Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 4

Okukozesa Obulungi Ssente

Okukozesa Obulungi Ssente

“Bwe wabaawo okuteesa enteekateeka zigenda bulungi.”—Engero 20:18, NW

Ffenna twetaaga ssente okusobola okulabirira ab’omu maka gaffe. (Engero 30:8) Bayibuli egamba nti ssente kya bukuumi. (Omubuulizi 7:12) Kiyinza okubazibuwalira okwogera ku ngeri gye mukozesaamu ssente zammwe, naye temukkiriza ssente kubatabula. (Abeefeso 4:32) Omwami ne mukyala we basaanidde okwesigaŋŋana n’okusalawo engeri gye banaakozesaamu ssente zaabwe.

1 MUKOLE EMBALIRIRA ENNUNGI

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Ani ku mmwe ayagala okuzimba omunaala atasooka kutuula wansi n’abalirira ebyetaagisa okulaba obanga alina ebimala okugumaliriza?” (Lukka 14:28) Kibeetaagisa okutuula mubalirire engeri gye munaakozesaamu ssente zammwe. (Amosi 3:3) Musaleewo bye mwetaaga, era mumanye ssente ezeetaagisa okusobola okubigula. (Engero 31:16) Ne bwe muba mulina ssente, temugula bintu bye muteetaaga. Mukozese bulungi ssente ze mulina, musobole okwewala amabanja.—Engero 21:5; 22:7.

BYE MUYINZA OKUKOLA:

  • Bwe muba mufissizzaawo ssente oluvannyuma lw’okugula bye mwetaaga, musaleewo engeri gye munaazikozesaamu

  • Bwe muba mulina ebbanja, musaleewo engeri gye muyinza okukendeeza ku nsaasaanya yammwe. Ng’ekyokulabirako, muyinza okwefumbira mu kifo ky’okulya mu wooteeri

2 BEERA MWESIMBU ERA WA MAZIMA

BAYIBULI KY’EGAMBA: ‘Fuba okukola buli kimu n’obwesigwa, si mu maaso ga Yakuwa mwokka, naye era ne mu maaso g’abantu.’ (2 Abakkolinso 8:21) Buulira munno ssente zennyini z’ofuna n’engeri gy’ozikozesaamu.

Bw’oba olina ky’oyagala okukola naye nga kya kutwala ssente nnyingi, sooka weebuuze ku munno. (Engero 13:10) Bwe munakkaanya ku nkozesa ya ssente kijja kubayamba okuba mu mirembe mu bufumbo bwammwe. Ssente z’ofuna tozitwala ng’ezizo wekka, wabula zitwale nga za maka go.—1 Timoseewo 5:8.

BYE MUYINZA OKUKOLA:

  • Mukkiriziganye ku muwendo gwa ssente buli omu ku mmwe z’asobola okukozesa nga tasoose kwebuuza ku munne

  • Temulinda kufuna bizibu biva ku nkozesa ya ssente ne mulyoka mwogera ku ngeri gye musaanidde okuzikozesaamu