EKITUNDU 6
Amadiini Gonna Gasiimibwa Katonda?
1. Okusinziira ku Kigambo kya Katonda, bika ki ebibiri byokka ebiriwo eby’amadiini?
“MUYINGIRE mu mulyango omufunda: kubanga omulyango mugazi n’ekkubo eridda mu kuzikirira ddene, n’abo abayitamu bangi. Kubanga omulyango mufunda n’ekkubo eridda mu bulamu lya kanyigo, n’abo abaliraba batono, bw’atyo Yesu bwe yagamba.” (Matayo 7:13, 14) Okusinziira ku Kigambo kya Katonda, waliwo eddiini za bika bibiri byokka: emu ya mazima, ate endala ya bulimba; emu ntuufu, ate endala nkyamu; emu etwala abantu mu bulamu, ate endala ebatwala mu kuzikirira.
2. Ebyawandiikibwa biraga bitya nti amadiini gonna tegasanyusa Katonda?
2 Abantu abamu balowooza nti amadiini gonna gasanyusa Katonda. Ebyawandiikibwa ebiddirira biraga nti ekyo si kituufu:
-
“Abaana ba Isiraeri ne beeyongera nate okukola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi, ne baweereza Babaali, ne Asutaloosi ne bakatonda ab’e Busuuli, ne bakatonda ab’e Sidoni, ne bakatonda ba Mowaabu, ne bakatonda ab’abaana ba Amoni, ne bakatonda ab’Abafirisuuti; Mukama ne bamuvaako ne batamuweereza. Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Isiraeri.” (Ekyabalamuzi 10:6, 7) Singa tusinza ebifaananyi ebyole oba katonda omulala yenna atali Katonda ow’amazima, tetuyinza kusiimibwa Yakuwa.
-
“Abantu bano banzisaamu [Katonda] ekitiibwa kya ku mimwa, naye emitima gyabwe gindi wala. Naye bansinziza bwereere, kubanga bayigiriza amateeka g’abantu nga bye by’okukwata.” (Makko 7:6, 7) Singa abantu abagamba nti basinza Katonda bayigiriza endowooza ezaabwe mu kifo ky’okuyigiriza ebiri mu Baibuli, okusinza kwabwe kuba kwa bwereere. Katonda aba takukkiriza.
-
“Katonda gwe Mwoyo: n’abo abamusinza kibagwanira okusinzizanga mu mwoyo n’amazima.” (Yokaana 4:24) Okusinza kwaffe kuteekwa okutuukana n’amazima agasangibwa mu Kigambo kya Katonda.
Ebibala by’Eddiini ez’Obulimba
3. Ngeri ki emu ey’okwawulawo eddiini ey’amazima okuva ku z’obulimba?
3 Tuyinza tutya okumanya obanga eddiini esiimibwa Katonda oba nedda? Yesu yagamba: “Buli muti omulungi gubala ebibala birungi; naye omuti omubi gubala ebibala bibi . . . Kale mulibategeerera ku bibala byabwe.” Mu ngeri endala, eddiini bw’eba ng’ekola Katonda by’ayagala, ejja kubala ebibala ebirungi; naye bw’eba ng’ekola Setaani by’ayagala, ejja kubala bibala bibi.—Matayo 7:15-20.
4. Ngeri ki abasinza ba Yakuwa gye booleka?
4 Eddiini ey’amazima ebaamu abantu abaagalana era abaagala n’abantu abalala. Kiri bwe kityo kubanga Yakuwa, Katonda wa kwagala. Yesu yagamba: “Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n’okwagalana mwekka na mwekka.” Amadiini gakola gatya ku bikwata ku kisaanyizo kino eky’okusinza okw’amazima?—Yokaana 13:35; Lukka 10:27; 1 Yokaana 4:8.
5. Ekitabo ekimu kyogera kitya ku nkola ey’okutunda abaddu eyali mu Afirika?
5 Lowooza ku nkola ey’okutunda abaddu eyali mu Afirika. Ekitabo The New Encyclopædia Britannica kigamba: “Wakati w’omwaka 650 n’omwaka 1905, abantu nga 18,000,000 okuva mu Afirika, baatundibwa mu buddu emitala w’eddungu Sahara n’oguyanja Indian Ocean. Mu kitundu eky’okubiri eky’ekyasa 15, Abazungu baatandika eby’obusuubuzi ku lubalama olw’ebukiika kkono bwa Afirika, era omwaka 1867 we gwatuukira, Abaafirika abali wakati wa 7,000,000 ne 10,000,000 baali bamaze okutwalibwa ng’abaddu mu Amereka.”
6. Amadiini geenyigira gatya mu nkola ey’okutunda abantu ng’abaddu?
6 Amadiini gaakola ki mu kiseera ekyo ekya kazigizigi mu Afirika ng’abasajja, abakazi n’abaana batwalibwa okuva mu maka gaabwe, nga basibibwa enjegere, nga balambibwa n’ebyuma ebyokya, era nga bagulibwa era ne batundibwa ng’ente? Bethwell Ogot yawandiika bw’ati mu lupapula oluyitibwa Daily Nation olufulumira mu Nairobi, Kenya: “Abakristaayo n’Abasiraamu bayigiriza nti abantu basaanidde okubeera obumu, kyokka ate be baawoma omutwe mu nkola ey’obusosoze ey’okutunda abantu ng’abaddu. . . . Tuteekeddwa okukkiriza omusango Abasiraamu n’Abakristaayo gwe balina, oguli ku bantu b’omu Bulaaya n’ab’omu nsi z’Abawalabu, awamu n’obukambwe obw’ekitalo obwaviirako abantu b’omu Afirika okubonaabona okumala ebyasa bingi.”
Eddiini n’Entalo
7. Kiki abakulembeze b’amadiini kye bakoze mu ntalo?
7 Eddiini ez’obulimba ziraze ebibala byazo ebibi mu ngeri endala. Ng’ekyokulabirako, wadde nga Baibuli egamba nti “yagalanga muliraanwa wo,” abakulembeze b’amadiini okwetooloola ensi yonna bawagidde nnyo entalo.—Matayo 22:39.
8. (a) Abakulembeze b’eddiini baakubiriza batya okutta mu ntalo ezibadde mu Afirika? (b) Kiki ppaasita omu kye yayogera ku bakulembeze b’eddiini mu kiseera ky’olutalo olw’omunda olwali mu Nigeria?
8 Kimanyiddwa bulungi nnyo nti mu mwaka 1994, ababiikira abamu ne bafaaza beenyigira mu kutirimbula abantu mu Rwanda. Era eddiini erina kinene nnyo ky’ekoze mu bukuubagano obulala obuli mu Afirika. Ng’ekyokulabirako, mu lutalo olw’omunda olwayiwa ennyo omusaayi mu Nigeria, amadiini gaakubirizanga abantu okulwana ku njuyi zombi. Olutalo olwo bwe lwali lugenda mu maaso, ppaasita omu yagamba nti abakulembeze b’ekkanisa baali “balekedde awo okukola omulimu ogwa
baweebwa Katonda.” Era yagamba: “Ffe abeeyita abaweereza ba Katonda, tufuuse baweereza ba Setaani.”9. Kiki Baibuli ky’eyogera ku baweereza ba Setaani?
9 Baibuli eyogera ekintu kye kimu: “Setaani yeefaananya nga malayika ow’omusana. Kale si kitalo era n’abaweereza be bwe beefaananya ng’abaweereza ab’obutuukirivu.” (2 Abakkolinso 11:14, 15) Ng’abantu ababi bangi bwe batera okwefaananya ng’abantu abalungi, ne Setaani naye bw’atyo bw’abuzaabuza abantu ng’akozesa abaweereza be abalabika ng’abatuukirivu, kyokka ng’ebikolwa byabwe bibi nnyo.
10. Abakulembeze b’eddiini beegaanyi batya Katonda?
10 Okwetooloola ensi yonna, abakulembeze b’amadiini babadde babuulira okwagalana, emirembe n’obulungi, naye babadde beenyigira mu bikolwa eby’obukyayi, mu ntalo, era ne mu bikolwa ebirala ebiraga nti tebatya Katonda. Ate era ne Baibuli eboogerako bw’eti: “Baatula nga bamanyi Katonda; naye mu bikolwa byabwe bamwegaana.”—Tito 1:16.
Fuluma mu “Babulooni Ekinene”
11. Baibuli eyogera etya ku ddiini ez’obulimba?
11 Tusobola okumanya Yakuwa ky’alowooza ku ddiini ez’obulimba bwe tusoma ekitabo ky’Okubikkulirwa ekiri mu Baibuli. Mu kyo, eddiini ez’obulimba zoogerwako mu ngeri ey’akabonero ng’omukazi, “Babulooni Ekinene.” (Okubikkulirwa 17:5) Weetegereze Katonda bw’amwogerako:
-
“Omwenzi omukulu . . . bakabaka b’ensi gwe baayenda naye.” (Okubikkulirwa 17:1, 2) Mu kifo ky’okubeera enneesigwa eri Katonda, eddiini ez’obulimba zeeyingiza mu by’obufuzi, ng’emirundi mingi zitegeeza gavumenti eky’okukola.
-
“Omusaayi gwa bannabbi n’abatukuvu n’ogwa bonna abattibwa ku nsi gwalabika mu ye.” (Okubikkulirwa 18:24) Eddiini ez’obulimba ziyigganyizza era ne zitta abaweereza ba Katonda abeesigwa, era zivunaanyizibwa olw’obukadde n’obukadde bw’abantu abafiiridde mu ntalo.
-
“Yeegulumiza era n’akabawala [“ne yeejalabya,” NW].” (Okubikkulirwa 18:7) Eddiini ez’obulimba zirina eby’obugagga bingi nnyo abakulembeze baazo bye beejalabya nabyo.
-
‘Mu bulogo bwe amawanga gonna gaalimbibwa.’ (Okubikkulirwa 18:23) Olw’enjigiriza yaazo ey’obulimba egamba nti emmeeme tefa, eddiini ez’obulimba zitumbudde ebikolwa eby’obusamize n’eby’obulogo ebya buli ngeri, awamu n’okutya abafu n’okusinza ab’eŋŋanda abaafa.
12. Kulabula ki Baibuli kw’ewa okukwata ku ddiini ez’obulimba?
12 Ng’erabula abantu okweyawula ku ddiini ez’obulimba, Baibuli egamba: “Mukifulumemu, abantu bange, muleme okussa ekimu n’ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye.”—Okubikkulirwa 18:4, 5.
13. Kiki ekinaatuuka ku madiini ag’obulimba n’abo abagalimu?
13 Mu kiseera ekitali kya wala, Babulooni Ekinene, obwakabaka bw’ensi yonna obw’amadiini ag’obulimba, kijja kuzikirizibwa kyonna. Baibuli egamba: “Kyebiriva bijja mu lunaku olumu ebibonyoobonyo bye, okufa, n’ennaku, n’enjala; era alyokerwa ddala omuliro; kubanga Mukama Katonda wa maanyi eyamusalira omusango.” (Okubikkulirwa 18:8) Okusobola okwewala okuweebwa ku bibonyoobonyo bye, tuteekwa okwekutulira ddala ku ddiini ey’obulimba ne tutaba na kakwate konna nayo, ebikolwa byayo, emikolo gyayo, era n’enzikkiriza zaayo ebitasanyusa Katonda. Ekyo kigwanidde okukolebwa mu bwangu ddala awatali kulwa. Obulamu bwaffe buli mu kabi!—2 Abakkolinso 6:14-18.