Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 52

Eggye lya Yakuwa Eryalina Amagaali ag’Omuliro

Eggye lya Yakuwa Eryalina Amagaali ag’Omuliro

Beni-kadadi, kabaka wa Busuulu, yalumbanga Isirayiri. Naye buli lwe yakikolanga nga nnabbi Erisa alabula kabaka wa Isirayiri, n’atatuusibwako kabi. Bwe kityo, Beni-kadadi yasalawo okukwata Erisa. Yakimanyaako nti Erisa yali mu Dosani, era n’asindika eggye lya Busuuli okumukwata.

Amagye ga Busuuli gaazingiza Dosani ekiro. Ku makya, omuweereza wa Erisa bwe yafuluma ebweru yalaba ng’ekibuga kyetooloddwa eggye eddene. Yatya nnyo era n’agamba nti: ‘Erisa, tukole ki?’ Erisa yamuddamu nti: ‘Abali naffe bangi okusinga abali nabo.’ Mu kiseera ekyo, Yakuwa yazibula amaaso g’omuweereza wa Erisa n’alaba nga ku nsozi zonna ezaali zeetoolodde ekibuga Dosani kujjudde embalaasi n’amagaali ag’omuliro.

Abasirikale ba Busuuli bwe baagezaako okukwata Erisa, Erisa yasaba Yakuwa n’agamba nti: ‘Nkwegayiridde Yakuwa, ziba amaaso gaabwe.’ Amangu ago, Yakuwa yabaziba amaaso ne kiba nti wadde ng’abasirikale abo baali batunula, baali tebakyategeera we bali. Erisa yagamba abasirikale abo nti: ‘Muli mu kibuga kikyamu. Mungoberere mbatwale eri omusajja gwe munoonya.’ Abasirikale abo baagoberera Erisa okutuuka e Samaliya, kabaka wa Isirayiri gye yali abeera.

Abasirikale ba Busuuli baagenda okuddamu okutegeera nga bali wakati mu Samaliya. Kabaka wa Isirayiri yabuuza Erisa nti: ‘Abantu bano mbatte?’ Erisa teyakozesa kakisa ako kwesasuza basajja abo abaali baagala okumukolako akabi. Mu kifo ky’ekyo yagamba kabaka nti: ‘Tobatta. Bawe emmere era obaleke bagende.’ Bwe kityo kabaka yabawa emmere ne balya era oluvannyuma n’abaleka ne baddayo mu nsi yaabwe.

“Buno bwe bwesige bwe tulina mu ye, nti bwe tusaba ekintu kyonna ekituukagana n’ebyo by’ayagala, atuwulira.”​—1 Yokaana 5:14