Amazima Agakwata ku Mmeeme Nsonga Nkulu
Amazima Agakwata ku Mmeeme Nsonga Nkulu
“Mulitegeera amazima, n’amazima galibafuula ba ddembe.”—YOKAANA 8:32.
1. Lwaki kikulu okwekenneenya enzikiriza zaffe ezikwata ku mmeeme n’okufa?
ENZIKIRIZA ezikwata ku kufa n’Obulamu Oluvannyuma lw’Okufa okusingira ddala ziva ku ddiini omuntu gy’agoberera n’engeri gye yakuzibwamu. Nga bwe tulabye, zirimu endowooza nti emmeeme etuuka ku kiruubirirwa kyayo eky’enkomerero oluvannyuma lw’okukyukakyuka okuva mu bulamu obumu okudda mu bulala era n’endowooza nti engeri gye weeyisaamu mu bulamu y’esalawo ky’onoobeera ku nkomerero. N’ekivaamu, omuntu omu ayinza okuba omukakafu nti ajja kuba bumu n’ow’enkomerero ku kufa, omulala nti ajja kutuuka mu Nirvana, ate omulala nti ajja kufuna ekirabo eky’omu ggulu. Kati olwo, amazima ge garuwa? Okuva enzikiriza zaffe bwe zikwata ku ndowooza zaffe, ebikolwa byaffe, ne bye tusalawo, tetwandyagadde kuzuula kya kuddamu mu kibuuzo ekyo?
2, 3. (a) Lwaki tusobola okusa obwesige mu ekyo Baibuli ky’eyogera ku mmeeme? (b) Nga bwe kyogerwako mu Baibuli, amazima agakwata ku mmeeme ge garuwa?
2 Baibuli, ekitabo ekisingayo obukadde mu nsi, kyogera ku byafaayo by’omuntu okuviira ddala ku kutondebwa kw’emmeeme eyasooka. Enjigiriza zaayo teziriimu ndowooza na bulombolombo bw’abantu. Baibuli ennyonnyola bulungi amazima agakwata ku mmeeme: Emmeeme yo ye ggwe, abafu tebaliiwo ddala, era abo Katonda bajjukira bajja kuzuukizibwa mu kiseera kye ekigereke. Okumanya kino kitegeeza ki gy’oli?
3 “Mulitegeera amazima, n’amazima galibafuula ba ddembe,” bw’atyo Yesu Kristo bwe yagamba abagoberezi be. (Yokaana 8:32) Yee, amazima gatufuula ba ddembe. Naye amazima agakwata ku mmeeme ganaatusumulula kuva mu ki?
Okusumululwa mu Kutya n’Obutaba na Ssuubi
4, 5. (a) Amazima agakwata ku mmeeme gaggyawo kutya ki? (b) Essuubi ly’okuzuukira lyawa litya omutiini eyali omulwadde ennyo obuvumu?
4 “Abantu abasinga obungi batya okufa era beewala okukulowoozaako,” bw’etyo bw’egamba The World Book Encyclopedia. “Ekigambo ‘okufa’ kumpi tekyogerwako e Bugwanjuba,” munnabyafaayo omu bw’atyo bw’agamba. Era mu bifo ebimu ebigambo nga “yagenze” ne “yawummudde” bitera okukozesebwa nga boogera ku kufa kw’omuntu. Okutya okufa ddala kuba kutya ekitamanyiddwa, okuva eri abantu abasinga obungi okufa bwe kuli ekintu ekitategeerekeka. Okumanya amazima agakwata ku kibaawo nga tufudde kikendeeza ku kutya kuno.
5 Ng’ekyokulabirako, kuba ekifaananyi ku ndowooza ya Michaelyn ow’emyaka 15. Yalina obulwadde bw’omusaayi era yali ayolekedde okufa. Maama we, Paula, ajjukira: “Michaelyn yagamba nti yali teyeeraliikirira kufa kubanga yali amanyi nti okufa kwali kwa kaseera buseera. Twayogera nnyo ku nsi ya Katonda empya, era n’abo bonna abalizuukizibwa okugibeeramu. Michaelyn yalina okukkiriza kwa maanyi nnyo mu Yakuwa Katonda era ne mu kuzuukira—nga talina kubuusabuusa kwonna.” Essuubi lw’okuzuukira lyasumulula omuwala ono omuvumu mu kutya ennyo okufa.
6, 7. Amazima agakwata ku mmeeme gatusumulula mu ki? Waayo ekyokulabirako.
6 Amazima gaakola ki ku bazadde ba Michaelyn? “Okufa kwa muwala waffe kye kyali ekintu ekisingayo obulumi ekyali kitutuuseeko,” bw’atyo Jeff taata w’omuwala ono bw’agamba. “Naye tukkiririza ddala mu kisuubizo kya Yakuwa eky’okuzuukira, era twesunga olunaku lwe tuliddamu okuwambaatira Michaelyn omwagalwa waffe. Nga kuliba kugattibwa wamu okw’ekitalo!”
7 Yee, amazima agakwata ku mmeeme gasumulula omuntu okuva mu butaba na ssuubi olw’okufa kw’omwagalwa. Kya lwatu, tewali kiyinza kumalirawo ddala bulumi n’ennaku ebibaawo omwagalwa bw’afa. Kyokka, essuubi ly’okuzuukira likendeeza ennaku y’okufiirwa era ne lisobozesa okugumira obulumi.
8, 9. Amazima agakwata ku mbeera y’abafu gatusumulula mu kutya ki?
8 Amazima g’omu Byawandiikibwa agakwata ku mbeera y’omufu n’ago gatusumulula mu kutya abafu. Okuva bwe bayiga amazima gano, bangi abaagobereranga obulombolombo obukwata ku kufa tebakyatya kukolimirwa, ddogo, na bya bufumu era tebakyawaayo ssaddaaka ez’essente nnyingi okuwooyawooya abaafa n’okubaziyiza okukomawo okutawaanya abalamu. Mazima ddala, okuva abafu ‘bwe batalina kye bamanyi,’ ebikolwa ng’ebyo tebigasa.—Omubuulizi 9:5.
9 Amazima agakwata ku mmeeme agasangibwa mu Baibuli mazima ddala gatufuula ba ddembe era geesigika. Naye era lowooza ku ssuubi ery’enjawulo Baibuli ly’ekuwa.
[Ebibuuzo]
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 29]
Amazima agakwata ku mmeeme gakusumulula mu, kutya okufa, okutya abafu, obutaba na ssuubi olw’okufiirwa omwagalwa