Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 1

Katonda Yatonda Eggulu n’Ensi

Katonda Yatonda Eggulu n’Ensi

Yakuwa Katonda ye yatutonda. Ye yatonda ebintu byonna bye tulaba ne bye tutasobola kulaba. Bwe yali tannatonda bintu bye tulaba, yasooka kutonda bamalayika bangi nnyo. Bamalayika be baani? Bitonde Yakuwa bye yatonda nga biringa ye. Nga bwe tutasobola kulaba Katonda, ne bamalayika tetusobola kubalaba. Malayika Yakuwa gwe yasooka okutonda, yakolera wamu ne Yakuwa okutonda ebintu ebirala. Malayika oyo yayambako Yakuwa mu kutonda emmunyeenye, ziseŋŋendo, n’ebintu ebirala. Emu ku ziseŋŋendo ezo ye nsi kwe tuli.

Oluvannyuma Yakuwa yateekateeka ensi n’eba ng’esobola okubeerako abantu n’ensolo. Yasobozesa omusana okwaka ku nsi. Yakola ensozi, ennyanja, n’emigga.

Kiki ekyaddirira? Yakuwa yagamba nti: ‘Ŋŋenda kutonda omuddo, emiti, n’ebimera ebirala.’ Ku nsi kwatandika okumerako emiti egy’ebibala, ebimuli, n’ebimera ebirala eby’ebika eby’enjawulo. Oluvannyuma Yakuwa yatonda ensolo zonna, omuli ezitambula, ezibuuka, eziwuga, n’ezeewalula. Yakola obusolo obutono, gamba ng’obumyu, n’ensolo ennene, gamba ng’enjovu. Nsolo ki gy’osinga okwagala?

Oluvannyuma Yakuwa yagamba malayika gwe yasooka okutonda nti: “Tukole omuntu.” Abantu baali bagenda kuba ba njawulo ku nsolo, nga basobola okuyiiya ebintu, okwogera, okuseka, n’okusaba Katonda. Baali bagenda kulabirira ensi n’ensolo. Omanyi omuntu Katonda gwe yasooka okutonda? Ka tumulabe.

“Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi.”​—Olubereberye 1:1