Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Engeri Omuntu gy’Atunuulirwamu

Engeri Omuntu gy’Atunuulirwamu

Katonda atwala abantu abamu okuba nti basinga abalala olwa langi yaabwe, olw’amaka mwe bava, oba olwa ssente ze balina?

Bik 17:​26, 27; Bar 3:​23-27; Bag 2:6; 3:28

  • Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Yok 8:​31-40​—Abamu ku Bayudaaya beenyumiririza mu kubeera bazzukulu ba Ibulayimu, naye Yesu abanenya kubanga tebeeyisa nga Ibulayimu

Waliwo ensonga yonna eyandituleetedde okuwulira nti tuli ba waggulu ku bantu ba langi endala oba ab’amawanga amalala?

Yok 3:16; Bar 2:11

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Yon 4:​1-11​—Yakuwa ayigiriza Yona nti kikulu okulaga abantu b’omu Nineeve obusaasizi wadde nga ba ggwanga ddala

    • Bik 10:​1-8, 24-29, 34, 35​—Omutume Peetero akitegeera nti ab’amawanga talina kubayita batali balongoofu; ayamba Koluneeriyo wamu n’ab’omu maka ge, era nga be b’amawanga abatali bakomole abasooka okufuuka Abakristaayo

Abakristaayo abagagga balina okwetwala nti ba waggulu ku balala n’okusuubira okuyisibwa mu ngeri ey’enjawulo?

Ow’oluganda bw’abeera n’ekifo eky’obuvunaanyizibwa mu kibiina ekyo kitegeeza nti wa waggulu ku balala era nti alina kubayisa nga bw’ayagala?

2Ko 1:24; 1Pe 5:​2, 3

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Ma 17:​18-20​—Yakuwa alabula bakabaka ba Isirayiri obuteetwala nti ba waggulu ku bantu be, kubanga Abayisirayiri baganda baabwe

    • Mak 10:​35-45​—Yesu awabula abatume be olw’okwagala okubeera n’obuyinza ku balala

Katonda asinziira ku ki okusiima omuntu?

Abakristaayo bandyenyigidde mu kukyusa amateeka ga gavumenti ge balowooza nti ganyigiriza abantu?

Bef 6:​5-9; 1Ti 6:​1, 2

  • Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Yok 6:​14, 15​—Wadde ng’abantu bangi baagala Yesu amalewo ebizibu by’eggwanga lyabwe, Yesu agaana okumufuula kabaka ku nsi