Eddembe
Ani yekka alina eddembe eritaliiko kkomo?
Laba ne Bar 11:33-36
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Dan 4:29-35—Kabaka Nebukadduneeza ow’amaanyi akimanya nti Yakuwa ye Mufuzi ow’oku ntikko era tewali n’omu amubuulira kya kukola
-
Is 45:6-12—Yakuwa alaga ensonga lwaki talina kwennyonnyolako eri bitonde bye
-
Wadde nga Yakuwa alina eddembe okukola kyonna ky’aba ayagadde, bintu ki ebimu by’asalawo obutakola?
Laba ne Bar 9:14
Lwaki eddembe lye tulina liriko ekkomo?
Lwaki Abakristaayo basalawo obutakola bintu ebimu wadde nga tekiba kikyamu okubikola?
Lwaki tuyinza okugamba nti abaweereza ba Yakuwa balina eddembe?
Laba ne Bag 2:4; 4:25, 26; 5:1
Lwaki abo abaweereza Yakuwa baba basanyufu?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 18:3; Beb 11:8-10—Essuubi Ibulayimu ly’alina limuyamba okweyongera okuweereza Yakuwa
-
Beb 11:24-26—Nnabbi Musa asalawo okuweereza Yakuwa, era ekyo kimusobozesa okuba n’eddembe, okuba omumativu, n’okuba n’essuubi
-
Yakuwa atusumulula mu buddu bwa ki?
Abakristaayo basaanidde kukozesa batya eddembe lye balina?
Ddi okwagala lwe kuleetera Abakristaayo obutakola bintu bimu bye balina eddembe okukola?
Obubaka bwe tubuulira buggya butya abantu mu buddu?
Bayibuli eraga nti mu biseera eby’omu maaso tujja kuba na ddembe ki?
Mu ngeri ki abo abakola buli kimu kye baagala gye bali abaddu?
Kiki ekiraga nti abantu bonna benkanankana mu maaso ga Katonda?
1Ko 7:22; Bag 3:28; Bak 3:10, 11
Laba ne 1Ko 12:13