Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lwaki Tufa?

Lwaki Tufa?

Lwaki Tufa?

“Ku ntikko z’ensozi zonna kati waliyo akasirikiriro, waggulu mu miti gyonna towulirayo kissa; ebinnyonyi byebase mu miti: lindirira; mangu ddala ojja kuwummula nga byo.”—JOHANN WOLFGANG VON GOETHE, OMUWANDIISI W’EBIKWATE OMUGIRIMAANI.

1, 2. (a) Abantu baatondebwa nga balina kwegomba ki? (b) Abantu ababiri abaasooka banyumirwa bulamu bwa ngeri ki?

KATONDA yatonda abantu nga beegomba okubeerawo emirembe gyonna. Mazima ddala, Baibuli egamba nti yateeka “obutaggwaawo mu mitima gyabwe.” (Omubuulizi 3:​11, Beck) Naye Katonda teyakoma ku kuwa bantu kwegomba kubeerawo mirembe gyonna. Naye era yabawa omukisa ogw’okubeerawo emirembe gyonna.

2 Abazadde baffe abaasooka, Adamu ne Kaawa, baatondebwa nga batuukiridde, nga tebalina kamogo konna mu birowoozo oba mu mubiri. (Ekyamateeka 32:​4) Kiteebereze​—⁠nga tebalina bulumi bwa lutentezi, okutya n’okweraliikirira! Ate era, Katonda yabateeka mu maka amalungi ag’olusuku lwa Katonda. Katonda yagenderera omuntu abeerewo emirembe gyonna era ekiseera bwe kyandiyiseewo ensi yandijjudde abantu abatuukiridde. (Olubereberye 1:​31; 2:​15) Kati olwo lwaki tufa?

Obujeemu Buleeta Okufa

3. Obulamu obutaggwaawo eri Adamu ne Kaawa bwesigama ku ki?

3 Katonda yalagira Adamu: “Buli muti ogw’omu lusuku olyangako nga bw’onooyagalanga: naye omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi togulyangako: kubanga olunaku lw’oligulyako tolirema kufa.” (Olubereberye 2:​16, 17) N’olwekyo Adamu ne Kaawa okubeerawo emirembe gyonna kyaliko akakwate; kyali kyesigamye ku buwulize bwabwe eri Katonda.

4. Adamu ne Kaawa bwe baayonoona, lwaki baafiirwa essuubi lw’okubeerawo emirembe gyonna mu Lusuku lwa Katonda?

4 Kyokka, eky’ennaku Adamu ne Kaawa tebaagoberera tteeka lya Katonda. (Olubereberye 3:​1-6) Mu kukola batyo, baafuuka boonoonyi, kubanga “ekibi bwe bujeemu.” (1 Yokaana 3:​4) N’ekyavaamu, Adamu ne Kaawa baali tebakyalina ssuubi lya bulamu butaggwaawo. Lwaki? Kubanga “empeera y’ekibi kwe kufa.” (Abaruumi 6:​23) Bwe kityo, bwe yali asalira Adamu ne Kaawa omusango, Katonda yagamba: “Oli nfuufu gwe, ne mu nfuufu mw’olidda.” Bazadde baffe abasooka bagobebwa mu maka gaabwe ag’Olusuku lwa Katonda. Ku lunaku lwe baayonoonerako, Adamu ne Kaawa baatandika okuddirira mpolampola okutuusa lwe baafa.​—⁠Olubereberye 3:​19, 23, 24.

“Okufa ne Kubuna ku Bantu Bonna”

5. Okufa kwabuna kutya ku lulyo lw’omuntu lwonna?

5 Adamu ne Kaawa kati baalina ekibi munda yaabwe. Bwe kityo baali tebasobola kuzaala baana batuukirivu, ng’ekintu ekibumba ekitatuukiridde bwe kitayinza kukola bintu bituukirivu. (Yobu 14:​4) Mazima ddala, buli muntu azaalibwa akakasa nti bazadde baffe abasooka baafiirwa era ne bafiiriza ezzadde lyabwe obulamu obutuukiridde n’obulamu obutaggwaawo. Pawulo omutume Omukristaayo yawandiika: “Ku bw’omuntu omu ekibi bwe kyayingira mu nsi, okufa ne kuyingira olw’ekibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna, kubanga bonna baayonoona.”​—⁠Abaruumi 5:​12; geraageranya Zabbuli 51:5.

6. Lwaki tufa?

6 Leero bannasayansi tebamanyi lwaki abantu bakaddiwa ne bafa. Kyokka, Baibuli ennyonnyola nti tufa kubanga tuzaalibwa nga tuli boonoonyi, olw’okusikira embeera eno okuva ku bazadde baffe abasooka. Naye kiki ekitutuukako bwe tufa?

[Ebibuuzo]