Ennyanjula
KATONDA OMUYINZA W’EBINTU BYONNA ye Mufuzi w’obutonde bwonna. Obulamu bwe tulina kati n’obw’omu biseera eby’omu maaso, bwesigamye ku ye. Alina obuyinza okuwa empeera era n’okubonereza. Alina obuyinza okuwa obulamu era n’okubuggyawo. Bw’aba ng’atusiima, tujja kutuuka ku buwanguzi; naye bw’aba nga tatusiima, ebinaavaamu tebijja kutubeerera birungi. N’olwekyo, nga kikulu nnyo okuba nti asiima okusinza kwaffe!
Abantu basinza mu ngeri nnyingi. Eddiini bw’eba ng’eringa ekkubo, amakubo g’eddiini gonna gasiimibwa Katonda? Nedda. Yesu, nnabbi wa Katonda, yakiraga nti waliwo amakubo ga mirundi ebiri gyokka. Yagamba: “Omulyango mugazi, n’ekkubo eridda mu kuzikirira ddene, n’abo abayitamu bangi. Kubanga omulyango mufunda n’ekkubo eridda mu bulamu lya kanyigo, n’abo abaliraba batono.”—Matayo 7:13, 14.
Waliwo amadiini ga mirundi ebiri gyokka: emu etuusa mu bulamu obutaggwaawo, ate eddala mu kuzikirizibwa. Ekigendererwa kya brocuwa eno kwe kukuyamba okuzuula ekkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo.