EKITUNDU 7
Baani Abali mu Ddiini ey’Amazima?
1. Kiki kye tuteekwa okukola okusobola okusanyusa Katonda?
OKUSOBOLA okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda, tuteekwa okwesambira ddala eddiini ez’obulimba. Tuteekwa okubeera mu ddiini ey’amazima. Abantu bangi okwetooloola ensi yonna bakoze bwe batyo.
2. Abajulirwa ba Yakuwa basangibwa wa, era mulimu ki gwe bakola?
2 Nga Baibuli bwe yalagula, abasinza ab’amazima bafuuse ‘ekibiina ekinene’ eky’abantu abavudde mu “buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi.” (Okubikkulirwa 7:9) Mu nsi 235, obukadde n’obukadde bw’Abajulirwa ba Yakuwa bayamba abalala okuyiga amakubo ga Yakuwa ag’okwagala era n’ebyo by’atwetaagisa.
Okwawulawo Abasinza ab’Amazima
3. Abajulirwa basinza ani, era kusinza kwa ngeri ki kwe beewala?
3 Abajulirwa bakimanyi nti Yakuwa yekka y’agwanidde okusinzibwa. Tebavuunamira bifaananyi. (1 Yokaana 5:21) Tebasinza bafu nga beenyigira mu kusula nga batunula ekiro kyonna awafudde omuntu, oba emikolo emirala egiwagira enzikiriza z’eddiini ez’obulimba ne “enjigiriza za balubaale.” (1 Timoseewo 4:1, NW) Naye, babudaabuda abo abafiiriddwa nga babannyonnyola ekisuubizo kya Katonda nti wajja kubaawo okuzuukira kw’abafu mu nsi empya.—Yokaana 5:28, 29; Ebikolwa 24:15.
4. Abantu ba Katonda bamanyi ki ekikwata ku bulogo?
4 Abajulirwa tebeenyigira mu busamize oba obulogo, kubanga bakimanyi nti ebintu bino bikubirizibwa Omulyolyomi. Tebeesiga ddogo okubakuuma, wabula beesiga Yakuwa.—Engero 18:10.
5. Mu ngeri ki Abajulirwa ba Yakuwa gye batali “ba nsi”?
5 Yesu yagamba nti abayigirizwa be tebandibadde “ba nsi.” (Yokaana 17:16) Yesu yagaana okwenyigira mu by’obufuzi mu kiseera kye. (Yokaana 6:15) Mu ngeri y’emu, Abajulirwa tebeenyigira mu bya bufuzi, mu mwoyo gwa ggwanga oba mu kulwanira ebitiibwa eby’ensi eno. Kyokka, basasula emisolo era bagondera amateeka g’ensi mwe bali.—Yokaana 15:19; Abaruumi 13:1, 7.
6. Bulagirizi ki abaweereza ba Katonda bwe bagoberera ku bikwata ku bufumbo n’okugattululwa?
6 Olw’okuba bagondera amateeka ga gavumenti, Abajulirwa bakakasa nti obufumbo bwabwe buwandiisibwa mu mateeka. (Tito 3:1) Bagondera ebiragiro bya Katonda, era n’olw’ensonga eyo tebawasa bakazi abasukka mu omu. (1 Timoseewo 3:2) Ate era, okuva bwe bakozesa emisingi gya Baibuli mu bulamu bwabwe, obufumbo bw’abaweereza ba Katonda tebutera kusasika.
7. Abajulirwa balagaŋŋana batya okwagala?
7 Abajulirwa baagalana bokka na bokka. Okwagala okwo awamu n’okwagala kwe balina eri Katonda, kubagatta wamu mu luganda olw’amazima wadde nga bava mu bika n’amawanga ag’enjawulo. Bwe wabaawo akatyabaga oba singa obwetaavu bwonna bubalukawo, Abajulirwa banguwa okuyamba bannaabwe. Abajulirwa balaga okwagala mu ngeri gye beeyisaamu.—Yokaana 13:35.
8. Bikolwa ki ebibi abantu ba Katonda bye beewala?
8 Abajulirwa ba Yakuwa bafuba nnyo okubeera abeesigwa. Beewala okubba, okulimba, obugwenyufu, obutamiivu, n’okwenyigira mu by’obusuubuzi obutaliimu bwesigwa. Abaami tebakuba bakazi baabwe. Bwe baali nga tebannafuuka Bajulirwa, abamu baali beenyigira mu bintu ebyo. Naye olw’obuyambi bwa Yakuwa, baalekera awo okubikola; ‘baanaazibwa ne batukula’ mu maaso ga Katonda.—1 Abakkolinso 6:9-11.
Bakola Katonda by’Ayagala
9. Ekitabo ekimu kyayogera ki ku makanisa ag’omwoyo ag’omu Afirika?
9 Kya lwatu, amadiini mangi gagamba nti galina amazima. Okuwa obukakafu, gayinza okusonga ku bintu eby’amaanyi bye gaba ga
koze. Ng’ekyokulabirako, ku bikwata ku makanisa agayitibwa ag’omwoyo ag’omu mu Afirika, ekitabo ekimu kigamba: “Ebyakolebwanga abaganga oba abasawo ab’ekinnansi kati bikolebwa [amadiini amappya ag’Ekikristaayo]. . . . Gagamba nti googera eby’obunnabbi era nti gakola ebyamagero. Bannabbi baago baleetera abalala okwolesebwa era bataputa ebirooto. Bakozesa amazzi amatukuvu, amafuta amatukuvu, evvu, emisubbaawa n’obubaane okuwonya n’okuziyiza endwadde.”10, 11. Lwaki ebyo ebiyitibwa eby’amagero ebikolebwa leero tebiwa bukakafu nti eddiini esiimibwa Katonda?
10 Abali mu madiini ago bagamba nti ebyamagero ebyo biwa obukakafu nti Katonda asiima eddiini yaabwe. Naye ebyo ebiyitibwa ebyamagero si bwe buba obukakafu obulaga nti Yakuwa asiima eddiini eyo. Setaani asobozesa abasinza ab’obulimba abamu okukola ‘ebyamagero.’ (2 Abasasseloniika 2:9) Ate era, Baibuli yalagula nti ebirabo eby’okukola ebyamagero ebyava eri Katonda, gamba ng’okwogera obunnabbi, okwogerera mu nnimi, n’okutegeera okw’enjawulo, byali bya ‘kuvaawo.’—1 Abakkolinso 13:8.
11 Yesu yalabula: “Buli muntu aŋŋamba nti Mukama wange, Mukama wange, si ye aliyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu, wabula akola Kitange ali mu ggulu by’ayagala. Bangi abaliŋŋamba ku lunaku luli nti Mukama waffe, Mukama waffe, tetwalagulanga mu linnya lyo, tetwagobanga dayimooni mu linnya lyo, tetwakolanga bya magero bingi mu linnya lyo? Ne ndyoka mbaatulira nti Sibamanyangako mmwe: muve we ndi mwenna [abaakolanga] eby’obujeemu.”—Matayo 7:21-23.
12. Baani abanaayingira mu Bwakabaka obw’omu ggulu?
12 Kati olwo, baani abanaayingira mu Bwakabaka obw’omu ggulu? Beebo abakola Katonda by’ayagala.
Babuulira Obwakabaka bwa Katonda
13. Mulimu ki Katonda gw’alagidde abantu be okukola leero, era baani abagukola?
13 Kiki Katonda ky’ayagala abantu be bakole leero? Yesu yagamba: “Amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa eri amawanga gonna.” (Matayo 24:14, NW) Guno gwe mulimu Abajulirwa ba Yakuwa gwe bakola n’obunyiikivu.
14. Obwakabaka bwa Katonda kye ki, era baani abanaabeera abafuzi mu Bwakabaka obwo?
14 Mu “nsi yonna etuuliddwamu,” Abajulirwa ba Yakuwa balangirira nti Obwakabaka bwa Katonda ye gavumenti ey’omu ggulu ejja okufuga ensi yonna mu butuukirivu. Bayigiriza nti Yakuwa Katonda alonze Yesu Kristo okubeera Kabaka w’Obwakabaka obwo, awamu n’abafuzi abalala 144,000 abalondeddwa okuva mu bantu.—Danyeri 7:14, 18; Okubikkulirwa 14:1, 4.
15. Kiki Obwakabaka kye bujja okuzikiriza?
15 Nga bakozesa Baibuli, Abajulirwa balaga abantu nti Obwakabaka bwa Katonda bujja kuzikiriza enteekateeka ya Setaani yonna. Waliba tewakyaliwo ddiini za bulimba awamu n’enjigiriza zaazo ezitawa Katonda kitiibwa naye nga zigulumiza Omulyolyomi! (Okubikkulirwa 18:8) Era ne gavumenti z’abantu eziziyiza Katonda ziriba tezikyaliwo!—Danyeri 2:44.
16. Baani Kristo Yesu b’anaafuga era banaabeera wa?
16 Ate era, Abajulirwa ba Yakuwa bamanyisa abantu nti Yesu Kristo, Kabaka ow’omu ggulu, ajja kutuusa ku bantu bonna abakola Katonda by’abeetaagisa emiganyulo egy’ekitalo. Bajja kufugibwa gavumenti ye ku nsi. Baibuli esuubiza: “Anaawonyanga omunafu bw’anaakaabanga: n’omwavu atalina mubeezi. Anaasaasiranga omwavu n’omunafu, n’emmeeme z’abanafu anaazirokolanga.”—Zabbuli 72:12, 13.
17. Baani bokka ababuulira Obwakabaka bwa Katonda?
17 Tewali bantu balala abakola Katonda by’ayagala nga babuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Abajulirwa ba Yakuwa be bokka ababuulira abalala Obwakabaka bwa Katonda mu nsi yonna.