Abaana; Abavubuka
Endowooza Katonda gy’alina ku baana
Yakuwa akiraga atya nti abaana n’abavubuka ba muwendo nnyo gy’ali?
Ma 6:6, 7; 14:28, 29; Zb 110:3; 127:3-5; 128:3, 4; Yak 1:27
Laba ne Yob 29:12; Zb 27:10; Nge 17:6
Laba ne “Amaka”
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 1:27, 28—Yakuwa yali ayagala abantu bazaale abaana bajjuze ensi
-
Lub 9:1—Oluvannyuma lw’Amataba, Yakuwa agamba Nuuwa okuzaala abaana bajjuze ensi
-
Lub 33:5—Yakobo abaana be abatwala ng’ekirabo okuva eri Katonda
-
Mak 10:13-16—Yesu ayagala nnyo abaana nga Kitaawe
-
Yakuwa atwala atya abo ababonyaabonya abaana?
Misingi ki egiri mu Bayibuli egiraga nti abaana tebalina kuweebwa buvunaanyizibwa bwa bantu bakulu?
-
Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 33:12-14—Yakobo agamba nti abaana be balina amaanyi matono era tebasobola kutambulira ku sipiidi ya bantu bakulu
-
Tusaanidde okunenya Katonda olw’engeri abaana gye babonaabonamu mu nsi?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Luk 5:18, 20, 23-25—Yesu alaga nti ekibi kye kiviirako abantu okulwala
-
Bar 5:12—Omutume Pawulo alaga ensonga lwaki tuli boonoonyi era tufa
-
Bukakafu ki Yakuwa bw’atuwadde obulaga nti ajja kumalawo okubonaabona abaana n’abantu abakulu kwe boolekagana nakwo?
Omuntu bw’aba nga bazadde be baamuteerawo ekyokulabirako ekibi oba nga baamubonyaabonya nga muto, kiba kitegeeza nti si wa mugaso oba nti naye ajja kukola ensobi y’emu?
Laba ne Ma 30:15, 16
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
2Sk 18:1-7; 2By 28:1-4—Keezeekiya kabaka mulungi era mwesigwa eri Yakuwa, wadde nga kitaawe yali mubi nnyo era yatta n’abamu ku baganda ba Keezeekiya
-
2Sk 21:19-26; 22:1, 2—Yosiya kabaka mulungi wadde nga kitaawe Amoni yali kabaka mubi nnyo
-
1Ko 10:11, 12—Omutume Pawulo alaga nti tusobola okuyigira ku nsobi z’abalala ne tusalawo okuzeewala
-
Baf 2:12, 13—Omutume Pawulo atujjukiza nti tusaanidde okukolerera obulokozi bwaffe
-
Obuvunaanyizibwa bw’abaana n’abavubuka
Yakuwa atwala atya abaana abakyabeera ne bazadde baabwe Abakristaayo?
-
Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 19:12, 15—Emu ku nsonga lwaki bawala ba Lutti bawonyezebwawo eri nti kitaabwe mutuukirivu
-
Okuba nti abazadde balina enkolagana ennungi ne Katonda, ekyo ku bwakyo kiba kiraga nti n’abaana bateekwa okuba nga bagirina?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lev 10:1-3, 8, 9—Batabani ba Alooni Kabona Asinga Obukulu battibwa, kirabika olw’obutamiivu
-
1Sa 8:1-5—Wadde nga Samwiri nnabbi mwesigwa, batabani be si beesigwa
-
Abaana basaanidde kukola ki bwe baba nga baagala okusiimibwa mu maaso ga Katonda?
Lwaki abaana basaanidde okubangawo mu nkuŋŋaana?
-
Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Mat 15:32-38—Mu bantu Yesu b’ayigiriza mulimu n’abaana
-
Tumanyira ku ki nti Yakuwa ayagala abaana bamuweereze?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
1Sa 17:4, 8-10, 41, 42, 45-51—Yakuwa akozesa Dawudi akyali omuto okulwanirira erinnya lye ng’atta omulwanyi omuwagguufu
-
2Sk 5:1-15—Yakuwa akozesa omuwala omuto Omuyisirayiri okuyamba omukulu w’eggye atali Muyisirayiri okumanya ebikwata ku Katonda ow’amazima
-
Mat 21:15, 16—Yesu asiima abaana abamussaamu ekitiibwa nga Masiya
-
Katonda atwala atya abaana abalina abazadde abatali baweereza ba Yakuwa
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Kbl 16:25, 26, 32, 33—Yakuwa bw’aba abonereza abasajja abajeemera Musa ne Alooni, Kabona Asinga Obukulu, abonererezaamu n’ab’omu maka gaabwe
-
Kbl 26:10, 11—Koola attibwa olw’obujeemu, batabani be bo tebattibwa olw’okuba beesigwa eri Katonda
-
Lwaki abaana basaanidde okwegendereza nga balonda emikwano?
Laba ne 2Ti 3:1-5
Mikwano gya ngeri ki abavubuka Abakristaayo gye basaanidde okulonda?