Essuubi Ekkakafu
Essuubi Ekkakafu
“Okuva lw’azaalibwa omuntu aba asobola okufa ekiseera kyonna, era ekiseera kituuka n’afa.” —ARNOLD TONYBEE, MUNNABYAFAAYO OMUNGEREZA.
1. Kiki omuntu ky’abadde alina okukkiriza, era kireetawo bibuuzo ki?
ANI ayinza okuwakanya amazima gano agoogeddwako waggulu? Omuntu bulijjo abadde alina okukkiriza embeera eno embi ey’okufa. Era nga tuyisibwa bubi nnyo omwagalwa waffe bw’afa! Era omwagalwa oyo kirabika aba tasobola kuba mulamu nate. Kisoboka okuddamu okuba n’abaagalwa baffe abaafa? Ssuubi ki Baibuli ly’ewa abafu? Weetegereze ebiddirira.
‘Mukwano Gwaffe Afudde’
2-5. (a) Mukwano gwe Lazaalo bwe yafa, Yesu yakyoleka atya nti yali ayagala era nti yalina obusobozi bw’okumuzuukiza? (b) Ng’oggyeko okuzuukiza Lazaalo, ekyamagero ky’okuzuukiza kyatuukiriza ki?
2 Omwaka gwali 32 C.E. Mu kabuga akatono aka Bessaniya, mayiro bbiri ebweru wa Yerusaalemi, Lazaalo ne bannyina Maliza ne Malyamu gye baabeeranga. Baali mikwano gya Yesu egy’oku lusegere. Lumu, Lazaalo yalwala nnyo. Mangu ddala, bannyina abeeraliikirira ennyo baaweereza amawulire gano eri Yesu, eyali emitala w’Omugga Yoludaani. Yesu yali ayagala nnyo Lazaalo ne bannyina, era mangu ddala yayolekera Bessaniya. Nga bali mu kkubo, Yesu yagamba abayigirizwa be: “Mukwano gwaffe Lazaalo yeebase; naye ŋŋenda okumuzuukusa.” Olw’okuba abayigirizwa tebategeererawo makulu ga bigambo ebyo, Yesu yabanga lwatu: “Lazaalo afudde.”—Yokaana 11:1-15.
3 Bwe yawulira nti Yesu ajja e Bessaniya, Maliza yadduka okumusisinkana. Ng’amulumirirwa olw’ennaku ye, Yesu yamukakasa nti: “Mwannyoko ajja kuzuukira.” Maliza n’addamu: “Mmanyi nti alizuukirira ku kuzuukira kw’olunaku olw’enkomerero.” Yesu n’alyoka amugamba: “Nze kuzuukira, n’obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng’afudde, aliba mulamu.”—Yokaana 11:20-25.
4 Yesu n’agenda ku ntaana n’alagira bagiggyeko ejjinja. Oluvannyuma lw’okusaba mu ddoboozi eddene, yalagira: “Lazaalo, fuluma ojje.” Nga bonna batunuulidde entaana, Lazaalo yafuluma. Yesu yazuukiza Lazaalo—n’addiza obulamu omusajja eyali afudde okumala ennaku nnya!—Yokaana 11:38-44.
5 Maliza yali akkiririza mu ssuubi ly’okuzuukira. (Yokaana 5:28, 29; 11:23, 24) Eky’amagero ky’okuddiza Lazaalo obulamu kyanyweza bunyweza kukkiriza kwe era n’ekireetera abalala okukkiriza. (Yokaana 11:45) Naye ekigambo “okuzuukirira” kitegeeza ki?
“Ajja Kuzuukira”
6. Ekigambo “okuzuukira” kitegeeza ki?
6 Ekigambo “okuzuukira” kivvuunulwa okuva mu kigambo ky’Oluyonaani ekiyitibwa a·naʹsta·sis, obuteerevu ekitegeeza “okuyimirira nate.” Abavvuunuzi Abaebbulaniya abavvuunula mu Luyonaani bakozesezza ebigambo by’Olwebbulaniya techi·yathʹ ham·me·thimʹ, ebitegeeza “okukomyawo omufu,” mu * Bwe kityo, okuzuukira kizingiramu okuggya omuntu mu mbeera y’okufa ey’obutaba na bulamu—okuzzaawo obulamu bw’omuntu.
kifo kya a·naʹsta·sis.7. Lwaki okuzuukiza abantu kinnoomu tekijja kuzibuwalira Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo?
7 Olw’okuba amagezi ge tegakoma era ng’ajjukira mu ngeri etuukiridde, Yakuwa Katonda asobola bulungi okuzuukiza omuntu. Okujjukira enneeyisa y’abafu—engeri zaabwe, bye bamanyi, ne kalonda yenna abakwatako—si kizibu gy’ali. (Yobu 12:13; geraageranya Isaaya 40:26.) Yakuwa era ye Yatandikawo obulamu. Bwe kityo, asobola okukomyawo omuntu y’omu, n’amuwa engeri ze zimu mu mubiri omuppya. Ate era, ng’ekyaliwo ekikwata ku Lazaalo bwe kiraga, Yesu Kristo ayagala era asobola okuzuukiza abafu.—Geraageranya Lukka 7:11-17; 8:40-56.
8, 9. (a) Lwaki okuzuukira n’endowooza y’obutafa bw’emmeeme tebikwatagana? (b) Kiki ekinaavumula okufa?
8 Kyokka, enjigiriza ey’omu Byawandiikibwa ekwata ku kuzuukira, tekwatagana na njigiriza ya butafa bwa mmeeme. Singa emmeeme etafa ewonawo ku kufa, tewali n’omu yandyetaaze kuzuukizibwa, oba okukomezebwawo mu bulamu. Mazima ddala, Maliza teyalina ndowooza yonna ekwata ku mmeeme etafa eyali ennamu mu kifo ekirala oluvannyuma lw’okufa. Teyakkiriza nti Lazaalo yali agenze mu ttwale ly’omwoyo abeere eyo nga mulamu. Okwawukanira ddala ku ekyo, yakkiririza mu kigendererwa kya Katonda eky’okuggyawo okufa. Yagamba: “Mmanyi nti alizuukirira ku kuzuukira kw’olunaku olw’enkomerero.” (Yokaana 11:23, 24) Mu ngeri y’emu, Lazaalo yennyini talina kye yayogera ku bulamu oluvannyuma lw’okufa. Tewaliwo kyakwogera.
9 Kya lwatu, okusinziira ku Baibuli, emmeeme efa era ekivumula okufa kwe kuzuukira. Naye obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu bafudde okuva omuntu eyasooka, Adamu, bwe yaliwo ku nsi. N’olwekyo baani abalizuukizibwa, era balizuukizibwa wa?
‘Bonna Abali mu Ntaana Ezijjukirwa’
10. Ssuubi ki Yesu lye yawa abo abali mu ntaana ezijjukirwa?
10 Yesu Kristo yagamba: “Ekiseera kijja bonna abali mu ntaana ezijjukirwa lwe baliwulira Yokaana 5:28, 29, NW ) Yee, Yesu Kristo yasuubiza nti bonna Yakuwa bajjukira bajja kuzuukizibwa. Obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu babaddewo era ne bafa. Baani kw’abo Katonda bajjukira, abalindirira okuzuukira?
eddoboozi lye [Yesu], ne bavaamu.” (11. Baani abanaazuukizibwa?
11 Abo abatambulidde mu kkubo ly’obutuukirivu ng’abaweereza ba Yakuwa bajja kuzuukizibwa. Naye obukadde n’obukadde bw’abalala bafudde nga tebalaze obanga bandigoberedde emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu. Baali tebamanyi Yakuwa by’abeetaagisa oba tebaalina kiseera kimala kukola nkyukakyuka ezeetaagisa. Bano nabo Katonda abajjukira era n’olwekyo bajja kuzuukizibwa, kubanga Baibuli esuubiza: “Walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu era n’abatali batuukirivu.”—Ebikolwa 24:15.
12. (a) Kwolesebwa ki omutume Yokaana kwe yafuna okukwata ku kuzuukira? (b) Kiki ‘ekisuulibwa mu nnyanja ey’omuliro,’ era ekyo kitegeeza ki?
12 Omutume Yokaana yafuna okwolesebwa okw’ekitalo okw’abazuukiziddwa abali mu maaso g’entebe ya Katonda. Ng’akwogerako, yawandiika: “N’ennyanja n’ereeta abafu abalimu, n’okufa n’Amagombe ne bireeta abafu abalimu: ne basalirwa omusango buli muntu ng’ebikolwa byabwe bwe byali. N’okufa n’Amagombe ne bisuulibwa mu nnyanja ey’omuliro. Eyo kwe kufa okw’okubiri, ennyanja ey’omuliro.” (Okubikkulirwa 20:12-14) Lowooza ku ekyo kye kitegeeza! Abafu bonna Katonda bajjukira bajja kusumululwa okuva mu Hades oba Sheol, amagombe. (Zabbuli 16:10; Ebikolwa 2:31) Olwo nno “okufa n’Amagombe” bijja kusuulibwa mu kiyitibwa “ennyanja ey’omuliro,” ekikiikirira okuzikirizibwa ddala. Amagombe galiba tegakyaliwo.
Bazuukizibwa Wa?
13. Lwaki Katonda ateeseteese abamu bazuukizibwe mu ggulu, era Yakuwa anaabawa mubiri gwa ngeri ki?
13 Omuwendo mutono ogw’abasajja n’abakazi bajja kuzuukizibwa mu bulamu obw’omu ggulu. Bano bajja kufuga ne Kristo nga bakabaka era bakabona era bajja kwenyigira mu kuggyawo byonna ebireetebwa okufa omuntu bye yasikira okuva ku musajja eyasooka, Adamu. (Abaruumi 5:12; Okubikkulirwa 5:9, 10) Okusinziira ku Baibuli, bali 144,000 bokka era baalondebwa okuva mu bagoberezi ba Kristo, okutandika n’abatume abeesigwa. (Lukka 22:28-30; Yokaana 14:2, 3; Okubikkulirwa 7:4; 14:1, 3) Buli omu ku bano abazuukizibwa Yakuwa ajja kumuwa omubiri gw’omwoyo asobole okubeera mu ggulu.—1 Abakkolinso 15:35, 38, 42-45; 1 Peetero 3:18.
14, 15. (a) Bulamu bwa ngeri ki abasinga obungi abafudde bwe balizuukizibwamu? (b) Mikisa ki Abantu abawulize gye banaafuna?
14 Kyokka, abasinga obungi ku abo abafa bajja kuzuukizibwa mu bulamu ku nsi. (Zabbuli 37:29; Matayo 6:10) Nsi ya ngeri ki? Ensi leero ejjudde okulwanagana, okuyiwa omusaayi, okwonoona obutonde, n’ettemu. Singa abafu baali bakukomezebwawo mu bulamu ku nsi efaanana bw’etyo, mazima ddala essanyu lyabwe lyonna lyandibadde lya kaseera katono. Naye Omutonzi asuubiza nti mangu ajja kuzikiriza ekibiina ky’abantu ekiriwo ekifugibwa Setaani. (Engero 2:21, 22; Danyeri 2:44) Ekibiina ky’abantu ekippya eky’obutuukirivu—“ensi empya”—ejja kubaawo. (2 Peetero 3:13) Mu kiseera ekyo “atulamu talyogera nti Ndi mulwadde.” (Isaaya 33:24) N’obulumi bw’okufa bujja kuggwaawo, kubanga Katonda “alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo.”—Okubikkulirwa 21:4.
15 Mu nsi ya Katonda empya eyasuubizibwa, abawombeefu “banaasanyukiranga emirembe emingi.” (Zabbuli 37:11) Gavumenti ey’omu ggulu eya Kristo Yesu ne banne 144,000 mpolampola bajja kutuusa olulyo ly’omuntu abawulize mu mbeera ey’obutuukirivu bazadde baffe abaasooka, Adamu ne Kaawa, gye baabuza. Mu abo abaliba ku nsi mujja kubaamu abalizuukizibwa.—Lukka 23:42, 43.
16-18. Ssanyu ki okuzuukira kwe lirireetera amaka?
Lukka 7:11-17) Oluvannyuma, ng’ali kumpi n’Ennyanja y’e Ggaliraaya, bazadde b’omuwala ow’emyaka 12 ‘basanyuka nnyo’ Yesu bwe yamuzuukiza.—Makko 5:21-24, 35-42, NW; era laba 1 Bassekabaka 17:17-24; 2 Bassekabaka 4:32-37.
16 Baibuli eragako katono ku ssanyu okuzuukira kwe lirireetera amaka. Teebereza essanyu nnamwandu w’e Nayini lye yawulira Yesu bwe yayimiriza abaali bagenda okuziika n’azuukiza mutabani we! (17 Eri obukadde n’obukadde bw’abeebase mu kufa kati, okuzuukira kujja kutegeeza obulamu mu nsi empya ey’emirembe. Lowooza ku ssuubi ery’ekitalo kino kye liwa Tommy n’omusuubuzi abayogeddwako mu kitundu ekisooka ekya brocuwa eno! Tommy bwalizuukizibwa mu Lusuku lwa Katonda ku nsi, ajja kuba Tommy yennyini maama gwe yali amanyi—naye nga talina bulwadde bwonna. Maama we ajja kusobola okumukwatako, okumuwambaatira n’okumwagala. Mu ngeri y’emu, mu kifo ky’okuba mu buddu bw’okukyukanga okudda mu bulamu obulala, omusuubuzi okuva mu Buyindi alina essuubi ery’ekitalo ery’okuba omulamu mu nsi ya Katonda empya era n’okulaba abaana be.
18 Okumanya amazima agakwata ku mmeeme, ekitutuukako bwe tufa, era n’essuubi ly’okuzuukira nakyo kisobola okubaako ekinene kye kikola ku balamu abaliwo leero. Ka tulabe mu ngeri ki.
[Obugambo obuli wansi]
^ lup. 6 Wadde ekigambo “okuzuukira” tekisangibwa mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, essuubi ly’okuzuukira lisangibwa mu Yobu 14:13, Danyeri 12:13, ne Koseya 13:14.
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Okuzuukira kujja kuleeta essanyu ery’olubeerera