Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu

Bwe mukolera ku magezi agali mu Bayibuli, mujja kuba n’obufumbo obulungi era n’amaka agalimu essanyu.

Ennyanjula

Osobola okubeera n’amaka agalimu essanyu ng’okolera ku magezi agesigamiziddwa ku Bayibuli agali mu katabo kano.

ESSOMO 1

Mukolere ku Bulagirizi bwa Katonda

Okwebuuza ebibuuzo bibiri kisobola okulongoosa obufumbo bwammwe.

ESSOMO 2

Buli Omu Abe Mwesigwa eri Munne

Okuba omwesigwa mu bufumbo kitegeeza kwewala bwenzi kyokka?

ESSOMO 3

Engeri y’Okugonjoolamu Ebizibu

Obufumbo bwammwe okusobola okubaamu essanyu mulina okukolera awamu okugonjoola ebizibu bye muba mufunye.

ESSOMO 4

Okukozesa Obulungi Ssente

Lwaki okwesigaŋŋana n’okwogera amazima bikulu?

ESSOMO 5

Okukolagana Obulungi ne Bazadde Bammwe

Bazadde bammwe musobola okubassaamu ekitiibwa, naye ng’ekyo tekitabangudde bufumbo bwammwe.

ESSOMO 6

Okuzaala Kuleetawo Enkyukakyuka mu Bufumbo

Okuzaala omwana kiyinza okunyweza obufumbo bwammwe?

ESSOMO 7

Engeri y’Okutendekamu Abaana Bammwe

Okugunjula abaana tekikoma ku kubateerawo mateeka na kubabonereza.

ESSOMO 8

Bwe Mufuna Ekizibu eky’Amaanyi

Musabe abalala babayambe.

ESSOMO 9

Musinzize Wamu Yakuwa

Biki ebinaabayamba okunyumirwa okusinza kwammwe okw’amaka?