kubanga mwasinga eggwanga lyonna obungi; kubanga mwali batono okusinga amawanga gonna: naye kubanga [Yakuwa, NW] abaagala, era kubanga ayagala okukwata ekirayiro kye yalayirira bajjajja bammwe.”—Ekyamateeka 7:7, 8; 2 Bassekabaka 13:23.

13 Oluvannyuma lw’okubanunula okuva mu buddu mu Misiri, Yakuwa yabawa omukisa okubayingiza mu nkolagana ey’enjawulo naye, era baddamu nti: “Byonna bye yayogera [Yakuwa, NW] tulibikola.” (Okuva 19:8) Awo Yakuwa n’abawa ebiragiro bye, mu ngeri eno n’abaawula okuva ku mawanga gonna era n’abategeeza bingi ebikwata ku mitindo gye egy’obutuukirivu. (Ekyamateeka 4:5-8) Bwe kityo, ebyafaayo bya Isiraeri ow’edda biraga bulungi ekyo ekibaawo amateeka ga Katonda amatuukirivu bwe gaba gagobereddwa oba bwe gaba tegagobereddwa. Mu kiseera kye kimu, ebyafaayo by’amawanga amalala biraga ekivaamu eri abo abatambula awatali mateeka ga Katonda.

14. (a) Katonda yakola bubi amawanga agatali Isiraeri mu butayingira mu nsonga zaago? (b) Naye, baaganyulwa batya okuva mu kisa kya Katonda ekitabasaanira?

14 Ate amawanga ago amalala? Gaakwata kkubo lyago, nga geerondera enfuga za gavumenti ezaabwe ku bwabwe. Tekyali nti abantu baago baali tebaliimu kalungi n’akamu mu bulamu bwabwe. Baali bakyalina omuntu ow’omunda, era kino emirundi egimu kyabasitulanga okweyisa mu ngeri eraga okufaayo ku bantu bannaabwe. (Abaruumi 2:14; Ebikolwa 28:1, 2) Naye ekibi kyabwe ekisikire era n’okugaana okulagirirwa Katonda byabaleetera okukwata ekkubo ery’okwerowoozaako eryavaako entalo ez’obukambwe n’ebikolwa eby’obugwenyufu. (Abaefeso 4:17-19) Ddala Katonda tayinza kuvunaanyizibwa olw’emitawaana gye beereetako olw’ekkubo ly’obulamu bo bennyini lye beerondera. Emirundi gyokka Katonda lwe yabayingiriranga gyali egyo emirimu gy’abantu lwe gyakontananga n’okutuukirizibwa kw’ebigendererwa bye. Mu kiseera kye kimu, yabakkiriza okweyagalira mu ssanyu ery’okuba abalamu, mu bulungi bw’ebitonde era ne mu kulya ku bibala by’ensi.—Ebikolwa 14:16, 17.

15. Nteekateeka ki olw’okuwa abantu b’amawanga gano omukisa oluvannyuma Katonda gye yali atwala mu maaso?

15 Era Yakuwa teyagaana bantu ba mawanga gano baleme luvannyuma kufuna miganyulo egyasuubizibwa okuyitira mu ‘zzadde’ lya Ibulayimu. Yakuwa yayogera bw’ati ku ‘zzadde’ lino eryali ery’okuyitira mu lunyiriri lw’okuzaala kwa Ibulayimu: “Mu zzadde lyo amawanga gonna ag’omu nsi mwe galiweerwa omukisa; kubanga owulidde eddoboozi lyange.” (Olubereberye 22:18) Bwe kityo newakubadde Yakuwa yali akolagana ne Isiraeri yekka, era yali awatali kwekubiira atwala mu maaso ekigendererwa kye okuwa omukisa amawanga amalala oluvannyuma, newakubadde baali ekyo tebakimanyi.—Ebikolwa 10:34, 35.

16. (a) Mu kiseera kino kyonna, Katonda yali akola ki ku bikwata ku kisuubizo ky’Ezzadde? (b) Ani eyali Ezzadde eryasuubizibwa?

16 Mu kiseera ekyo Yakuwa ng’akolagana ne Isiraeri ow’edda, yawa obunnabbi bungi nnyo obwakkusa obwetaavu obukulu eri abasajja ab’okukkiriza—engeri y’okumanyamu Ezzadde lya Ibulayimu essuubize bwe lyandituuse. Wadde olunyiriri lwe olw’obuzaale, okuyitira mu kika kya Yuda era mu nnyumba ya Dawudi, lwategeezebwa. (Olubereberye 49:10; Zabbuli 89:35, 36) Ekifo eky’okuzaalibwa kwe, Besirekemu, kyayogerwa erinnya. (Mikka 5:2) Emyaka bikumi na bikumi nga tekinnabaawo omwaka gwennyini mwe yali ow’okufukibwako amafuta nga Masiya gwategeezebwa. (Danyeri 9:24-27) Emirimu gye egy’obwakabona ku lw’abantu gyalagibwa mu ngeri y’ekifaananyi. Era ne ssaddaaka ye kennyini eyaggulirawo abantu b’amawanga gonna omukisa gw’obulamu obutaggwaawo. (Abaebbulaniya 9:23-28) Bwe kityo, ekiseera ekigereke bwe kyatuuka, buli kintu kyalagira ddala mu bukakafu Yesu Kristo ng’Ezzadde essuubize omw’okuyitira emikisa egy’okutuuka ku bantu bonna.—Abaggalatiya 3:16, 24; 2 Abakkolinso 1:19, 20.

Okuteekebwateekebwa kw’Abafuzi b’Abantu

17. Ng’ayitira mu Yesu, Katonda yali agenda kuleetawo ki, era kino kyaggumizibwa kitya mu kiseera eky’okuzaalibwa kwe?

17 Nga Yesu tannazaalibwa nnyina Malyamu yali agambiddwa malayika nti omwana we yali wa kuweebwa obwakabaka obutaggwaawo. Abasumba abaali okumpi n’e Besirekemu baategeezebwa ku kuzaalibwa kwe, era ne bawulira ekibiina ekinene eky’eggye ery’omu ggulu nga batendereza Katonda, nga bagamba nti: “Ekitiibwa kibe eri Katonda waggulu ennyo; ne mu nsi emirembe gibe mu bantu abasiimibwa.”—Lukka 1:31-33; 2:10-14.

18. (a) Bye yayitamu ku nsi byamuteekateeka bitya olw’omulimu gwa kabaka ne kabona? (b) Okufa kwe kwalina ki kye kwakola ku ky’okufuna emirembe?

18 Lowooza emiganyulo egiriwo egya Kabaka ow’omu ggulu ow’omu biseera eby’omu maaso okuba nti yabeerako ku nsi. Ng’omuntu yatuuka okumanya n’okutegeera ebizibu by’abantu. Yabeera wamu era n’akola nabo, n’alabira wamu nabo ennaku era ye n’ayita mu kubonaabona. Mu bigezo eby’amaanyi ennyo yakakasa obunywevu bwe eri Yakuwa era n’okwagala kwe okw’obutuukirivu. Mu ngeri eno Katonda yali ateekateeka Yesu abe Kabaka ategeera abantu era Kabona Asinga Obukulu ow’okuweereza emiganyulo egireeta obulamu eri abantu. (Abaebbulaniya 1:9; 4:15; 5:8-10) Ate era, mu kuwaayo obulamu bwe nga ssaddaaka, Yesu Kristo yaggulirawo abantu ekkubo okufuna nate enkolagana ey’emirembe ne Katonda.—1 Peetero 3:18.

19. (a) Tumanyi tutya nga Yesu yazuukizibwa era n’alinnya mu ggulu? (b) Ku bikwata ku bwakabaka bwe, yakola ki oluvannyuma lw’okuddayo mu ggulu?

19 Oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, Katonda yamukomyawo mu bulamu nate, era n’alabibwa abantu abasukka mu 500 abandisobodde okuwa obujulirwa nti mu mazima okuzuukizibwa kwali kubaddewo. (1 Abakkolinso 15:3-8) Ennaku ana oluvannyuma lw’okuzuukizibwa kwa Yesu, yayambuka mu ggulu era n’atalabika nate eri abayigirizwa be abaali batunuulira. (Ebikolwa 1:9) Okusinziira mu ggulu n’atanula okukozesa obuyinza bwe obw’obufuzi ku bagoberezi be abeesigwa, era emiganyulo gy’obufuzi bwe gyabaleetera okuba ab’enjawulo ku bantu abalala. Naye kino kye kyali ekiseera ye okutandika okufuga amawanga? Nedda, kubanga ensonga endala mu nteekateeka ya Katonda enkulu zaali zeetaaga okukolwako.—Abaebbulaniya 10:12, 13.

20. Mulimu ki omuggya Yesu gwe yali agguliddewo abayigirizwa be ku nsi?

20 Omulimu ogw’amaanyi gwali gulina okukolebwa okwetooloola ensi. Ng’okufa kwa Yesu n’okuzuukizibwa tebinnabaawo, tewali n’omu ku Baisiraeri baali bagenze ng’ababuulizi okukyusa abantu b’amawanga amalala. Kyokka buli yenna eyayagalanga okutandika okusinza Yakuwa yandisobodde okusanyukira mu miganyulo egirimu awamu ne Isiraeri. (1 Bassekabaka 8:41-43) Kyokka, okujja kw’Obukristaayo kwaggulawo omulimu omukulu omuggya. Yesu Kristo yennyini yassaawo ekyokulabirako kye yalekawo ng’eky’okugobererwa abayigirizwa be, n’abagamba nga tannagenda mu ggulu nti: “Munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya bwonna ne mu Samaliya, n’okutuusa ku nkomerero y’ensi.”—Ebikolwa 1:8.

21. Mu kifo ky’okukyusa ensi yonna, kiki Katonda kye yali atuukiriza olw’obujulirwa obwo?

21 Okukyusa ensi yonna kye kyali ekigendererwa? Nedda. Wabula, Yesu yalaga nti mu bbanga eryo okutuukira ddala mu ‘mavannyuma g’embeera z’ebintu’ wandibaddewo okukuŋŋaanyizibwa okusookera ddala okwa ‘abaana b’obwakabaka.’ Yee, abalala ab’omu gavumenti y’Obwakabaka egenda okujja baalina okulondebwa. (Matayo 13:24-30; 36-43) Buli asoma Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani eby’Ekikristaayo asobola okulabira ddala nti okutandikira ku Pentekoote owa 33 C.E., abalala baali bayitibwa okwetaba ne Yesu Kristo mu bufuzi bw’Obwakabaka bwe obw’omu ggulu.—2 Timoseewo 2:12; Abaebbulaniya 3:1; 1 Peetero 1:3, 4.

22. (a) Bisaanyizo ki Katonda bye yali yeetaaga mu abo ab’okuba abasika mu Bwakabaka obw’omu ggulu? (b) Bwe kityo, okulonda kuno kwakolebwa pakupaku?

22 Okulonda bano ab’okufuga abantu mu biseera eby’omu maaso kwanditutte ebbanga. Lwaki? Emu ku nsonga eri nti, omukisa ogwo gwali gulina okutuusibwa ku bantu ab’amawanga gonna. Era, newakubadde nga bangi beegamba okuba nti bagututte, batono abeeragira ddala okuba abagoberezi abeesigwa ab’Omwana wa Katonda. (Matayo 22:14) Emitindo egya waggulu gyali girina okukuumibwa. Wadde ng’Abakristaayo tebabaddewo ng’eggwanga ery’enjawulo nga Isiraeri ow’edda, batwaliddwa nga abagenyi, nga bawagira embeera y’obulamu endala. (1 Peetero 2:11, 12) Bateekwa okusigala nga balongoofu okuva ku bikolwa eby’obugwenyufu era ebyonoonefu eby’ensi ebeetoolodde. (1 Abakkolinso 6:9, 10) Okubeera ‘abaana ba Katonda’ bennyini, bateekwa okwekakasa bennyini okuba ‘ab’emirembe,’ nga tebeetaba mu ntalo za mawanga era nga tebeesasuza bwe baba bayigganyizibwa olw’okukkiriza kwabwe. (Matayo 5:9; 26:52; Abaruumi 12:18, 19) Bateekwa okulaga nga bwe banyweredde ku bufuzi bwa Katonda nga bagaana okuwolereza gavumenti ez’eby’obufuzi, ezoogerwako mu Baibuli nga “ensolo,” (Okubikkulirwa 20:4, 6) Olwa bino byonna era olw’okuba bagulumizza erinnya lya Yesu Kristo mu kitiibwa kye nga Kabaka Katonda gwe yafukako amafuta, ‘bakyayiddwa amawanga gonna.’ (Matayo 24:9) Bwe kityo abo ab’okuba abafuzi b’abantu ab’omu ggulu awamu ne Kristo tebalondeddwa pakupaku.

23. (a) Bameka ab’okuba mu kibiina ekyo ekifuzi eky’omu ggulu awamu ne Kristo? (b) Balondeddwa kuva mu baani, era lwaki?

23 Si kuba nti omuwendo ogw’okulondebwa gwali gwa kuba munene nnyo okulondebwa ne kulyoka kutwala ebbanga eddene bwe lityo. Okusinziira ku Byawandiikibwa, Katonda yagereka omuwendo gw’ekibiina kino ekifuzi wansi wa Yesu Kristo ne gubeera abantu 144,000 bokka. (Okubikkulirwa 14:1-3) Naye Katonda abalonze n’obwegendereza. Baggiddwa “mu buli kika n’olulimi n’abantu n’eggwanga.” (Okubikkulirwa 5:9, 10) Mu bo mulimu abantu okuva mu buli ngeri ya bulamu, abasajja n’abakazi, abantu abayise mu bizibu ebitali bimu eby’abantu. Mu kwambala omuntu omuggya Omukristaayo, tewaliwo kizibu bamu ku bo kye batasanze era ne batakivvuunuka. (Abaefeso 4:22-24; 1 Abakkolinso 10:13) Nga tuyinza okuba abasanyufu olwa kino! Lwaki? Kubanga kituwa obukakafu nti bajja kuba bakabaka era bakabona abasaasizi era ab’ekisa, abasobola okuyamba abasajja n’abakazi ab’engeri zonna okuganyulwa mu nteekateeka ya Katonda ey’obulamu obutaggwaawo.

24. Ate obukadde bw’abantu abalala ababaddewo ne bafa mu kiseera kino, nga bangi ku bo baali tebamanyi Baibuli?

24 Ate abantu abali ebweru w’enteekateeka eno? Mu kiseera kino kyonna, Katonda teyayingirira gavumenti ez’enjawulo. Yaleka abantu bakwate ekkubo lye baagala. Kyo kituufu nti abantu bukadde na bukadde babaddewo ne bafa, nga bangi ku bo tebawulidde ku Baibuli oba Obwakabaka bwa Katonda. Kyokka Katonda teyabeerabira. Yali yeeteekerateekera ekiseera ekyayogerwako omutume Pawulo nti: “Nnina essuubi eri Katonda . . . nti walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu era n’abatali batuukirivu.” (Ebikolwa 24:15) Olwo, mu mbeera ennungi ez’omu Nteekateeka Empya eya Katonda, bajja kuweebwa omukisa omujjuvu okuyiga amakubo ga Yakuwa. Okusinziira ku kino, bayinza okwesalirawo ku lwabwe kye bandyagadde ku nsonga y’obufuzi bw’obutonde bwonna. Abo abaagala obutuukirivu ne bafuna omukisa ogw’okuba abalamu emirembe gyonna.

Nga “Enkomerero” Bw’Esembera

25, 26. (a) Mu kiseera ekitegeke, buyinza ki obulala Kristo bwe yandiweereddwa, era baani be yandyolekezza obuyinza bwe? (b) Kino kyandikoze kitya embeera ku nsi?

25 Ng’Enteekateeka eyo Empya tennaba, ebintu ebyewuunyisa biteekwa okubaawo. Baibuli yalagula enkyukakyuka ey’amaanyi mu mbeera z’ensi. Yesu Kristo nga yandibadde atikkirwa nga Kabaka si okufuga abayigirizwa be bokka naye okuba n’obuyinza eri ensi yonna. Ekirangiriro ne kikolebwa mu ggulu: “Obwakabaka bw’ensi bufuuse bwa Mukama waffe, era bwa Kristo we: era anaafuganga emirembe n’emirembe.” (Okubikkulirwa 11:15) Ekikolwa kya Kabaka ekibereberye kyandibadde eri “omufuzi w’ensi” yennyini, Setaani Omulyolyomi, ne balubaale be. (Yokaana 14:30, NW) Amagye gano amabi gandisuuliddwa okuva mu ggulu era ne gakuumirwa okumpi n’ensi. Kiki ekyandivuddemu?

26 Okunnyonnyola okw’obunnabbi kulaga eddoboozi eriva mu ggulu nga lyogera nti: “Kale musanyuke, eggulu n’abatuulamu. Zisanze ensi n’ennyanja: kubanga Omulyolyomi asse gye muli ng’alina obusungu bungi, ng’amanyi ng’alina akaseera katono.” (Okubikkulirwa 12:12) Akacwano akatabangawo kandibaddewo mu mawanga, naye enkomerero teyandijjiddewo mangwago.

27. (a) Nga “enkomerero” esembera, mulimu ki ogw’amaanyi ogw’okwawulamu ogwandibaddewo, era gutya? (b) Okuzikirizibwa kw’ensi okwalagulibwa kunaaba kunene kwenkana wa?

27 Kino kyandibadde ekiseera eky’omulimu omunene ogw’okwawulamu. Wansi w’obulagirizi bwa Yesu Kristo ateekeddwa ku bufuzi, abagoberezi be abeesigwa bandyongedde okubuulira “amawulire gano amalungi ag’obwakabaka” mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa eri amawanga gonna. Abantu buli wamu bandiweereddwa omukisa okulaga endowooza yaabwe bw’eri eri obufuzi bwa Katonda. (Matayo 24:14, NW; 25:31-33) Kino nga kituukiriziddwa, nga Yesu bwe yannyonnyola, ‘olwo enkomerero n’eryoka ejja.’ Kijja kuba “ekibonyoobonyo ekinene, nga tekibangawo kasookedde ensi ebaawo okutuusa leero, era tekiribaawo nate.” (Matayo 24:21) Abantu tebaliddayo kubuuza nti, Katonda abadde akola ki? Ab’okuwona bokka be bajja okuba abo abassaayo omwoyo okunoonya kye yali akola era n’okutuukanya obulamu bwabwe n’ebyo bye yeetaaga ng’okuzikirizibwa kw’ensi tekunnatuuka.

28. (a) Okutikkirwa kwa Kristo n’okwawula abantu b’amawanga gonna kubaawo ddi? (b) Bwe kityo, kiki ky’oteekwa okukola ggwe ku bubwo mu bwangu?

28 Naye ebintu bino byonna bya kubaawo ddi? Kristo aweebwa ddi obuyinza okufuga nga Kabaka n’okutandika okwawulamu abantu ab’amawanga gonna? Ebiriwo biraga nti Katonda abadde akola ebintu bino mu kyasa kino eky’amakumi abiri. Kristo amaze okutuula ku nnamulondo ye ey’omu ggulu, era omulimu gw’okwawulamu kaakano guli kumpi okumalirizibwa. Ekiseera eky’okwemanyisizamu nti oli ku ludda lwa Yakuwa olw’ensonga enkulu ey’obufuzi bw’obutonde bwonna kisigadde kitono nnyo. “Ekibonyoobonyo ekinene” kiri kumpi! Okwekenneenya obunnabbi bwa Baibuli nga tutunuulira ebyafaayo eby’omu nnaku zino kukakasa nga kino kya mazima. Tukukubiriza okubwekenneenya n’obwegendereza.

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 62]

Olw’okubeera mu bantu, omufuzi w’ensi omuggya yasobola okutegeera abantu mu ngeri esingako