Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Essuubi ery’Enjawulo!

Essuubi ery’Enjawulo!

Essuubi ery’Enjawulo!

‘Buli muntu omulamu akkiriza nze talifa emirembe n’emirembe.’—YOKAANA 11:26.

1. Obukadde n’obukadde bw’abafu bajja kuzuukizibwa mu mbeera za ngeri ki?

OBUKADDE n’obukadde bw’abantu bwe balizuukizibwa, tebajja kukomezebwawo mu bulamu ku nsi njerere. (Ebikolwa 24:​15) Bajja kuzuukizibwa mu mbeera ezifaanana obulungi ezirongooseddwa era bajja kusanga nga aw’okusula, eby’okwambala, n’emmere eri mu bungi bibategekeddwa. Baani abalikola enteekateeka zino zonna? Kya lwatu, wajja kubaawo abantu mu nsi empya ng’okuzuukira okw’oku nsi tekunnatandika. Naye baani?

2-4. Ssuubi ki ery’enjawulo eririndiridde abo abaliwo mu “ennaku ez’oluvannyuma”?

2 Okutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Baibuli kulaga nti tuli mu “nnaku ez’oluvannyuma” ez’embeera zino z’ebintu. * (2 Timoseewo 3:​1) Mangu ddala, Yakuwa Katonda agenda kuyingira mu nsonga z’abantu aggyewo obubi bwonna ku nsi. (Zabbuli 37:​10, 11; Engero 2:​21, 22) Mu kiseera ekyo, kiki ekirituuka ku abo abaweereza Katonda n’obwesigwa?

3 Yakuwa tajja kuzikiriza batuukirivu wamu n’ababi. (Zabbuli 145:​20) Takolaangako kintu ng’ekyo, era tajja kukikola bw’annaggyaawo obubi ku nsi. (Geraageranya Olubereberye 18:​22, 23, 26.) Mu butuufu, ekitabo ekisembayo mu Baibuli kyogera ku “ekibiina ekinene omuntu yenna ky’atayinza kubala, mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi,” nga bava mu ‘kibonyoobonyo ekinene.’ (Okubikkulirwa 7:​9-14) Yee, ekibiina ekinene kijja kuwonawo ku kibonyoobonyo ekinene ensi eno eriwo embi mw’erizikiririzibwa, era bajja kuyingira mu nsi ya Katonda empya. Nga bali eyo, abantu abawulize basobola okuganyula mu bujjuvu mu nteekateeka ya Katonda ey’ekitalo ey’okusumulula abantu okuva mu kibi n’okufa. (Okubikkulirwa 22:​1, 2) Bwe kityo, ‘ab’ekibiina ekinene’ tekiribeetaagisa kufa. Nga ssuubi lya njawulo!

4 Tuyinza okussa obwesige mu ssuubi lino ery’ekitalo? Awatali kubuusabuusa kwonna! Yesu Kristo kennyini yalaga nti ekiseera kijja kujja abantu babe balamu awatali kufa. Nga tannaba kuzuukiza mukwano gwe Lazaalo, Yesu yagamba Maliza: ‘Buli muntu omulamu akkiriza nze talifa emirembe n’emirembe.’​—⁠Yokaana 11:26.

Naawe Osobola Okubeerawo Emirembe Gyonna

5, 6. Bw’oba oyogala okubeerawo emirembe gyonna mu Lusuku lwa Katonda ku nsi, wandikoze ki?

5 Oyagala okubeerawo emirembe gyonna mu Lusuku lwa Katonda ku nsi? Oyagala okulaba abaagalwa bo nate? Olwo nno oteekwa okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Katonda by’ayagala n’ebigendererwa bye. Ng’asaba Katonda, Yesu yagamba: “Buno bwe bulamu obutaggwaawo okutegeera ggwe Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo.”​—⁠Yokaana 17:3.

6 Kwe kwagala kwa Katonda nti “abantu aba buli ngeri okulokoka n’okufuna okumanya okutuufu okw’amazima.” (1 Timoseewo 2:​3, 4, NW ) Kati kye kiseera gwe, awamu n’obukadde n’obukadde bw’abalala abakola Katonda by’ayagala okuyiga engeri, gye musobola okubeerawo emirembe gyonna mu Lusuku lwa Katonda ku nsi. Abajulirwa ba Yakuwa baagala okukuyamba okuyiga ekisingawo ku Katonda ne by’akwetaagisa. Lwaki tobatuukirira mu Kingdom Hall ekuli okumpi oba bawandiikire ku ndagiriro eweereddwa ku lupapula oluddako?

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 2 Laba Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo, empapula 98-​107, akaakubibwa Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc.

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

‘Ekibiina ekinene tekibeetaagisa kufa’