Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 18

Ekisaka Ekyaka Omuliro

Ekisaka Ekyaka Omuliro

Musa yamala emyaka 40 ng’ali mu Midiyaani. Ng’ali eyo yawasa era n’azaala abaana. Lumu Musa bwe yali alunda endiga okumpi n’Olusozi Sinaayi, yalaba ekintu ekyewuunyisa. Ekisaka kyali kyaka omuliro naye nga tekiggya! Musa bwe yasembera okukyetegereza, yawulira eddoboozi eriva mu kisaka nga ligamba nti: ‘Musa! Teweeyongera kusembera. Ggyamu engatto zo kubanga ekifo ky’oyimiriddemu kitukuvu.’ Yakuwa ye yali ayogera ne Musa ng’ayitira mu malayika.

Musa yatya nnyo era ne yeebikka mu maaso. Eddoboozi lyamugamba nti: ‘Ndabye okubonaabona kw’Abayisirayiri. Nja kubanunula okuva mu mukono gw’Abamisiri mbatwale mu nsi ennungi. Ggwe ogenda okukulembera abantu bange okuva e Misiri.’ Ekyo nga kiteekwa okuba nga kyewuunyisa nnyo Musa!

Musa yabuuza Yakuwa nti: ‘Abantu bwe banaambuuza nti ani antumye, nnaabagamba ntya?’ Katonda yamuddamu nti: ‘Bagambe nti Yakuwa Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo y’akutumye.’ Musa era yabuuza nti: ‘Watya singa abantu tebampuliriza?’ Yakuwa yawa Musa ekintu ekyandimuyambye okukakasa abantu nti Yakuwa ye yali amutumye. Yagamba Musa okusuula omuggo wansi. Omuggo ogwo bwe yagusuula gwafuuka omusota! Musa bwe yakwata omusota ogwo ku kawuuwo, gwaddamu okufuuka omuggo. Yakuwa yamugamba nti: ‘Bw’onookola ekyamagero kino, abantu bajja kukkiriza nti nze nkutumye.’

Musa era yagamba Yakuwa nti: ‘Nze siri mwogezi mulungi.’ Yakuwa yamuddamu nti: ‘Nja kukubuulira ebyo by’onooyogera, era nja kusindika muganda wo Alooni akuyambe.’ Musa bwe yakiraba nti Yakuwa ali naye, yaddayo e Misiri ng’ali wamu ne mukyala we n’abaana be.

“Temweraliikiriranga bwe mulyogera oba kye mulyogera; mu kiseera ekyo muliweebwa eky’okwogera.”​—Matayo 10:19