Okuzikirizibwa kw’Ensi Kwe Kusooka—Emirembe mu Nsi ne Giryoka Gibaawo
Essuula 4
Okuzikirizibwa kw’Ensi Kwe Kusooka—Emirembe mu Nsi ne Giryoka Gibaawo
1-3. (a) Okuzikirizibwa kw’ensi abakulembeze b’ensi kwe boogerako kwe kuluwa? (b) Lwaki okwo si kwekwo Baibuli kw’eyogerako ng’okuzikirizibwa kw’ensi okunaakubira ekkubo emirembe n’obutebenkevu eby’enkalakkalira?
OKUSINZIIRA ku bunnabbi bwa Baibuli, abantu nga tebannasobola kunyumirwa emirembe egy’olubeerera, wateekwa okusooka okubaawo okuzikirizibwa kw’ensi. (2 Peetero 3:5-7) Naye lwaki ekyo kyetaagisa? Okuzikirizibwa okwo kuva wa? Era kutegeeza ki eri abantu abali ku nsi eno etuulibwamu?
2 Okusooka tulina okutegeera nti okuzikirizibwa kw’ensi Baibuli kw’eyogerako si kye kimu n’akatyabaga k’ensi yonna abakulembeze b’ensi, abasayansi, n’abalala ke balabulako. Akatyabaga ke boogerako kandizze mu ngeri y’omutawaana ogw’amaanyi ogukoleddwa omuntu oguleeteddwa ebintu nga okwonoonebwa kw’embeera, oba okuvuganya mu kutuuma eby’okulwanyisa nnamuzisa, oba bino byombi. Naye, kya lwatu nga akatyabaga ng’ako tekandireesewo ssuubi ery’emirembe n’obutebenkevu eby’enkalakkalira ku nsi eno etuulibwamu.
3 Ensi yandibadde eyonooneddwa okubeerako ebitonde ebiramu. Ng’ekyokulabirako, amaanyi agava mu binnamuzisa oba “eby’oluvannyuma nnamuzisa” ebisuubirwa okubaawo tebyandirese bantu bawonye kuba nti bali mu mbeera esingako obulungi—bw’eteba mbi n’okusinga—ey’abo
ababa bafudde. Okuwonawo kwandibadde kwesigama ku mukisa bukisa, wadde ng’abaavu balabika nga bandibadde mu abo abasooka okubonaabona. Ssuubi ki ggwe lye wandibadde nalyo okuba omu ku abo abawonawo ku katyabaga ng’ako? Ne bwe kiba nti wandiwonyewo, ssuubi ki eryandibaddewo nti obulamu tebwandizzeyo mu mbeera y’emu ey’omutawaana eriwo leero?Baibuli ky’Eragula Kiwa Essuubi
4. Baani abanaazikirizibwa mu kuzikirizibwa kw’ensi Baibuli kw’eyogerako?
4 Ekifuula okuzikirizibwa kw’ensi Baibuli kw’eragula okw’enjawulo kwe kuba nti kujja kuba kwa kulondamu, kwa kigendererwa. Tekujja kuba mutawaana ogw’amaanyi ogujja ng’entikko y’ebisobyo ebikoleddwa abantu. Mu kifo ky’okumala galeeta okufa eri buli muntu, kujja kusaanyawo okuva ku nsi abo bokka ddala abasaanira okuzikirizibwa. Okuzikirizibwa kw’ensi okw’engeri eno kutuukagana n’omusingi gwa Katonda oguli mu Engero 2:21, 22: “Kubanga abagolokofu banaabeeranga mu nsi, n’abo abatuukirira balisigala omwo. Naye ababi balimalibwawo okuva mu nsi, n’abo abasala enkwe balisimbulirwamu ddala.”
5, 6. (a) Kiki ekinaatuuka ku nsi etuulibwamu mu kuzikirizibwa kw’ensi okwo? (b) Mu ngeri eno, kinaaba kitya “ng’ennaku za Nuuwa bwe zaali”?
5 Olwo, kiki ekinaazikirizibwa? Bangi balowooza nti Baibuli eragula okwokera ddala Ensi etuulibwamu na buli kintu ekiriko. Naye kino si bwe kiri. Yesu Kristo kennyini yagamba nti: “Balina omukisa abateefu: kubanga abo balisikira ensi.” (Matayo 5:5) Ddala ‘obusika’ obwo si bwa kuba ekintu eky’ekisiriiza okutali bulamu, ekisirisse! Baibuli era ewa obukakafu bwennyini obwa Katonda nti ensi ejja kusigalawo emirembe gyonna ng’ekifo ky’okubeeramu abantu.—Zabbuli 104:5; Isaaya 45:18; Matayo 6:9, 10.
Matayo 24:21, 37; 2 Peetero 2:5, 9; Okubikkulirwa 7:9, 10, 13, 14.
6 Nga kituukagana na kino, Baibuli eyogera ku banaawonawo abanaasigala ku nsi oluvannyuma lwa “ekibonyoobonyo ekinene” ekyo nga kiwedde. Yesu Kristo yagamba nti “ng’ennaku za Nuuwa bwe zaali, bwe kutyo bwe kuliba okujja kw’Omwana w’omuntu.” Okuzikirizibwa kw’ensi bwe kwabaawo mu biseera bya Nuuwa era waaliwo abaawona.—7. Kiki ekinaatuuka ku nkomerero yaakyo mu kiseera ekyo?
7 Kiki ekinaazikirizibwa? Ze mbeera z’ebintu okwetooloola ensi abantu ze bataddewo ku nsi—awamu n’abo bonna abaziwagira mu kifo ky’okukyukira Katonda n’obufuzi bwe obwasuubizibwa obw’okufuga ensi. (Zabbuli 73:27, 28) Eyo ye nsonga lwaki ebigambo “enkomerero y’ensi,” ebisangibwa mu nkyusa za Baibuli ezimu, mu Baibuli endala bikyusibwa mu ngeri esingako obutuufu nga “enkomerero y’omulembe” (NE), “amavannyuma g’omulembe” (Ro), “amavannyuma g’embeera z’ebintu” (NW).—Matayo 24:3.
8. (a) Okuzikirizibwa kunaava ku nsibuko ki? (b) Kino kiteekwa okubaawo ng’embeera z’ensi eziriwo tezinnatuuka ku mbeera ki?
8 Ensibuko y’okuzikirizibwa kw’ensi okugenda okujja tejja kuba—bantu—naye Yakuwa Katonda. Emitawaana egy’ennaku zino egy’okwonoonebwa kw’embeera, enjala, entiisa y’olutalo nnamuzisa, n’ebiri ng’ebyo ebivudde mu butamanya bw’abantu, okusobya n’obutakuuma mitindo gya mpisa si bye binaaleeta okuzikiriza. Mu butuufu, bino bukakafu obw’okwerowoozako n’okulemererwa ddala okw’embeera z’ensi eziriwo. Biwa Yakuwa Katonda ensonga entuufu kw’asinziira okumalirawo ddala embeera zino. Asuubiza okukola kino ng’ensi nga bw’eri tennatuuka ku mbeera ey’okugwa yokka oba okwezikiriza yokka ku bwayo. (Okubikkulirwa 11:17, 18) Naye ekikolwa eky’amaanyi bwe kityo ddala lye kkubo lyokka?
Ensonga Lwaki Embeera Zino Ziteekwa Okuvaawo Emirembe egy’Amazima Okujja
9, 10. Ebyafaayo by’abantu biraga bitya nga ekikolwa eky’amaanyi kyetaagibwa okusinga okulongoosa obulongoosa ensi eriwo?
9 Abamu bayinza okulowooza nti Katonda yandikozewo bukozi nkyukakyuka mu mbeera eziriwo, mu kifo ky’okuzizikiriza. Naye Baibuli eraga nti Katonda mu mazima alabira ddala nti zisusse awalongoosebwa.
10 Lowooza ggwe ku bubwo ku nkyukakyuka ennyingi ezikoleddwa abantu mu byasa ebiyiseewo. Lowooza ku bika bya gavumenti ez’enjawulo abantu ze bagunze. Wabaddewo ez’ebibuga ebyefuga byokka, ez’obwakabaka, eziteekeddwako abantu ku lwabwe, ez’obukominisiti n’obwanaakalyako ani, era n’ez’obwanaakyemalira. Jjukira emirundi emeka aba afuga oba gavumenti ebaako bwe bikyusibwa ne waddawo ekiggya—mu kulonda, olw’okumaamulwako, Omubuulizi 1:14, 15.
oba olw’okukyusa engeri y’obufuzi. Kyokka tewabaddewo kigonjooledde ddala ebizibu by’abantu. Wadde n’abantu abeesimbu abagezaako okulongoosa embeera z’abantu beesanga nga kaweefube waabwe alemesebwa embeera z’ebintu bo bennyini mwe bali. Ng’omufuzi ow’amagezi ow’omu biseera eby’edda bwe yakizuula nti, mu kufuba kw’abantu bokka ku lwabwe, “ekikyamye tekiyinzika kuluŋŋamizibwa.”—11-13. (a) Kiki ekiziyiza abantu okukola enkyukakyuka mu mbeera z’ebintu eziriwo ku lw’obulungi bw’abantu bonna? (b) Bwe kityo, obunene bw’enkyukakyuka eyeetaagibwa buyinza kugeraageranyizibwa butya?
11 Ng’ekyokulabirako, ebibuga by’ensi bisaanikiddwa ebizibu. Naye abantu tebayinza kubizimbulula baddemu okubizimba obuto. Kye kimu era ne ku nteekateeka y’eby’enfuna era ey’eby’amakolero ey’ensi. Okwerowoozako ne mwoyo gwa ggwanga bisekeeterera era ne biziyiza enkyukakyuka yonna ey’amazima okubaawo ku lw’obulungi bw’abantu bonna.
12 Bwe kityo embeera z’ebintu zonna awamu ziri ng’ennyumba eyazimbibwa ku musingi omubi, okusinziira ku pulaani embi, era n’ezimbibwa n’ebintu ebyonoonefu. Kigasa ki ebintu by’omu nnyumba okuddamu okutegekebwa oba ennyumba okugiyooyoota? Gy’ekoma okubaawo, ebizibu gye bikoma okweyongera, era ennyumba yeeyongera okwonooneka. Ekintu kyokka eky’amagezi okukola kwe kumenya ennyumba eyo n’okuzimba endala ku musingi omulungi.
13 Yesu Kristo yakozesa ekyokulabirako ekifaananako bwe kityo ng’agamba nti abantu “tebafuka mwenge musu mu nsawo z’amaliba enkadde.” Ensawo enkadde yandiyulise olw’omwenge omusu. (Matayo 9:17) Kyeyava tagezaako kulongoosa nteekateeka z’ebintu ez’Ekiyudaaya mwe yali ali. Wabula, yabuulira Obwakabaka bwa Katonda nga lye ssuubi lyokka ery’emirembe n’obutebenkevu. (Lukka 8:1; 11:2; 12:31) Bwe kityo ne mu kiseera kyaffe Yakuwa Katonda tajja kukyusakyusamu bukyusa ku mbeera z’ebintu eziriwo, kubanga ekyo kyandibadde tekireeta muganyulo ogw’olubeerera.
14. Okuteekawo amateeka amaggya kiyinza okuleetera abantu okwagala obutuukirivu?
14 Ekigambo kya Katonda kiggumiza amazima nti tekisoboka kukakaatika butuukirivu mu mitima gy’abantu. Bwe baba nga tebaagala ekyo ekituufu, tewaliwo ngeri yonna ya kukibakakaatikamu. Mu Isaaya 26:10 tusoma nti: “Omubi ne bwe bamulaga ekisa, era taliyiga butuukirivu: mu nsi ey’obugolokofu mw’anaakoleranga ebitali bya nsonga, so taliraba bukulu bwa [Yakuwa, NW].”—Geraageranya Engero 29:1.
15, 16. Obutaba na kwagala kwa mazima eri obutuukirivu ku ludda lw’abantu bangi kulagibwa kutya mu bikwata ku kugondera Katonda by’ayagala?
15 Amazima gali nti abantu bangi balondawo okusigala n’enteekateeka y’ebintu eno eriwo wadde ng’erina okulemererwa kwayo era n’obubi. Tebaagala kukyukira butuukirivu n’okwewaayo eri obufuzi bwa Katonda. Bayinza okuba nga balaba obubi bw’enteekateeka z’eby’obufuzi ez’ensi eno, obutaliimu obw’entalo zaayo, obunnanfuusi bw’eddiini zaayo, era n’obujulizi obw’enkukunala nti amagezi gaayo ag’okuyiiya ebya sayansi galeesewo ebizibu ebinene okusinga n’ebyo bye gasobodde okumalawo. Naye wadde ebyo biri bwe bityo, bangi balondawo okuwoowootebwa, okulowooza nti byonna biri bulungi, nga kikolebwa abakulembeze b’eddiini n’ab’eby’obufuzi, bo, abaagala embeera okusigala nga bwe ziri. Bali ng’Abaisiraeri Katonda be yayogerako nti: “Bannabbi balagula bya bulimba, ne bakabona bafuga ku lw’abo; n’abantu bange baagala kibeere bwe kityo; era mulikola ki ku nkomerero y’ebyo?”—Yeremiya 5:31; Isaaya 30:12, 13.
16 Wandiba ng’omanyi abantu abalina empisa eziteeka obulamu bwabwe n’obutebenkevu mu kabi era n’obw’ab’omu maka gaabwe. Kyokka baziyiza kaweefube yenna akolebwa okubayamba okukyuka. Naye abantu bwe bagaana okubuulirira n’okulagirira kwa Katonda, kiba kya mutawaana nnyo ddala. Abakola ekyo balaga nga ddala tebaagala mazima na butuukirivu. Ku bali ng’abo Yesu yagamba nti: “Kuba omutima gw’abantu bano gusavuwadde, n’amatu gaabwe gawulira bubi, n’amaaso gaabwe bagazibye; baleme okulaba n’amaaso, n’okuwulira n’amatu, n’okutegeera n’omutima, n’okukyuka, [Katonda n’abawonya].”—17. Bwe kiba nga kya mazima nti Katonda tasanyukira kuleeta okuzikirizibwa eri abantu, lwaki agenda okukikola?
17 Ddala, okugumiikiriza kwa Katonda n’ekisa bibaako we bikoma. Singa si ekyo, okwagala kwe eri abatuukirivu kwandibadde ludda wa? Tayinza kuziba matu eri okwegayirira kwabwe okubayamba okuva mu kubonaabona obubi kwe buleeta ku nsi eno. (Lukka 18:7, 8; Engero 29:2, 16) Bwe kityo, embeera eziriwo zeetaagisa okuzikirizibwa kw’ensi. Ziwaliriza Katonda okubaako ne ky’akola bw’aba ow’okunywerera ku ekyo ekituufu era bw’aba ow’okulaga okusaasira eri abo nabo abaagala ekituufu. Si kugamba nti Katonda asanyukira okuleeta okuzikirizibwa eri abantu. “Nnina essanyu lye nsanyukira okufa kw’omubi? bw’ayogera [Yakuwa, NW] Katonda: naye saagala bwagazi akomewo okuva mu kkubo lye abeere omulamu? . . . kale mwekyuse mube abalamu.”—Ezeekyeri 18:23, 32.
18. Muwendo ki oguteekwa okusasulwa okununula abaagala ekituufu okuva mu butali butebenkevu?
18 Olwo nno, okuzikirizibwa kw’abo abalondawo embeera z’ebintu zino eziriwo gwe muwendo oguteekwa okusasulibwa okununula abo abaagala ekituufu okuva mu butali butebenkevu n’okubonaabona. Kino kituukagana n’omusingi Engero 21:18; geraageranya Isaaya 43:1, 3, 4.
gwa Baibuli nti: “Omubi aba kinunulo kya mutuukirivu.”—Eby’okuvaamu eby’Omuganyulo
19. Nkonge ki eri emirembe gy’ensi ezijja okuggibwawo mu kuzikirizibwa kw’embeera z’ebintu zino?
19 Okuzikirizibwa kw’embeera eziriwo n’abo abaziwagira kujja kusobozesa embeera empya ez’obutuukirivu okubaawo mu nsi yonna abanaawona mwe banaasobolera okukolera awamu mu bumu, si mu kuvuganya nga buli omu yeerowoozako yekka. Ensalo ezaawulamu amawanga n’ez’obufuzi zijja kuvaawo. Omugugu ogw’amaanyi ogw’okusaasaanya ensimbi ku by’okulwanyisa gujja kuba guvuddewo. Era n’enjawukana ezigaana abantu okuba amaka agali awamu nazo zijja kuba zivuddewo. Ensonga enkulu bino byonna okubaawo ejja kuba nti abantu bonna abanaabaawo bajja kuba boogera ‘olulimi lumu olulongoofu’ olw’amazima buli omu eri munne, nga basinza Omutonzi waabwe “mu mwoyo n’amazima.” Kino kijja kubawa eddembe okuva mu bulimba bw’eddiini obwawulayawula, obulombolombo, n’enzikiriza ezaagunjibwa abantu.—Zeffaniya 3:8, 9; Yokaana 4:23, 24.
20. Nga bwe kiragibwa mu Zabbuli 72, mbeera ki ejja okubaawo mu nsi yonna?
20 Nga gavumenti ya Katonda ekulemberwa Omwana we Kristo Yesu y’efuga ensi yonna, zabbuli ey’edda ey’omu Baibuli ejja kutuukirizibwa: “Mu nnaku ze abatuukirivu banaalabanga omukisa, era wanaabangawo emirembe emingi, okutuusa omwezi lwe guliggwaawo. Era anaafuganga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, era okuva mu Mugga okutuuka ku nkomerero z’ensi.”—Zabbuli 72:7, 8.
21. Ensi etuulibwamu ku bwayo ejja kuganyulwa etya okuva mu kuzikirizibwa kw’ensi okugenda okujja?
21 Ensi etuulibwamu ejja kuganyulwa okuva mu Olubereberye 1:26-28; Isaaya 45:18; 55:10, 11.
kuzikirizibwa kw’ensi okugenda okujja. Ejja kuba tekyayonoonebwa boonoonyi ba mbeera ab’omulugube era abakambwe. Ennyanja, emigga, agayanja aganene n’empewo eyeetoolodde bijja kuwona ebintu ebibi ebibifukibwamu era mu bbanga ttono byerongoose byokka. Bw’atyo Katonda ajja kulaga nti tavanga ku kigendererwa kye eky’okuba n’ensi ennongoofu, eringa olusuku ejjudde abantu abooleka engeri ez’ekitalo ez’Omutonzi waabwe.—22. Okuleeta okuzikirizibwa ng’okwo kutuukagana kutya n’okuba nti Katonda ‘Katonda wa mirembe’?
22 Bwe kityo, Katonda okuleeta okuzikirizibwa kw’ensi tekikontana na kubeera kwe ‘Katonda ow’emirembe,’ Era tekikontana na kubeera kwa Yesu ‘Omulangira ow’Emirembe.’ Olw’okwagala kwe balina eri emirembe n’obwenkanya kyebava bakola bwe bati okuzza ensi mu mbeera ennongoofu era ey’obutuukirivu.—1 Abakkolinso 14:33; Isaaya 9:6, 7.
23, 24. Bwe tuba ab’okunyumirwa ebiseera eby’omu maaso eby’emirembe n’obutebenkevu, kiki ekikulu ennyo eri ffe kinnoomu okukola kaakati?
23 Olwo, ffe kinnoomu tusaanidde kukola ki? Yesu yalaga nti abo abasuula omuguluka ebiragiro bya Katonda bazimba essuubi lyabwe ery’ebiseera eby’omu maaso ku “musenyu,” era nti okuzimba okw’engeri eno tekuyinza kugumira kibuyaga ow’okuzikiriza okugenda okujja. Yalaga obwetaavu obw’amaanyi obw’okuzimba essuubi lyaffe ku buwulize eri Ekigambo kya Katonda bwe tuba ab’okufuna ebiseera eby’omu maaso ebitebenkevu era eby’emirembe.—Matayo 7:24-27.
24 Naye lwaki Katonda alinze ebbanga ddene bwe lityo okumalawo obubi n’okubonaabona? Baibuli era eddamu ekibuuzo kino, era eraga Katonda ky’abadde akola mu byasa by’emyaka bino byonna ebiyiseewo mu kutuukiriza ekigendererwa kye.
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 37]
Ng’abantu bwe baawona ku Mataba, wajja kubaawo abanaawonawo ku ‘kibonyoobonyo ekinene’