Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU 3

Baani Abali mu Ttwale ery’Emyoyo?

Baani Abali mu Ttwale ery’Emyoyo?

1. Mu ngeri ki enzikiriza z’amadiini ag’obuwangwa gye zigeraageranyizibwa ku kiswa?

ENZIKIRIZA z’amadiini ag’obuwangwa mu Afirika zigeraageranyiziddwa ku kiswa. Waggulu ddala waliyo Katonda, ow’amaanyi agasingira ddala mu by’omwoyo. Mu mbiriizi zaakyo waliwo bakatonda, oba emyoyo, abatali ba maanyi nnyo, era nga be baweereza ba Katonda. Ku lusegere lwabwe waliwo abantu abaaliwoko edda ku nsi era abajjukira ab’eŋŋanda zaabwe abali ku nsi era ne babafaako nnyo. Ate ku ntobo waliwo amaanyi amalala amatonotono ag’eby’omwoyo: kwe kugamba obufuusa, obulaguzi, n’obulogo.

2. Eŋŋombo emu ey’omu Afirika ekiraga etya nti enzikiriza ez’obuwangwa zirina kinene kye zikoze ku madiini?

2 Enzikiriza zino ez’obuwangwa zirina kinene nnyo kye zikoze ku ddiini endala eziri mu Afirika. Eŋŋombo emu ey’omu Afirika egamba nti: “Okugoberera Enzikiriza (y’Ekikristaayo oba ey’Ekisiraamu) tekitukugira kusinza bakatonda baffe ab’obuwangwa.”

3. Ludda wa gye tuyinza okufuna amazima agakwata ku abo abali mu ttwale ery’emyoyo?

3 Enzikiriza z’obuwangwa ez’omu Afirika ntuufu? Baibuli etutegeeza amazima agakwata ku abo abali mu ttwale ery’emyoyo.

Yakuwa​—Katonda Ow’Amazima

4. Amadiini amakulu ag’omu Afirika gakkiriziganya ku ki?

4 Amadiini asatu amakulu mu Afirika gakkiriza nti Katonda gyali era nti ye w’oku ntikko ddala. Baibuli emwogerako nga “Katonda wa bakatonda, era Mukama w’abaami, Katonda omukulu, ow’amaanyi era ow’entiisa.” (Ekyamateeka 10:17) Abasiraamu nabo bakkiririza mu Katonda omu ow’oku ntikko. Ku bikwata ku nzikiriza ez’obuwangwa ez’omu Afirika, Profesa Geoffrey Parrinder agamba: “Abantu b’omu Afirika abasinga obungi babadde bakkiririza mu Katonda asinga bonna amaanyi, kitaawe wa bakatonda n’abantu, omutonzi w’obutonde bwonna.”

5. Mannya ki agamu agakozesebwa ku Katonda?

5 Wadde ng’abantu bangi bakkiririza mu Katonda, abasinga obungi tebamanyi Katonda ky’ali. Bw’oba oyagala okumanya omuntu, ky’olina okusooka okutegeera lye linnya lye. Waliwo obutabufutabufu bwa maanyi nnyo mu madiini ku bikwata ku linnya lya Katonda. Okusingira ddala, mu madiini ageeyita ag’Ekikristaayo, ayitibwa Katonda, ekitegeeza “Ow’Amaanyi.” Ate bo Abasiraamu bamuyita Alla. Mu abo abali mu ddiini ez’obuwangwa, erinnya erikozesebwa okwawulawo Oyo ow’Oku Ntikko Ddala lyawukana mu buli lulimi. Mu kitabo kye ekiyitibwa Concepts of God in Africa, John S. Mbiti awa olukalala lw’amannya n’ebitiibwa ebiwerera ddala 500 ebikozesebwa ku Katonda mu Afirika. Ng’ekyokulabirako, mu lulimi Oluyoloba (Nigeria), Katonda ayitibwa Olodumare; ate mu Lukikuyu (Kenya), bamuyita Ngai; mu Luzulu (South Africa), ayitibwa Unkulunkulu.

6, 7. Erinnya lya Katonda y’ani, era tulimanya tutya?

6 Ye Katonda kennyini ayogera ki ku linnya lye? Katonda bwe yalagira Musa okukulembera Abaisiraeri okuva e Misiri, Musa yamubuuza: “Bwe ndigenda nze eri abaana ba Isiraeri, ne mbagamba nti Katonda wa bajjajja bammwe y’antumye eri mmwe; nabo balyogera nti Erinnya lye ye ani? [N]dibagamba ntya?​—Okuva 3:13.

7 Katonda yagamba Musa: “NZE YAKUWA: nalabikira Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, nga Katonda Omuyinza w’ebintu byonna, naye mu linnya lyange YAKUWA saamanyibwa nabo.” (Okuva 6:2, 3) Erinnya lya Katonda lino lisangibwa mu Baibuli emirundi egisukka mu 7,000, wadde ng’abavvuunuzi ba Baibuli abamu mu kifo we lisaanidde okubeera bataddewo ebitiibwa nga “Katonda” oba “Mukama.”

8. Yakuwa afaanana atya, era kiki kye tuteekwa okukola bwe tuba twagala atusiime?

8 Yakuwa afaanana atya? Katonda mwoyo, ye muyinza w’ebintu byonna era wa kitiibwa. Y’asinga bonna amaanyi era tageraageranyizika. (Ekyamateeka 6:4; Isaaya 44:6) Yakuwa yagamba Musa: “Nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya [“ayagala okusinzibwa yekka,” NW].” Mu ngeri endala, bwe tuba twagala okusiimibwa Yakuwa, tuteekwa kusinza ye yekka. Tayagala tusinze kintu kirala kyonna oba muntu mulala yenna.​—Okuva 20:3-5.

Yesu Kristo​—Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda

9. Lwaki tuyinza okugamba nti Yesu teyenkanankana na Yakuwa?

9 Leero waliwo okubuzaabuzibwa kungi ku bikwata ku Yesu ky’ali. Bangi mu madiini ageeyita ag’Ekikristaayo bakkiriza nti Yesu kitundu kya Tiriniti eyitibwa “Entukuvu.” Naye Baibuli teyigiriza nti Katonda ali abantu basatu mu omu. Era teyigiriza nti Yesu yenkanankana ne Yakuwa. Yesu kennyini yagamba: “Kitange ansinga obukulu.”​—Yokaana 14:28.

10. Yesu yali ludda wa nga tannaba kujja ku nsi?

10 Baibuli eyigiriza nti bwe yali nga tannaba kubeera ku nsi ng’omuntu, Yesu yali mu ggulu ng’ekitonde eky’omwoyo eky’amaanyi. Nga Katonda bwe yatonda Adamu ne Kaawa okubeera ku nsi, era yatonda ebitonde eby’omwoyo okubeera mu ggulu. Yesu kye kitonde eky’omwoyo Yakuwa kye yasooka okutonda.​—Yokaana 17:5; Abakkolosaayi 1:15.

11. Kyajja kitya Yesu okuzaalibwa ng’omuntu?

11 Emyaka nga 2,000 egiyise, Yakuwa yateeka obulamu bw’ekitonde kino eky’omwoyo mu lubuto lw’omukyala embeerera ayitibwa Malyamu. Malayika Gabulyeri yamugamba: “Oliba olubuto, olizaala omwana ow’obulenzi, olimutuuma erinnya Yesu. Era anaafuganga [nga kabaka] . . . , so obwakabaka bwe tebuliggwaawo.”​—Lukka 1:31, 33. *

12. Ensonga emu lwaki Yesu yajja mu nsi y’eruwa?

12 Mu ngeri eyo Yesu yazaalibwa, n’afuuka omusajja omukulu, era n’ayigiriza abantu Yakuwa by’ayagala wamu n’ebigendererwa bye. Yagamba gavana Omuruumi: “Nze nnazaalirwa ekyo, n’ekyo kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze [abantu] amazima.” (Yokaana 18:37) Bwe twekenneenya Yesu bye yayigiriza, tusobola okuyiga amazima agakwata ku Katonda by’ayagala n’ebigendererwa bye. Tusobola okumanya engeri gye tuyinza okusiimibwamu Katonda.

13. Ensonga ey’okubiri lwaki Yesu yajja mu nsi y’eruwa?

13 Ensonga ey’okubiri eyaleeta Yesu ku nsi yali okuwaayo bulamu bwe obw’omuntu ng’ekinunulo ku lw’abantu. (Matayo 20:28) Kino yakikola tusobole okuggibwako ekibi kye twasikira okuva ku jjajjaffe Adamu. Ekyo kyanditusobozesezza okufuna obulamu obutaggwaawo. Omutume Yokaana yawandiika: “Katonda bwe yayagala ensi bw’ati, n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwaawo.”​—Yokaana 3:16.

14. (a) Kiki ekyatuuka ku Yesu oluvannyuma lw’okufa kwe ng’omuntu? (b) Yesu alina kifo ki mu ggulu?

14 Oluvannyuma lw’okufa kwe ng’omuntu, Yesu yazuukizibwa n’agenda mu ggulu okubeera eyo nate ng’ekitonde eky’omwoyo eky’amaanyi. (Ebikolwa 2:32, 33) Oluvannyuma, Yakuwa yamuwa “okufuga, n’ekitiibwa, n’obwakabaka, abantu bonna, amawanga n’ennimi, bamuweerezenga.” (Danyeri 7:13, 14) Bwe kityo, nga malayika bwe yagamba Malyamu, Yesu afuuliddwa Kabaka ow’amaanyi; ye Kabaka mu gavumenti ya Yakuwa ey’omu ggulu. Mangu ddala ajja kulaga amaanyi ge mu nsi yonna.

Bamalayika​—Baweereza ba Katonda

15. Bamalayika baatondebwa ddi, era kubeera wa?

15 Yakuwa ne Yesu si be bokka abali mu ttwale ery’emyoyo. Yakuwa yatonda ebitonde ebirala eby’omwoyo, nga be bamalayika. Gabulyeri eyayogera ne Malyamu y’omu ku bo. Bamalayika tebaasooka kubeera ku nsi ng’abantu. Baatondebwa dda nnyo okubeera mu ggulu ng’abantu tebannaba na kutondebwa kubeera ku nsi. (Yobu 38:4-7) Waliyo obukadde n’obukadde bwa bamalayika.​—Danyeri 7:10.

Bamalayika abeesigwa bagaana okusinzibwa

16. Lwaki abantu tebasaanidde kusinza bamalayika?

16 Bamalayika abeesigwa tebaagala tubasinze. Emirundi ebiri, omutume Yokaana bwe yagezaako okusinza bamalayika, bo bennyini baamunenya nga bagamba: “Tokola bw’otyo: . . . Sinza Katonda.”​—Okubikkulirwa 19:10; 22:8, 9.

17. Kiki ekiraga nti bamalayika basobola okukuuma abaweereza ba Katonda, era lwaki ekyo kituzzaamu amaanyi?

17 Bamalayika tebakyalabikira bantu ba Katonda ku nsi, gamba nga bwe baakola lwe baggya abatume ba Yesu mu kkomera. (Ebikolwa 5:18, 19) Wadde kiri bwe kityo, bwe tuba tusinza Yakuwa ng’Ekigambo kye Baibuli bwe kigamba, tusobola okuba abakakafu nti bamalayika ba Katonda ab’amaanyi era abatalabika bajja kutukuuma. Baibuli egamba: “Malayika wa Mukama asiisira okwetooloola abo abamutya, n’abalokola.” (Zabbuli 34:7; 91:11) Lwaki kino kyandituzizzaamu amaanyi? Kubanga mu ttwale ery’emyoyo eriyo abalabe ab’omutawaana ennyo abaagala okutuzikiriza!

Setaani​—Omulabe wa Katonda

18. (a) Lwaki malayika omu yajeemera Katonda? (b) Mannya ki agaaweebwa malayika oyo omujeemu?

18 Bamalayika ba Katonda bonna baasigala nga beesigwa gy’ali. Abamu baamujeemera. Baafuuka balabe be era abalabe b’abantu be abali ku nsi. Ekyo kyajjawo kitya? Bamalayika bonna Yakuwa be yatonda baali batuukirivu era nga balungi. Kyokka, omu ku baana abo ab’omwoyo abatuukiridde yayagala abantu bamusinze era n’akolera ku kwegomba kwe okwo okubi. Malayika oyo yaweebwa erinnya Setaani, eritegeeza “Omuziyiza [wa Katonda].” Era ayitibwa Omulyolyomi, ekitegeeza “Omuwaayiriza,” okuva bw’ayogera eby’obulimba ku Yakuwa.

19. Lwaki Setaani yabonyaabonya Yobu, era yamubonyaabonya atya?

19 Setaani afuba nnyo okuwaliriza abantu okumwegattako mu kujeemera Katonda. Lowooza ku kye yakola omuweereza wa Katonda omwesigwa Yobu. Yobu yali musajja mugagga nnyo. Yalina endiga 7,000, eŋŋamira 3,000, ente 1,000 n’endogoyi enkazi 500. Era yalina abaana 10 n’abaddu bangi. Okusooka, Setaani yatta ebisolo n’abaddu ba Yobu. Oluvannyuma n’aleeta ‘embuyaga ey’amaanyi’ n’esuula ennyumba, n’etta abaana ba Yobu bonna. Oluvannyuma lw’ekyo, Setaani yalwaza Yobu “amayute amazibu okuva ku bigere bye munda okutuuka ku bwezinge bwe.”​—Yobu 1:3-19; 2:7.

20. (a) Yobu yasasulwa atya olw’obwesigwa bwe? (b) Wadde Yobu yali mwesigwa eri Katonda, kiki Setaani ky’akoze ku bantu abalala bangi?

20 Wadde nga Yobu yagezesebwa mu ngeri ey’obulumi ennyo bw’etyo, yasigala nga mwesigwa eri Katonda. N’olw’ensonga eyo, Yakuwa yawonya Yobu era ‘n’amuddizaawo emirundi ebiri ebyo bye yalina olubereberye.’ (Yobu 42:10) Setaani teyasobola kumenya bugolokofu bwa Yobu, naye aleetedde abantu abalala bangi okuva ku Katonda. Baibuli egamba: “Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.”​—1 Yokaana 5:19, NW.

21. (a) Setaani yalaga atya nti ayagala okusinzibwa? (b) Lwaki Yesu yagaana okusinza Setaani?

21 Setaani ayagala tumusinze. Kino kyeyoleka lwatu bwe yali akema Yesu emyaka nga 2,000 egiyise. Baibuli egamba: “Setaani [n’atwala Yesu] ku lusozi oluwanvu ennyo, n’amulaga ensi za bakabaka bonna abali mu nsi, n’ekitiibwa kyazo; n’amugamba nti Ebyo byonna naabikuwa bw’onoovuunama okunsinza.” Yesu yagaana ng’agamba: “Vaawo genda, Setaani: kubanga kyawandiikibwa nti Osinzanga Mukama Katonda wo, era omuweerezanga yekka.” (Matayo 4:8-10) Yesu yali amanyi bulungi amateeka ga Yakuwa, era teyakola Setaani kye yali ayagala.

Balubaale​—Myoyo Emibi

22. Kiki balubaale kye bakoze abantu?

22 Bamalayika abalala beegatta ku Setaani mu kujeemera Katonda. Balubaale abo balabe b’abantu ku nsi. Bakambwe nnyo era batemu. Mu biseera ebyayita, baafuula abantu abamu bakasiru n’abalala bamuzibe. (Matayo 9:32, 33; 12:22) Abalala baabalwaza oba baabasuula eddalu. (Matayo 17:15, 18; Makko 5:2-5) Baabonyaabonya n’abaana abato.​—Lukka 9:42.

23. (a) Kiki emyoyo emibi kye gyagala okuva eri abantu? (b) Setaani ne balubaale be babuzaabuzizza batya abantu?

23 Okufaananako Setaani, emyoyo gino emibi gyagala okusinzibwa. Emyoyo gino mu kifo ky’okugaana abantu okugisinza, nga gikimanyi nti Yakuwa yekka y’asaanidde okusinzibwa, gyegomba okusinzibwa, era gikubiriza abalala okugisinza. Nga bakozesa okubuzaabuza, obulimba n’okutiisatiisa, Setaani ne balubaale be baleetedde abantu okubasinza. Kya lwatu, bantu batono abakimanyi nti basinza Setaani ne balubaale be. Abasinga obungi kyandibaggye enviiri ku mitwe okumanya nti eddiini yaabwe ewa Setaani ekitiibwa. Kyokka, Baibuli erabula: “Ab’amawanga bye bawaayo bawa eri balubaale, so si eri Katonda.”​—1 Abakkolinso 10:20.

24. Kintu ki ekimu Setaani ky’akozesa okubuzaabuza abantu?

24 Engeri emu Setaani ne balubaale be gye babuzaabuzaamu abantu okubasinza, kwe kubunyisa endowooza ez’obulimba ezikwata ku bafu. Ka tulabe Baibuli ky’eyigiriza ku nsonga eyo.

^ lup. 11 Kolaani eyogera ku kuzaalibwa kwa Yesu okw’eky’amagero mu Ssuula 19 (Malyamu). Egamba: “Twatumira (Malyamu) omwoyo Gwaffe mu kifaananyi ky’omuntu omukulu. Malyamu bwe yamulaba n’agamba: ‘Ow’Obusaasizi ankuume okuva gy’oli! Bw’oba ng’otya Mukama wo, ndeka weegendere amakubo go.’ N’amuddamu: ‘Nze mubaka wa Mukama wo, era nzize okukuwa omwana omutukuvu.’ Ko Malyamu nti: ‘Nnyinza ntya okuzaala omwana nga ndi muwala mbeerera atamanyi musajja?’ N’amuddamu nti: ‘Ekyo Mukama wo ky’ayagala era si kizibu n’akamu gy’ali. “Oyo aliba kabonero eri abantu bonna,” bw’agamba Mukama, “era omukisa okuva gye tuli. Ekyo kye tusazeewo.”’”