Lwaki Ofaayo ku Bantu Abalala?
Essuula 15
Lwaki Ofaayo ku Bantu Abalala?
1. (a) Kiki ekireetedde abantu bangi okwefaako bokka era n’obutafaayo kinene ku balala? (b) Kiki ekivuddemu?
OKUFAAYO ku balala tekitera kulabika ennaku zino. Wadde nga buli muntu azaalibwa n’obusobozi obw’okwagala, abalala bwe banoonya okwefaako bokka oba okufuba kwe okulaga okwagala bwe kuba tekutegeereddwa, omuntu ayinza okusalawo nti ekisinga kwe kwefaako yekka. Abalala, mu kulaba nti abamu abafuna mu bantu bannaabwe bagaggawala, bayinza okulowooza nti lino lye kkubo erituusa ku buwanguzi. Ekivuddemu kiri nti abantu bangi balina omwoyo ogw’obuteesiga balala era balina emikwano mitono egy’amazima, bwe baba nga balinawo. Kiki ekivaako embeera eno etesanyusa?
2. (a) Baibuli etegeeza etya ensibuko y’omutawaana? (b) Kitegeeza ki okumanya Katonda?
2 Okwagala tekuliiwo, engeri y’okwagala okweyolekera mu kufaayo okw’amazima eri obulungi bw’abalala obw’olubeerera. Era lwaki tekuliiwo? Ng’etuukira ddala ku nsibuko y’omutawaana, Baibuli etegeeza nti: “Atayagala tategeera Katonda; kubanga Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:8) Kyo kituufu nti abantu bangi abeenoonyeza ebyabwe ku bwabwe begamba nti bakkiririza mu Katonda era bagenda ne mu kkanisa. Naye ekituufu kiri nti ddala tebamanyi Katonda. Okumanya Katonda kitegeeza okumanyira ddala obulungi engeri ze, okumanya obuyinza bwe, era olwo okukola ebituukagana n’ebyo bye tumumanyiko. (Yeremiya 22:16; Tito 1:16) Bwe kityo nno, okuzuula essanyu ery’amazima mu bulamu eribaawo ng’omuntu alaze okwagala era ng’akufunye, tuteekwa okumanya Katonda obulungi era n’okussa mu nkola bye tuyiga.
3. Katonda alaze atya okwagala kwe okunene eri abantu?
3 “Ku kino okwagala kwa Katonda kwe kwalabisibwa gye tuli, kubanga Katonda yatuma mu nsi Omwana we eyazaalibwa omu tulyoke tube abalamu ku bw’oyo,” bw’atyo omutume Yokaana bwe yawandika. “Mu kino mwe muli okwagala, so si nga ffe twayagala Katonda [okusooka], naye nga ye yatwagala ffe n’atuma Omwana we okuba omutango olw’ebibi byaffe. Abaagalwa, nga Katonda bwe yatwagala bw’atyo naffe kitugwanira okwagalananga.” (1 Yokaana 4:9-11) Katonda teyakkiriza empisa z’abantu ezitali za kwagala kuziyiza kwagala kwe. Nga bwe kitegeezebwa mu Abaruumi 5:8: “Katonda atenderezesa okwagala kwe ye gye tuli, kubanga bwe twali nga tukyalina ebibi Kristo n’atufiirira.”
4. Ekyo kikuleetera kuwulira otya eri Katonda?
4 Abantu bameka b’oyagala ennyo okuba nti wandiwaddeyo obulamu bwo ku lwabwe—abantu abatakukolerangako kintu kyonna? Bw’oba ng’oli muzadde, ani gwe wandibadde omwetegefu okuwaayo omwana wo amufiirire? Eyo ye ngeri y’okwagala Katonda kwe yatulaga. (Yokaana 3:16) Okumanya kino kukuleetera kuwulira otya eri Katonda? Bwe tuba nga tusiimira ddala ky’akoze, tujja kukisanga nga si kizito okugondera amateeka ge.—1 Yokaana 5:3.
5. (a) “Etteeka eriggya” Yesu lye yawa abayigirizwa be lye liruwa? (b) Okwemalira kwaffe ku Katonda ng’omufuzi kukwatibwako kutya mu ekyo? (c) Olwo, okugondera “etteeka eriggya” lino kyetaagisa ki?
5 Mu kiro ekyasembayo nga tannafa, Yesu yawa abayigirizwa be erimu ku mateeka ago. Kyandibalaze okuba Yokaana 13:34, 35; 1 Yokaana 3:16) Okwagala okw’engeri eno kulaga bwe twemalidde ku Katonda nga tukakasa Omulyolyomi kye yagamba okuba eky’obulimba nti tewali muntu ajja kugondera Katonda obulamu bwe bwe bubeera mu kabi. (Yobu 2:1-10) Kya lwatu ddala, okugondera “etteeka eriggya” lino kyetaagisa okufaŋŋanako ennyo.—Yakobo 1:27; 2:15, 16; 1 Abasessalonika 2:8.
ab’enjawulo okuva ku bantu abalala ab’ensi. Yagamba nti: “Etteeka eriggya mbawa nti Mwagalenanga.” Etteeka lya Yesu lyali ‘liggya’ mu kuba nti yali ayogera ku kwagala abalala, si nga bwe beeyagala, naye “nga bwe nnabaagalanga mmwe”—okubeera abeetegefu okuwaayo obulamu bwabwe buli omu ku lwa munne. (6. Baani abalala ab’okulagibwa okwagala, era lwaki?
6 Naye Kristo yafiirira ensi ey’abantu, si bayigirizwa be bokka. Bwe kityo ebyawandiikibwa bikubiriza nti: “Kale, bwe tunaalabanga ebbanga, tubakolenga obulungi bonna, naye okusinga abo abali mu nnyumba ey’okukkiriza.” (Abaggalatiya 6:10) Emikisa egya ‘okukolanga obulungi bonna’ gibaawo buli lunaku. Okwagala kwaffe bwe kuba nga si kufunda, naye nga kwa kisa era kugabi, tutwala ekyokulabirako kya Katonda, “kubanga enjuba ye agyakiza ababi n’abalungi, abatonnyeseza enkuba abatuukirivu n’abatali batuukirivu.”—Matayo 5:43-48.
Okussaamu Ekitiibwa Omuntu n’Ebintu by’Abalala
7. Kiki ekiyinza okutuleetera engeri gye tuyisaamu abantu n’ebintu by’abalala?
7 Tuli mu nsi etalina kwagala. Oboolyawo okiraba nti obadde tofaayo ku balala bulijjo nga bwe wandibadde okola. Naye omuntu bw’aba ow’okuweereza Katonda, waliwo obwetaavu obw’okufuba okw’obwegendereza ku lulwe ‘okufuula amagezi ge amaggya.’ (Abaruumi 12:1, 2) Yeetaaga okukyusa endowooza ye eri omuntu n’ebintu by’abalala.
8. (a) Kiki ekiraga obutafaayo obubunye ennyo eri ebintu by’abalala? (b) Kubuulirira ki mu Baibuli, singa kuba kugobereddwa, okwandiziyizza omuntu okukola ebintu ng’ebyo?
8 Mu bifo ebimu waliwo obutafaayo bwa maanyi ddala eri eby’abalala. Nga banyumirwa bunyumirwa, abavubuka boonoona ebintu eby’abantu abalala eby’obwanannyini n’ebyo eby’olukale. Oba mu bugenderevu boonoona ebintu abalala bye bateganidde ennyo okufuna. Abamu bayinza okunakuwalira okwonoona ng’okwo, naye ne bakuwagira nga basuulasuula ebisasiro mu bifo ebisanyukirwamu, mu nguudo oba ebizimbe ebikozesebwa abantu awamu. Ebikolwa bino bitabagana n’okubuulirira kwa Yesu: “ Kale byonna bye mwagala abantu okubakolanga mmwe, nammwe mubakolenga bo bwe mutyo.”? (Matayo 7:12) Empisa ng’eyo etali ya kwagala eraga nti omuntu oyo tatuukanye na kigendererwa kya Katonda eri ensi eno okufuuka olusuku lwa Katonda.
9. (a) Obubbi bukwata butya ku bulamu bwa buli muntu? (b) Lwaki obubbi kikyamu mu maaso ga Katonda?
9 Mu bifo bingi, okufaayo ku bulamu bw’omuntu n’ebintu kuleetedde okuba n’enzigi ensibe, amadirisa agalimu emitayimbwa, n’embwa ezikuuma okuba ekya bulijjo. Amaduuka galinnyisa emiwendo okuliwa ebiba bibbiddwa. Naye obubbi tebujja kuba na kifo mu Nteekateeka Empya eya Katonda. Bwe kityo, abo bonna abasuubira okubaayo bateekwa okuyiga okweyisa kaakano mu ngeri ereeta obutebenkevu bw’abantu bannaabwe. Baibuli eraga nti ‘ekirabo kya Katonda’ kwe kuba nti omuntu ‘asanyukiranga ebirungi mu kutegana kwe kwonna.’ Bwe kityo kikyamu okugezaako okumuggyako ebivudde mu kutegana kwe. (Omubuulizi 3:13; 5:18) Abantu bangi abataali beesigwa mu biseera eby’edda bakyuse. Tebalekaayo kubba kyokka naye era bayize essanyu ery’okuwa abalala. (Ebikolwa 20:35) Nga beegomba okusanyusa Katonda, bassizzaayo omwoyo eri ekyawandiikibwa mu Abaefeso 4:28: “Eyabbanga alemenga okubba nate: naye waakiri afubenga, ng’akola ebirungi n’emikono gye, alyoke abeerenga n’eky’okumuwa eyeetaaga.”
10. (a) Mu ngeri gye twogeramu eri abalala, tuyinza tutya okulaga nga tubafaako? (b) Kiki ekijja okuyamba omuntu okuyiga okulaga okwagala mu ngeri eno?
10 Emirundi mingi, naddala ng’ebintu bisobye, abalala kye beetaaga tekibeera bintu buntu, naye beetaaga kisa. Kyokka, kiki ekibaawo mu mbeera ezo ng’okusobya kw’omuntu kulabise? Wayinza okubaawo okubwatuka okw’obusungu, okuvuma, oba ebigambo ebisongovu. N’abamu abamanyi nti kino kikyamu balemererwa okufuga olulimi lwabwe. Omuntu ayinza atya okuvvuunuka empisa ng’eyo? Mu butuufu, ekibulawo kwe kwagala, era ekyo kiraga nti waliwo obwetaavu okumanya Katonda. Omuntu bw’atuuka okutegeera Katonda gy’akomye mu kumulaga ekisa, ajja kukisanga nti tekikyamukaluubirira nnyo okusonyiwa abalala. Ayinza n’okutandika okulaba amakubo okuyambamu oyo amusobezza, ng’awa obuyambi obw’ekisa n’ekiruubirirwa eky’okumuyamba.—Matayo 18:21-35; Abaefeso 4:31–5:2.
11. Lwaki tetusaanidde kuba bavumi mu njogera yaffe, abalala ne bwe babeera nga si ba kisa gye tuli?
11 Kya mazima nti abantu abalala bayinza obutakozesa kubuulirira kuno okulungi okuva mu Kigambo kya Katonda nga bakolagana naffe. Wadde naga ffe tulina ebiruubirirwa eby’obwesimbu, tuyinza okwesanga ebiseera ebimu nga bavuma ffe. Olwo tunaakola ki? Baibuli ebuulirira nti: “Towangulwanga bubi, naye wangulanga obubi olw’obulungi.” (Abaruumi 12:17-21; 1 Peetero 2:21-23) Okweyongera okubalaga ekisa kuyinza oluvannyuma okukyusa endowooza yaabwe era ne kuggyayo engeri zaabwe ezisingako obulungi. Ka beeyise mu ngeri ki, bwe tweyongera okulaga ekisa, tulaga nti tuwagira enfuga ya Katonda, eyeesigamiziddwa ku kwagala.
Okuvvuunuka Okusosola mu Langi, Amawanga, n’Okwekubiira
12, 13. Baibuli eyamba etya omuntu okweggyamu endowooza yonna ey’okwekubiira olwa langi, eggwanga, oba embeera y’obulamu?
12 Omuntu alina okwagala okw’amazima takyusibwa ndowooza ye lwa lulyo, erangi y’omubiri, eggwanga, oba embeera y’omuntu. Lwaki nedda? Kubanga ategeera amazima ga Baibuli nti: “[Katonda] yakola okuva ku omu buli ggwanga ly’abantu.” (Ebikolwa 17:26) N’olwekyo abantu bonna ba luganda. Tewali ggwanga mu buzaale lisinga ku ddala.
13 Tewali muntu alina nsonga okwenyumiriza olw’obuzaale bwe, olulyo, erangi, eggwanga oba embeera mu bulamu. “Bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda.” (Abaruumi 3:23) N’olwekyo buli muntu yeesigama ku ssaddaaka ya Kristo ey’ekinunulo. Era Baibuli eraga nti abo abanaawonyezebwa mu ‘kibonyoobonyo ekinene’ ekigenda okujja bava mu “buli ggwanga, n’ebika n’abantu n’ennimi.”—Okubikkulirwa 7:9, 14-17.
14. Lwaki ekintu ekibi ekyakukolwa si nsonga ntuufu eyandivuddeko okwekubiira olubege eri abantu ab’erangi emu oba eggwanga erimu?
14 Mu kugezaako okwewolereza olw’okwekubiira kwe olubege, omuntu ayinza okujjukira ekintu ekibi ekyamukolwa omuntu ow’erangi emu oba eggwanga. Naye buli muntu ow’erangi eyo oba eggwanga eryo yeetaba mu bubi obwo? Era abantu b’erangi y’omuntu oyo oba ab’eggwanga lye tebakolangako kintu kye kimu kyennyini? Bwe tuba
tusuubira okubeera mu Nteekateeka Empya ey’emirembe eya Katonda, twetaaga okulongoosa emitima gyaffe okugiggyamu amalala gonna agayinza okutwawula ku bantu abalala.15. Singa ebigambo omuntu by’ayogedde ku langi emu oba eggwanga byesittaza mukkiriza munne, kino kyandikoze ki ku nkolagana ye kennyini ne Katonda era ne Kristo?
15 Ekyo ekibeera mu mitima gyaffe kirwaddaaki ne kifulumira mu bumwa bwaffe. Nga Kristo Yesu bwe yagamba nti: “Ebijjula mu mutima akamwa ke bye koogera.” (Lukka 6:45) Kitya singa ebigambo ebiraga okwekubiira byesittaza omuntu eyali alaga okwagala eri ekibiina kya Yakuwa? Kya mutawaana nnyo ne kiba nti Yesu yalabula nti: “Buli muntu aneesittazanga omu ku abo abato abanzikiriza, waakiri oyo okusibibwa olubengo olunene mu bulago bwe asuulibwe mu nnyanja.”—Makko 9:42.
16. Yesu yalaga atya obutasosolamu bwe tusaanidde okulaga abantu abalala?
16 Abakristaayo bateekeddwa okulaga okufaayo okw’okwagala eri abalala ka babeere ba langi ki, ggwanga ki oba embeera mu bulamu. (Yakobo 2:1-9) Nga Yesu bwe yakubiriza nti: “Bw’ofumbanga embaga, oyitanga abaavu n’abalema n’abawenyera n’abazibe b’amaaso: era oliweebwa omukisa; kubanga tebalina kya kukusasula.” (Lukka 14:13, 14) Bwe tubeera n’okufaayo okw’engeri eno mu bantu abalala, tuba twolesa engeri ez’okwagala eza Kitaffe ali mu ggulu.
Okufaayo okw’Okwagala eri Obulungi bw’Abalala obw’Olubeerera
17. (a) Kintu ki ekisingira ddala omuwendo kye tuyinza okugabana n’abalala? (b) Lwaki twandyewulidde nga tuwalirizibwa okukola bwe tutyo?
17 Okufaayo kwaffe eri abalala tekusaanidde kukoma ku Yokaana 17:3) Oba ng’osomye ekitabo kino okuva ku ntandikwa, omanyi engeri y’okufunamu ekirabo ekyo. Omaze okulaba Ebyawandiikibwa kye bitegeeza ku ‘kibonyoobonyo ekinene,’ era n’obujulizi obulabika obukakasa nga bwe kiri okumpi. Omanyi nti Obwakabaka bwa Katonda lye ssuubi lyokka eririwo eri abantu. Naye okwagala Yakuwa ne muntu munno kukusitula okugabana okutegeera kuno okukulu n’abalala?
byetaago byabwe eby’omubiri byokka. Wadde okwagala kwaffe tekwandibadde okutuukiridde olw’okuba obubeezi nti twali ba kisa eri abantu aba buli ngeri. Obulamu okuba n’amakulu gennyini, abantu beetaaga okumanya Yakuwa n’ebigendererwa bye. Mu kusaba eri Kitaawe, Yesu yagamba nti: “Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo.” (18. (a) Mu Matayo 24:14, mulimu ki Yesu gwe yalagula ogw’okubeerawo mu nnaku zaffe? (b) Twandibadde na ndowooza ki ku kugwetabamu?
18 Bwe yali ng’ayogera ku ‘mavannyuma g’embeera z’ebintu,’ Yesu yalagula nti: “Amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa eri amawanga gonna; olwo enkomerero n’eryoka ejja.” (Matayo 24:3, 14, NW) Nga nkizo ya maanyi ddala okukiikirira Omufuzi Asingiridde ow’obutonde bwonna, Yakuwa yennyini, ng’omuntu yeetaba mu ‘bujulirwa’ buno! Omukisa ogw’okwetaba mu mulimu guno ogw’enjawulo gukyaliwo, naye ebbanga terikyali ggwanvu.
19. Lwaki tetusaanidde kukkiriza ndowooza ey’okuba nti tetulina busobozi kutuziyiza okwetaba mu mulimu guno?
19 Mu kulowooza ku mukisa ogw’okwetaba mu ‘bujulirwa buno eri amawanga gonna,’ kirungi okutegeera nti, tekiva mu busobozi bwa muntu ku lulwe, naye Katonda y’aleetera obubaka okuvaamu ebibala. (Ebikolwa 16:14; ) Bw’oba ng’okubirizibwa omutima ogwagala, Yakuwa ayinza okukukozesa okutuukiriza by’ayagala. Ng’omutume Pawulo bwe yagamba: “Era bwe tutyo bwe twesiga Katonda ku bwa Kristo: si kubanga fekka tulina obuyinza okulowooza ekigambo kyonna ng’ekiva gye tuli: naye obuyinza bwaffe buva eri Katonda.”— 1 Abakkolinso 3:62 Abakkolinso 3:4-6.
20. (a) Buli muntu anaayaniriza n’essanyu amawalire amalungi? (b) Kirungi ki ekituukirizibwa mu kubuulira abantu abateefiirayo oba abawakanya n’okuwakanya?
20 Kyo kiri nti tetusaanidde kusuubira nti buli muntu ajja kubusanyukira. Bangi tebajja kwefiirayo. Abamu bajja kubuziyiza. Sawulo ow’e Taluso, eyaliko omuyigganya 1 Timoseewo 1:12, 13) Obanga abalala bakimanyi oba nedda, beetaaga obubaka bw’Obwakabaka. Bwe kityo twetaaga okubafaako, nga tuli beetegefu okuwaayo amaanyi gaffe ku lw’obulungi bwabwe obw’olubeerera. (1 Abasessalonika 2:7, 8) Ne bwe baba tebaagala bubaka bw’Obwakabaka, waliwo ekirungi ekiba kituukiriziddwa. Obujulirwa buba buweereddwa, erinnya lya Yakuwa nga ligulumiziddwa, ‘okwawulibwamu’ kw’abantu nga kukoleddwa, era tuba tulaga n’obunywevu bwaffe eri Yakuwa.—Matayo 25:31-33.
w’Abakristaayo, yafuuka omutume wa Yesu omunyiikivu. (Okufaayo ku Ebyo Ebibaawo eri Ab’omu Maka go Bennyini
21. Buvunaanyizibwa ki omutwe gw’amaka bw’alina ku bikwata ku mbeera y’eby’omwoyo ey’ab’omu maka ge?
21 Okufuba kwo okuyamba abalala okuganyulwa mu nteekateeka za Yakuwa kusaanidde era okwolekezebwa eri ab’omu maka go bennyini. Ng’ekyokulabirako, omutwe gw’amaka avunaanyizibwa ku bikwata ku kukulakulana kw’ab’omu maka ge mu by’omwoyo. Kino kyesigamira ddala ku butaddirira mu nteekateeka ye okukubaganya ebirowoozo ku Kigambo kya Katonda ng’amaka. Era okusaba kwa kitaabwe ku lw’ab’omu maka bwe kulaga obumalirivu n’okusiima, kino kiyinza okutereeza endowooza y’ab’omu maka bonna.
22. Lwaki kikulu kitaawe w’abaana okukangavvula abaana be era kiki ekisaanidde okumukubiriza?
22 Obuvanaanyizibwa bwe era butwaliramu okukangavvula. Ebizibu bwe bijjawo, kiyinza okufaanana ng’ekisingako obwangu kwe kubibuusa amaaso. Naye singa okukangavvula kubaawo nga kitaabwe anyiize lwokka, oba singa ebizibu bikolebwako nga bimaze kufuuka bya maanyi nnyo, waliwo ekibulawo. Engero 13:24 lugamba nti: ‘Kitaawe ayagala omwana we ye oyo amukangavvula.’ Bwe kityo kitaawe w’abaana omwagazi akangavvula awatali kuddirira. N’obugumiikiriza annyonnyola abaana be ebintu era n’amanya ebirowoozo, endowooza ez’omunda, n’amaanyi ag’omubiri we bikoma ebya buli omu. (Abaefeso 6:4; Abakkolosaayi 3:21) Bw’oba ng’oli kitaawe w’abaana, olina okwagala okw’engeri eyo eri abaana bo? Oli mwetegefu okwetikka obuvunaanyizibwa obwo, ng’otunuulira si ebyo byokka ebya kaakano naye era n’obulungi bw’ab’omu maka go obw’ebiseera eby’omu maaso?—Engero 23:13, 14; 29:17.
23. Maama ayinza kuba naki ky’akola ku bikwata ku mbeera ey’eby’omwoyo ey’ab’omu maka ge?
23 Omukyala, naye, ayinza okuba n’eky’amaanyi ky’akola eri ab’omu maka ge. Okukolera awamu n’omwami we era n’okukozesa obulungi ebiseera ng’atereeza obulamu bw’abaana be mu kkubo ery’okutya Katonda kitera okweyolekera mu nneeyisa n’endowooza y’abaana. (Engero 29:15) Ne bwe kiba nti tewali kitaabwe mu maka, okuyigiriza okw’obwegendereza okuva mu Baibuli ng’otaddeko n’ekyokulabirako ekirungi bivaamu ebibala ebirungi.
24. (a) Bw’aba ayolekedde okuziyizibwa okuva eri munne mu bufumbo, nsonga ki omukkiriza gy’asaanidde okujjukira? (b) Mu mbeera ng’ezo, okwagala kwandiragiddwa kutya eri munne atakkiriza?
24 Naye kiba kitya singa kitaawe w’abaana mu maka takkiriza Kigambo kya Katonda, oba ng’ayigganya n’okuyigganya mukyala we? Omukyala asaanidde kukola ki? Bw’aba ayagala Yakuwa, ddala tajja kukuba Yakuwa mabega. Setaani ye yawaaba nti abantu bandyabulidde Katonda singa boolekezebwa obuzibu. Ddala omukyala teyandyagadde kukola Setaani by’ayagala. (Yobu 2:1-5; Engero 27:11) Mu kiseera kye kimu, Baibuli emukubiriza okufaayo ku bulungi obw’olubeerera obwa bbaawe. Okuva ku ekyo ky’amanyi okuba nga ge mazima kyanditegeezezza okufiirwa obulamu obutaggwaawo bo bombi. Naye singa asigala nga munywevu mu kukkiriza kwe, ayinza okumuyamba okufuna obulokozi. (1 Abakkolinso 7:10-16; 1 Peetero 3:1, 2) Ate era, nga yeeyongera okussa ekitiibwa mu birayiro by’obufumbo, wadde wansi w’obuzibu, alaga nga bw’assa ekitiibwa eky’amaanyi mu oyo Eyatandikawo obufumbo, Yakuwa Katonda.
25. Okusalawo kw’omuzadde kukwata kutya ku bulamu bw’abaana obw’omu maaso?
25 Ensonga endala ey’amaanyi eri omuzadde omukkiriza okunywerera ku Katonda ng’ayolekedde okuziyizibwa be baana. Katonda akakasa nti abaana abato ab’abaweereza be abanywevu bajja kukuumibwa okuyita mu ‘kibonyoobonyo ekinene’ ekijja. Ne bwe kiba nti omuzadde omu yekka ye muweereza wa Yakuwa, Abala abaana abato ng’abo nga “balongoofu.” (1 Abakkolinso 7:14) Naye singa omuzadde aba wa ‘kwebalama’ okukola Katonda by’ayagala, kiki olwo? Omuzadde ng’oyo yandibadde asudde embeera ey’okuba asiimibwa mu maaso ga Katonda si ku lulwe yekka naye era ne ku lw’abaana abato. (Abaebbulaniya 12:25) Nga kwandibadde kufiirwa kwa maanyi!
26. Okweyisa mu ngeri ey’omuganyulo gwennyini gye tuli era n’eri abalala, twetaaga kukola ki?
26 Olwo, k’ebeere mbeera ki ey’obulamu gye tulowoozako, kya lwatu nti tetwetaaga kwerowoozako ffekka naye ne ku balala. Tujja kufuna okwagala singa twemanyiiza okulaga okwagala eri abalala. (Lukka 6:38) Naye okulaga okwagala okw’amazima era ne tutakyamizibwa ndowooza y’abantu erengera okumpi, twetaaga okutegeera Yakuwa era n’okunyumirwa enkolagana ennungi naye. Naye nno, ffe okukola bwe tutyo kitwaliramu okusalawo kwe tuteekwa okutuukako ffe ffennyini.
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 171]
Engeri y’okwagala abaweereza ba Yakuwa kwe bateekwa okuba nakwo ebawaliriza okulaga okufaayo okw’amazima eri abalala ka babeere ba langi ki, eggwanga, oba mbeera ki mu bulamu