Buuka ogende ku bubaka obulimu

Yakuwa y’Ani?

Yakuwa y’Ani?

Yakuwa y’Ani?

NG’AYITA mu kibira ekikwafu mu Cambodia, Henri Mouhot, omuvumbuzi Omufalansa ow’omu kyasa ekya 19, yatuuka ku mwala ogwetoolodde yeekaalu. Yali eyitibwa Angkor Wat, ekizimbe ky’eddiini eky’ekijjukizo ekisingayo obunene ku nsi. Mouhot bwe yalaba ekizimbe kino ekyali kikuzeeko n’omuddo, yategeera nti kyazimbibwa bantu. “Kyazimbibwa ba-Michelangelo ab’edda,” bw’atyo bwe yawandiika, era “kinene nnyo okusinga ekintu kyonna Abayonaani oba Abaruumi kye baazimba.” Wadde nga tekyafiibwako okumala ebyasa n’ebyasa by’emyaka, teyalina kubuusabuusa kwonna nti ekizimbe ekyo ekinene ennyo, kyalina eyakikola.

Era, ekitabo omuli amagezi ekyawandiikibwa ebyasa by’emyaka emabega kyoleka endowooza efaananako eyo: “Kubanga buli nnyumba wabaawo agizimba; naye eyazimba byonna ye Katonda.” (Abaebbulaniya 3:​4) Naye abamu bayinza okugamba nti, ‘Enkola y’obutonde ya njawulo ku ebyo ebikolebwa abantu.’ Kyokka, bannasayansi bonna tebakkiriziganya na ndowooza eyo.

Oluvannyuma lw’okukkiriza nti “ebintu ebirina enkola ya biochemistry birina obulamu,” Michael Behe, profesa mu biochemistry mu Univasite y’e Lehigh, Pennsylvania, U.S.A., abuuza: “Ebintu ebiramu ebirina enkola ya biochemistry biyinza okukolebwa mu ngeri ey’amagezi?” Yeeyongera okulaga nti bannasayansi kati bakola enkyukakyuka mu bintu ebiramu nga bakola enkyukakyuka mu genes z’ekiramu. Yee, ebintu ebirina obulamu n’ebitalina bulamu biyinza “okukolebwa”! Nga yeekenneenya obutofaali obulamu obusirikitu, Behe yalaba enkola eziwuniikiriza ezirimu ebitundu eby’enjawulo ebikolaganira awamu. Yafundikira atya? “Ebivudde mu kufuba kuno okw’okwekenneenya obutofaali​—⁠okunoonyereza ku bulamu ku ssa lyabwo erisembayo obutono​—⁠biraga lwatu nti ‘bwakolebwa!’”

Kati ani Eyakola bino byonna ebiwuniikiriza?

Ani Yabikola?

Eky’okuddamu kisangibwa mu kitabo eky’edda ennyo omuli amagezi ekyajuliziddwamu mu kusooka​—⁠Baibuli. Mu bigambo byayo ebisooka, Baibuli eddamu ekibuuzo ani yakola ebintu byonna mu ngeri ennyangu ennyo era etegeerekeka obulungi: “Olubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi.”​—⁠Olubereberye 1:1.

Kyokka, mu kweyawula ku balala abayitibwa Katonda, Omutonzi alina erinnya ery’enjawulo: “Bw’atyo bw’ayogera Katonda ow’amazima, Yakuwa, Eyatonda eggulu . . . , Eyayanjuluza ensi n’ebyo ebigivaamu, Awa omukka abantu abagiriko.” (Isaaya 42:​5, 8, New World Translation of the Holy Scriptures) Yakuwa lye linnya lya Katonda eyatonda obutonde bwonna era eyatonda abasajja n’abakazi ku nsi. Naye Yakuwa ono y’ani? Katonda wa ngeri ki? Era lwaki ggwe wandimuwulirizza?

Amakulu g’Erinnya Lye

Okusookera ddala, erinnya ly’Omutonzi, Yakuwa litegeeza ki? Erinnya lya Katonda liwandiikibwa mu nnukuta nnya ez’Olwebbulaniya (יהוה) era lirabika kumpi emirundi 7,000 mu kitundu kya Baibuli ekyawandiikibwa mu Lwebbulaniya. Erinnya lino litwalibwa okuba nti liva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ha·wahʹ (“okuba”) era bwe kityo litegeeza “Ky’Ayagala ky’Aba.” Mu ngeri endala, Yakuwa aba kyonna ky’ayagala okusobola okutuukiriza ebigendererwa bye. Abeera Omutonzi, Omulamuzi, Omununuzi, Abeesaawo obulamu, n’ebirala, okusobola okutuukiriza ebisuubizo bye. Ate era, ekigambo ekyo eky’Olwebbulaniya kirina amakulu agooleka ekikolwa ekituukirizibwa. Kino kitegeeza nti Yakuwa akyatuukiriza ebisuubizo bye. Yee, ye Katonda omulamu!

Engeri za Yakuwa Enkulu

Baibuli eraga nti Omutonzi ono era oyo atuukiriza ebisuubizo bye, muntu alina engeri ezisikiriza ennyo. Yakuwa kennyini yabikkula engeri ze ez’enjawulo era n’agamba: “Mukama, Mukama, Katonda ajjudde okusaasira era ow’ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n’amazima amangi; ajjukira okusaasira eri abantu enkumi n’enkumi, asonyiwa obutali butuukirivu n’okwonoona n’ekibi.” (Okuva 34:​6, 7) Yakuwa ayogerwako nga Katonda alina okusaasira okungi. Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekikozesebwa wano era kisobola okuvvuunulwa “okwagala okunywevu.” Mu kutuukiriza ekigendererwa kye eky’olubeerera, Yakuwa anywerera ku kulaga ebitonde bye okwagala. Tewandisiimye kwagala ng’okwo?

Yakuwa era alwawo okusunguwala era ayanguwa okusonyiwa ensobi zaffe. Kisanyusa okubeera n’omuntu atanoonyereza nsobi naye omwetegefu okutusonyiwa. Naye ekyo tekitegeeza nti Yakuwa okwonoona akubuusa amaaso. Yagamba: “Nze Yakuwa njagala obwenkanya, nkyawa obunyazi n’obutali butuukirivu.” (Isaaya 61:​8, NW ) Nga Katonda ow’obwenkanya, tagumiikiriza boonoonyi abagugubira mu bubi bwabwe. Bwe kityo, tuyinza okuba abakakafu nti mu kiseera kye ekigere, Yakuwa ajja kumalawo obutali bwenkanya mu nsi.

Obutagwa lubege mu kwoleka engeri y’okwagala n’obwenkanya kyetaagisa amagezi. Yakuwa tagwa lubege bw’ayoleka engeri zino ng’akolagana naffe. (Abaruumi 11:​33-36) Kya lwatu, amagezi ge gasobola okulabibwa wonna wonna. Obutonde obwewuunyisa bukakasa kino.​—⁠Zabbuli 104:​24; Engero 3:19.

Kyokka, okubeera n’amagezi tekimala. Okusobola okutuukiriza by’ayagala, Omutonzi ateekwa okubeera n’amaanyi. Baibuli emulaga okubeera Katonda ow’engeri eyo: ‘Muyimuse amaaso gammwe waggulu mulabe eyatonda ebyo bw’ali, afulumya eggye lyabyo ng’omuwendo gwabyo bwe guli, olw’amaanyi amangi, tewali na kimu kibulako.’ (Isaaya 40:​26) Mazima ddala, Yakuwa alina ‘amaanyi mangi’ agamusobozesa okutuukiriza by’ayagala. Engeri ng’ezo tezikusikiriza eri Yakuwa?

Emiganyulo Egiri mu Kumanya Yakuwa

Yakuwa ‘teyatonda nsi kuba ddungu,’ naye “yagibumba okutuulwamu” abantu abalina enkolagana ennungi naye. (Isaaya 45:​18; Olubereberye 1:​28) Afaayo ku bitonde bye eby’oku nsi. Yawa olulyo lw’omuntu entandikwa ennungi mu maka agalinga paaka ennungi, olusuku lwa Katonda. Abantu bagoonoona, era kino tekisanyusizza Yakuwa. Naye, ng’atuukana n’amakulu g’erinnya lye, Yakuwa ajja kutuukiriza ekigendererwa kye ekyasooka eri olulyo lw’omuntu n’ensi. (Zabbuli 115:​16; Okubikkulirwa 11:​18) Abo abaagala okumugondera ng’abaana be ajja kubaddizaawo Olusuku lwa Katonda ku nsi.​—⁠Engero 8:​17; Matayo 5:5.

Ekitabo kya Baibuli ekisembayo kyogera ku bulamu bw’osobola okunyumirwa mu Lusuku lwa Katonda olwo: “Alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa; eby’olubereberye biweddewo.” (Okubikkulirwa 21:​3, 4) Obwo bwe bulamu obwa nnamaddala Yakuwa bw’ayagala onyumirwe. Nga Taata wa kisa nnyo! Oyagala okuyiga ebirala ebimukwatako ne ky’akwetaagisa okusobola okubeera mu Lusuku lwa Katonda?

Okuggyako nga kiragiddwa obulala, ebijuliziddwa byonna mu Baibuli biggiddwa mu Baibuli y’Oluganda eya United Bible Societies eya 1968.