Ebintu Obutagenda nga Bwe Twagala
Tuwulira bubi abalala bwe beeyisa mu ngeri gye tubadde tutasuubira, bwe batulumya, oba bwe batulyamu olukwe
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
1Sa 8:1-6—Nnabbi Samwiri awulira bubi Abayisirayiri bwe bakalambira nti baagala kabaka
1Sa 20:30-34—Yonasaani awulira bubi nnyo, kitaawe Kabaka Sawulo, bw’amusunguwalira
Ebyawandiikibwa ebizzaamu amaanyi:
Laba ne Nge 19:11; Baf 4:8
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli ebisobola okukuzzaamu amaanyi:
Zb 55:12-14, 16-18, 22—Kabaka Dawudi bw’aliibwamu olukwe mukwano gwe ow’oku lusegere ayitibwa Akisoferi, yeeyabiza Yakuwa era abudaabudibwa
2Ti 4:16-18—Omutume Pawulo bw’atwalibwa okuwozesebwa, banne bonna bamwabulira naye afuna amaanyi okuva eri Yakuwa n’olw’essuubi ly’amuwa
Okuwulira obubi olw’obunafu bwaffe n’olw’ebibi bye tuba tukoze
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
Zb 51:1-5—Kabaka Dawudi alumwa nnyo olw’ebibi bye yakola
Bar 7:19-24—Omutume Pawulo awulira bubi olw’okuba buli kiseera alina okulwanyisa obunafu bwe
Ebyawandiikibwa ebizzaamu amaanyi:
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli ebisobola okukuzzaamu amaanyi:
1Sk 9:2-5—Wadde nga Kabaka Dawudi alina ebibi eby’amaanyi bye yakola, Yakuwa amutwala ng’omusajja omwesigwa
1Ti 1:12-16—Wadde ng’omutume Pawulo yakola ebibi eby’amaanyi, mukakafu nti ajja kusaasirwa