Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Waliyo Obulamu Oluvannyuma lw’Okufa?

Waliyo Obulamu Oluvannyuma lw’Okufa?

Waliyo Obulamu Oluvannyuma lw’Okufa?

“N’omuti gulina essuubi. Bwe gutemebwa gujja kuddamu guloke nate . . . Omuntu bw’afa asobola okuba omulamu nate?”​—MUSA, NNABBI OW’EDDA.

1-3. Bangi banoonya batya okubudibwabudibwa nga bafiiriddwa omwagalwa?

MU KIBUGA kya New York, mu kifo omuli omuntu afudde, ab’emikwano n’ab’omu maka batambula mpolampola okuyita awali essanduuko y’omufu embikkule. Beetegereza omulambo, ogw’omulenzi ow’emyaka 17. Mikwano gye egy’oku ssomero tebayinza kumutegeera. Enviiri ze zikunkumuse olw’eddagala ery’amaanyi eryamukozesebwako; kookolo amukozezza yenna. Ono ddala y’abadde mukwano gwabwe? Emyezi mitono egiyise, yalina ebirowoozo eby’amagezi bingi nnyo, yalina ebibuuzo bingi n’amaanyi mangi​—⁠nga mulamu tteke! Maama w’omulenzi ono ali mu nnaku ennyingi ennyo agezaako okufuna essuubi n’okubudaabudibwa mu ndowooza nti omwana we akyali mulamu. Ng’ali mu maziga addiŋŋana ebigambo bino bye yayigirizibwa: “Tommy kati ali mu ssanyu erisingako. Katonda y’ayagadde Tommy agende mu ggulu gy’ali.”

2 Mayiro nga 7,000 okuva wano, mu Jamnagar, India, abaana ab’obulenzi basatu ab’omusuubuzi ow’emyaka 58 bayamba okuteeka omulambo gwa taata waabwe mu kifo we bookera abafu. Mu kasana k’oku makya, omwana asinga obukulu atandika omukolo ogw’okwokya omulambo ng’akoleeza enku n’omumuli era afuka ku mulambo gwa kitaawe ebirungo omuli obubaane eby’akaloosa. Okubuubuuka kw’omuliro kubuutikirwa okuddiŋŋana kw’ebigambo bya Brahman ebya Sanskrit mantras, ebitegeeza: “Ka emmeeme etafa yeeyongere okufuba okubeera obumu n’ow’enkomerero.”

3 Ng’ab’oluganda abasatu balaba omukolo ogwo ogw’okwokya omulambo, buli omu mu kasirise yeebuuza, ‘Nzikiririza mu bulamu oluvannyuma lw’okufa?’ Olw’okuba bayigirizibwa mu bitundu by’ensi eby’enjawulo, baddamu bya njawulo. Asembayo obuto mukakafu nti taata waabwe omwagalwa ajja kubbulukukira mu bulamu obusingako ekitiibwa. Omwana addako obukulu akkiriza nti abafu beebase, nga tebalina kye bamanyi kyonna. Asinga obukulu akkiriza bukkiriza nti afudde, kubanga alowooza nti tewali n’omu asobola okumanyira ddala ekitutuukako bwe tufa.

Ekibuuzo Kimu, eby’Okuddamu Bingi

4. Kibuuzo ki ekitawaanyiza olulyo lw’omuntu okumala ekiseera kiwanvu?

4 Waliyo obulamu oluvannyuma lw’okufa? kye kibuuzo ekitawaanyizza olulyo lw’omuntu okumala ebyasa n’ebyasa by’emyaka. “N’abakugu mu by’eddiini basoberwa nga boolekaganye nakyo,” bw’atyo Hans Küng, omwekenneenya Omukatuliki bw’agamba. Ebiseera nga bwe bizze biyitawo, abantu mu buli kitundu balowoozezza ku nsonga eno, era babadde n’eby’okuddamu bingi.

5-8. Amadiini agatali gamu gayigiriza ki ku bulamu oluvannyuma lw’okufa?

5 Bangi abeeyita Abakristaayo bakkiririza mu kugenda mu ggulu n’omuliro gw’okubonyaabonya. Ku luuyi olulala, Abahindu bakkiririza mu kubbulukukira mu bulamu obulala. Ng’ayogera ku ndowooza y’Abasiraamu, Amir Muawiyah, akolera mu ttendekero ly’eddiini y’Abasiraamu, agamba: “Tukkiriza nti wajja kubaawo olunaku lw’okusalirako omusango oluvannyuma lw’okufa, w’oyimiririra mu maaso ga Katonda, Allah, ekijja okufaananako okugenda mu kkooti.” Okusinziira ku nzikiriza y’Abasiraamu, olwo Allah ajja kwekkaanya engeri buli omu gye yayisaamu obulamu bwe era amusindike mu lusuku lwa Katonda oba mu muliro ogutazikira.

6 Mu Sri Lanka, Ababudda n’Abakatuliki baleka enzigi n’amadirisa nga biggule bwe wabaawo afudde mu maka gaabwe. Ettabaaza ekoleezebwa, era omufu n’ateekebwa mu ssanduuko ng’ebigere bye byolekedde oluggi lw’omu maaso. Bakkiriza nti enkola eno esobozesa omwoyo, oba emmeeme y’omufu okuva mu nnyumba.

7 Ababorigini mu Australia, bakkiriza nti “abantu balina omwoyo ogutayinza kuzikirizibwa,” bw’atyo Ronald M. Berndt ow’omu Univasite y’omu Bugwanjuba bwa Australia bw’agamba. Amawanga agamu mu Afirika gakkiriza nti oluvannyuma lw’okufa abantu ba bulijjo bafuuka mizimu, so ng’ate abantu abatutumufu bafuuka myoyo gya bajjajja, abajja okuweebwa ekitiibwa era batwalibwe ng’abakulembeze b’ekitundu abatalabika.

8 Mu nsi ezimu, enzikiriza ezikwata ku mmeeme ezirowoozebwa okuba ez’abafu zitabikiddwamu obulombolombo bw’omu kitundu n’Obukristaayo. Ng’ekyokulabirako, mu Bakatuliki n’Abaprotestanti bangi mu Afirika ow’Ebugwanjuba, kya bulijjo okubikka ku ndabirwamu omuntu bw’afa waleme kubaawo atunula mu ndabirwamu alabe omwoyo gw’omuntu afudde. Ate, ennaku 40 oluvannyuma lw’okufa kw’omwagalwa, ab’omu maka n’ab’emikwano bajaguza olw’okulinnya kw’emmeeme ye mu ggulu.

Omutwe Ogumanyiddwa Ennyo

9, 10. Njigiriza ki enkulu amadiini agasinga obungi gye gakkiriza?

9 Eby’okuddamu mu kibuuzo ekikwata ku kibaawo bwe tufa bya njawulo nnyo ng’obulombolombo n’enzikkiriza z’abantu ababiddamu. Kyokka, amadiini agasinga obungi gakkiriziganya ku nsonga emu: Ekintu ekiri mu muntu​—⁠emmeeme, omwoyo, omuzimu​—⁠tekifa era kyeyongera okuba nga kiramu oluvannyuma lw’okufa.

10 Enkumi n’enkumi z’amadiini ga Kristendomu n’obudiini obwekutuddekutuddemu bakkiririza mu butafa bw’emmeeme. Era njigiriza ntongole mu ddiini y’Ekiyudaaya. Mu ddiini y’Abahindu enzikiriza eno gwe musingi gw’enjigiriza y’okubbulukukira mu bulamu obulala. Abasiraamu bakkiriza nti emmeeme etondebwa wamu n’omubiri naye esigala nga nnamu oluvannyuma lw’omubiri okufa. Enzikiriza endala​—⁠ey’Abafirika ey’omwoyo ogutafa, eya Abashinto, era n’eya Ababuda​—⁠ziyigiriza eby’enjawulo ku mutwe guno gwe gumu.

11. Abekenneenya abamu batunuulira batya endowooza nti emmeeme tefa?

11 Abamu balina endowooza ekontana n’eyo, nti obulamu buggwaawo ku kufa. Gye bali, endowooza egamba nti obulamu busigalawo ng’emmeeme enjawufu ku mubiri si ya magezi. Miguel de Unamuno, omuwandiisi era omwekenneenya Omusipayini ow’omu kyasa ekya 20 awandiika bw’ati: “Okukkiririza mu butafa bw’emmeeme kuba kugamba nti emmeeme tefa, naye okuba n’endowooza ng’eyo kireetera omuntu obutalowooza mu ngeri ya magezi.” Mu abo abaagaana okukkiririza mu butafa bw’omuntu mulimu abafirosoofo ab’edda nga Aristotle ne Epicurus, Hippocrates omusawo, David Hume omufirosoofo Omusikotisi, Averroës omwekenneenya Omuwalabu ne Jawaharlal Nehru katikkiro wa India eyasooka oluvannyuma lw’okufuna obwetwaze.

12, 13. Bibuuzo ki ebikulu ebiggyawo ku njigiriza y’obutafa bw’emmeeme?

12 Ekibuuzo kiri nti, Ddala tulina emmeeme etafa? Emmeeme bw’eba nga ddala tefa, kati olwo enjigiriza eyo ey’obulimba yaggya etya okuba emu ku njigiriza enkulu ey’amadiini agasinga obungi leero? Endowooza eyo yatandikira wa? Era emmeeme bw’eba nga ddala erekera awo okuba ennamu ku kufa, abafu balina ssuubi ki?

13 Tuyinza okufuna eby’okuddamu eby’amazima era ebimatiza mu bibuuzo ng’ebyo? Yee! Bino n’ebibuuzo ebirala bijja kuddibwamu mu mpapula eziddako. Okusooka, ka twekenneenye ensibuko y’enjigiriza y’obutafa bw’emmeeme.

[Ebibuuzo]