Buuka ogende ku bubaka obulimu

Abantu Bonna bwe Baliba nga Baagalana

Abantu Bonna bwe Baliba nga Baagalana

Amawulire g’Obwakabaka Na. 35

Abantu Bonna bwe Baliba nga Baagalana

Okwagala Muliraanwa Kuddiridde Nnyo

OBUKADDE n’obukadde bw’abantu basobeddwa era banakuwavu, naye babuliddwa obuyambi. Omukyala omu eyali munnabizineesi yagamba: ‘Lumu nnamwandu omu abeera ku kkalina y’emu nange yakonkona ku luggi lwange n’aŋŋamba nti yali awulira ekiwuubaalo. Nnamugamba mu ngeri ey’eggonjebwa kyokka butereevu nti nnali nnina bye nkola. Yanneetondera olw’okuntawaanya n’agenda.’

Eky’ennaku, ekiro ekyo kyennyini, nnamwandu oyo yetta. Oluvannyuma, omukyala oyo munnabizineesi yagamba nti yafuna “eky’okuyiga ekikulu.”

Emirundi mingi obutaba na kwagala eri muliraanwa wo kuvaamu eby’akabi. Mu kulwanagana kw’amawanga okuli mu Bosnia ne Herzegovina, ebyali ebitundu by’ensi eyayitibwanga Yugoslavia, abantu abasukka mu kakadde akamu baawalirizibwa okudduka mu maka gaabwe era mitwalo na mitwalo battibwa. Baani abaakola ebyo? “Baliraanwa baffe,” bw’atyo bwe yayogera omuwala omu eyawalirizibwa okudduka okuva ku kyalo ky’ewaabwe. “Twali tubamanyi.”

Mu Rwanda abantu mitwalo na mitwalo battibwa, ng’emirundi egisinga battibwa baliraanwa baabwe bennyini. “Abahutu n’Abatusi [baabeeranga] wamu, nga bafumbiriganwa, nga tewali afaayo yadde amanyi nti ono Muhutu oba nti ono Mutusi,” bwe katyo bwe kaagamba akatabo ka The New York Times. “Awo omutawaana ne gubalukawo,” era “okuttiŋŋana ne kutandika.”

Mu ngeri y’emu, Abayudaaya n’Abawalabu mu Isiraeri babeera mu bitundu bye bimu, naye bangi tebaagalana. Era embeera y’emu wakati w’Abakatuliki n’Abaprotestanti bangi mu Ireland era ne wakati w’abantu abalala bangi mu nsi endala. Mu byafaayo byonna ensi teggwangamu kwagala nga bwe kiri kati.

Lwaki Okwagala Muliraanwa Kuddiridde Nnyo?

Omutonzi waffe atuwa eky’okuddamu. Ekigambo kye, Baibuli, ennaku ze tulimu kiziyita ‘ennaku ez’oluvannyuma.’ Kino kye kiseera, obunnabbi bwa Baibuli kye bwogerako nti, abantu baliba ‘tebaagala ba luganda.’ Ku bikwata ku biseera bino ‘ebizibu ennyo,’ era ebiyitibwa “amafundikira g’embeera zino ez’ebintu” mu Byawandiikibwa, Yesu Kristo yalagula nti “okwagala kw’abasinga obungi kuliddirira nnyo.”​—⁠2 Timoseewo 3:​1-5; Matayo 24:​3, 12, The New World Translation.

N’olwekyo, obutabaawo kwagala leero kye kimu ku ebyo ebiraga nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma ez’ensi eno. Eky’essanyu, kino kitegeeza nti mangu ensi eno ey’abantu abatatya Katonda egenda kuvaawo waddewo ensi empya ey’obutuukirivu omuli okwagala.​—⁠Matayo 24:​3-​14; 2 Peetero 2:​5; 3:​7, 13.

Naye ddala tulina ensonga kwe tusinziira okukkiriza nti enkyukakyuka ng’eyo esoboka​—⁠nti abantu bonna bayinza okuyiga okwagalana n’okubeera awamu mu mirembe?

Okwagala Muliraanwa—Kisoboka

“MULIRAANWA wange ye ani?” bw’atyo munnamateeka omu mu kyasa ekyasooka bwe yabuuza Yesu. Tewali kubuusabuusa yali asuubira Yesu okumugamba nti, ‘Bayudaaya banno.’ Naye mu lugero olukwata ku Musamaliya ow’ekisa, Yesu yalaga nti abantu ab’amawanga amalala nabo baba baliraanwa baffe.​—⁠Lukka 10:​29-​37; Yokaana 4:​7-9.

Yesu yakiggumiza nti, okwagala muliraanwa kwe kwandibadde kuddirira okwagala Katonda mu bulamu bwaffe. (Matayo 22:​34-​40) Naye waliwo ekibinja ky’abantu kyonna ekiraze okwagala okwa nnamaddala eri baliraanwa baabwe? Abakristaayo abaasooka baakikola! Baamanyibwa nnyo olw’okwagala kwe baalina eri abalala.​—⁠Yokaana 13:​34, 35.

Ate leero? Waliwo abantu bonna abooleka okwagala okulinga okwa Kristo? Ekitabo Encyclopedia Canadiana kigamba: “Omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa guzizzaawo Obukristaayo obwasooka obwatandikibwawo Yesu n’abayigirizwa be . . . Bonna ba luganda.”

Ekyo kitegeeza ki? Kitegeeza nti Abajulirwa ba Yakuwa tebakkiriza kintu kyonna​—⁠kibe langi, ggwanga, oba kika kyabwe​—⁠kubaleetera kukyawa baliraanwa baabwe. Era tebayinza kutta muntu yenna, kubanga ebitala byabwe babifudde nkumbi mu ngeri ey’akabonero n’amafumu gaabwe bagafudde biwabyo. (Isaaya 2:​4) Mu butuufu, Abajulirwa bamanyiddwa nnyo olw’okuyamba baliraanwa baabwe.​—⁠Abaggalatiya 6:​10.

Tekyewuunyisa nti ekitundu ky’omukuŋŋaanya mu katabo Sacramento Union ak’omu Cali­fornia kyagamba: “Kiyinza okugambibwa nti singa ensi yonna egoberera enjigiriza y’Abajulirwa ba Yakuwa, okuyiwa omusaayi n’obukyayi byandikomye, era okwagala kwandifuze wonna.” Omuwandiisi omu mu katabo akayitibwa Ring ak’omu Hungary ­yagamba: “Kati nkiraba nti singa Abajulirwa ba Yakuwa be bokka abaali ku nsi, entalo zandikomye, era omulimu gw’abapoliisi gwokka gwandibadde gwa kulagirira bidduka na kugaba paasipooti.”

Naye, kirina okukkirizibwa nti enkyukakyuka mu nsi yonna ejja kwetaagibwa abantu bonna basobole okwagalana. Enkyukakyuka eyo enejja etya? (Tukusaba olabe ku lupapula olw’emabega.)

Abantu Bonna bwe Baliba nga Baagalana

OKUSABA Yesu Kristo kwe yatuyigiriza kulaga nti enkyukakyuka ey’amaanyi eri kumpi. Mu Kubuulira kwe okumanyiddwa ennyo okw’Oku Lusozi, Yesu yatuyigiriza okusaba nti: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.”—Matayo 6:10.

Obwakabaka bwa Katonda kye ki? Gavumenti yennyini, efuga ng’esinziira mu ggulu. Ye nsonga lwaki buyitibwa “obwakabaka obw’omu ggulu.” Yesu, “Omulangira w’Emirembe,” alondeddwa Kitaawe okuba omufuzi waabwo.—Matayo 10:7; Isaaya 9:6, 7, NW; Zabbuli 72:1-8.

Obwakabaka bwa Katonda bwe bunajja, kiki ekinaatuuka ku nsi eno ejjudde obukyayi? “Obwakabaka,” bujja ‘kumenyaamenya era buzikirize’ gavumenti zonna ennyonoonefu ez’oku nsi eno. (Danyeri 2:​44) Baibuli egamba: “Ensi eggwaawo . . . , naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.”​—⁠1 Yokaana 2:​17.

Ku bikwata ku nsi ya Katonda empya, Baibuli egamba: “Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.” (Zabbuli 37:9-11, 29; Engero 2:21, 22) Nga kijja kuba kiseera kya ttendo! “Okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa.” (Okubikkulirwa 21:​4) N’abaafa baliddamu okuba abalamu, era ensi yonna ejja kufuulibwa olusuku lwa Katonda.—Isaaya 11:6-9; 35:1, 2; Lukka 23:43; Ebikolwa 24:15.

Okusobola okubeera mu nsi empya eya Katonda, tuteekwa okwagalana, nga Katonda bw’atuyigiriza. (1 Abasessaloniika 4:9) Omuyizi wa Baibuli omu ow’omu nsi ey’Ebuvanjuba yagamba: “Nneesunga ekiseera ekyo, nga Baibuli bw’esuubiza, abantu bonna lwe balibeera nga bayize okwagalana.” Era tuyinza okuba abakakafu nti Katonda ajja kutuukiriza ebisuubizo bye! “Nnayogera,” bw’atyo bw’agamba, “n’okukola ndikikola.”—Isaaya 46:11.

Naye okunyumirwa emikisa egyo wansi w’Obwakabaka bwa Katonda, oteekwa okuyiga Baibuli, ng’obukadde n’obukadde bw’abantu ab’emitima emyesigwa okwetooloola ensi yonna bwe bakola. (Yokaana 17:3) Brocuwa ey’empapula 32 Katonda Atwetaagisa Ki? ejja kukuyamba. Funa kopi yo ng’ojjuza akapapula akali emabega okaweereze ku ndagiriro esingayo okuba okumpi ne w’obeera.

□Nnandyagadde okufuna brocuwa Katonda Atwetaagisa Ki?

□Mbasaba muntegeeze ebikwata ku kuyigirizibwa Baibuli awaka awatali kusasula.

[Ensibuko y’Ekifaananyi ekiri ku lupapula 2]

Omuserikale n’okuziika mu Bosnia: Reuters/Corbis-Bettmann