Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ddala Ani Afuga Ensi?

Ddala Ani Afuga Ensi?

Ddala Ani Afuga Ensi?

Abantu bangi bajja kuddamu ekibuuzo ekyo waggulu mu kigambo kimu​—⁠Katonda. Naye kikakafu nti tewali Baibuli w’egambira nti Yesu Kristo oba Kitaawe be bafuzi ddala ab’ensi eno. Ku luuyi olulala, Yesu yagamba nti: “Omukulu [Omufuzi, New World Translation] w’ensi eno anaagoberwa ebweru.” Era yagattako nti: “Afuga ensi ajja: naye tandiiko kigambo.”​—⁠Yokaana 12:​31; 14:​30; 16:​11.

Bwe kityo omufuzi w’ensi eno awakanya Yesu. Ono anaaba ani?

Ebiriwo mu Nsi Bituyamba Okutegeera

Wadde nga wabaddewo okufuba kw’abantu abeesimbu, ensi ebonyeebonye nnyo mu byafaayo byonna. Kino kireetedde abantu abafumiitiriza okwewuunya, nga omugenzi David Lawrence eyali omukuŋŋaanya w’amawulire: “ ‘Emirembe ku nsi’​—⁠kumpi buli muntu agyagala. ‘Emirembe gibe mu bantu’​—⁠kumpi amawanga gonna ag’omu nsi gawulira bwe gatyo eri gannewaago. Olwo ate kiki ekikyamu? Lwaki waliwo entiisa y’entalo yadde ng’abantu balina okwegomba okw’obuzaaliranwa bwe kutyo?”

Kifaanana ng’ekyewakanya, si bwe kiri? Ng’okwegomba kw’abantu okw’obuzaaliranwa kwe kubeera mu mirembe, emirundi egisinga bakyawagana era battiŋŋana​—⁠ate mu bukambwe obw’ekitalo ennyo. Lowooza ku bussi obw’obukambwe obuyitiridde. Abantu bakozesezza emikka egy’obutwa, enkambi z’abasibe, ebikasuka ennimi z’omuliro, bbomu nnamuzisa, era n’engeri endala embi ennyo ez’okutulugunya n’okuttiŋŋana awatali kusaasira n’akamu.

Ggwe olowooza, abantu abettanira emirembe n’essanyu, bo, ku lwabwe basobola okukola obubi obwenkanidde awo ku bannaabwe? Maanyi ki agasindiikiriza abantu okukola ebintu ebyennyamiza ng’ebyo oba agabatuusa mu mbeera ey’okuba nti bawalirizibwa okukola ebikolobero? Wali okirowoozezzako obanga waliwo amaanyi amabi agatalabika agasindiikiriza abantu okukola ebintu eby’obukambwe ng’ebyo?

Abafuzi b’Ensi Baategeerekeka

Tekyetaagisa na kuteebereza ku nsonga eno, kubanga Baibuli ekiraga bulungi nti omuntu ow’amagezi, atalabika y’abadde afuga byombi abantu n’amawanga. Bw’eti bw’egamba: “Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” Era Baibuli emwoleka bulungi, ng’egamba nti: “[Oyo ayitibwa] Omulyolyomi era Setaani . . . omulimba w’ensi zonna.”​—⁠1 Yokaana 5:​19, NW; Okubikkulirwa 12:⁠9.

Omulundi gumu Yesu bwe yali ‘akemebwa Setaani,’ Yesu teyabuusabuusa kifo kya Setaani ng’omufuzi w’ensi eno. Baibuli ennyonnyola nga bwe byali: “Setaani n’amutwala ku lusozi oluwanvu ennyo, n’amulaga ensi za bakabaka bonna abali mu nsi, n’ekitiibwa kyazo; n’amugamba nti Ebyo byonna naabikuwa bw’onoovunama okunsinza. Awo Yesu n’amugamba nti Vaawo genda Setaani.”​—⁠Matayo 4:​1, 8-10.

Fumiitiriza ku kino. Setaani yakema Yesu ng’amusuubiza “ensi za bakabaka abali mu nsi.” Naye, Setaani kye yali asuubiza okumuwa kyandibadde kikemo kya nnamaddala singa Setaani mu butuufu si ye yali omufuzi w’obwakabaka buno? Nedda, tekyandibadde. Era weetegereze, Yesu teyawakana nti gavumenti zino zonna ez’ensi tezaali za Setaani, songa kye yandikoze singa Setaani teyazirinaako bwannannyini. N’olwekyo, Setaani Omulyolyomi ddala ye mufuzi w’ensi atalabika! Mu butufu, Baibuli emuyita “katonda ow’emirembe gino.” (2 Abakkolinso 4:⁠4) Naye, omuntu omubi bw’ati yatuuka atya okuba mu kifo eky’amaanyi bwe kityo?

Oyo eyafuuka Setaani yali malayika eyatondebwa Katonda, naye ne yeegwanyiza ekifo kya Katonda. Yasoomooza obutuufu bw’obufuzi bwa Katonda. N’akozesa omusota ng’eky’okwogereramu okulimba omukazi omubereberye, Kaawa, era bw’atyo n’asobola okuleetera Kaawa, ne bbaawe, Adamu, okukola ­ky’ayagala mu kifo ky’okugondera Katonda. (Olubereberye 3:​1-6; 2 Abakkolinso 11:⁠3) Era yeegamba nti yandisobodde okuggya ku Katonda ezzadde lya Adamu ne Kaawa lyonna eryali litannazaalibwa. Kale Katonda yalekera Setaani ekiseera okugezaako okukakasa kye yagamba, naye Setaani alemereddwa.​—⁠Yobu 1:​6-12; 2:​1-10.

Mu mazima, Setaani tali yekka mu bufuzi bw’ensi. Yasobola okusendasenda abamu ku bamalayika abalala okumwegattako mu kujeemera Katonda. Bano baafuuka balubaale, emyoyo bwe bakolera awamu. Baibuli eboogerako ng’ekubiriza Abakristaayo nti: “Muyinzenga okuyimirira eri enkwe za Setaani. Kubanga tetumeggana na musaayi na mubiri, wabula . . . n’abafuga ensi ab’omu kizikiza kino, n’emyoyo egy’obubi mu bifo ebya waggulu.”​—⁠Abaefeso 6:​11, 12.

Ziyiza Emyoyo Emibi

Abafuzi b’ensi bano ababi, abatalabika bamaliridde okukyamya abantu bonna, okubaggya ku kusinza Katonda. Engeri emu emyoyo emibi gye gikolamu kino kwe kukuliriza endowooza ey’obulamu oluvannyuma lw’okufa, wadde nga Ekigambo kya Katonda kiraga lwatu nga abafu tebaliiko kye bamanyi. (Olubereberye 2:​17; 3:​19; Ezeekyeri 18:⁠4; Zabbuli 146:​3, 4; Omubuulizi 9:​5, 10) Bwe kityo, omwoyo omubi, nga gugeegeenya eddoboozi ly’oyo eyafa, guyinza okwogera n’ab’eŋŋanda ze abalamu oba mikwano gye, nga gukikola okuyitira mu mulubaale oba nga gukozesa “eddoboozi” okuva mu twale eritalabika. “Eddoboozi” eryo lyefaananya okuba ery’oyo eyafa, kyokka nga lubaale yennyini!

N’olwekyo singa owulira “eddoboozi” ng’eryo, tolimbibwalimbibwa. Gaana buli kye lyogera, era ddamu ebigambo bya Yesu nti: “Vaawo genda Setaani.” (Matayo 4:​10; Yakobo 4:⁠7) Tokkiriza kusikirizibwa kwagala kumanya ebifa mu ttwale ery’emyoyo okukuleetera okukolagana n’emyoyo emibi. Enkolagana eyo eyitibwa obusamize, era Katonda alabula abasinza be okwewala buli ngeri ya busamize. Baibuli evumirira omuntu yenna “akola eby’obufumu . . . newakubadde asamira omuzimu, newakubadde emmandwa, newakubadde abuuza abafu.”​—⁠Ekyamateeka 18:​10-12; Abaggalatiya 5:​19-21; Okubikkulirwa 21:⁠8.

Okuva obusamize bwe buleeta omuntu okubeera wansi wa balubaale, weewale ebikolwa byabwo byonna ka bibe nga biyinza okufaanana okunyuma oba okusanyusa ennyo. Ebikolwa bino mwe muli okutunula nkakaba mu ndabirwamu ey’obulaguzi, okukozesa obubaawo bwa Ouija, ESP, okulaguza ebibatu, n’okulaguzisa emmunyeenye. Balubaale era basobodde okukola amaloboozi agalekaana era n’ebintu ebirala ebirabikako mu mayumba ge bafuula amatwale gaabwe.

Okugatta ku ebyo, emyoyo emibi gikozesa embeera ey’okuba nti abantu beekubiira ku bwonoonyi nga gissaawo ebitabo, ebifaananyi eby’oku ntimbe, ne programu ez’oku ttivvi ebirimu enneeyisa ey’obugwenyufu n’okwetaba awamu okutali kwa buzaaliranwa. Balubaale bamanyi nti ebirowoozo ebikyamu singa biba tebigobeddwa mu mutima bijja kunywerera ddala bireetere abantu okukola agayisa agabi​—⁠nga balubaale bennyini bwe bakola.​—⁠Olubereberye 6:​1, 2; 1 Abasessaloniika 4:​3-8; Yuda 6.

Kituufu, bangi bayinza okusekerera endowooza eno nti ensi efugibwa emyoyo emibi. Naye obutakkiriza bwabwe tebwewuunyisa, okuva Baibuli bw’egamba nti “Setaani yeefaananya nga malayika ow’omusana.” (2 Abakkolinso 11:⁠14) Obulimba bwe obusingira ddala bubadde mu kuziba bangi amaaso ku ky’okuba nti ye ne balubaale ddala gyebali. Naye tolimbibwa! Omulyolyomi ne balubaale be gyebali ddala, era weetaaga okubaziyizanga bulijjo.​—⁠1 Peetero 5:​8, 9.

Eky’essanyu, ekiseera kiri kumpi nnyo Setaani ne banne lwe banaaba nga tebakyaliwo! “Ensi [nga mw’otwalidde ne balubaale abagifuga] eggwaawo,” bw’etyo Baibuli bw’ekakasa, “naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.” (1 Yokaana 2:​17) Nga kujja kuba kuteewuluzibwa kwa maanyi ng’abakubiriza obubi abo baggiddwaawo! N’olwekyo, ka tubeere mu abo abakola Katonda by’ayagala tunyumirwe obulamu emirembe gyonna mu nsi ya Katonda empya ey’obutuukirivu.​—⁠Zabbuli 37:​9-11, 29; 2 Peetero 3:​13; Okubikkulirwa 21:​3, 4.

Okuggyako nga kiragiddwa obulala, ebijuliziddwa byonna mu Baibuli biggiddwa mu Baibuli y’Oluganda eya United Bible Societies eya 1968.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]

Setaani yandisuubizza okuwa Yesu gavumenti zino zonna ez’ensi singa tezaali zize?