Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 84

Yesu Atambulira ku Mazzi

Yesu Atambulira ku Mazzi

Ng’oggyeeko okuba nti Yesu yali asobola okuwonya endwadde n’okuzuukiza abafu, yalina n’obuyinza ku maanyi g’obutonde. Yesu bwe yamala okusaba ng’ali ku lusozi, yatunula ku Nnyanja y’e Ggaliraaya n’alaba nga kuliko omuyaga. Abatume be baali ku nnyanja eyo nga bategana okukuba enkasi olw’omuyaga ogwali gubava mu maaso. Yesu yakka okuva ku lusozi n’atambulira ku mazzi okwolekera eryato lyabwe. Abatume bwe baalaba omuntu eyali atambulira ku mazzi, baatya nnyo. Naye Yesu yagamba nti: “Ye nze; temutya.”

Peetero yagamba nti: ‘Mukama waffe, bw’oba nga ddala ye ggwe, ndagira ntambulire ku mazzi nzije gy’oli.’ Yesu yagamba Peetero nti: ‘Jjangu.’ Bwe kityo, Peetero yava mu lyato n’atambulira ku mazzi okugenda eri Yesu. Naye bwe yali anaatera okutuuka ku Yesu, Peetero yatunuulira omuyaga n’atya era n’atandika okubbira. Peetero yaleekaana ng’agamba nti: “Mukama wange, mponya!” Yesu yakwata omukono gwe n’amugamba nti: ‘Lwaki obuusabuusizza? Okukkiriza kwo kuliwa?’

Yesu ne Peetero baalinnya mu lyato era amangu ago omuyaga ne gukkakkana. Olowooza abatume baawulira batya? Baagamba Yesu nti: “Mazima ddala oli Mwana wa Katonda.”

Ogwo si gwe mulundi gwokka Yesu gwe yakkakkanya omuyaga. Ku mulundi omulala, Yesu n’abatume be bwe baali mu lyato, Yesu yeebaka emabega mu lyato. Bwe yali nga yeebase, omuyaga ogw’amaanyi gwajja. Amayengo gaasuukunda eryato, amazzi ne geeyiwa mu lyato. Abatume baazuukusa Yesu nga bamugamba nti: ‘Omuyigiriza, tufa! Tuyambe!’ Yesu yazuukuka n’agamba ennyanja nti: “Sirika! Teeka!” Amangu ago omuyaga gwakkakkana era ennyanja n’eteeka. Yesu yabuuza abatume nti: ‘Okukkiriza kwammwe kuliwa?’ Abatume baagambagana nti: “Ono ddala y’ani, alagira omuyaga n’ennyanja ne bimuwulira.” Abatume baakiraba nti singa beesiga Yesu, baali tebeetaaga kutya kintu kyonna.

“Nnandibadde wa singa saalina kukkiriza nti nja kulaba obulungi bwa Yakuwa nga nkyali mulamu?”​—Zabbuli 27:13