Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 64

Danyeri Asuulibwa mu Kinnya ky’Empologoma

Danyeri Asuulibwa mu Kinnya ky’Empologoma

Kabaka omulala eyafuga Babulooni yali Daliyo Omumeedi. Daliyo yakiraba nti Danyeri yali musajja wa njawulo. Bwe kityo Daliyo yawa Danyeri obuyinza okukulira abakungu bonna ab’omu Babulooni. Abakungu abo baakwatirwa Danyeri obuggya era ne baagala okumutta. Olw’okuba baali bamanyi nti Danyeri asaba Yakuwa emirundi esatu buli lunaku, abakungu abo baagamba Daliyo nti: Ai Kabaka, wateekebwewo etteeka eriragira abantu bonna obutasaba katonda yenna oba muntu yenna okuggyako ggwe. Oyo yenna anaajeemera etteeka eryo alina okusuulibwa mu kinnya omuli empologoma.’ Kabaka Daliyo yasanyukira ekiteeso ekyo era n’ayisa etteeka eryo.

Amangu ddala nga Danyeri awulidde nti etteeka eryo lyali liyisiddwa, yagenda mu nnyumba ye, n’afukamira okumpi n’eddirisa eryali eriggule, n’asaba Yakuwa. Abakungu abo ab’obuggya baayingira mu nnyumba ye ne bamusanga ng’asaba. Baagenda eri Daliyo ne bamugamba nti: ‘Danyeri akujeemera. Asaba Katonda we emirundi esatu buli lunaku.’ Daliyo yali ayagala nnyo Danyeri era yali tayagala kumutta. Olunaku olwo lwonna yalumala ng’anoonya engeri gy’ayinza okuwonyaamu Danyeri. Kyokka tewali muntu n’omu, nga mw’otwalidde ne kabaka, eyali asobola okukyusa etteeka eryo. Daliyo yalina okulagira abasajja okusuula Danyeri mu kinnya omwali empologoma enkambwe.

Ekiro kyonna Daliyo yali mweraliikirivu era otulo twamubula. Ku makya ennyo Kabaka yagenda mangu ku kinnya ekyalimu empologoma n’akoowoola nti: ‘Danyeri, Katonda wo yasobodde okukuwonya?’

Danyeri yayanukula Kabaka Daliyo n’agamba nti: ‘Malayika wa Yakuwa yazibye emimwa gy’empologoma era tezinkozeeko kabi konna.’ Daliyo yasanyuka nnyo, era n’alagira baggye Danyeri mu kinnya. Danyeri yali tatuusiddwako kabi konna. Kabaka yalagira nti abasajja abaali bavunaanye Danyeri omusango, basuulibwe mu kinnya omwali empologoma. Abasajja abo bwe baasulibwa mu kinnya, empologoma zaabavumbagira ne zibalya bonna.

Daliyo yayisa ekiragiro n’agamba abantu be nti: ‘Buli muntu alina okutyanga Katonda wa Danyeri, kubanga yawonyezza Danyeri n’ataliibwa mpologoma.’

Okufaananako Danyeri, naawe osaba Yakuwa buli lunaku?

“Yakuwa amanyi okununula abo abamwemalirako n’abaggya mu kugezesebwa.”​—2 Peetero 2:9