Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU 4

Bajjajjaffe Abaafa Bali Ludda Wa?

Bajjajjaffe Abaafa Bali Ludda Wa?

1, 2. Abantu bangi balina nzikiriza ki ku bafu?

OBUKADDE n’obukadde bw’abantu mu Afirika bakkiriza nti okufa si ye nkomerero y’obulamu, wabula nti liba kkubo eritutuusa mu bulamu obulala. Bangi balowooza nti bajjajjaabwe abaafa, baava mu nsi eno gye tulaba n’amaaso, ne bagenda mu nsi etalabika, kwe kugamba, okuva mu nsi ey’abantu okudda mu nsi ey’emyoyo.

2 Emyoyo egyo, oba abantu abo abaafa edda balowoozebwa okuba nga bawa obukuumi n’obuyambi eri ab’eŋŋanda zaabwe abakyali ku nsi. Okusinziira ku ndowooza eno, emyoyo egyo mbu mikwano gyaffe; gisobola okuleetawo amakungula amalungi, obulamu obulungi, n’okukuuma omuntu aleme kutuukibwako kabi. Singa ginyiizibwa, kigambibwa mbu gireetawo obutyabaga, gamba ng’obulwadde n’obwavu.

3. Abantu abamu basinza batya bajjajjaabwe abaafa?

3 Abamu babaako emikolo n’obulombolombo bye bakola nga baagala okuwa ekitiibwa emyoyo gy’abantu abo abaafa era n’okukuuma enkolagana ennungi nagyo. Ebintu bino bikolebwa naddala ku mikolo egikwatagana n’okukungubaga oba okuziika, gamba ng’abantu okusula nga batunula ekiro kyonna awafudde omuntu n’okwabya olumbe. Era okusinza abantu abaafa edda kweyoleka mu ngeri endala. Ng’ekyokulabirako, abantu abamu bwe baba bagenda okunywa ku mwenge, basooka ne bayiwako ogumu wansi, mbu gwa bajjajja abaafa. Era, bwe bamala okufumba emmere, emu erekebwa mu ntamu mbu bajjajja bwe baba bazze, basangewo eky’okulya.

4. Abantu bangi balina nzikiriza ki ku mmeeme?

4 Abalala bakkiriza nti abalamu balina emmeeme etafa esigala nga nnamu oluvannyuma lw’okufa kw’omubiri. Mbu omuntu bw’aba yeeyisizza bulungi ng’akyali mulamu, emmeeme ye egenda mu ggulu, naye bw’aba nga yeeyisizza bubi, emmeeme ye egenda mu muliro ogutazikira. Emirundi mingi abantu bagattika endowooza eno n’enzikiriza z’obuwangwa. Ng’ekyokulabirako, ebirango ebikwata ku kusabira abafu ebifulumira mu mpapula z’amawulire biyinza okugamba nti, “omuntu yasomose” oba nti “yagenze ewa bajjajja.” Enzikiriza zino zonna ziba zeesigamiziddwa ku ndowooza egamba nti emmeeme oba omwoyo bisigala nga biramu oluvannyuma lw’okufa kw’omubiri. Kino Baibuli ekyogerako ki?

Emmeeme n’Omwoyo

5, 6. Okusinziira ku Baibuli, emmeeme kye ki?

5 Baibuli eraga nti emmeeme si kintu ekiri munda mu muntu; wabula emmeeme ye muntu yennyini. Ng’ekyokulabirako, Katonda bwe yatonda Adamu, “omuntu yafuuka emmeeme ennamu.” (Olubereberye 2:7, NW) Adamu teyaweebwa mmeeme; wabula ye yali emmeeme, omuntu omulamba.

6 N’olwekyo, tusoma nti emmeeme zizaalibwa. (Olubereberye 46:18, NW) Emmeeme zisobola okulya oba okusiiba. (Eby’Abaleevi 7:20, NW; Zabbuli 35:13) Emmeeme ekaaba era ezirika. (Yeremiya 13:17; Yona 2:7) Emmeeme zisobola okuwambibwa, okuyiggibwa, n’okusibibwa mu njegere. (Ekyamateeka 24:7, NW; Zabbuli 7:5; 105:18, NW) Baibuli ezimu zivvuunula ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyakozesebwa mu nnyiriri ezo nga “emmeeme” ate zo endala zikozesa ebigambo “ekitonde” oba “omuntu.” Ebigambo ebyo byonna birina amakulu ge gamu.

7. Nnyiriri ki mu Baibuli eziraga nti emmeeme esobola okufa?

7 Okuva bwe kiri nti emmeeme ye muntu, omuntu bw’afa, emmeeme efa. Ezeekyeri 18:4 wagamba: “Emmeeme ekola ekibi ye erifa.” Ate Ebikolwa 3:23 wagamba (NW): “Buli mmeeme [oba omuntu] etawulira Nnabbi oli erizikirizibwa ddala okuva mu ggwanga.” N’olwekyo, emmeeme si kintu ekiwonawo ng’omubiri gufudde.

8. Omwoyo oguli mu bantu kye ki?

8 Omwoyo n’emmeeme bya njawulo. Mu bantu, omwoyo ge maanyi g’obulamu agababeesaawo nga balamu. Omwoyo gulinga amasannyalaze. Amasannyalaze gasobozesa ekiwujjo oba firiiji okukola, naye ku bwago tegasobola kuwujja mpewo oba okunnyogoza ebintu. Mu ngeri y’emu, omwoyo gwaffe gutusobozesa okulaba, okuwulira n’okulowooza. Naye omwoyo ku bwago tegusobola kukola na kimu ku ebyo awatali maaso, matu oba obwongo. Eyo ye nsonga lwaki Baibuli egamba: “Omukka [“omwoyo,” NW] gwe gumuvaamu, n’adda mu ttaka lye; ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bibula.”​—Zabbuli 146:4.

9. Kiki omwoyo n’emmeeme kye bitakola?

9 N’olwekyo, okusinziira ku Baibuli, mu kufa emmeeme oba omwoyo tebiva mu mubiri ne byeyongera okuba ebiramu mu ttwale ery’emyoyo.

Embeera y’Abafu

10. Baibuli eyogera ki ku mbeera y’abafu?

10 Kati olwo, abafu bali mu mbeera ki? Okuva bwe kiri nti Yakuwa ye yatonda abantu, amanyi n’ekitutuukako bwe tufa. Ekigambo kye kituyigiriza nti abafu si balamu era tebasobola kuwulira, kulaba, kwogera oba okulowooza ekintu kyonna. Baibuli egamba:

  • “Abafu tebaliiko kye bamanyi.”​—Omubuulizi 9:5.

  • “Okwagala kwabwe n’obukyayi era n’obuggya bwabwe byaggwaawo dda.”​—Omubuulizi 9:6, NW.

  • “Tewali mulimu newakubadde okuteesa newakubadde okumanya newakubadde amagezi mu magombe gy’ogenda.”​—Omubuulizi 9:10.

11. Oluvannyuma lwa Adamu okwonoona, Yakuwa yamugamba ki?

11 Lowooza ku ekyo Baibuli ky’eyogera ku jjajjaffe eyasooka, Adamu. Yakuwa yabumba Adamu okuva mu ‘nfuufu y’ensi.’ (Olubereberye 2:7) Singa Adamu yagondera etteeka lya Yakuwa, yandibaddewo emirembe gyonna mu ssanyu ku nsi. Kyokka, Adamu yajeemera etteeka lya Yakuwa era ekibonerezo kwali kufa. Adamu yalaga wa ng’afudde? Katonda yamugamba nti: “Olidda mu ttaka; kubanga omwo mwe waggibwa; kubanga oli nfuufu gwe ne mu nfuufu mw’olidda.”​—Olubereberye 3:19.

12. Adamu bwe yafa, kiki ekyamutuukako?

12 Adamu yali ludda wa nga Yakuwa tannamutonda okuva mu nfuufu? Teyaliiwo. N’olwekyo, Yakuwa bwe yagamba nti Adamu ajja ‘kudda mu ttaka,’ yali ategeeza nti okufaananako enfuufu, Adamu yali tajja kuba na bulamu. Adamu teyagenda kubeera mu nsi ey’emyoyo. Teyagenda mu ggulu oba mu muliro ogutazikira. Yadda mu mbeera ey’obutabeerawo; yali takyaliwo.

13. Ku kufa, kiki ekituuka ku bantu n’ensolo?

13 Kino kye kituuka ku bantu bonna? Yee. Baibuli egamba: “[Abantu n’ensolo] bagenda mu kifo kimu; bonna baava mu nfuufu era bonna badda mu nfuufu nate.”​—Omubuulizi 3:19, 20.

14. Waliwo ssuubi ki eri abaafa?

14 Baibuli esuubiza nti Katonda ajja kuzuukiza abaafa baddemu okuba abalamu mu lusuku lwe ku nsi. (Yokaana 5:28, 29; Ebikolwa 24:15) Naye ekiseera ekyo kikyali mu maaso. Kaakati beebase emagombe. (Yokaana 11:11-14) Tetulina kubatya wadde okubasinza, kubanga tebasobola kutuyamba wadde okutulumya.

15, 16. Setaani agezaako atya okukkirizisa abantu nti abafu baba tebafiiridde ddala?

15 Endowooza egamba nti tetufiira ddala, bulimba obusaasaanyizibwa Setaani Omulyolyomi. Okusobola okukkirizisa abantu obulimba buno, Setaani ne balubaale be bagezaako okulowoozesa abantu nti obulwadde n’ebizibu ebirala bireetebwawo emyoyo gy’abafu. Kituufu nti ebizibu ebimu bireetebwawo balubaale bennyini. Era kituufu nti ebizibu ebimu tebireetebwa balubaale. Kyokka, si kituufu nti abo abeebase emagombe basobola okututuusaako akabi.

16 Waliwo ate engeri endala balubaale gye bagezaako okulowoozesa abantu nti Baibuli by’eyogera ku kufa bikyamu. Babuzaabuza abantu balowooze nti balabye abafu oba boogedde nabo. Kino balubaale bakikola nga bayitira mu kwolesebwa, ebirooto, abalaguzi, oba engeri endala. Kyokka, abantu abo baba teboogedde na baafa. Wabula baba boogera na balubaale abeefuula okuba abantu abaafa. Eno ye nsonga lwaki Yakuwa avumirira nnyo abalaguzi n’abo ababuuza abafu.​—Ekyamateeka 18:10-12; Zekkaliya 10:2.