Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ensi Eno Eneewonawo?

Ensi Eno Eneewonawo?

Ensi Eno Eneewonawo?

Tewali mulembe mulala gwali guwulidde kwogera ku nkomerero ya nsi kungi nga kuno. Bangi batya nti ensi erisirikka mu nnamuzisa wa nuclear. Abalala balowooza nti okwonoonebwa kw’embeera yaayo kuyinza okuzikiriza ensi. Ate abalala beeraliikirira nti obutabufutabufu mu by’enfuna bujja kuviiramu abantu okwefuulira bannaabwe.

Ensi eno ddala esobola okuggwaawo? Bw’eba nga yandisobodde, kyandibadde na makulu ki? Ensi yali etuuseeko ku nkomerero?

Ensi Eggwaawo​—⁠Endala Edda mu Kifo Kyayo

Yee, ensi yatuukako ku nkomerero. Lowooza ku nsi eyafuuka embi ennyo mu nnaku za Nuuwa. Baibuli ennyonnyola nti: “Ensi ey’edda amazzi kyegaava gagisaanyaawo n’ezikirira.” Baibuli era egamba nti: “[Katonda] n’atasonyiwa nsi ey’edda, naye n’awonya Nuuwa, omubuulizi w’obutuukirivu, ne banne omusanvu bokka, bwe yaleeta amataba ku nsi ey’abatatya Katonda.”​—⁠2 Peetero 2:⁠5; 3:⁠6.

Weetegereze enkomerero y’ensi eyo kye yategeeza ne ky’etaategeeza. Teyali nkomerero ya bantu bonna. Nuuwa n’ab’omu maka ge baawonawo mu Mataba ago ag’ensi yonna. N’ensi etuulibwamu awamu n’eggulu eddungi ery’emmunyeenye nabyo byawonawo. “Nsi ey’abatatya Katonda” ye yaggwaawo, embeera embi ez’ebintu.

Oluvannyuma lw’ekiseera, ng’abaana ba Nuuwa bagenda beeyongera, ensi endala n’ekulaakulana. Ensi eyo ey’okubiri, oba embeera z’ebintu, weeri n’okutuusa mu kiseera kyaffe. Ebyafaayo byayo bijjude ntalo, obumenyi bw’amateeka n’ettemu. Kiki ekinaatuuka ku nsi eno? Eneewonawo?

Ebiseera by’Ensi Eno eby’omu Maaso

Oluvannyuma lw’okwogera nti ensi ey’omu biseera bya Nuuwa yazikirizibwa, ebyawandiikibwa mu Baibuli byeyongera nti: “Eggulu erya kaakano n’ensi olw’ekigambo ekyo biterekeddwa omuliro.” (2 Peetero 3:⁠7) Ddala ddala, ng’omuwandiisi omulala owa Baibuli bw’annyonnyola: “Ensi [eno eriwo kati] eggwaawo.”​—⁠1 Yokaana 2:⁠17.

Baibuli tetegeeza nti ensi etuulibwamu oba eggulu ery’emmunyeenye bye bijja okuggwaawo, nga era bino bwe bitaggwaawo mu nnaku za Nuuwa. (Zabbuli 104:⁠5) Wabula, ensi eno, ne “eggulu” lyayo, oba abafuzi ba gavumenti zaayo abakozesebwa Setaani, ne “ensi,” oba ekibiina ky’abantu, be balizikirizibwa mu ngeri eringa ey’omuliro. (Yokaana 14:​30; 2 Abakkolinso 4:⁠4) Ensi eno, oba embeera z’ebintu, ejja kuggweerawo ddala ng’ensi eyo eyaliwo ng’Amataba tegannaba. Yesu Kristo naye yayogera ku mbeera eyaliwo mu ‘nnaku za Nuuwa’ ng’ekyokulabirako ku ebyo ebiribaawo ng’enkomerero y’ensi eno enaatera okutuuka.​—⁠Matayo 24:⁠37-39.

Mu mazima, Yesu bwe yayogera ku nnaku Nuuwa, yali addamu ekibuuzo ky’abatume: “Kiki akiriba akabonero ak’okujja kwo, n’ak’enkomerero y’ensi?” (Matayo 24:​3, King James Version) Abagoberezi ba Yesu baali bakimanyi nti ensi eno ya kukoma. Kino kyabatiisa?

Ku luuyi olulala, Yesu bwe yannyonnyola ebintu ebyali eby’okubaawo ng’enkomerero y’ensi eneetera okutuuka, yabakubiriza okusanyuka ‘kubanga okununulibwa kwabwe kunaatera okutuuka.’ (Lukka 21:​28) Yee, okununulibwa okuva eri Setaani n’embeera ze embi ez’ebintu okuyingira mu nsi empya ey’emirembe!​—⁠2 Peetero 3:⁠13.

Naye ensi eno erikoma ddi? ‘Kabonero’ ki Yesu ke yawa ‘ak’okujja kwe, n’ak’enkomerero y’ensi’?

“Akabonero”

Ekigambo ky’Oluyonaani ekikyusiddwa wano nga “okujja” kiri pa·rou·siʹa, era kitegeeza “okubeerawo,” kwe kugamba, okuba nga ddala w’oli. Bwe kityo “akabonero” bwe kalabibwa, kyandibadde tekitegeeza nti Kristo anaatera okujja wabula nti akomyewo era waali. Kyandibadde kitegeeza nti atandise okufugira mu butalabika nga kabaka ow’omu ggulu era nti mangu ajja kumalawo abalabe be.​—⁠Okubikkulirwa 12:​7-12; Zabbuli 110:​1, 2.

Yesu teyawa kintu kimu eky’okubaawo nga “akabonero.” Yannyonnyola eby’okubaawo ku nsi bingi era n’embeera. Bino byonna nga bya kubaawo mu kiseera abawandiisi ba Baibuli kye baayita ‘ennaku ez’oluvannyuma.’ (2 Timoseewo 3:​1-5; 2 Peetero 3:​3, 4) Lowooza ku bintu ebimu Yesu bye yalagula ebyali eby’okulamba ‘ennaku ez’oluvannyuma.’

“Eggwanga liritabaala eggwanga ne kabaka alitabaala kabaka.” (Matayo 24:⁠7 ) Entalo ez’omu nnaku zino zibadde nnene okusinga ezaali zibaddewo. Munnabyafaayo omu yeetegereza nti: “Olutalo olw’Ensi Yonna Olwasooka [olwatandika mu 1914] lwali olutalo ‘ssematalo’ olwasooka.” Kyokka, olutalo olw’ensi yonna olw’okubiri lwasingira wala mu kuzikiriza. Na kati entalo zeeyongera okwonoona ensi. Yee, ebigambo bya Yesu bituukiriziddwa mu ngeri ey’enkuku­nala!

“Walibaawo enjala.” (Matayo 24:⁠7 ) Oluvannyuma lwa Ssematalo I waaliwo enjala mpozzi eyasingira ddala amaanyi mu byafaayo byonna. Enjala ey’amaanyi era yaliwo oluvannyuma lwa Ssematalo II. Ekibonoobono eky’endiisa y’omubiri embi kikosa kimu kya kutaano eky’abantu abali ku nsi, era abaana obukadde 14 be bafa buli mwaka. Mazima ddala, wabaddewo “enjala”!

“Walibaawo n’ebikankano ebinene.” (Lukka 21:​11 ) Okutwalira awamu, abantu bangi emirundi nga kkumi abafudde musisi buli mwaka okuva mu 1914 ng’ogeraageranyi­zza n’ebyasa ebyayita. Lowooza ku byokulabirako bitono eby’oyo ­ow’amaanyi yekka: 1920, China, 200,000 battibwa; 1923, Japaani, 99,300 baatuusibwako ebisago; 1939, Butuluuki 32,700 baafa; 1970, Peru, 66,800, battibwa; ne mu 1976, China, abantu nga 240,000 (oba, okusinziira ku bamu, 800,000) baatuusibwako ebisago. Ddala ddala, ‘musisi ow’amaanyi’!

“Mu bifo ebitali bimu kawumpuli.” (Lukka 21:​11, “New World Translation”) Amangu ddala nga Ssematalo I yaakaggwa, abantu ng’obukadde 21 baafa sseseeba. Akatabo Science Digest kaagamba nti: “Mu byafaayo byonna waali tewabangawo lumbe lwa ntiisa era olutta amangu ng’olwo.” Okuva olwo, endwadde z’omutima, kookolo, mukenenya, n’endwadde endala nnyingi zisse bukadde na bukadde.

“Obujeemu buliyinga obungi.” (Matayo 24:​12 ) Ensi yaffe okuva mu 1914 emanyiddwa ng’ey’obumenyi bw’amateeka n’ettemu. Mu bifo bingi tewali awulira nga taatuukibweko kabi mu nguudo wadde emisana ttuku. Ekiro abantu baba mu maka gaabwe nga enzigi nsibe era nzizike, nga batya okufuluma ebweru.

Ebintu ebirala bingi byalagulwa okubaawo mu nnaku ez’enkomerero, era bino byonna nabyo bigenda bituukirizibwa. Kino kitegeeza nti enkomerero y’ensi eri kumpi. Naye, eky’essanyu, wajja kubaawo abanaawonawo. Oluvannyuma lw’okugamba nti “ensi eggwaawo,” Baibuli esuubiza nti: “Akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.”​—⁠1 Yokaana 2:⁠17.

Kale twetaaga okuyiga Katonda by’ayagala era tubikole. Olwo nno tusobola okuwonawo ku nkomerero y’ensi eno okunyumirwa emirembe n’emirembe emikisa gy’ensi empya eya Katonda. Baibuli esuubiza nti mu kiseera ekyo: “Katonda . . . alisangula buli zziga mu ­maaso [g’abantu]; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa.”​—⁠Okubikkulirwa 21:​3, 4.

Okuggyako nga kiragiddwa obulala, ebijuliziddwa byonna mu Baibuli biggiddwa mu Baibuli y’Oluganda eya United Bible Societies eya 1968.

[Ensibuko y’Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Ebifaananyi: Ennyonyi: Kya USAF. Omwana: kya WHO nga kyakubibwa W. Cutting. Musisi: Y. Ishiyama, Hokkaido University, Japan.