Abalabirizi
Bisaanyizo ki abalabirizi Abakristaayo bye basaanidde okutuukiriza?
Mu ngeri ki endala abakadde gye basaanidde okussaawo ekyokulabirako ekirungi?
Mat 28:19, 20; Bag 5:22, 23; 6:1; Bef 5:28; 6:4; 1Ti 4:15; 2Ti 1:14; Tit 2:12, 14; Beb 10:24, 25; 1Pe 3:13
Bisaanyizo ki abaweereza mu kibiina bye basaanidde okutuukiriza?
Lwaki tugamba nti abalabirizi balondebwa omwoyo omutukuvu?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Bik 13:2-5; 14:23—Abalabirizi abakyalira ebibiina, Pawulo ne Balunabba, balonda abakadde mu bibiina ebitali bimu; ne leero, abalabirizi abakyalira ebibiina basaba Katonda okubawa omwoyo omutukuvu era beekenneenya n’obwegendereza Ebyawandiikibwa okulaba obanga ow’oluganda atuukiriza ebisaanyizo okukola ng’omulabirizi mu kibiina
-
Tit 1:1, 5—Tito aweebwa obuvunaanyizibwa okukyalira ebibiina n’okulonda abakadde
-
Ekibiina ky’ani, era kyagulibwa na muwendo ki?
Lwaki kigambibwa nti abalabirizi baweereza abalala?
Lwaki abalabirizi balina okuba abeetoowaze?
Baf 1:1; 2:5-8; 1Se 2:6-8; 1Pe 5:1-3, 5, 6
-
Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Bik 20:17, 31-38—Pawulo ajjukiza abakadde b’omu Efeso ebyo bye yabakolera era bamusiima nnyo olw’okubalaga okwagala
-
Omulabirizi mu kibiina atwala atya obulagirizi obuva eri “omuddu omwesigwa era ow’amagezi”?
Ngeri ki esingayo obulungi abakadde gye basaanidde okuyigirizaamu abalala?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Nek 5:14-16—Olw’okuba Gavana Nekkemiya atya Yakuwa era amussaamu ekitiibwa, yeewala okukozesa obubi obuyinza bw’alina ku bantu ba Katonda, era tabasaba n’ebyo bye balina okumuwa
-
Yok 13:12-15—Yesu ateerawo abagoberezi be ekyokulabirako ekirungi eky’okubeera abeetoowaze
-
Omukadde ayinza atya okukiraga nti afaayo ku buli omu mu kibiina?
Abakadde bayamba batya abo abalwadde mu by’omwoyo?
Abakadde balina buvunaanyizibwa ki bwe baba bayigiriza mu kibiina?
1Ti 1:3-7; 2Ti 2:16-18; Tit 1:9
Laba ne 2Ko 11:2-4
Lwaki abakadde balina okufuba okulaba nga bakuuma ekibiina nga kiyonjo?
Abakadde basaanidde kutendeka b’ani?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Mat 10:5-20—Yesu atendeka abatume be 12 nga tannabasindika kugenda kubuulira
-
Luk 10:1-11—Yesu awa abayigirizwa be 70 obulagirizi nga tannabasindika kugenda kubuulira
-
Kiki ekiyinza okuyamba abakadde okutuukiriza obuvunaanyizibwa obungi bwe balina?
Laba ne Nge 3:5, 6
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
1Sk 3:9-12—Kabaka Sulemaani asaba Yakuwa amuwe amagezi n’okutegeera okusobola okulamula abantu ba Yakuwa
-
2By 19:4-7—Kabaka Yekosafaati alonda abalamuzi mu bibuga bya Yuda, era abajjukiza nti Yakuwa ajja kuba nabo nga batuukiriza obuvunaanyizibwa obwo obw’amaanyi
-
Ab’oluganda mu kibiina basaanidde kutwala batya abalabirizi?
1Se 5:12, 13; 1Ti 5:17; Beb 13:7, 17
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Bik 20:37—Abakadde b’omu Efeso booleka okwagala kwe balina eri omutume Pawulo
-
Bik 28:14-16—Omutume Pawulo bw’aba agenda e Rooma, ab’oluganda okuva mu kibuga ekyo batambula mayiro nga 40 okujja okumusisinkana mu katale k’e Apiyo, era ekyo kimuzzaamu nnyo amaanyi
-