Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 88

Yesu Akwatibwa

Yesu Akwatibwa

Yesu n’abatume be baatambula ne bayita mu Kiwonvu Kidulooni ne batuuka ku Lusozi olw’Emizeyituuni. Essaawa zaali ziyise mu mukaaga ogw’ekiro era omwezi gwali gwa ggabogabo. Bwe baatuuka ku nnimiro y’e Gesusemane, Yesu yabagamba nti: “Musigale wano, mutunule.” Oluvannyuma Yesu yeeyongerako katono mu maaso mu nnimiro n’avunnama. Ng’alina ennaku nnyingi ku mutima, Yesu yasaba Yakuwa n’amugamba nti: “Ky’oyagala ka kikolebwe.” Oluvannyuma Yakuwa yatuma malayika okuzzaamu Yesu amaanyi. Yesu bwe yaddayo awaali abatume be abasatu, yabasanga beebase. Yabagamba nti: ‘Muzuukuke! Kino si kye kiseera okwebaka! Essaawa etuuse mpeebweyo mu mikono gy’abalabe bange.’

Mu kaseera ako, Yuda yatuuka n’ekibinja ky’abantu nga balina ebitala n’emiggo. Yuda yali amanyi wa gye baali basobola okusanga Yesu, kubanga Yesu n’abatume be baateranga okugenda mu nnimiro y’e Gesusemane. Yuda yali agambye abasirikale nti agenda kubalaga Yesu. Yuda yagenda butereevu awaali Yesu n’amugamba nti: ‘Omuyigiriza, emirembe gibe naawe,’ era n’amunywegera. Yesu yagamba Yuda nti: ‘Ondyamu olukwe ng’onywegera?’

Yesu yasemberera ekibinja ky’abantu abo n’ababuuza nti: “Munoonya ani?” Baamuddamu nti: “Yesu Omunnazaaleesi.” Yabagamba nti: “Ye nze.” Abasajja abo badda emabega ne bagwa wansi. Yesu yaddamu n’ababuuza nti: “Munoonya ani?” Baamugamba nti: “Yesu Omunnazaaleesi.” Yesu yaddamu n’abagamba nti: ‘Mbagambye nti ye nze. Bano mubaleke bagende.’

Peetero bwe yalaba ebyali bigenda mu maaso, yasowolayo ekitala kye n’asalako okutu kwa Maluko, eyali omuddu wa kabona asinga obukulu. Naye Yesu yakwata ku kutu kw’omusajja oyo n’amuwonya. Oluvannyuma yagamba Peetero nti: ‘Ekitala kyo kizze mu kifo kyakyo. Bw’okwata ekitala okulwana, olittibwa na kitala.’ Abasirikale baakwata Yesu ne bamusiba emikono, era abatume badduka. Abantu abo baatwala Yesu ewa kabona omukulu ayitibwa Anaasi. Anaasi yabuuza Yesu ebibuuzo, oluvannyuma n’amusindika eri Kayaafa, kabona asinga obukulu. Naye kiki ekyatuuka ku batume?

“Mujja kuba n’ennaku mu nsi, naye mugume! Nze mpangudde ensi.”​—Yokaana 16:33