Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kiki Ekituuka ku Mmeeme ku Kufa?

Kiki Ekituuka ku Mmeeme ku Kufa?

Kiki Ekituuka ku Mmeeme ku Kufa?

“Enjigiriza nti emmeeme y’omuntu tefa era nti yeeyongera okuba ennamu oluvannyuma lw’okufa kw’omuntu era n’okuggwaawo kw’omubiri gwe y’emu ku njigiriza y’Obukristaayo enkulu.”—“NEW CATHOLIC ENCYCLOPEDIA.”

1. New Catholic Encyclopedia ekkiriza ki ku bikwata ku kuwonawo kw’emmeeme ku kufa?

KYOKKA, ekitabo kino kye kimu, kikkiriza nti “endowooza y’emmeeme okuwonawo oluvannyuma lw’okufa tekakasibwa bulungi mu Baibuli.” Kati olwo Baibuli eyigiriza ki ku kituuka ku mmeeme ku kufa?

Abafu Tebaliiko Kye Bamanyi

2, 3. Embeera y’omufu y’eruwa era byawandiikibwa ki ebiraga kino?

2 Embeera y’abafu ennyonnyolebwa bulungi mu Omubuulizi 9:​5, 10, gye tusoma: “Abafu tebalina kye bamanyi . . . Tewali kukola, ntegeka, wadde okumanya oba amagezi, mu ntaana.” (Moffatt) N’olwekyo, okufa mbeera y’obutabaawo. Omuwandiisi wa Zabbuli yawandiika nti omuntu bw’afa, “adda mu ttaka lye; ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bibula.”​—⁠Zabbuli 146:4.

3 N’olwekyo abafu tebalina kye bamanyi, tebayinza kukola kintu kyonna. Bwe yali asalira Adamu omusango, Katonda yagamba: “Oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw’olidda.” (Olubereberye 3:​19) Nga Katonda tannamukola okuva mu nfuufu n’okumuwa obulamu, Adamu teyaliiwo. Bwe yafa, Adamu yaddayo mu mbeera eyo. Ekibonerezo kye yaweebwa kyali kufa​—⁠si kutwalibwa mu ttwale eddala.

Emmeeme Esobola Okufa

4, 5. Waayo ebyokulabirako okuva mu Baibuli ebiraga nti emmeeme esobola okufa.

4 Adamu bwe yafa, kiki ekyatuuka ku mmeeme ye? Jjukira nti mu Baibuli ekigambo “mmeeme” emirundi mingi kitegeeza muntu. N’olwekyo bwe tugamba nti Adamu yafa, tuba tugamba nti emmeeme eyitibwa Adamu yafa. Kino kiyinza okuwulikika ng’ekitali kya bulijjo eri omuntu akkiririza mu butafa bw’emmeeme. Kyokka, Baibuli egamba: “Emmeeme ekola ekibi ye erifa.” (Ezeekyeri 18:​4) Eby’Abaleevi 21:​1, lwogera ku “mmeeme eyafa” (“omulambo,” Jerusalem Bible). Era Abawonge baagambibwa obutasemberera “mmeeme efudde” (“omubiri omufu,” Lamsa).​—⁠Okubala 6:6

5 Emmeeme era eyogerwako mu ngeri y’emu mu 1 Bassekabaka 19:​4, NW. Eriya eyali omunakuwavu ennyo “yatandika okusaba emmeeme ye efe.” Mu ngeri y’emu Yona “yasaba nti emmeeme ye efe, era yadiŋŋana ebigambo bino: ‘Nze okufa kisinga okuba omulamu.’ ” (Yona 4:​8, NW ) Era Yesu yakozesa ebigambo “okutta emmeeme,” The Bible in Basic English by’evvuunula nga “okutta.” (Makko 3:​4, NW ) N’olwekyo okufa kw’emmeeme kutegeeza okufa kw’omuntu.

“Okufuluma” ne ‘Okudda’

6. Baibuli etegeeza ki bw’egamba nti emmeeme ya Laakeeri yali “efuluma”?

6 Naye ate okufa kwa Laakeeri okw’ennaku okwaliwo ng’azaala omwana we ow’okubiri? Mu Olubereberye 35:​18, (NW ) tusoma: “Emmeeme ye bwe yali efuluma (kubanga yafa) n’amutuuma erinnya Benoni; naye kitaawe n’amutuuma Benyamini.” Ebigambo bino bitegeeza nti Laakeeri yalina ekintu munda ekyamuvaamu ku kufa? N’akatono. Jjukira ekigambo “emmeeme” era kisobola okutegeeza obulamu omuntu bw’alina. N’olwekyo mu ngeri eno “emmeeme” ya Laakeeri yali etegeeza “bulamu” bwe. Eyo ye nsonga lwaki Baibuli endala zivvuunula ebigambo “emmeeme ye bwe yali efuluma” nga “obulamu bwe bwali bukendeera” (Knox), “Yassa ogw’enkomerero” (Jerusalem Bible), era “obulamu bwe bwamuvaamu” (Bible in Basic English). Tewali kiraga nti waliwo ekyawonawo oluvannyuma lw’okufa kwa Laakeeri.

7. Mu ngeri ki emmeeme y’omwana wa nnamwandu gye ‘ya muddamu nate’?

7 Kye kimu eri okuzuukira kw’omwana wa nnamwandu, okwogerwako mu 1 Bassekabaka essuula 17. Mu lunyiriri 22, tusoma nti Eriya bwe yali asabira omwana, “Mukama n’awulira eddoboozi lya Eriya; obulamu [“emmeeme,” NW ] bw’omwana ne bumuddamu nate, n’alama.” Era ekigambo “emmeeme” kitegeeza “bulamu.” Bwe kityo, New American Standard Bible esoma: “Obulamu bw’omwana bwakomawo n’alamuka.” Yee, bwali bulamu, si kintuntu ekyakomawo mu mwana. Kino kikwatagana n’ekyo Eriya kye yagamba maama w’omwana: “Laba omwana [omuntu yenna] wo mulamu.”​—⁠1 Bassekabaka 17:23.

Obuzibu Obukwata ku “Mbeera ey’Omu Makkati”

8. Kiki bangi abeeyita Abakristaayo kye bakkiriza nti kiribaawo mu kuzuukira?

8 Bangi abeeyita Abakristaayo bakkiriza nti wajja kubaawo okuzuukira mu kiseera eky’omu maaso emibiri giryoke gigattibwe n’emmeeme ezitafa. Olwo, abazuukiziddwa baliweebwa ekyabategekerwa ku nkomerero​—⁠ekirabo eri abo abeeyisa obulungi oba ekibonerezo eri ababi.

9. Ebigambo “embeera y’omu makkati,” bitegeeza ki era abamu kiki kye bagamba ekituuka ku mmeeme mu kiseera kino?

9 Endowooza eno erabika ng’ennyangu. Naye abo abagoberera enzikkiriza y’obutafa bw’emmeeme balina obuzibu okunnyonnyola ekituuka ku mmeeme wakati w’okufa n’ekiseera eky’okuzuukira. Mazima ddala, “embeera eno ey’omu makkati,” nga bw’etera okuyitibwa ereseewo okuteebereza okumala ebyasa n’ebyasa. Abamu bagamba nti mu kiseera kino emmeeme egenda mu ppuligaatuli, gy’esobola okunnazibwako ebibi ebisonyiiyika ebe ng’esaanira eggulu *

10. Lwaki si kya mu byawandiikibwa okukkiriza nti emmeeme ebeera mu ppuligaatuli oluvannyuma lw’okufa, era ebyatuuka ku Lazaalo bikakasa bitya kino?

10 Kyokka, nga bwe tulabye, emmeeme ye muntu. Omuntu bw’afa, emmeeme efa. N’olwekyo tewaliiwo kutegeera oluvannyuma lw’okufa. Mazima ddala, Lazaalo bwe yafa, Yesu Kristo teyagamba nti yali mu ppuligaatuli, Limbo, oba “embeera ey’omu makkati.” Wabula, Yesu yagamba nti: “Lazaalo yeebase.” (Yokaana 11:​11, New English Bible) Kya lwatu, Yesu eyali amanyi amazima agakwata ku kituuka ku mmeeme ku kufa, yakkiriza nti Lazaalo yali talina ky’amanyi, teyaliiwo.

Omwoyo kye Ki?

11. Lwaki ekigambo “omwoyo” tekiyinza kutegeeza ekintu ekiva mu muntu ku kufa?

11 Baibuli egamba nti omuntu bw’afa, “Omukka [“omwoyo,” NW ] gwe gumuvaamu, n’adda mu ttaka lye.” (Zabbuli 146:​4) Kino kitegeeza nti omwoyo oguvudde mu mubiri gusigala nga mulamu oluvannyuma lw’okufa kw’omuntu? Tekiyinza kuba bwe kityo, kubanga omuwandiisi wa Zabbuli ayongera n’agamba: “Ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bibula” (“okulowooza kwe kwonna kukoma,” NEB.) Kati olwo omwoyo, kye ki era ‘guva’ gutya mu muntu ku kufa kwe?

12. Ebigambo by’Olwebbulaniya n’Oluyonaani ebivvuunulwa “omwoyo” mu Baibuli bitegeeza ki?

12 Mu Baibuli ebigambo ebivvuunulwa “omwoyo” (Olwebbulaniya, ruʹach; Oluyonaani, pneuʹma) okusingira ddala bitegeeza “omukka.” Bwe kityo, mu kifo kya “omwoyo gwe gumuvaamu,” enkyusa ya R. A. Knox ekozesa ebigambo “omukka guva mu mubiri gwe.” (Zabbuli 145:​4, Knox) Naye ekigambo “omwoyo” tekikoma ku kutegeeza kussa mukka. Ng’ekyokulabirako, mu kwogera ku kuzikirizibwa kw’obulamu bw’omuntu n’ensolo mu kiseera ky’Amataba, Olubereberye 7:​22, (NW ) lugamba: “Buli kyonna ekyalina omukka gw’amaanyi [oba omwoyo; Olwebbulaniya, ruʹach] g’obulamu mu nnyindo zaabyo, kwe kugamba, byonna ebyali ku lukalu, byafa.” N’olwekyo “omwoyo” gusobola okutegeeza amaanyi g’obulamu agakola agali mu bitonde ebiramu byonna, abantu n’ensolo, era ebiwanirirwa okussa.

13. Mu ngeri ki omwoyo gye guyinza okufaananyizibwa amasanyalaze?

13 Okuwaayo eky’okulabirako: Amasanyalaze gakozesa ekyuma. Amasanyalaze bwe gavaako, ekyuma kirekera awo okukola. Amasanyalaze tegafuuka kyuma kyawufu. Mu ngeri y’emu omuntu bw’afa, omwoyo gwe gulekera awo okuwa obutofaali bw’omubiri obulamu. Teguva mu mubiri ne gugenda mu ttwale eddala.​—⁠Zabbuli 104:29.

14, 15. Omwoyo gudda gutya eri Katonda ku kufa?

14 Kati olwo lwaki Omubuulizi 12:7 lugamba nti omuntu bw’afa, “omwoyo ne gudda eri Katonda eyagugaba”? Kino kitegeeza nti omwoyo guyita mu bbanga ne gugenda eri Katonda? N’akatono. Jjukira nti omwoyo ge maanyi g’obulamu. Amaanyi g’obulamu bwe gaggwaawo, Katonda yekka yalina obusobozi okugakomyawo. N’olwekyo omwoyo “gudda eri Katonda” mu ngeri nti essuubi lyonna ery’okuba omulamu mu biseera eby’omu maaso liri eri Katonda.

15 Katonda yekka yasobola okukomyawo omwoyo, oba amaanyi g’obulamu, omuntu n’addamu okuba omulamu. (Zabbuli 104:​30) Naye Katonda ateekateeka okukikola?

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 9 Okusinziira ku New Catholic Encyclopedia, “okutwalira awamu, ba Faaza [b’Ekkanisa] bakkiririza mu ppuligaatuli.” Kyokka, ekitabo kino kyennyini kikkiriza nti “enjigiriza y’Abakatuliki eya ppuligaatuli yeesigamye ku bulombolombo si Byawandiikibwa Bitukuvu.”

[Ebibuuzo]

[Akasanduuko akali ku lupapula 23]

Ebijjukirwa mu Bulamu Obwayita

BWE kiba nti tewali kiwonawo oluvannyuma lw’okufa kw’omubiri, kati ate ebyo abamu bye bagamba nti bajjukira mu bulamu obwayita?

Nikhilananda, omwekenneenya Omuhindu, agamba nti ‘ebijjukirwa oluvannyuma lw’okufa tebiyinza kukakasibwa.’ Mu kwogera kwe “Ebigobererwa mu Kukkiririza mu Butaggwaawo mu Madiini,” omukugu mu by’eddiini Hans Küng agamba: “Ebyogerwa ebyo​—⁠okusingira ddala ebiva eri abaana oba mu nsi gye bakkiririza mu kubbulukukira mu bulamu obulala​—ku bijjukirwa mu bulamu obwayita tebiyinza kukakasibwa.” Agattako: “Abasinga obungi [ku banoonyereza abeesimbu era abagoberera enkola ya sayansi ku nsonga eno] bakkiriza nti ebyogerwa bye bawulidde tebiwa bukakafu bumatiza obulaga nti obulamu buddiŋŋana ku nsi.”

Kiba kitya singa owulira nti olina by’ojjukira mu bulamu obwayita? Enneewulira ng’ezo ziyinza okuva ku bintu ebitali bimu. Obubaka bungi bwe tufuna buterekebwa mu kifo ekimu mu bwongo bwaffe kubanga tuba tetwetaaga kubukozesa mu kiseera ekyo. Bwe tujjukira ebyerabirwa edda, abamu babitwala okuba obukakafu obulaga obulamu obwayita. Wadde kiri kityo, ekituufu kiri nti tewali bye tujjukira byonna okuggyako eby’omu bulamu bwe tulimu kati. Abantu abasinga obungi leero ku nsi tebalina bye bajjukira mu bulamu obwayita; wadde okulowooza nti baali babaddewo mu bulamu obwayita.