Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ennyanjula yʼEkitundu 8

Ennyanjula yʼEkitundu 8

Yakuwa yawa Sulemaani amagezi mangi era n’amuwa n’enkizo ey’okuzimba yeekaalu, naye oluvannyuma Sulemaani yava ku Yakuwa. Bw’oba oli muzadde, yamba omwana wo okulaba engeri okusinza okw’obulimba gye kwaggya Sulemaani ku Katonda. Obwakabaka bwayawuzibwamu era bakabaka ababi baaviirako abantu ba Isirayiri okwenyigira mu kusinza okw’obulimba. Mu kiseera ekyo, bannabbi ba Yakuwa bangi baayigganyizibwa era ne battibwa. Nnaabakyala Yezebeeri yaleetera okusinza okw’obulimba okwongera okusensera obwakabaka obw’ebukiikakkono. Ekiseera ekyo kyali kibi nnyo mu byafaayo bya Isirayiri. Naye waliwo Abayisirayiri bangi abaali bakyali abeesigwa eri Yakuwa, nga muno mwe mwali Kabaka Yekosafaati ne nnabbi Eriya.

MU KITUNDU KINO

Yeekaalu ya Yakuwa

Katonda yaddamu okusaba kwa Sulemaani ng’amuwa emikisa mingi.

Obwakabaka Bwawulwamu

Abayisirayiri bangi baalekerawo okusinza Yakuwa.

Ebyaliwo ku Lusozi Kalumeeri

Katonda ow’amazima y’ani? Yakuwa oba Bbaali?

Yakuwa Yazzaamu Eriya Amaanyi

Olowooza naawe asobola okukuzzaamu amaanyi?

Omwana wa Nnamwandu Yaddamu Okuba Omulamu

Ebyamagero bibiri byakolebwa mu nnyumba emu!

Nnaabakyala Omubi Abonerezebwa

Yezebeeri yatta Omuyisirayiri ayitibwa Nabbosi asobole okubba ennimiro ye! Ekyo Yakuwa yakiraba era alina kye yakolawo.

Yakuwa Alwanirira Yekosafaati

Amawanga bwe gaali gaagala okulumba Yuda, kabaka omwesigwa ayitibwa Yekosafaati yasaba Katonda amuyambe.