Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU 8

Weesambe Eddiini ez’Obulimba; Beera mu Ddiini ey’Amazima

Weesambe Eddiini ez’Obulimba; Beera mu Ddiini ey’Amazima

1. Ku bikwata ku kusinza, kusalawo ki abantu kwe boolekaganye nakwo?

YESU yagamba: “Omuntu atabeera nange mulabe wange.” (Matayo 12:30) Bwe tutaba ku ludda lwa Yakuwa tuba ku ludda lwa Setaani. Abantu bangi balowooza nti baweereza Katonda nga bw’ayagala, naye Baibuli egamba nti Setaani ‘abuzaabuzizza ensi yonna.’ (Okubikkulirwa 12:9, NW) Obukadde n’obukadde bw’abantu balowooza nti basinza Katonda, naye nga mazima ddala basinza Setaani Omulyolyomi! Abantu leero boolekaganye n’eky’okusalawo: Okuweereza Yakuwa, “Katonda ow’amazima,” oba okuweereza Setaani, “Kitaawe w’obulimba.”​—Zabbuli 31:5; Yokaana 8:44.

Weekutule ku Ddiini ez’Obulimba

2. Ngeri ki emu Setaani gy’akozesa okulemesa abantu okusinza Yakuwa?

2 Okusalawo okuweereza Yakuwa, kye kintu eky’amagezi okukola, era ekireetera omuntu okusiimibwa Katonda. Naye Setaani tasanyukira muntu yenna aweereza Katonda; abaleetera ebizibu. Engeri emu gy’akikolamu, kwe kubaleetera okuvumibwa era n’okuziyizibwa ab’eŋŋanda zaabwe ne mikwano gyabwe. Yesu yalabula: “Abalabe b’omuntu banaabanga ba mu nnyumba ye.”​—Matayo 10:36.

3. Singa ab’eŋŋanda zo oba mikwano gyo bakuziyiza okusinza Katonda, kiki kye wandikoze?

3 Singa ekyo kikutuukako, kiki kye wandikoze? Abantu bangi bakimanyi nti ensinza yaabwe nkyamu, naye balonzalonza okugivaamu. Balowooza nti singa bakikola bandibadde bajeemera ab’eŋŋanda zaabwe. Naye ekyo kya magezi? Singa okimanya nti ab’eŋŋanda zo ab’oku lusegere bakozesa amalagala ag’akabi, tewandibalabudde? Ddala wandibeegasseeko mu kukozesa amalagala ago?

4. Kiki Yoswa kye yagamba Abaisiraeri ku bikwata ku kusinza mu kiseera kye?

4 Yoswa yakubiriza Abaisiraeri okulekera awo okwenyigira mu bikolwa ebikyamu eby’eddiini ebya bajjajjaabwe. Yabagamba: “Kale kaakano mutyenga Mukama, mumuweerezanga mu mazima awatali bukuusa: era muggyeewo bakatonda bajjajjammwe be baaweerezanga emitala w’Omugga, ne mu Misiri; muweerezenga Mukama.” (Yoswa 24:14) Yoswa yali mwesigwa eri Yakuwa era Yakuwa yamuwa emikisa. Bwe tubeera abeesigwa eri Yakuwa, naffe ajja kutuwa emikisa.​—2 Samwiri 22:26.

Weggyeko Ebintu Ebikozesebwa mu Kusinza okw’Obulimba

5. Lwaki twandyeggyeko ebintu byonna eby’obusamize?

5 Okwekutula ku ddiini ez’obulimba era kitegeeza nti tuteekwa okuzikiriza ebintu byonna ebikozesebwa mu busamize bye tuyinza okuba nabyo, gamba ng’ensiriba, yirizi n’ebintu ebirala ebiringa ebyo. Ekyo kikulu kubanga kiraga nti tussizza obwesige bwaffe bwonna mu Yakuwa.

6. Kiki Abakristaayo abaasooka kye baakola ebitabo byabwe eby’obufumu?

6 Lowooza ku ebyo Abakristaayo abaasooka bye baakola bwe baasalawo okubeera mu ddiini ey’amazima. Baibuli egamba: “Bangi ku bo abaakolanga eby’obufumu ne bakuŋŋaanya ebitabo byabwe, ne babyokera mu maaso gaabwe bonna.”​—Ebikolwa 19:19.

7. Kiki kye tuyinza okukola singa balubaale batutawaanya?

7 Abamu ku abo abatandika okuweereza Yakuwa ng’ate emabega baali beenyigidde mu bulogo n’ebikolwa eby’obusamize bayinza okutawaanyizibwa balubaale. Singa ekyo kikutuukako, saba Yakuwa ng’okoowoola erinnya lye mu ddoboozi ery’omwanguka. Ajja kukuyamba.​—Engero 18:10; Yakobo 4:7.

8. Abakristaayo batwala batya ebifaananyi ebikozesebwa mu kusinza okw’obulimba?

8 Abo abaagala okuweereza Yakuwa, tebateekwa kubeera na bifaananyi ebikozesebwa mu kusinza okw’obulimba. Abakristaayo ab’amazima ‘batambula lwa kukkiriza so si lwa kulaba.’ (2 Abakkolinso 5:7) Bassa ekitiibwa mu tteeka lya Katonda erigaana okukozesa ebifaananyi mu kusinza.​—Okuva 20:4, 5.

Kolagana n’Abantu ba Yakuwa

9. Baibuli eyogera ki ku bikwata ku kubeera ow’amagezi?

9 Baibuli egamba: “Otambulanga n’abantu ab’amagezi, naawe oliba n’amagezi.” (Engero 13:20) Bwe tuba nga twagala okuba ab’amagezi, tulina okutambula oba okukolagana n’Abajulirwa ba Yakuwa. Be bantu abatambulira mu kkubo erituusa mu bulamu.​—Matayo 7:14.

10. Abajulirwa ba Yakuwa bayinza batya okukuyamba okuweereza Katonda?

10 Mazima ddala, Abajulirwa bafaayo ku bantu. Omulimu gwabwe kwe kuyamba abantu ab’emitima emyesigwa okutegeera amazima g’omu Baibuli agatuusa mu bulamu obutaggwaawo. Bayinza okukuyamba nga bakuyigiriza Baibuli awatali kusasula. Bajja kuddamu ebibuuzo byo era bajja kukulaga engeri gy’oyinza okukozesamu okumanya kw’omu Baibuli mu bulamu bwo.​—Yokaana 17:3.

11. Enkuŋŋaana z’Ekikristaayo zinaakuyamba zitya?

11 Ojja kuyiga bingi ebikwata ku makubo ga Yakuwa mu nkuŋŋaana zaabwe ezitera okubeera mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Obumalirivu bw’olina okugoberera eddiini ey’amazima bujja kunywezebwa. Era ojja kutendekebwa mu ngeri naawe gy’oyinza okuyambamu abalala okuyiga amazima ag’omu Baibuli.​—Abebbulaniya 10:24, 25.

12. Okusaba kuyinza kutya okukuyamba okuweereza Katonda?

12 Bw’oneeyongera okuyiga ebisingawo ebikwata ku Yakuwa by’ayagala era n’ebigendererwa bye, ojja kweyongera okutegeera engeri ze ennungi. Era ojja kweyongera okwagala okukola by’ayagala n’okwewala ebimunyiiza. Jjukira nti osobola okutuukirira Yakuwa mu kusaba akuyambe okukola ebituufu era n’okwewala ebitali bituufu.​—1 Abakkolinso 6:9, 10; Abafiripi 4:6.

Osobola otya okubeera mu ddiini ey’amazima?

13. Oyinza otya okusanyusa omutima gwa Yakuwa?

13 Awatali kubuusabuusa, bw’onoogenda ng’okulaakulana mu by’omwoyo, ojja kulaba obwetaavu bw’okwewaayo eri Yakuwa era obeere omu ku Bajulirwa be ababatize. Bw’oneegatta ku bantu ba Yakuwa, ojja kusanyusa omutima gwe. (Engero 27:11) Ojja kubeera omu ku bantu abasanyufu Katonda b’ayogerako bw’ati: “Nnaabeeranga mu bo, ne ntambuliranga mu bo; nange nnaabeeranga Katonda waabwe; nabo banaabeeranga bantu bange.”​—2 Abakkolinso 6:16.