Endowooza Embi
Ndowooza ki embi Abakristaayo ze basaanidde okwewala?
Obusungu
Zb 37:8, 9; Nge 29:22; Bak 3:8
Laba ne Nge 14:17; 15:18
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 37:18, 19, 23, 24, 31-35—Baganda ba Yusufu bamutulugunya, bamutunda mu buddu, era balimba Yakobo nti mutabani we oyo gw’ayagala ennyo afudde
-
Lub 49:5-7—Simiyoni ne Leevi basalirwa omusango kubanga baakola ebikolwa eby’obukambwe olw’obusungu
-
1Sa 20:30-34—Olw’obusungu, Kabaka Sawulo avuma mutabani we Yonasaani era agezaako okumutta
-
1Sa 25:14-17—Nabbali avuma abasajja ba Dawudi, era katono ekyo kiviireko abasajja bonna mu nnyumba ye okuzikirizibwa
-
Obutiitiizi
Ettima
Ma 15:7, 8; Mat 19:8; 1Yo 3:17
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 42:21-24—Baganda ba Yusufu bejjusa olw’okumuyisa obubi
-
Mak 3:1-6—Yesu anakuwala olw’engeri embi Abafalisaayo gye bayisaamu abantu
-
Obutassa kitiibwa mu balala
Laba “Obutassa Kitiibwa mu Balala”
Okwetwala ng’ab’ekitalo
Laba ne Nge 3:7; 26:12; Bar 12:16
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
2Sa 15:1-6—Abusaalomu yeetwala nti wa kitalo era akola ebintu ebitali bimu okusendasenda abantu abaggye ku Kabaka Dawudi, kitaawe
-
Dan 4:29-32—Kabaka Nebukadduneeza ayoleka amalala, era ekyo kireetera Yakuwa okumubonereza
-
Obuggya; okwegomba
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 26:12-15—Yakuwa awa Isaaka omukisa olw’okuba mukozi munyiikivu, naye Abafirisuuti bamukwatirwa obuggya
-
1Sk 21:1-19—Kabaka Akabu omubi yeegomba ennimiro ya Nabbosi, bwe kityo bakolera Nabbosi olukwe ne bamutta
-
Okutya abantu
Zb 118:6; Nge 29:25; Mat 10:28
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Kbl 13:25-33—Kkumi ku bakessi Abayisirayiri batya era ebyo bye boogera bireetera n’abalala okutya
-
Mat 26:69-75—Okutya abantu kuleetera omutume Peetero okwegaana Yesu emirundi esatu
-
Omululu
Laba “Omululu”
Obukyayi
Obunnanfuusi
Laba “Obunnanfuusi”
Obuggya
Laba “Obuggya”
Obugayaavu
Nge 6:6-11; Mub 10:18; Bar 12:11
Laba ne Nge 10:26; 19:15; 26:13
Okwagala ennyo ssente, ebintu
Laba ne 1Yo 2:15, 16
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Yob 31:24-28—Wadde nga Yobu mugagga, ayagala Katonda okusinga ebintu
-
Mak 10:17-27—Omusajja omuto omugagga ayagala nnyo ebintu okusinga okufuuka omugoberezi wa Yesu
-
Okusiba ekiruyi
Laba ne Yak 3:14
-
Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Ob 10-14—Katonda abonereza Abeedomu olw’okusibira baganda baabwe Abayisirayiri ekiruyi
-
Okwetulinkiriza
Laba “Okwetulinkiriza”
Amalala
Laba “Amalala”
Okuyomba
Nge 26:20; Baf 2:3; 1Ti 3:2, 3; Tit 3:2; Yak 3:14-16
Laba ne Nge 15:18; 17:14; 27:15; Yak 3:17, 18
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 13:5-9—Wabalukawo oluyombo wakati w’abalunzi ba Ibulayimu n’aba Lutti, naye Ibulayimu aleetawo emirembe
-
Bal 8:1-3—Abasajja ba Efulayimu baagala okuyomba n’Omulamuzi Gidiyoni, naye olw’okuba mwetoowaze aleetawo emirembe
-
Obujeemu
Okwetwala okuba abatuukirivu
Mub 7:16; Mat 7:1-5; Bar 14:4, 10-13
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Mat 12:1-7—Yesu ayanika Abafalisaayo olw’okwetwala nti batuukirivu
-
Luk 18:9-14—Yesu agera olugero olulaga nti abo abeetwala okuba abatuukirivu Katonda tabasiima
-
Okuwaganyala
Laba ne Yer 7:23-27; Zek 7:11, 12
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
2By 36:11-17—Zeddeekiya kabaka mubi era mukakanyavu; ekyo kiviirako Katonda okubonereza eggwanga lya Isirayiri
-
Bik 19:8, 9—Omutume Pawulo alekera awo okubuulira abantu abagaana obubaka bw’abuulira
-
Obusirusiru
Laba ne 1Pe 2:15
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
1Sa 8:10-20—Abayisirayiri bagaana okuwuliriza nnabbi Samwiri bw’abagamba nti si kya magezi okwefunira kabaka
-
1Sa 25:2-13, 34—Nabbali bw’agaana okuyamba Dawudi ng’aliko ky’amusabye, katono kimuviireko okuttibwa awamu n’abasajja bonna ab’omu nnyumba ye
-
Okulowooleza abalala ebintu ebibi n’okuwaayiriza
-
Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
1Sa 18:6-9; 20:30-34—Kabaka Sawulo alowooza nti Dawudi si mwesigwa gy’ali era agezaako okuleetera Yonasaani okukyawa Dawudi
-