Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okussa Ekitiibwa mu Kirabo ky’Obulamu

Okussa Ekitiibwa mu Kirabo ky’Obulamu

Essuula 14

Okussa Ekitiibwa mu Kirabo ky’Obulamu

1, 2. Lwaki tusaanidde okussa ennyo ekitiibwa mu kirabo ky’obulamu?

OKUSSA ennyo ekitiibwa mu kirabo ky’obulamu gwe musingi gw’emirembe n’obutebenkevu eby’amazima. Naye eky’ennaku, okussaamu ekitiibwa ng’okwo tekuliiwo ennaku zino. Abantu bafuuse bakugu mu kuggyawo obulamu, naye tewali n’omu ku bo ayinza okuzzaawo obulamu nga bumaze okuva­awo.

2 Okussa ekitiibwa mu bulamu kya buvunaanyizibwa butukuvu eri Omugabi w’obulamu, Yakuwa Katonda. Oyo omuwandiisi wa zabbuli yamwogerako nti: “W’oli we wali oluzzi olw’obulamu.” (Zabbuli 36:9) Obulamu bwaffe buliwo ku lwa Katonda, si lwa kuba kyokka nti ye yatonda omuntu naye era olw’okuba akkirizza omuntu okweyongera okubaawo okutuusa kaakano era assizzawo ebyeyambisibwa okukuuma obulamu. (Ebikolwa 14:16, 17) N’okusinga ku ekyo, yakitegeka Omwana we okufuuka Omununuzi, oba Omulokozi, w’olulyo lw’abantu, ng’abugula n’omusaayi gw’obulamu bwe. (Abaruumi 5:6-8; Abaefeso 1:7) N’ekivudde mu ekyo, kaakano atuusizza eri bonna abanakkiriza omukisa ogw’okuba abalamu emirembe gyonna mu Nteekateeka ye Empya ey’Obutuukirivu. Okusinziira ku ebyo byonna, tuyinza tutya okulaga ekitiibwa n’okusiima kwaffe okw’amaanyi eri ekirabo kya Katonda eky’obu­lamu?

3. Okutunuulira ettemu olw’okwesanyusa kikola ki ku ndowooza y’omuntu eri obulamu?

3 Kale, bwe tuba ddala twagala okulaga nga bwe tussaamu obulamu ekitiibwa, tetujja kwegatta n’abo, olw’okwagala okwesanyusa, abaliisa ebirowoozo byabwe n’eby’amasanyu ebirimu ettemu. Okukkiriza ettemu nga “eky’okwesanyusa” kireetedde bangi okuguba era obutalumwa eri okubonaabona kw’abantu era n’okufiirwa obulamu. Naye singa tusiima obulungi bwa Katonda n’essuubi ly’awa, tujja tuziyiza omwoyo ng’ogwo. Tujja kufuna okusiima eri obulamu ng’ekirabo ekiva eri Katonda. Kino kijja kukwata ku ngeri gye tukozesaamu obulamu bwaffe, engeri gye tuyisaamu abantu abalala, wadde n’engeri gye tulabamu abo abatannazaalibwa.

Okussaamu Ekitiibwa Obulamu bw’Abatannazaalibwa

4. (a) Obulamu buweebwa ddi eri ezzadde ly’omuntu? (b) Kiki ekiraga obanga Katonda afaayo eri obulamu bw’omuntu nga tannazaalibwa?

4 Obusobozi bw’obulamu okusikiraŋŋanwa nkizo ya maanyi ddala, eyava eri Katonda. Obulamu obwo busikirwa, si mu kiseera kya kuzaalibwa, naye eky’okutondebwa kw’olubuto. Nga Encyclopædia Britannica bwe kitegeeza nti, awo “ebyafaayo by’obulamu bw’omuntu, ng’ekitonde kyennyini ekyawufu, we bitandikira.” Era kigamba nti: “Omuntu omuggya atondebwa ebyo ebiri mu maanyi g’omusajja bwe byegatta n’ebyo ebiri mu ggi ly’omukazi.”60 Mu ngeri y’emu, Okufaayo kwa Katonda eri obulamu bw’omuntu kutandika nga tannaba kuzaalibwa. Omuwandiisi wa zabbuli Dawudi yawandiika, ng’ayogera eri Katonda nti: “Wambikkako mu lubuto lwa mmange. . . . Amaaso go gaalaba omubiri gwange nga tegunnatuukirira, ne mu kitabo kyo ebitundu byange byonna ne biwandiikibwa.”—Zabbuli 139:13-16; Omubuulizi 11:5.

5. Lwaki enkayaana eziteekebwawo mu kugezaako okuwolereza okuggyamu embuto si ntuufu?

5 Buli mwaka obukadde n’obukadde bw’obulamu bw’abaana abatannazaalibwa buzikirizibwa obugenderevu mu kuggyamu embuto. Kino kituufu okukola? Abamu bakaayana nti omwana atannazaalibwa taliiko ky’amanyi ku by’obulamu era tasobola kubeerawo ebweru w’olubuto. Naye nno era bwe kityo bwe kiba n’eri omwana eyaakazaalibwa. Mu kuzaalibwa tabaako na kutegeera kwonna ku bikwata ku makulu g’obulamu, wadde okusobola okweyongera okuba omulamu awatali kulabirirwa okwa buli kaseera. Akatofaali akazimba obulamu akajjawo mu kiseera olubuto we lutonderwa kafuuka omwana ng’oyo singa kaba tekatawaanyiziddwa. Bwe kityo bwe kiba nti okuggyawo obulamu bw’omwana eyaakazaalibwa kitwalibwa ng’eky’obumenyi bw’amateeka kumpi buli wantu, era nga kaweefube ow’amaanyi akolebwa okuwonya wadde abaana abasowole, lwaki olwo, era tekiba kya bumenyi bw’amateeka okuzikiriza obulamu bw’omwana atannazaalibwa? Lwaki obulamu bwanditwaliddwa ng’obutukuvu oluvannyuma lw’okuva mu lubuto naye sso ssi nga bukyali munda mu lubuto?

6. Baibuli eraga etya endowooza ya Katonda eri okuggyawo obulamu bw’omwana atannazaalibwa mu bugenderevu?

6 Ekintu ekikulu si ye ngeri abantu gye balabamu ensonga wabula ekyo Katonda, Omugabi w’Obulamu, ky’agamba. Eri Yakuwa obulamu bw’omwana atannazaalibwa bwa muwendo, si bwa kuzannyisa. Yawa Abaisiraeri ab’edda etteeka eryaliwo olw’okukuuma obulamu obwo. Singa, mu kulwanagana wakati w’abasajja babiri, omukazi ow’olubuto yalumizibwa oba olubuto lwavaamu, etteeka lino lyassaawo ebibonerezo bya maanyi. (Okuva 21:22, 23) Okumalawo obulamu bw’omwana atannazaalibwa mu bugenderevu kyandisinzewo n’okuba eky’amaanyi. Okusinziira ku tteeka lya Katonda, omuntu yenna mu bugenderevu eyamalawo obulamu bw’omuntu yali wa kusalibwanga omusango gwa kufa ng’omutemu. (Okubala 35:30, 31) Katonda leero akyatwala obulamu mu ngeri y’emu eyo eya waggulu.

7. Tukuumibwa mu biki bwe tussa ekitiibwa mu Katonda ky’ayagala ku bikwata ku bulamu bw’omwana atannazaalibwa?

7 Okussaamu ennyo ekitiibwa mu ekyo Katonda ky’ayagala mu bikwata ku bulamu bw’omwana atannazaalibwa kuvaamu emiganyulo egy’amaanyi. Olw’okuba nti avunaana abazadde olw’obulamu obwo, Yakuwa aba aziyiza obukaba n’ebyo byonna ebibi ebibuvaamu. Bino bitwaliramu endwadde ezisaasaanira mu bukaba, embuto eziteetaagibwa, abaana abatazaaliddwa mu bufumbo, okusasika kw’amaka, n’obulumi bw’ebirowoozo olw’omuntu ow’omunda atali mulongoofu. Bwe kityo, okussa ekitiibwa mu bulamu kuyinza okwongera emirembe mu maka kaakano era kikulu nnyo mu kufuna emikisa egy’omu biseera eby’omu maaso.

Okussa Ekitiibwa mu Bulamu Bwo Wennyini

8. Lwaki tusaanidde okussa ekitiibwa mu Katonda ky’ayagala ku bikwata ku ngeri gye tuyisaamu emibiri gyaffe?

8 Ate kiri kitya ku ngeri gye tukozesaamu obulamu bwaffe bwennyini? Abantu bangi bagamba nti: ‘Saasaba kuzaalibwa. N’olwekyo kye nkola n’obulamu bwange kiri gye ndi. Nja kukola kyonna kye njagala.’ Naye ekirabo kiteekwa kusabibwa olwo akifunye alyoke akisiime? Obulamu bwennyini tewali kukibuusabuusa bulungi. Obutali butuukirivu bw’obuntu n’obwonoonyi bye binyagako obulamu essanyu lyabwo erisinga obunene. Yakuwa Katonda si ye anenyezebwa olwa kino. Era asuubiza okutereeza kino ng’akozesa gavumenti ye ey’Obwakabaka. N’olwekyo tusaanidde okutambuza obulamu bw’atuwadde mu ngeri eraga okussaamu ekitiibwa eri by’ayagala n’ekigendererwa kye.—Abaruumi 12:1.

9. Baibuli eyogera ki ku buluvu n’obutamiivu?

9 Emu ku ngeri gye tuyinza okulagamu okusiima okwo kwe kwegerera mu by’okulya n’eby’okunywa. Obuluvu n’obutamiivu bivumirirwa Katonda. (Engero 23:20, 21) Era, ng’okulya okw’ekigero bwe kiri ekisaanidde n’okukozesa ebitamiiza okw’ekigero bwe kuli. Kino kiragibwa mu byawandiikibwa bingi.—Ekyamateeka 14:26; Isaaya 25:6; Lukka 7:33, 34; 1 Timoseewo 5:23.

10. (a) Omutamiivu alaga atya obutassaamu kitiibwa obulamu? (b) Nga bwe kiragibwa mu 1 Abakkolinso 6:9, 10, lwaki kikulu okwewala obutamiivu?

10 Bwe kityo okunywa si kwe kuvumirirwa mu Baibuli. Naye okuyitiriza ebitamiiza. Era lwa nsonga nnungi, kubanga kwonoona omubiri, kuleetera abanywi okukola eby’obusiru era kuyinza n’okubafuula ab’akabi eri abaalala. (Engero 23:29-35; Abaefeso 5:18) Mu Amereka mwokka, abantu ng’obukadde 10 balina ekizibu ky’okwekamirira emyenge, ekimu ku bivaamu ne kibeera okufa kw’abantu abasukka mu 30,000 buli mwaka olw’endwadde y’ekibumba. Akakiiko k’Eggwanga akakola ku by’Okwekamirira Emyenge kagamba nti: “Omuwendo gwonna awamu ogw’ensimbi eggwanga ze lifiirwa omwaka guli kumpi obukadde bwa ddoola 43,000 olw’okubulawo ku mirimu, olw’emirimu egy’okulabirira obulamu n’embeera z’abantu, olw’ebintu ebyonoonebwa n’olw’ensimbi ezisaasaanira ku bujjanjabi. . . . Ku bubenje bwonna obw’akabi obugwaawo ku nguudo ennaku zino, obubenje 50 ku buli 100 bubaawo lwa butamiivu. Abafa omuliro abasukka mu 80%, abafa amazzi 65%, obubenje bw’omu maka 22%, okwekuba ebigwo 77%, obubenje bw’abatambuza ebigere 36% ne 55% ku buli bakwatibwa bikwatakaganyizibwa n’okukozesebwa kw’emyenge. Ennyonyi ezituukibwako obubenje, abavuzi baazo nga 44% baba babadde banywa. Enneeyisa ey’akabi eri obulamu eva mu kukozesa emyenge esibukako nga 65% ku buli butemu, obulumbi 40%, okukwatibwa kw’abakazi 35%, n’ebikolwa eby’obugwenyufu ebirala 30%, 30% ku buli bantu abetta bokka, 55% ku buli kulwana oba okukubagana okubaawo mu maka era ne 60% ku buli gayisa agabi agakolebwa ku bwana obuto.”61 Okufiirwa okubaawo olw’amaka agasasika, obulamu okwonoonebwa, n’okubonaabona kw’abantu kusukkirivu ddala. Bwe kityo tekyewunnyisa okuba nti Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Temulimbibwanga: newakubadde abakaba, . . . newakubadde abatamiivu, newakubadde abavumi, newakubadde abanyazi, tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.”—1 Abakkolinso 6:9, 10.

11. Kya magezi okugezaako okudduka ebizibu ng’onywa ekiyitiridde?

11 Kya mazima, abamu bawulira ddala okunakuwazibwa okuleetebwa embeera y’ensi. Entalo zaayo, obumenyi bw’amateeka, okwewanika kw’emiwendo, obwavu, era n’okuzitoowererwa n’okunyigirizibwa kwayo byongera ku bizibu by’omuntu. Naye tewali kigobololwa mu kugezaako okubidduka ng’oyitira mu kunywa okuyitiridde okulumya obulumya. Kuno kwongera bwongezi kukuleetera bizibu ebirala gwe kennyini era n’abalala era olw’ekyo, kumalawo ekitiibwa ky’omuntu, ekigendererwa mu bulamu n’enkolagana y’omuntu ne Katonda.

Okukozesa Amalagala

12. Lwaki abantu bangi bakyukira amalagala?

12 Mu kugezaako okudduka ebizibu by’omu bulamu, abantu bangi bakyukidde amalagala agatabangula ebirowoozo by’omuntu. Abakozesa amalagala ng’ago mu kifo ky’okulaba ebiriwo babeera ng’abali mu kirooto oba mu mbeera ey’okuwaanyisibwa kw’ebirowoozo byabwe. Bangi bakozesa amalagala ag’amaanyi nga heroin ne cocaine. Abamu beekamirira amalagala agatali gamu mu ngeri y’obukerenda. Obulamu bwabwe bukwatibwako butya?

13. Biki agamu ku malagala gano bye gakola ku oyo agakozesa, era Baibuli etulabula etya ku bino?

13 Okukozesa kwabwe okw’amalagala gano kubaleetera mangu obutasobola kwefuga, ne kuleetawo embeera ezifaanana ku ezo ezirabibwa mu muntu omutamiivu. (Engero 23:29-34) Era kimanyiddwa eri abasinga obungi nti amalagala gano gayinza okuba ag’akabi. Ng’ekyokulabirako, mu kibuga ky’e New York, okwekamirira enjaga kwe kusinga okuviirako okufa mu bantu wakati w’emyaka 18 ne 35. Nga kuno kujaajaamya kwa maanyi nnyo eri ekirabo ky’obulamu!

14, 15. Lwaki abo abanywa marijuana baba tebassaamu kitiibwa ekirabo ky’obulamu?

14 Naye kiri kitya ku kukozesebwa kw’enjaga eyitibwa marijuana? Nayo eyinza okuba ey’akabi mu ngeri ez’enjawulo. Abakozesa marijuana batera okufuna amalagala amalala agasingako obukambwe okuyitira mu kukolagana n’abagatunda era n’abagakozesa abalala. Era, bangi abatandise okwesigama ku yo, nga balowooza nti ejja kubateewuluza okuva mu kuzitoowererwa n’obunyiikavu, balabika nga bajja kugenda ku malagala agasingako amaanyi.

15 Naye wadde ng’ekyo tekibaddewo, okunywa marijuana kya kabi. Alimu ebirwaza kookolo bingi okusinga ebiri mu sigala, era ayonoona nnyo amawuggwe. Okweyongera okumukozesa kuyinza okuleetera ekibumba okwonooneka, obukyamu mu kukula kw’omuntu, n’obwongo okwonooneka. Ekitongole ky’omu Canada Ekinoonyereza mu by’Okwekamirira kigamba nti marijuana “ddagala lya maanyi nnyo eririna obw’akabi obutali bumu eri obulamu.”62 Omukugu mu by’amalagala yagamba nti: “Marijuana ddagala lya kabi nnyo. Mu myaka egisukka mu 10 egiyiseewo empapula nga 10,000 zifulumiziddwa aba sayansi eziraga akabi akabaawo eri obulamu.” Yeetegereza “akabi akanene ak’amaanyi ennyo mu bavubuka okugezaako okujjukira,” mu kuba nti kinafuya obusobozi bw’okujjukira n’obusobozi bw’okussaayo omwoyo. Ku bikwata ku oyo akozesa marijuana, yagamba nti: “Tasobola kuvuga mmotoka bulungi oba okukozesa tayipu. Okumukozesa ennyo kuleeta akabi ak’amaanyi akasingawo eri obusobozi bw’omubiri obw’okulwanyisa endwadde.”63 Abakyala abanywa marijuana nga bali mbuto baba mu kabi akanene ak’okuzaala abaana abayonooneddwa obwongo. Okusinziira ku bino byonna, kiyinza okugambibwa nti okukozesa marijuana kulaga okussaamu ekitiibwa eri ekirabo ky’obulamu?

16. Kabi ki akalala ak’amaanyi okukozesa amalagala ke kuyinza okuteekamu omuntu, era kino kyandikoze kitya ku ndowooza yaffe ku nsonga eno?

16 Waliwo ensonga endala ey’amaanyi okwewala okukozesa amalagala. Gayinza okuleeta omuntu okuba wansi w’obuyinza bwa balubaale. Okukwataganya amalagala n’eby’obusamize kuno si kintu kiggya n’akatono. Abalogo mu biseera eby’edda baakozesanga amalagala. Ex­pos­i­tory Dic­tio­nary of New Tes­ta­ment ­Words eya Vine yeetegereza nti: “Mu bulogo, okukozesa amalagala, ka gabe manafu oba ga maanyi, kwegattibwangako okukozesa ensiriba n’okusamira balubaale.” ­Okunnyonnyola kuno kwakolebwa ku bikwata ku kigambo ky’Oluyonaani ekikyusiddwa nga “okuloga” (phar·ma·kiʹa, okukyusa obutereevu “okukozesa amalagala”) mu Baggalatiya 5:20. (Laba era Okubikkulirwa 9:21; 18:23.) Bwe kityo amalagala gayinza okusuula omuntu mu maanyi ga balubaale. Omuntu assa ekitiibwa mu Oyo Eyamuwa Obulamu ayinza atya okwessa mu kabi ako olw’okukyusako ku ngeri gye yeewuliramu okumala akaseera obuseera?

17, 18. (a) Bibala ki ebirala ebibi ebikwataganyizibwa n’okukozesa amalagala? (b) Bwe kityo, abajulirwa ba Yakuwa Abakristaayo balaba batya eky’okukozesa amalagala?

17 Kimanyiddwa bulungi nti okukozesa amalagala kugendera wamu n’obumenyi bw’amateeka era n’okwonooneka kw’empisa mu bantu. Okutunda amalagala okutakkirizibwa ye nsibuko enkulu ey’enfuna eri ebibiina by’obumenyi bw’amateeka ebitegeke. Abeekamirira amalagala bangi babba olw’okuyimirizaawo omuze gwabwe. Abalala bakyukira obwamalaaya. Amaka gasasika omu ku bo bwe yeesigamya obulamu bwe ku kugeekamirira. Bamaama abali embuto basiiga abaana baabwe obutamiivu bw’eddagala, oluusi abafa nga bayita mu bulumi obw’okugavaako. Era mu nsi nnyingi okuba n’amalagala ng’ago era n’okugakozesa olw’ensonga endala ezitali za kujjanjaba kimenya mateeka.—Matayo 22:17-21.

18 Ggwe oyagala okwetaba mu muze oguliko ebibala ebibi ng’ebyo byonna? Abajulirwa ba Yakuwa bo tebaagala! Tebaagala kwetaba mu kukozesa malagala olw’okwesanyusa oba okusumattuka ebiriwo. Bassa ekitiibwa kinene mu bulamu era baagala okubukozesa mu ngeri etuukagana ne Katonda by’ayagala.

Okukozesa Taaba n’Ebirala eby’Engeri Eyo

19. Lwaki okussaamu ekitiibwa ekirabo ky’obulamu kukwata ku ndowooza y’omuntu eri okukozesa taaba, betel nut, n’ebikoola bya coca?

19 Ekisinga okulabika ennyo ennaku zino kwe kukozesa taaba era, mu nsi ezimu, betel nut n’ebikoola bya coca. Buli kimu ku bino kyonoona omubiri era, oluusi, n’ebirowoozo. Gavumenti zirabudde ku ndwadde ezikwataganyizibwa ne taaba nga kookolo w’amawuggwe, endwadde z’omutima, olufuba, n’okunaanuka kw’amawuggwe. Kiba kiraga okussaamu ekitiibwa eri ekirabo ky’obulamu okukozesa ebintu ng’ebyo ebizibu okulekayo era eby’akabi?

20, 21. (a) Okuba nti Baibuli tevumirira mize ng’egyo ng’egimenya amannya kitegeeza nti mituufu? (b) Misingi ki egya Baibuli egiraga nti emize ng’egyo tegirina kifo mu bulamu bw’omuweereza wa Katonda?

20 Omuntu omu ayinza okugamba nti ebintu bino byonna bitonde bya Katonda. Kya mazima, naye era n’obutiko. Kyokka ebika ebimu bitta singa biba biriiriddwa. Omulala ayinza okugamba nti Baibuli tevumirira butereevu mize ng’egyo. Nedda, naye, nga bwe tulabye waliwo ebintu bingi ebitavumirirwa buteerevu mu Baibuli naye nga kya lwatu nti bikyamu. Baibuli teriiko w’egaanira kukozesa oluggya lwa muliraanwa wo okufukamu ebisasiro. Naye ekiragiro kyayo ekya ‘okwagala muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka’ kyandibadde kitumala okutegeera nga bwe kyandibadde ekikyamu. Mu ngeri y’emu, okunywa taaba kulaga obutaba na kwagala, olw’okuba omukka guyinza okukola abalala obubi era guyinza n’okwonoona obulamu bwabwe.—Matayo 22:39.

21 Mu 2 Abakkolinso 7:1 Ekigambo kya Katonda kitugamba ‘okwenaazako obugwagwa bwonna obw’omubiri n’obw’omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.’ Ekintu okubeera ‘ekitukuvu’ kiba kirina okuba “ekiyonjo, nga tekiriiko bbala, ekitaliiko bwonoonefu.” Yakuwa yeekuuma nga muyonjo okuva ku bwonoonefu, nga teyessa wansi okweyisa mu ngeri etali ntukuvu. Ng’era kye kisaanidde, atusuubira okweyongera ‘okutuukirizanga obutukuvu’ ku ddaala erisoboka eri abantu. (Abaruumi 12:1) Era, atusuubira ‘okumwagala n’omutima gwaffe gwonna, emmeeme, ebirowoozo, n’amaanyi gaffe gonna,’ Naye omuntu ayinza atya okukola kino singa yeevuluga mu mize egyonoona omubiri gwe, egyonoona obulamu bwe, era egikendeeza ku bulamu bwe?—Makko 12:29, 30.

22. Kiki ekiyinza okusobozesa omuntu okwesumattula okuva ku muze omubi oguyinza okuba nga gumukkute?

22 Newakubadde ng’ogumu ku mize ng’egyo guyinza okufaanana ng’ogwekwatidde ddala ku muntu, asobola okuguvvuunuka n’afuna eddembe. Okutegeera Katonda era n’ebigendererwa bye kuwa okukubirizibwa okw’amaanyi okukola ekyo. Omuntu ayinza ‘okufuulibwa omuggya mu mwoyo ogw’ebirowoozo bye.’ (Abaefeso 4:23) Kino kijja kumuggulirawo ekkubo eriggya ery’obulamu erireeta okumatira eri omuntu era eriweesa Katonda ekitiibwa.

Okussa Ekitiibwa mu Bulamu nga bwe Bwolesebwa Omusaayi

23. (a) Kukozesebwa ki kwokka okw’omusaayi Katonda kwe yali akkiriza mu mateeka ge eri Isiraeri? (b) Lwaki amakulu ga ssaddaaka ezo gandituleetedde okulowooza n’obwegendereza ku Katonda ky’ayagala ku nsonga eno?

23 Omusaayi gwaffe, nagwo, gusaana okulowoozebwako bwe twogera ku bulamu. Katonda alonze byombi omusaayi gw’abantu n’ogw’ensolo ng’akabonero k’obulamu. Kino kirabikira mu tteeka lye yawa Nuuwa era n’oluvannyuma eggwanga lya Isiraeri. Okukozesebwa kw’omusaayi kwokka okwali kukkirizibwa kwali mu ssaddaaka. (Olubereberye 9:3, 4; Eby’Abaleevi 17:10-14) Ssaddaaka ezo zonna zaali ziraga ssaddaaka emu eya Yesu, mwe yayiira omusaayi gw’obulamu bwe ku lw’abantu. (Abaebbulaniya 9:11-14) Kino ku bwakyo kyandituleetedde okwetegereza ennyo Katonda by’ayagala mu nsonga eno.

24. Ebikolwa 15:28, 29 wagamba ki ku ndowooza Abakristaayo gye basaanidde okuba nayo ku bikwata ku kukozesa omusaayi?

24 Okuziyiza kwa Katonda ku bikwata ku kukozesebwa kw’omusaayi kukyali mu nkola eri Abakristaayo ab’amazima? Yee, nga bwe kiragibwa n’ekiwandiiko ekitongole ekyakolebwa abatume n’abakadde abalala ab’omu kibiina Ekikristaayo eky’omu kyasa ekyasooka. Nga balagirirwa omwoyo gwa Katonda, baawandika nti: “Omwoyo omutukuvu yasiima naffe tuleme okubatikka omugugu omunene gwonna wabula bino ebigwana, okwewalanga ebiweebwa eri ebifaananyi, n’omusaayi n’ebitugiddwa [bwe kityo, ebitaggiddwamu musaayi] n’obwenzi: bwe muneekuumanga ebyo, munaabanga bulungi.”—Ebikolwa 15:28, 29.

25. Mu bikolwa bya ngeri ki ensi mw’eragira obutafaayo eri Katonda ky’ayagala ku bikwata ku kukosesebwa kw’omusaayi?

25 Abantu bangi tebafaayo ku Katonda ky’ayagala ku bikwata ku musaayi. Bagukozesa mu mmere, mu kujjanjaba, era wadde ne mu bintu ebitundibwa. Naye kino tekyanditwewuunyisizza, okuva ensi bw’eraga okufaayo kutono eri ekirabo ky’obulamu bwennyini. Kyokka, bwe tuba tusiima obulamu n’obuvunaanyizibwa bwe tulina eri Katonda, tetujja kulagajjalira by’ayagala oba okumujooga nga tumenya amateeka ge.

26, 27. Lwaki okugezaako okukuuma obulamu bw’omuntu obwa kaakano mu kujeemera Katonda tekulaga kumussaamu kitiibwa?

26 Bwe kityo, newakubadde tusaanidde okufaayo ennyo ku bulamu bwaffe era nga tunoonya okukuuma obulamu bwaffe, waliwo bye tulina okwegendereza. Yesu kino yakiraga bulungi bwe yagamba nti: “Ayagala obulamu bwe bumubula; naye akyawa obulamu bwe mu nsi eno alibusigaza okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.”—Yokaana 12:25.

27 Bwe kiba nti kulondawo okwolekera okufa olw’okugondera Katonda oba okumujeemera okwewala okufa, omuweereza wa Katonda ajja kulondawo okufa okusinga okujeema. Mu kujeemera Katonda, Yesu yandisobodde okuwona okufa. Naye teyakikola. Era n’abantu abaaliwo emabega nga ye tannajja baalaga okwemalira ku Katonda kwe kumu okutajjulukuka. (Matayo 26:38, 39, 51-54; Abaebbulaniya 11:32-38) Tebakkiriza obulamu bwabwe obw’omu kiseera ekyo okubalobera okuba nti basaanira obulamu obutaggwaawo.

28. Mu kukulaakulanya okusiima eri endowooza ya Baibuli ku bulamu, tuba tweteekerateekera ki?

28 Ggwe naawe bw’otyo bw’otwalamu obulamu? Okitegeera nti obulamu okuba n’amakulu gennyini, oteekwa okubutambuliramu mu ngeri etuukagana ne Katonda by’ayagala? Okufuna endowooza eyo kye kimu ku ebyo eby’okweteekerateekera obulamu mu Nteekateeka ya Katonda Empya. Mu kiseera ekyo, nga tujja kuwulira obutebenkevu n’emirembe buli wonna era buli kiseera, nga tumanyi nti abo bonna abali ku nsi balaga ekitiibwa eky’amazima eri ekirabo kya Katonda eky’obulamu!

[Ebibuuzo]