Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebitiibwa

Ebitiibwa

Abakristaayo basaanidde okuyita abalala ebitiibwa by’eddiini?

Yok 5:41

  • Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Luk 18:​18, 19​—Wadde nga Yesu mulungi, agaana okumuyita “Omuyigiriza Omulungi”; agamba nti Yakuwa yekka y’agwanidde okuyitibwa omulungi

Lwaki Abakristaayo tebakozesa bitiibwa bya ddiini, gamba nga ‘Kitaffe’ oba “Omukulembeze”?

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Mat 23:​9-12​—Yesu agaana abagoberezi be okukozesa ebitiibwa, gamba nga ‘Kitaffe’ oba “Omukulembeze”

    • 1Ko 4:​14-17​—Wadde ng’omutume Pawulo yali nga taata eri Abakristaayo bangi, tewali we tusoma mu Bayibuli nga bamuyita kitaabwe

Lwaki kituukirawo Abakristaayo okuyita bakkiriza bannaabwe baganda baabwe oba bannyinaabwe?

Mat 23:8

Laba ne Bik 12:17; 18:18; Bar 16:1

  • Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Mat 12:​46-50​—Yesu agamba nti abo abaweereza Yakuwa be baganda be era bannyina

Tumanya tutya nti si kikyamu Abakristaayo okukozesa ebitiibwa by’ab’obuyinza n’abakungu ba gavumenti?

Bar 13:​1, 7; 1Pe 2:17

  • Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Bik 26:​1, 2, 25​—Omutume Pawulo bw’aba ayogera n’abafuzi, gamba nga Agulipa ne Fesuto, akozesa ebitiibwa byabwe