Abazadde
Ezimu ku nsonga lwaki Yakuwa yatandikawo obufumbo ze ziruwa?
Abazadde basaanidde kutwala batya abaana baabwe?
Laba ne “Abaana; Abavubuka”
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 33:4, 5—Yakobo abaana be abatwala ng’ebirabo okuva eri Yakuwa
-
Kuv 1:15, 16, 22; 2:1-4; 6:20—Amulaamu ne Yokebedi bazaala Musa, era bassa obulamu bwabwe mu kabi okumukuuma
-
Buvunaanyizibwa ki abazadde bwe balina eri abaana baabwe?
Ma 6:6, 7; 11:18, 19; Nge 22:6; 2Ko 12:14; 1Ti 5:8
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
1Sa 1:1-4—Erukaana atwala ab’omu maka ge ku mbaga e Siiro, era akakasa nti buli mwana yeenyigira mu kusinza Yakuwa
-
Luk 2:39, 41—Yusufu ne Maliyamu bulijjo bava e Nazaleesi n’abaana baabwe ne bagenda e Yerusaalemi ku mbaga ey’Okuyitako
-
Miganyulo ki egiri mu kutendeka abaana okugondera Yakuwa?
Laba ne 2Ti 3:14, 15
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
1Sa 2:18-21, 26; 3:19—Bazadde ba Samwiri bawaayo omwana waabwe okuweereza ku weema entukuvu, naye bamukyalira buli mwaka ne bakola ku byetaago bye; bw’akula afuuka omuntu ayagala ennyo Yakuwa
-
Luk 2:51, 52—Yesu yeeyongera okugondera bazadde be wadde nga tebatuukiridde
-
Abazadde bayinza kuggya wa obulagirizi obusobola okubayamba okutendeka abaana baabwe?
Ma 6:4-9; Bef 6:4; 2Ti 3:14-17
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Bal 13:2-8—Oluvannyuma lwa Manowa okutegeezebwa nti mukyala we agenda kuzaala omwana, asaba Yakuwa okwongera okumuwa obulagirizi ku ngeri y’okukuzaamu omwana oyo
-
Zb 78:3-8—Yakuwa ayagala abazadde bayigirize abaana baabwe ebyo bye bayize mu Bayibuli
-
Omwana ne bwakuzibwa abazadde abaagala Yakuwa, lwaki ayinza okusalawo obutaweereza Yakuwa?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 6:1-5; Yud 6—Wadde nga bamaze emyaka bukadde na bukadde nga babeera ne Yakuwa mu ggulu, abamu ku baana ba Yakuwa ab’omwoyo basalawo okumujeemera
-
1Sa 8:1-3—Wadde nga Nnabbi Samwiri aweereza Yakuwa n’obwesigwa, batabani be si beesigwa era balya enguzi
-
Ddi abazadde lwe basaanidde okutandika okuyigiriza abaana baabwe amakubo ga Yakuwa?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Ma 29:10-12, 29; 31:12; Ezr 10:1—Abaana bakuŋŋaana wamu n’abantu abakulu okuyiga ebikwata ku Yakuwa
-
Luk 2:41-52—Buli mwaka Yusufu ne Maliyamu batwala abaana baabwe nga mw’otwalidde ne Yesu, ku yeekalu e Yerusaalemi okukwata embaga ey’Okuyitako
-
Baani abazadde be basaanidde okukoppa bwe kituuka ku kukuuma abaana baabwe baleme okutuusibwako akabi?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Kuv 19:4; Ma 32:11, 12—Yakuwa yeegerageeranya ku mpungu esitula abaana baayo, ebakuuma, era ebalabirira
-
Is 49:15—Yakuwa asuubiza okulabirira n’okukuuma abaweereza be n’okusinga maama ayonsa bw’alabirira omwana we
-
Mat 2:1-16—Sitaani agezaako okutta Yesu akyali omuto ng’aleetera abalaguzisa emmunyeenye okugenda ewa Kabaka Kerode, naye Yakuwa akuuma Omwana we ng’agamba Yusufu ne Maliyamu okuddukira e Misiri
-
Mat 23:37—Yesu ageraageranya engeri gy’ayagala okuyambamu abantu ku ngeri enkoko gy’ekuŋŋaanyiza obwana bwayo mu biwaawaatiro
-
Lwaki abazadde basaanidde okuyigiriza abaana baabwe ebikwata ku kwegatta?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lev 15:2, 3, 16, 18, 19; Ma 31:10-13—Amateeka ga Musa googera kaati ku by’okwegatta, era Yakuwa agamba nti n’abaana balina okubaawo nga gasomebwa
-
Zb 139:13-16—Omuwandiisi wa Zabbuli Dawudi, atendereza Yakuwa olw’engeri ey’ekitalo gye yakolamu omubiri gw’omuntu, n’obusobozi bwe gulina obw’okuzaala
-
Nge 2:10-15—Okumanya n’amagezi Yakuwa by’atuwa bitukuuma ne tutatwalirizibwa bantu babi era abalimba
-
Lwaki abazadde basaanidde okukangavvula abaana baabwe mu ngeri ey’okwagala?
Nge 13:24; 29:17; Yer 30:11; Bef 6:4
Laba ne Zb 25:8; 145:9; Bak 3:21
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Zb 32:1-5—Wadde nga Yakuwa abonereza Kabaka Dawudi olw’ensobi ze, Dawudi awulira obuweerero okukimanya nti Yakuwa asonyiwa abo abeenenya mu bwesimbu
-
Yon 4:1-11—Wadde nga nnabbi Yona ayogera ne Yakuwa mu ngeri ey’obusungu era eraga nti tamussizzaamu kitiibwa, Yakuwa amugumiikiriza n’amuyigiriza ebikwata ku busaasizi
-
Lwaki okukangavvula kiraga okwagala?
Laba ne Nge 15:32; Kub 3:19