EKIBUUZO 5
Watya Singa Waliwo Anjiikiriza ku Ssomero?
KIKI KYE WANDIKOZE?
Lowooza ku mbeera eno: Thomas awulira tayagala kuddayo ku ssomero. Ekizibu ky’alina kyatandika emyezi esatu emabega abamu ku bayizi banne bwe baatandika okumwogerako ebintu ebitali bituufu era ne bamupaatiikako amannya. Oluusi muyizi munne yajjanga n’akoona ebitabo bye ne bigwa wansi ne yeefuula ng’atakigenderedde, ate oluusi omu ku bayizi banne yamusindikanga, era bwe yakyukanga okulaba amusindise nga tasobola kumanya eyabanga akikoze. Olunaku lwa jjo ebintu byeyongedde okwonooneka; abaana baamuweerezza obubaka ku ssimu nga bamutiisatiisa okumukolako akabi.
Singa ggwe Thomas, kiki kye wandikoze?
LOWOOZA KU KINO!
Olina ky’osobola okukolawo! Kiki ky’oyinza okukola nga bakuyiikirizza?
-
Engero 29:11) Bw’ofuba okusigala ng’oli mukkakkamu, wadde nga munda owulira obusungu, abo abakuyiikiriza bajja kukuvaako.
SIGALA NG’OLI MUKKAKKAMU. Bayibuli egamba nti: “Omusirusiru ayoleka obusungu bwe bwonna, naye ow’amagezi abufuga.” ( -
TEWEESASUZA. Bayibuli egamba nti: “Temukolanga muntu n’omu kibi olw’okuba abakoze ekibi.” (Abaruumi 12:17) Bw’ogezaako okwesasuza kyongera bwongezi kwonoona mbeera.
-
WEEWALE EBIYINZA OKUKULEETERA EMITAWAANA. Bayibuli egamba nti: “Omuntu ow’amagezi alaba akabi ne yeekweka.” (Engero 22:3) Kola kyonna ekisoboka okwewala abantu abayinza okukuleetera emitawaana oba okwewala embeera eziyinza okuleetera abalala okukuyiikiriza.
-
OYINZA OKUBADDAMU MU NGERI GYE BATASUUBIRA. Bayibuli egamba nti: “Okuddamu n’eggonjebwa kukkakkanya ekiruyi.” (Engero 15:1) Ng’ekyokulabirako, singa oyo akuyiikiriza akugamba nti oyitiridde obunene, oyinza okumugamba nti, “Ky’oyogedde kituufu, kirabika nneetaaga okusala ku mubiri!”
-
TAMBULA OVEEWO. Omuwala ow’emyaka 19 ayitibwa Nora yagamba nti: “Bw’osirika, kiraga nti oli mukulu mu birowoozo okusinga oyo akuyiikiriza. Era kiraga nti osobola okwefuga, ekintu oyo akuyiikiriza ky’atasobola kukola.”
—2 Timoseewo 2:24. -
TEWEENYOOMA. Abo abayiikiriza abalala batera okwagala okuyiikiriza abantu abeenyooma era be basuubira nti tebalina kye bayinza kubakola. Ku luuyi olulala, singa bakiraba nti omuntu teyeenyooma, tebamala gamulumba.
-
BUULIRAKO OMUNTU OMULALA. Omusomesa omu agamba nti: “Nnagambanga abaana nti singa wabaawo omwana yenna abayiikiriza bajje bantegeeze. Ekyo kye basaanidde okukola, era kisobola okuyamba okukomya omuze ogwo.”