Bataata
Taata alina buvunaanyizibwa ki?
Ma 6:6, 7; Bef 6:4; 1Ti 5:8; Beb 12:9, 10
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
Lub 22:2; 24:1-4—Ibulayimu ayagala nnyo mutabani we Isaaka era afuba okulaba nti awasa omuntu asinza Yakuwa
Mat 13:55; Mak 6:3—Yesu ayitibwa ‘omwana w’omubazzi’ era ayitibwa ‘omubazzi’; ekyo kiraga nti Yusufu yamuyigiriza omulimu gw’okubajja
Lwaki bataata balina okwagalibwa n’okuweebwa ekitiibwa?
Laba ne Mat 6:9
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
Kos 11:1, 4—Yakuwa akiraga nti ayagala nnyo bataata era abassaamu ekitiibwa okuyitira mu kyokulabirako ky’assaawo. Ayigiriza abantu be era abalabirira nga taata bw’alabirira abaana be
Luk 15:11-32—Yesu akiraga nti assa ekitiibwa mu bataata ng’agera olugero olulaga nti Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu, musaasizi era mwetegefu okusonyiwa aboonoonyi abeenenya