EKIBUUZO 8
Kiki Kye Nsaanidde Okumanya ku Kukwatibwa oba Okukabassanyizibwa?
KIKI KYE WANDIKOZE?
Omusajja yavumbagira Annette n’amusuula wansi. Annette yali tannategeera kigenda mu maaso. Agamba nti: “Nnakola kyonna ekisoboka okulwanyisa omusajja oyo. Nnagezaako okukuba enduulu naye olw’entiisa, n’eddoboozi lyagaana okuvaayo. Nnamusindika, ne mmusamba, ne mmukuba ebikonde, era ne mmukwagula. Naye bwe nnawulira ng’ansimbye akaso, amaanyi ganzigwamu.”
Singa ggwe wali mu mbeera ng’eya Annette, kiki kye wandikoze?
LOWOOZA KU KINO!
Wadde ng’oyinza okuba nga weegendereza nnyo w’oyita n’abantu b’osanga ng’otambula mu budde obw’ekiro, ebintu ebibi biyinza okukutuukako. Bayibuli egamba nti: “Abawenyuka emisinde, bulijjo si be bawangula empaka, . . . n’abamanyi ebingi, bulijjo si be baba obulungi, kubanga ebiseera ebizibu n’ebintu ebitasuubirwa bibatuukako bonna.”
Abavubuka abamu, gamba nga Annette, bakwatibwa abantu be batamanyi. Abalala bakwatibwa abantu be bamanyi, oluusi be balinako n’oluganda. Ng’ekyokulabirako, Natalie bwe yali nga wa myaka kkumi, yakabassanyizibwa omuvubuka eyali abeera okumpi n’awaka waabwe. Natalie agamba nti: “Nnatya nnyo era ne mpulira nga nswadde nnyo, bwe ntyo ne sisooka kubuulirako muntu yenna ku ekyo ekyali kintuuseeko.”
SI GGWE WALI MU NSOBI
Emirundi egimu Annette awulira ng’omutima gumulumiriza olw’ekyo ekyaliwo. Agamba nti: “Ebintu ebyaliwo ekiro ekyo bitera okunzijira mu birowoozo. Mpulira ng’omusajja oyo saamulwanyisa kimala. Kyokka bwe yamala okunfumita akaso, nnatya nnyo ne mpulira nga nnali sikyalina kirala kye nnyinza kukola. Naye kati mpulira nga nnandibadde nneeyongera okumulwanyisa.”
Natalie naye atera okuwulira ng’omutima gwe gumulumiriza. Agamba nti: “Nnandibadde seesiga nnyo mulenzi oyo. Bazadde bange baali baatulagira, nze ne muganda wange, okubeeranga awamu nga tuzannyira ebweru, naye saawuliriza. Mpulira nga nnawa omulenzi oyo akakisa okunkabassanya. Ekyo ekyaliwo kyakosa nnyo bazadde bange, era mpulira nga nze nnavaako obuzibu. Ekyo kye kisinga okunnuma.”
Bw’oba nga naawe weewulira nga Annette oba Natalie, kijjukire nti omuntu akabassanyizibwa oba akwatibwa aba teyeeyagalidde. Ekyo abantu abamu bakibuusa amaaso, era bagamba nti kya bulijjo abasajja okukwata abakazi oba okukabassanya abaana, era nti oyo gwe baba bakutte y’aba avuddeko obuzibu. Naye tewali muntu n’omu ayagala kukakibwa kwegatta. N’olwekyo, bwe kiba nti waliwo eyakukwata oba eyakukabassanya, ensobi teyali yiyo!
Kyokka oluusi tekiba kyangu muntu eyakwatibwa oba eyakabassanyizibwa okukkiriza nti si ye yali mu nsobi. Abamu basigala nga balowooza nnyo ku ebyo ebyaliwo, ekyo ne kibaviirako okwesalira omusango oba okwennyamira. Naye olowooza omuntu bw’akola bw’atyo, kirina engeri yonna gye kimuyambamu? Nedda. Kati kiki ekiyinza okumuyamba?
OKUBUULIRAKO OMUNTU OMULALA
Omusajja omutuukirivu Yobu bwe yali awulira ennaku ey’amaanyi ku mutima, yagamba nti: “Nja kwogera wadde nga ndi mu nnaku ya maanyi!” (Yobu 10:1) Naawe bw’okola nga ye kisobola okukuganyula. Bw’obuulirako omuntu gwe weesiga ekyo ekyakutuukako, kisobola okukendeeza ku bulumi bw’olina ku mutima.
Ekyo Annette kye yakola. Agamba nti: “Nnabuulirako mukwano gwange ow’oku lusegere, era n’ankubiriza okwogerako n’abakadde mu kibiina ku nsonga eyo. Amagezi ge yampa gaali malungi. Abakadde baayogerako nange emirundi egiwera era ne bannyamba okukiraba nti sinenyezebwa olw’ekyo ekyaliwo.”
Natalie yabuulira bazadde be ekyo ekyamutuukako. Agamba nti: “Bambudaabuda nnyo era ne bankubiriza okukyogerangako buli lwe nnandyagaddenga okukyogerako. Ekyo kyannyamba obutanakuwala nnyo.”
Okusaba nakwo kwayamba nnyo Natalie. Agamba nti: “Okwogera ne Katonda kyannyamba nnyo okusingira ddala mu biseera ebyo we nnawuliriranga nga saagala kwogera na muntu yenna ku nsonga eyo. Bwe nsaba, nneeyabiza Katonda era kindeetera okuwulira emirembe mu mutima.”
Naawe osobola okukiraba nti waliwo ‘ekiseera eky’okuwona.’ (Omubuulizi 3:3) Faayo ku bulamu bwo era weewale okweraliikirira ekisukkiridde. Fuba okuwummula ekimala. N’ekisinga byonna, weesige Yakuwa, Katonda ow’okubudaabuda kwonna.
BW’OBA OTUUSE OKWOGEREZA OBA OKWOGEREZEBWA
Bw’oba ng’oli muwala era ng’omulenzi agezaako okukupikiriza okukola ekintu ekibi, si kikyamu kumugamba nti, “Nedda, ekyo sisobola kukikola, ndeka!” Totya nti ekyo kiyinza okuviirako omukwano gwammwe okufa. Bw’akukyawa olw’okugaana okukola ekintu ekibi, kiba kiraga nti si ye muntu omutuufu! Weetaaga okufuna omuntu omutuufu, akuwa ekitiibwa era assa ekitiibwa mu mitindo gy’empisa gy’ogoberera.
EBIBUUZO EBIKWATA KU KUKWATIBWA N’OKUKABASSANYIZIBWA
“Bwe nnali nga nkyasoma, abalenzi bankwatiriranga era ne boogera ebigambo eby’obuseegu. Ng’ekyokulabirako, baŋŋambanga nti nnandiwulidde bulungi singa nneegatta nabo.”
—Coretta.
Olowooza abalenzi abo baali
-
Bamukyokooza?
-
Bamusaagisa?
-
Bamukabassanya?
“Bwe twali mu bbaasi y’essomero, omulenzi yatandika okuŋŋamba ebigambo eby’obuseegu era n’atandika n’okunkwatirira. Nnasindika eri omukono gwe era ne mmugamba anveeko. Yantunuulira nga tantegeera.”
—Candice.
Olowooza kiki omulenzi oyo kye yali akola Candice?
-
Yali amukyokooza?
-
Yali amusaagisa?
-
Yali amukabassanya?
“Omwaka oguwedde, waliwo omulenzi eyaŋŋambanga nti yali anjagala era nti yali ayagala tugende tukyakaleko ffembi, naye ne ŋŋaana. Oluusi yankwatanga omukono naye ne mmugamba anveeko kyokka nga tawulira. Lumu bwe nnali nsiba obuguwa bw’engatto zange, yankuba ku kabina.”
—Bethany.
Olowooza otya? Omulenzi oyo yali:
-
Amukyokooza?
-
Amusaagisa?
-
Amukabassanya?
Eky’okuddamu mu bibuuzo ebyo byonna ebisatu ky’ekyo ekiriko ennukuta C.
Njawulo ki eriwo wakati w’okukwatibwa oba okukabassanyizibwa n’okuzannyirira oba okusaagasaaga n’omuntu?
Abo abakabassanya abalala beeyongera okukola ebintu ebitasaana ku balala ne bwe kiba nti abo be babikolako tebabyagala.
Okukola ebintu ebitasaana ku balala kibi kya maanyi ekisobola n’okuviirako omuntu okukaka omulala okwegatta naye.