Oli Mwetegefu Okwolekera Amazima mu Bulamu Bwo?
Essuula 10
Oli Mwetegefu Okwolekera Amazima mu Bulamu Bwo?
1, 2. (a) Amazima gayinza kutuganyula gatya? (b) Kiki ggwe ky’olowooza okuba ensibuko yennyini omunaava emirembe n’obutebenkevu?
OKUMANYA amazima kuyinza okuba eky’omuwendo omuyitirivu. Nga kukozeseddwa mu ngeri ey’amagezi, kuyinza okukukuuma okuva mu bulumi oba okufiirwa era ne kwongera ku ssanyu lyo n’obutebenkevu. Kino kiri bwe kityo naddala ku bikwata ku mazima agakwata ku ekyo ekyolekedde omulembe guno.
2 Okusinziira ku ebyo ebiri mu kitabo kino, oyinza okukkiriza nti omuntu tayinza kuleeta mirembe na butebenkevu eby’amazima. Oyinza okutegeera nti Baibuli ky’egamba ge mazima—nti Katonda yekka, ng’ayitira mu Bwakabaka bwe, y’asobola okugonjoola ebizibu ebyolekedde abantu. Olwo si kye kyandibadde eky’amagezi okutuukanya obulamu bwo n’ekyo ky’omanyi kaakano okuba nga ge mazima? (Yakobo 1:22) Kino kitwaliramu ki?
3. Enkyukakyuka omuntu z’ateekwa okukola mu bulamu bwe bw’aba ayagala okubeera mu Nteekateeka ya Katonda Empya nkulu kwenkana wa?
3 Baibuli essaawo emitindo egiteekwa okutuukirizibwa abo Katonda b’ajja okukkiriza okuba mu Nteekateeka ye Empya ey’obutuukirivu. Emitindo gino gyetaagisa enkyukakyuka kaakano mu bulamu bwa buli muntu ayagala okubaawo mu kiseera ekyo. Kya mazima, mu kulaba okw’abantu, si mbeera zonna ez’abantu ez’obulamu kaakano ezirowoozebwa okubeera embi. Kyokka, enkyukakyuka okutuukana n’emitindo Abaruumi 12:2 kyeruva lugamba nti: “Temufaananyizibwanga ng’emirembe gino: naye mukyusibwenga olw’okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mukemenga bwe biri Katonda by’ayagala, ebirungi, ebisanyusa, ebituufu.”
gya Baibuli kitwaliramu okutunuulira obulamu mu ngeri ey’enjawulo ddala.4. Bwe tuba ddala tuli ba ‘kutambulira mu kkubo ery’amazima,’ tuteekwa kwesigama ku ki okusalawo ekituufu n’ekikyamu?
4 Enkyukakyuka ng’eyo ejja kukwata ku ngeri gye tusalawo ekituufu n’ekikyamu. Mu biseera eby’emabega tuyinza okuba nga twesigamanga ku ndowooza z’abalala oba okwesizaawo emitindo egyaffe. Naye kaakano tukiraba nti endowooza bw’eti yennyini ye yaleetera Adamu ne Kaawa okugaana Katonda ng’Omufuzi waabwe, ne kivaamu emitawaana emiyitirivu. Singa twagala okusiimibwa kwa Katonda, tuteekwa okutunuulira ye okufuna emitindo egy’amazima ku bikwata ku kituufu n’ekikyamu. Emitindo egyo gisangibwa mu Kigambo kya Katonda, Baibuli. Nga Zabbuli 119:151 bwe lugamba nti: ‘Byonna by’alagira ge mazima.’ N’olwekyo, okuginywererako kitegeeza ‘okutambuliranga mu kkubo ery’amazima.’ (Zabbuli 86:11) Ekyo si ky’oyagala okukola?
Obwetaavu bw’Okubuulirirwa n’Okukangavvulwa
5. (a) Bwe tuba tuli ba kukola enkyukakyuka mu bulamu bwaffe, mazima ki agatukwatako ge tuteekwa okuba abeetegefu okwolekera? (b) Emirundi mingi kiki ekigaana omuntu okukkiriza ensobi, era kiki ekivaamu?
5 Singa omuntu aba wa kukola enkyukakyuka mu bulamu bwe, ateekwa okulaba obwetaavu obw’okukola kino. “Tewali muntu atayonoonanga,” Baibuli bw’egamba. (1 Bassekabaka 8:46) Kyokka abantu bangi si beetegefu okukkiriza ensobi zaabwe. Lwaki? Amalala tegabaganya. Mu kifo ky’okukkiriza n’obuwombeefu ensobi zaabwe, emirundi mingi banenya abalala. Kino kyongera bwongezi ku kizibu.
6. Nsibuko ki gye tusaanidde okutunuulira okufuna okukangavvulwa, era lwaki?
6 Ekizibu eky’amaanyi ekirala kwe kuba nti tetutuukiridde era tetutera kumanya kkubo ttuufu ery’okukwata. Tuyinza n’okulimbibwa okulowooza nti ekkubo ery’akabi teririimu kabi konna. (Engero 16:25) Bwe kityo twetaaga okukangavvulwa okuva ku nsibuko esinga ku muntu bwe tuba ab’okukola ebituukagana ku lw’obulungi bwaffe era n’obw’abantu bannaffe. Engero 3:11 lumanyisa Ensibuko eyo: “Mwana wange, tonyoomanga kubuulirira kwa [Yakuwa, NW].”
7. (a) Okukangavvula kwa Yakuwa kututuukako kutya? (b) Bwe tukkiriza era ne tukolera ku kukangavvulwa ng’okwo kiraga nti tuli bantu ba ngeri ki?
7 Yakuwa awa atya okukangavvula? Ng’ayitira mu Kigambo kye, Baibuli Entukuvu. Bwe kityo bwe tusoma Baibuli, oba bwe tuweebwa okubuulirirwa kwayo okuva eri mukkiriza munnaffe, era ne tutegeera nti mu ngeri emu tetutuukiriza, tuba tufuna okukangavvula kwa Katonda. Mu kukkiriza okukungavvulwa okwo ng’okutuufu era ne tubaako kye tukolawo, tweraga nti twolekedde amazima. Tuba tukkiriza obuyinza bwa Katonda okutukulembera era tuba tulaga nti tuli abantu b’ayagala mu Nteeketeeka ye Empya. Yee, obulamu bwaffe bwesigama ku kugondera okukangavvula kwa Katonda!—Engero 4:13.
8. (a) Lwaki mu butuufu twandibadde twerumya ffekka singa twefaananya ng’abakkiriza okukangavvulwa naye nga ddala tetukyusiza makubo gaffe? (b) Lwaki kizzaamu amaanyi okumanya nti Yakuwa atulaba buli gye tuba tuli?
8 Ddala singa tuba ba kuganyulwa mu kukangavvula kwa Katonda, tuleme kwerimba. Tekyanditugasizza okwefaananya obulala bwe tuba nga tulabibwa abantu abalala, ate ne tuddayo mu makubo gaffe ag’emabega bwe baba tebatulaba. Engero 15:3 lututegeeza nti: “Amaaso ga [Yakuwa, NW] gaba mu buli kifo, nga galabirira ababi n’abalungi.” Okumanya nti Yakuwa Katonda aba alaba kwanditukugidde okukola obukyamu. Mu kiseera kye kimu tuyinza okuzzibwamu amaanyi mu kukakasibwa nti atunuulira n’okusiima ‘eri abo abalungi.’
Ffe okubeera bannanfuusi kyandyonoonye bwonoonyi omuntu waffe ow’omunda. Era wadde ng’abantu bayinza okututunuulira n’okusiima, tetuyinza kulimba Mutonzi.“Mubuuliraganenga eby’Amazima”
9. (a) Bwe kituuka ku kwogera amazima, kiki ekikkirizibwa ng’ekya bulijjo mu nsi? Lwaki? (b) Bwe kityo, singa omuntu wa kuleka ‘okufaananyizibwa ng’emirembe gino,’ nkyukakyuka ki eyeetaagibwa?
9 Wadde nga tebeegamba kuba nti bagoberera Baibuli butiribiri, abantu abasinga obungi ennaku zino tebeerowooza kuba batali beesigwa. Naye bameka aboogera amazima buli kiseera? Abantu bangi bulijjo bakweka amazima oba boogera ekyo kyokka kye balowooza nga kye kijja okutuukiriza bye baagala. Newakubadde kino kitwalibwa ng’ekya bulijjo mu nsi, ekyo tekikifuula kituufu. Ensi y’abantu abaawukanye ku Katonda “eri mu buyinza bw’omubi.” “Omubi” oyo, Setaani Omulyolyomi, ye “kitaawe w’obulimba.” Obulimba bwatandikira ku ye. (1 Yokaana 5:19, NW; Yokaana 8:44) Bwe kityo tekisaanidde kwewuunyisa muntu okusanga nti yeetaaga okukola enkyukakyuka ennene mu bikwata ku mazima singa aba wa kuleka ‘okufaananyizibwanga emirembe gino.
10. Emitawaana egy’omuddiriŋŋanwa egiva mu butali bwesigwa giziyiza gitya emirembe n’obutebenkevu eby’amazima?
10 Waliwo ensonga nnungi okubeera omwesigwa. Tewali kisekeeterera mirembe na butebenkevu okusinga okulemwa okubeera omwesigwa ebiseera byonna—awaka, ku mulimu oba mu by’obusuubuzi, mu by’emizannyo, era ne mu
nkolagana n’abantu abalala. Abantu bwe batakuuma kigambo kyabwe, bwe balimba oba okukumpanya, tewaba aganyulwa. Abo ababa bakoseddwa olw’obutali bwesigwa emirundi mingi bakambuwala era ne baba basunguwavu. Ng’oggyeko okunyigibwa munda ne mu birowoozo, obutali bwesigwa buyinza okuleeta obulumi obw’omubiri era n’okufa. Ng’ekyokulabirako, obutakola bulungi mulimu, ebikozesebwa ebitali birungi, n’okutegeeza eby’obulimba bivuddeko obubenje obw’amaanyi. Omuntu alowooza nti aganyulwa mu butaba mwesigwa mu kiseera kye kimu aba afiirwa olw’obutali bwesigwa bw’abalala. Naye kennyini, asasula emiwendo egya waggulu egy’ebintu n’emirimu kubanga bombi abakozi n’abaguzi babba. Bwe kityo obutali bwesigwa buleetawo emitawaana egy’omuddiriŋŋanwa. Abantu bwe beeyongera okukumpanya abalala, okulya empinga, ettemu, okulumya era n’abantu okufa byeyongera.11. Yakuwa awulira atya ku bikwata ku butali bwesigwa n’okulimba?
11 Mu kulowooza ku bibala ebibi ng’ebyo, tekyewuunyisa okuba nti mu bintu “[Yakuwa, NW] by’akyawa” mulimu okulimba, okulayira eby’obulimba, ebipima eby’obulimba ne minzaani ez’obulimba. (Engero 6:16-19; 20:23) Abalimba ab’olulango tebaligabana ku mikisa Katonda gy’ategekedde abo abamwagala. (Okubikkulirwa 21:8) Kino si kye twandisuubidde mu Katonda omutuukirivu? Singa Katonda yali wa kweyongera kugumiikiriza abo abeegomba okufuna amagoba nga bayita mu kulimba baliraanwa baabwe, olwo omuntu yandisobodde atya okwewulira obutebenkevu mu Nteekateeka Ye Empya?
12, 13. (a) Baibuli ku bwayo egamba ki ku kwogera amazima? (b) Obwesigwa bwaffe bukwata butya ku busobozi bwaffe obw’okuweereza Yakuwa ng’abajulirwa be?
12 N’olwekyo Baibuli si ya kugayirirwa bw’eragira nti: Zekkaliya 8:16; Abaefeso 4:25) Ku bikwata ku bisuubizo oba endagaano, ekigambo kyaffe nti “Yee” kisaanidde okutegeeza nti Yee, n’ekigambo kyaffe nti “Nedda” nti Nedda. (Yakobo 5:12, NW) Singa twagala okukiikirira “[Yakuwa, NW] Katonda ow’amazima,” tuteekwa okunywerera ku kwogera amazima. (Zabbuli 31:5) Omuntu bw’aba tayogera mazima, tayinza kufuna kitiibwa okuva eri Katonda oba eri bantu banne. Era tayinza kukiikirira Katonda ng’omu ku bajulirwa Be. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Omubi Katonda amugamba nti ofaayo ki okubuulira amateeka gange, n’oyingiza endagaano yange mu kamwa ko? Owaayo akamwa ko eri obubi, n’olulimi lwo lukola eby’obulimba.”—Zabbuli 50:16, 19.
“Mubuuliraganenga eby’amazima.” (13 Naye abamu bayinza okwewuunya nti: Omuntu asobola okuba ow’amazima era omwesigwa n’asobola okubeerawo mu nsi eno? Ayinza okusobola ebya ‘nange ka
nnyingire’ mu buzineesi awatali kukola abalala bonna kye bakola?Katonda Alabirira Abo Abakozesa Amazima
14. Baibuli etuyamba etya okutegeera nti kisoboka okubeerawo awatali kubeera mukumpanya?
14 Okugamba nti omuntu tayinza kubeerawo nga takumpanyizza kiba kugamba nti Katonda talabirira abo abamwagala. Naye kino tekikkiriziganya n’ebyo ebituuse ku baweereza ba Katonda okumala enkumi z’emyaka. (Abaebbulaniya 13:5, 6) Dawudi, omuwandiisi wa Zabbuli yategeeza nti: “Nnali muto, kaakano nkaddiye; naye sirabanga mutuukirivu ng’alekeddwa, newakubadde ezzadde lye nga basaba emmere.” (Zabbuli 37:25) Kino tekitegeeza nti abantu abatuukirivu tebatuukibwako bizibu oba ebiseera ebizibu. Dawudi yennyini yawalirizibwa okubeera ng’omweboolereze okuva mu bantu okumala ekiseera. Naye yali alina ebyetaagibwa mu bulamu.
15. Yesu yayogera ki ku bikwata ku kufaayo kwa Katonda okutufunira ebintu ebikuuma obulamu?
15 Okusikirizibwa kw’okusinza okw’amazima si kufuna bya bugagga. Kyokka, Yesu yayigiriza abagoberezi be nti kituufu okusaba Katonda awe omukisa Gwe eri okufuba kwabwe okufuna ‘emmere ey’olunaku.’ (Lukka 11:2, 3) Ng’akkiriza obwetaavu bwabwe obw’ebyetaago eby’obulamu, yakakasa abayigirizwa be nti: “Kitammwe ali mu ggulu amanyi nga mwetaaga ebyo byonna.” Naye yabakubiriza nti: “Musooke munoonye obwakabaka bwe n’obutuukirivu bwe; era ebyo byonna mulibyongerwako.” (Matayo 6:25-34) Ekyo okikkiriza? Bwe kiba nga bwe kiri, tojja kusendebwasendebwa kusuula muguluka emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu olw’okuba nti abantu abalala bwe bakola. Mu kifo ky’okukola otyo, ojja kusiima amagezi agali mu ebyo ebyawandiikibwa mu 1 Timoseewo 6:6-8, awagamba nti: “Naye okutya Katonda wamu n’obutayaayananga ge magoba amangi: kubanga tetwaleeta kintu mu nsi, kubanga era tetuyinza kuggyamu kintu; naye bwe tuba n’emmere n’eby’okwambala, ebyo binaatumalanga.”
16. Okugoberera emisingi gino egy’omu Byawandiikibwa kuyinza kutukuuma kutya?
16 Okugoberera okubuulirira kuno kyetaagisa endowooza ey’enjawulo ddala okuva ku eyo etera okulabika mu nsi ennaku zino. Kino nakyo, kitwalirwa mu ‘kufuula amagezi gaffe amaggya.’ Okumatira n’ebyetaago by’obulamu kutuziyiza okufuula okunoonya ensimbi n’eby’obugagga okuba ekiruubirirwa ekikulu mu bulamu era n’okukemebwa okukumpanya abantu abalala okufuna bino. (Engero 28:20; Matayo 6:24; 1 Timoseewo 6:9, 10) Abo abafuula eby’obugagga ekiruubirirwa kyabwe bayinza okulowooza nti bino bye bireeta obutebenkevu n’essanyu. Naye mu kifo ky’ekyo kiri nga Baibuli bw’egamba nti, “ayagala ffeeza takkutenga ffeeza; so n’oyo ayagala obungi ekyengera tekiimukkusenga.” (Omubuulizi 5:10) Abo abalina ekingi baagala ekisingawo. Emirundi mingi bafeebya obulamu bwabwe n’obw’ab’omu maka gaabwe okukifuna. Mu kifo ky’okwewulira obutebenkevu, babeera mu kutya okufiirwa ekyo kye balina.
17. (a) Omuntu bw’assa omutima gwe ku kufuna eby’obugagga, mazima ki g’aba asudde omuguluka? (b) Bujulizi ki obuliwo obulaga nti kisoboka okukozesa emisingi egy’obwesigwa mu kufuna eby’obulamu?
17 Omuntu alulunkanira eby’obugagga aba tassaayo mwoyo ku kino nga Yesu bwe yagamba nti, “obulamu bw’omuntu si by’ebintu ebingi by’aba nabyo.” (Lukka 12:15) Kisingawo nnyo okukkiririza mu busobozi bwa Katonda okugabirira abaweereza be. Mu nsi ezisukka 200 mu bukadde n’obukadde bw’Abajulirwa ba Yakuwa, waliwo obukakafu obulabikako nti Katonda awa okulabirira okwo. Wansi wa gavumenti eza buli ngeri era ne mu mirimu egikkirizibwa mu mateeka egya buli ngeri, Abajulirwa ab’erangi zonna era n’ensibuko basobola okubeera mu bulamu obw’essanyu, nga n’ebyetaago byabwe babifuna. Okukkiriza kwabwe mu busobozi bwa Katonda okubalabirira, wadde ne bwe kifaanana nti obwesigwa bubafiiriza, kuvuddemu emiganyulo. Bassiddwamu bantu bannaabwe ekitiibwa era emirundi mingi baagalibwa ng’abakozi kubanga abantu bakyayagala okukolagana n’abo abeesigika. Naye ekisingawo obukulu kiri nti abagolokofu babeera n’omuntu ow’omunda omulungi olw’obwesigwa bwabwe.
18, 19. (a) Lwaki abantu bano bakyusizza obulamu bwabwe okutuukana n’emitindo gya Katonda? (b) Bantu ba ngeri ki Katonda b’anoonya okukuuma okuyingira mu Nteekateeka ye Empya?
18 Nga tebannafuuka Bajulirwa ba Yakuwa, baagobereranga embeera y’ensi mu ngeri ennene oba entonotono. Naye okusoma Baibuli n’okwolekera amazima gaayo kwabaleetera okulekayo amayisa amabi. Kaakano bafuba okulaganga “obwesigwa obulungi bwonna; balyoke bayonjenga okuyigiriza kw’Omulokozi waffe Katonda mu byonna.” (Tito 2:10) Tekibadde kyangu ebiseera byonna okwolekera amazima n’okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe. Naye okwagala kwe balina eri amazima kubayambye okutuukana nago.
19 Olina okwagala okuli ng’okwo eri amazima? Bw’oba nga okulina, oli muntu Katonda gw’anoonya okukuuma nga mulamu okuyingira mu Nteekateeka ye Empya. Okukkirizibwa Katonda, ‘oteekwa okusinzanga mu mwoyo n’amazima.” (Yokaana 4:24) Kino kijja kukwawulawo okuva ku nsi ekwetoolodde. Waliwo era engeri endala mw’oteekwa okuba nti oli wa njawulo okuva ku nsi bw’oba ow’okusanyusa Yakuwa. Ze ziruwa?
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 113]
Omuntu asobola okuba ow’amazima era omwesigwa n’asobola okuyimirirawo mu by’ensimbi mu nsi eno?