EKIBUUZO 9
Nnandikkirizza nti Ebintu Byajjawo Byokka?
KIKI KYE WANDIKOZE?
Lowooza ku mbeera eno: Alex atabuddwa. Bulijjo abadde akkiriza nti Katonda gy’ali era ng’akkiriza nti ebintu byatondebwa butondebwa. Naye leero omusomesa we owa ssaayansi yagambye nti ebintu tebyatondebwa butondebwa era nti ebyo bannasayansi bye bazudde bikikakasa. Alex tayagala kwawukana ku balala. Agamba nti: ‘Bwe kiba nti ekyo ne bannasayansi bakiwaako obukakafu, nze ani okukiwakanya?’
Singa ggwe Alex, wandimaze gakkiriza nti ebintu byajjawo byokka olw’okuba ebitabo bya ssaayansi bwe bigamba?
LOWOOZA KU KINO!
Emirundi mingi abo abakkiriza nti ebintu byatondebwa butondebwa n’abo abatakkiriza nti byatondebwa butondebwa batera okwanguyiriza okwogera ekyo kye bakkiriza naye nga tebamanyi nsonga lwaki bakikkiriza.
-
Abantu abamu bakkiriza nti ebintu byatondebwa butondebwa olw’okuba ekyo kye babayigiriza mu masinzizo.
-
Abantu abamu bakkiriza nti ebintu tebyatondebwa butondebwa olw’okuba ekyo kye baabayigiriza ku ssomero.
EBIBUUZO MUKAAGA EBY’OKULOWOOZAAKO
Bayibuli egamba nti: “Buli nnyumba wabaawo eyagizimba, naye eyakola ebintu byonna ye Katonda.” (Abebbulaniya 3:4) Ekyo kikola amakulu?
KYE BAGAMBA: Ensi n’obwengula byajjawo oluvannyuma lw’okubwatuka okw’amaanyi.
1. Ani yaleetawo okubwatuka okwo oba kiki ekyakuleetawo?
2. Kiruwa ekikola amakulu: okugamba nti ebintu byajjawo byokka oba nti waliwo eyabireetera okubaawo?
KYE BAGAMBA: Abantu baava mu nsolo.
3. Bwe kiba nti abantu baava mu nsolo, gamba ng’enkobe, kati olwo lwaki waliwo enjawulo ya maanyi wakati w’obusobozi bw’omuntu obw’okutegeera n’obw’enkobe?
4. Lwaki n’enkula y’obuntu obulamu obusirikitu yeewuunyisa?
KYE BAGAMBA: Waliwo obukakafu obulaga nti ebintu tebyatondebwa butondebwa.
5. Oyo agamba nti ebintu tebyatondebwa butondebwa ye kennyini afubye okunoonyereza obukakafu obulaga nti ky’agamba kituufu?
6. Bantu bameka abakkiriza nti ebintu tebyatondebwa butondebwa olw’okuba baabagamba nti abantu bonna abayivu ekyo kye bakkiriza?
“Singa obadde otambula mu kibira n’osanga ennyumba erabika obulungi, wandirowoozezza nti emiti gy’omu kibira ekyo gyetema gyokka era ne gyekolamu ennyumba eyo. Nedda! Ekyo tekikola makulu. Kati olwo lwaki twandikkirizza nti ebintu byonna ebiri ku nsi ne mu bwengula byajjawo byokka?”
—Julia.
“Kuba akafaananyi nga waliwo omuntu akugambye nti waabaddewo okubwatuka mu kizimbe mwe bakubira ebitabo era nti bwino yasamukidde ebisenge, ebigambo bingi ebitegeerekeka obulungi ne byewandiika ku bisenge. Ekyo wandikikkirizza?”
—Gwen.
LWAKI WANDIKKIRIZZA NTI KATONDA GYALI?
Bayibuli ekukubiriza okukozesa ‘obusobozi bwo obw’okulowooza.’ (Abaruumi 12:1) N’olwekyo, tosaanidde kumala gakkiriza nti Katonda gyali olw’okuba:
-
BW’OTYO BW’OLOWOOZA (Ndowooza waliwo alina obuyinza ku bantu bonna)
-
ABALALA KYE BAKKIRIZA (Abantu be mbeeramu bannaddiini)
-
OTYA ABALALA (Bazadde bange baŋŋamba nti nzikiririze mu Katonda; saalina kya kukola)
Mu kifo ky’ekyo, osaanidde okuba n’ensonga ez’amaanyi kw’osinziira okukkiriza nti Katonda gy’ali.
“Bwe mba mu kibiina omusomesa ng’annyonnyola engeri ebitundu by’omubiri gwaffe gye bikolamu, nkiraba bulungi nti ddala Katonda gyali. Buli kitundu ky’omubiri, ka kibe kitono kitya, kirina omugaso, era bingi ku byo bikola emirimu gyabyo nga tetukitegedde na kukitegeera. Omubiri gw’omuntu ddala gwewuunyisa!”
—Teresa.
“Bwe ntunuulira emmotoka, nkirabirawo nti waliwo omuntu ow’amagezi eyagikola, kubanga emmotoka erimu ebyuma bingi ebyaggattibwa awamu mu ngeri ey’ekikugu n’ery’oka ebaawo. Bwe kiba nti emmotoka erina okubaako eyagikola, kyeyoleka bulungi nti n’abantu waliwo eyabakola.”
—Richard.
“Gye nnakoma okusoma ssaayansi, gye nnakoma okukiraba nti enjigiriza egamba nti ebintu tebyatondebwa butondebwa nkyamu. . . . Nkiraba nti omuntu yeetaaga okukkiriza kungi okusobola okukkiriza nti ebintu tebyatondebwa butondebwa okusinga okwo kwe yeetaaga okusobola okukkiriza nti waliwo Omutonzi.”
—Anthony.
LOWOOZA KU KINO
Wadde nga bannassaayansi bamaze emyaka mingi nga banoonyereza ku ndowooza egamba nti ebintu byajjawo byokka, bakyalemereddwa okufuna ennyinnyonnyola bonna gye bakkiriziganyaako. Bwe kiba nti bannassaayansi abatwalibwa okuba nga bamanyi bingi ku nsonga eyo bakubagana empawa, oba mukyamu okugibuusabuusa?