Ennyanjula yʼEkitundu 4
Ekitundu kino kyogera ku Yusufu, Yobu, Musa, n’Abayisirayiri. Bonna Sitaani yabaleetera ebizibu eby’amaanyi. Abamu ku bo baayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya, baasibibwa mu makomera, baafuulibwa abaddu, era abamu ku bo battibwa. Kyokka Yakuwa yabayamba mu ngeri ezitali zimu. Bw’oba oli muzadde, yamba omwana wo okukiraba nti abaweereza ba Yakuwa abo baasigala nga beesigwa wadde nga baabonaabona nnyo.
Yakuwa yakozesa Ebibonyoobonyo Ekkumi okukyoleka nti wa maanyi nnyo okusinga bakatonda b’e Misiri. Yamba omwana wo okulaba engeri
Yakuwa gye yakuumamu abantu be mu biseera by’edda n’engeri gy’abakuumamu leero.MU KITUNDU KINO
Omuddu Eyagondera Katonda
Yusufu yakola ekituufu, naye yabonaabona nnyo. Lwaki?
Yakuwa Teyeerabira Yusufu
Wadde nga Yusufu yali wala n’ab’eŋŋanda ze, Katonda yali naye.
Yobu Yali Ani?
Yagondera Yakuwa ne mu mbeera enzibu.
Musa Yasalawo Okuweereza Yakuwa
Bwe yali omuwere, maama wa Musa yasala amagezi n’amuwonya okuttibwa.
Ekisaka Ekyaka Omuliro
Lwaki omuliro tegwayokya kisaka?
Ebibonyoobonyo Ebisatu Ebyasooka
Olw’okuba Falaawo yalina amalala yagaana okukola ekintu ekyangu Yakuwa kye yamugamba okukola, bw’atyo n’aleeta akabi ku bantu be.
Ebibonyoobonyo Omukaaga Ebyaddako
Ebibonyoobonyo omukaaga byayawukana bitya ku bisatu ebyasooka?
Ekibonyoobonyo eky’Ekkumi
Falaawo ekibonyoobonyo ekyo kyamuyitirirako n’aleka Abayisirayiri okugenda.
Ekyamagero ku Nnyanja Emmyufu
Ebibonyoobonyo ekkumi tebyatta Falaawo, naye ekyamagero kino bwe kyabaawo yasigala mulamu?