Emikolo n’Ennaku Ezikuzibwa
Emikolo Abakristaayo gye beenyigiramu
Mukolo ki gwokka Abakristaayo gwe baalagirwa okukwata?
Abantu ba Katonda banyumirwa okukuŋŋaana awamu okusinza
-
Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
2By 30:1, 6, 13, 14, 18-27—Kabaka Keezeekiya ateekateeka Embaga ey’Okuyitako
-
Emikolo Abakristaayo gye bateenyigiramu
Lwaki kikyamu okwenyigira mu mikolo egirina akakwate n’okusinza okw’obulimba?
1Ko 10:21; 2Ko 6:14-18; Bef 5:10, 11
Laba ne “Okugattika Enzikiriza”
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Kuv 32:1-10—Abayisirayiri banyiiza nnyo Yakuwa bwe bagezaako okugattika okusinza okw’amazima n’okw’obulimba
-
Kbl 25:1-9—Yakuwa abonereza abantu be olw’okwenyigira mu mikolo egy’ekikaafiiri n’ebikolwa eby’obugwenyufu
-
Abakristaayo basaanidde okukuza Ssekukkulu?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Luk 2:1-5—Yesu azaalibwa mu kiseera eky’okubala abantu; Abaruumi bandibadde tebasobola kulagira Bayudaaya abatayagala bufuzi bwabwe okutindigga eŋŋendo okugenda okwewandiisa mu kiseera eky’obutiti
-
Luk 2:8, 12—Ekiseera Yesu w’azaalirwa abasumba baba bali ku ttale n’ebisibo byabwe, ekintu kye batasobola kukola mu kiseera ky’obutiti mu mwezi gwa Ddesemba
-
Abakristaayo bandikuzizza amazaalibwa?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 40:20-22—Falaawo omukaafiiri akuza amazaalibwa ge, era wabaawo omuntu attibwa ku mazaalibwa ago
-
Mat 14:6-11—Kabaka Kerode, ayigganya ennyo abagoberezi ba Kristo, akuza amazaalibwa ge era ku mazaalibwa ago Yokaana Omubatiza attibwa
-
Emikolo egyalagirwa mu Mateeka ga Musa
Abakristaayo bateekeddwa okukola ebintu ebyalagirwa mu Mateeka ga Musa, nga mw’otwalidde n’emikolo egitali gimu?
Abakristaayo kibeetaagisa okukwata Ssabbiiti?
Laba ne Kuv 31:16, 17
Emikolo gy’eggwanga
Abakristaayo bandyenyigidde mu mikolo gy’eggwanga?
Abakristaayo bandyenyigidde mu mikolo egy’okujjukira entalo amawanga gaabwe ze gaalwana?
Abakristaayo bandyenyigidde mu mikolo egikolebwa okugulumiza abantu abatutumufu?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Bik 12:21-23—Kabaka Kerode Agulipa I bw’akkiriza okuweebwa ekitiibwa ekirina okuweebwa Katonda, Katonda amubonereza
-
Bik 14:11-15—Abatume, Balunabba ne Pawulo, bagaana okusinzibwa
-
Kub 22:8, 9—Malayika wa Yakuwa agaana okusinzibwa
-