Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIBUUZO 7

Watya Singa Waliwo Ampikiriza Okwegatta Naye?

Watya Singa Waliwo Ampikiriza Okwegatta Naye?

LWAKI KIKULU?

Ebyo by’osalawo ku bikwata ku bikolwa eby’okwegatta birina kinene kye bikola ku biseera byo eby’omu maaso.

KIKI KYE WANDIKOZE?

Lowooza ku mbeera eno: Omuwala ayitibwa Heather yaakalabira Mike emyezi ebiri gyokka, naye awulira ng’amaze emyaka n’emyaka ng’amumanyi. Beeweereza obubaka ku ssimu, batera okwekubira amasimu, era buli omu kumpi aba amanyi munne ky’agenda okwogera! Naye kati Mike ayagala ekisingawo ku kunyumya obunyumya.

Mu myezi ebiri egiyise, Mike ne Heather babadde bakwatagana ku mikono era nga beenywegera. Heather awulira nga tayagala kukola kisingako awo. Kyokka ate tayagala kufiirwa Mike. Bw’abeera ne Mike, awulira bulungi nnyo era awulira nga wa njawulo. Ate era Heather agamba nti ‘Nze ne Mike twagalana . . .’

Kiki kye wandikoze ng’oli mu mbeera ng’eya Heather?

LOWOOZA KU KINO!

Okwegatta kirabo Katonda kye yawa abafumbo bokka. Okwegatta nga toli mufumbo kuba kukozesa bubi ekirabo ekyo. Kiri ng’okuddira olugoye olulungi lwe baakuwa n’olufuula ekisiimuula.

Bw’ogaana okugondera amateeka agafuga obutonde, gamba ng’etteeka lya gravity, ofuna obuzibu. Bwe kityo bwe kiri ne bwe kituuka ku mateeka agakwata ku mpisa, gamba ng’eryo erigamba nti: “Mwewale ebikolwa eby’obugwenyufu.”1 Abassessalonika 4:3.

Biki ebivaamu ng’omenye etteeka eryo? Bayibuli egamba nti: “Oyo eyenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu aba akola ekibi ku mubiri gwe.” (1 Abakkolinso 6:18) Lwaki ekyo kituufu?

Okunoonyereza kulaga nti abavubuka abeenyigira mu bikolwa eby’okwegatta nga tebannayingira bufumbo boolekagana n’ebimu ku bino wammanga.

  • OKWEJJUSA. Abavubuka abasinga obungi abeegatta nga tebannafumbiriganwa bejjusa ekyo kye baakola.

  • OBUTEESIGAŊŊANA. Oluvannyuma lw’okwegatta, buli omu ku bavubuka abo atandika okwebuuza, ‘Ani omulala omuwala ono / omulenzi ono gwe yali yeegasseeko naye?’

  • OBUTAFUNA KYE BASUUBIRA. Abawala abasinga obungi baagala omuntu ajja okubaleetera okuwulira nga balina obukuumi, so si oyo abakozesa obukozesa. Ate abalenzi abasinga obungi okwagala kwe baba nakwo eri omuwala kukendeera oluvannyuma lw’okwegatta naye.

  • Ensonga enkulu: Bwe weegatta n’omuntu nga temuli bafumbo, oba ojolonga ekintu eky’omuwendo ennyo. (Abaruumi 1:24) Omubiri gwo gwa muwendo nnyo okumala gagujaajaamya!

Ba mumalirivu ‘okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu.’ (1 Abassessalonika 4:3) Ekiseera bwe kirituuka n’owasa oba n’ofumbirwa, ojja kusobola okwegatta. Era tojja kufuna bizibu gamba ng’okweraliikirira, okwejjusa, n’okuwulira nga tolina bukuumi, abo abeegatta nga si bafumbo bye bafuna.Engero 7:22, 23; 1 Abakkolinso 7:3.

OLOWOOZA OTYA?

  • Ddala omuntu akwagala ayinza okukugamba okukola ekintu ekinaakuviiramu ebizibu?

  • Ddala omuntu akwagala ayinza okukugamba okukola ekintu ekigenda okwonoona enkolagana yo ne Katonda?Abebbulaniya 13:4.