Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIBUUZO 3

Nsaanidde Kwogera Ntya ne Bazadde Bange?

Nsaanidde Kwogera Ntya ne Bazadde Bange?

LWAKI KIKULU?

Gy’okoma okukolagana obulungi ne bazadde bo gy’okoma okuba omusanyufu.

KIKI KYE WANDIKOZE?

Lowooza ku mbeera eno: Olunaku Lwakusatu akawungeezi. Omuvubuka ayitibwa Geoffrey ow’emyaka 17, amalirizza emirimu gye baamuwadde okukola era kati ayagala kuwummulako. Atuula mu ntebe n’assaako ttivi.

Mu kiseera ekyo taata we ajja n’ayimirira mu mulyango, era alabika nga si musanyufu. Amugamba nti:

“Geoffrey! Lwaki omalira ebiseera ku ttivi nga wandibadde oyambako muto wo ku bye baamuwadde okukola ku ssomero? Lwaki olinda buli kimu bakikugambe bugambi?”

Geoffrey atolotoomu. Agamba nti: “Omuntu ne bw’okola emirimu egyenkana wa tebakusiima.

Taata we asembera n’amubuuza nti: “Kiki ky’ogambye?”

Geoffrey amuddamu n’ebbogo nti, “Tewali.”

Ekyo kinyiiza nnyo taata we, n’amugamba nti: “Toddangamu okunziramu bw’otyo.”

Singa ggwe Geoffrey, kiki kye wandikoze okwewala embeera eyo okubaawo?

LOWOOZA KU KINO!

Empuliziganya wakati wo ne bazadde bo eyinza okugeraageranyizibwa ku kuvuga emmotoka. Bw’osanga emisanvu mu kkubo onoonya ekkubo eddala.

EKYOKULABIRAKO:

Omuwala ayitibwa Leah agamba nti: “Nkaluubirirwa okwogera ne taata wange. Oluusi bwe mba njogera naye, ŋŋenda okuwulira ng’aŋŋamba nti: ‘Mpozzi obadde ogamba ki?’”

WALIWO EBINTU NGA BISATU LEAH BY’AYINZA OKUKOLA.

  1. Okukangula eddoboozi.

    Leah agamba nti, “Taata bye nkugamba bikulu! Wuliriza!”

  2. Okulekera awo okwogera ne taata we.

    Leah asalawo okusirika n’atabuulira taata we ku kizibu ky’alina.

  3. Okulindirira ekiseera ekituufu okwogerako ne taata we.

    Leah alindirira ekiseera ekituufu n’ayogerako ne taata we, oba amuwandiikira ebbaluwa n’amutegeeza ekizibu kye.

Ku ebyo ebisatu, kiki kye wandikubirizza Leah okukola?

LOWOOZA KU KINO: Taata wa Leah alina ebimuwugudde ebimulemesa okussaayo omwoyo. Leah bw’asalawo okukangula eddoboozi, taata we ajja kumwekanga bwekanzi kubanga abadde tassizzaayo mwoyo. Ekyo tekijja kuleetera taata we kumuwuliriza era kijja kulaga nti tamusizzaamu kitiibwa. (Abeefeso 6:2) N’olwekyo, okukola ekyo tekirina gwe kiyamba.

Nga bw’otoyinza kukkiriza misanvu kukulemesa kugenda gy’olaga, osobola okunoonya engeri endala ey’okuwuliziganyaamu ne bazadde bo

Wadde ng’okusalawo okulekera awo okwogera ne taata we kyangu okukola, tekiba kya magezi. Lwaki? Kubanga Leah bw’aba ow’okumanya engeri y’okukwatamu ekizibu kye, aba yeetaaga okwogera ne taata we, era taata we bw’aba ow’okumuyamba, alina okumanya ekizibu Leah ky’alina. Okusirika tekiyamba.

Leah bw’alindirira ekiseera ekituufu okwogerako ne taata we afaananako omuvuzi w’emmotoka atakkiriza misanvu kumulemesa kweyongerayo mu lugendo lwe. Ate bw’asalawo okuwandiikira taata we ebbaluwa, afunirawo obuweerero.

Leah bw’asalawo okuwandiika ebbaluwa, kimusobozesa okusengeka obulungi ensonga z’ayagala okutegeeza taata we. Taata we bw’asoma ebbaluwa eyo, aba asobola bulungi okutegeera Leah ky’abadde agezaako okumugamba. N’olwekyo, ekisingako obulungi kwe kulinda ekiseera ekituufu okwogera ne taata we oba okumuwandiikira ebbaluwa. Ekyo kituukana n’okubuulirira kuno okuli mu Bayibuli: “Tukole ebyo ebireeta emirembe.”Abaruumi 14:19.

Biki ebirala Leah by’ayinza okukola?

Bw’oba olina ekirala ky’olowooza, kiwandiike wano wansi. Era wandiika ebyo ebiyinza okuvaamu singa Leah akikola.

WEEWALE OKWOGERA MU NGERI EYINZA OKULEETERA ABALALA OKUKUTEGEERA OBUBI

Kijjukire nti ekyo ky’oyogedde n’ekyo bazadde bo kye balowooza nti ky’oyogedde biyinza okuba eby’enjawulo.

NG’EKYOKULABIRAKO:

Bazadde bo bayinza okukubuuza ensonga lwaki toli musanyufu, ggwe n’obaddamu nti: “Nnina ekizibu naye siri mwetegefu kukyogerako.”

Bo bayinza okukitwala ng’agambye nti: “Siyinza kubabuulira kizibu kyange kubanga sibeesiga. Ekizibu kyange nja kukibuulirako mikwano gyange so si mmwe.”

Kuba akafaananyi ng’olina ekizibu eky’amaanyi era bazadde bo ne bakugamba nti baagala okukuyamba. Bw’obagamba nti: “Temufaayo, nja kukyemalira.”

  • Bazadde bo bayinza okukitwala ng’agambye nti:

  • Engeri entuufu gye wandibazzeemu yandibadde: