Enneeyisa y’Abakristaayo
Lwaki Abakristaayo balina okweyisa mu ngeri etuukagana n’ebyo bye bakkiririzaamu?
Kyakulabirako ky’ani Abakristaayo kye basaanidde okukoppa?
Biki ebivaamu Abakristaayo bwe batambulira ku mitindo gya Katonda?
Ebyawandiikibwa bino biyinza bitya okuyamba Abakristaayo okwewala okweyisa obubi?
Laba ne Mat 5:28; 15:19; Bar 1:26, 27; Bef 2:2, 3
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 3:1-6—Kaawa atwalirizibwa okwegomba okubi
-
Yos 7:1, 4, 5, 20-25—Akani ajeemera Yakuwa, era ekibi ky’akoze kikosa abantu bangi
-
Ebyawandiikibwa bino biyinza bitya okuyamba Abakristaayo okukola ekituufu?
Bar 12:2; Bef 4:22-24; Baf 4:8; Bak 3:9, 10
Laba ne Nge 1:10-19; 2:10-15; 1Pe 1:14-16
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 39:7-12—Yusufu agaana okwegatta ne muka Potifaali
-
Yob 31:1, 9-11—Yobu amalirira obuteegomba mukazi atali wuwe
-
Mat 4:1-11—Yesu takkiriza kukola ebyo Sitaani by’amugamba okukola
-
Ndowooza ki embi Abakristaayo ze basaanidde okwewala?
Laba “Endowooza Embi”
Bikolwa ki ebibi Abakristaayo bye basaanidde okwewala?
Laba “Ebikolwa Ebibi”
Ngeri ki ennungi Abakristaayo ze basaanidde okukulaakulanya?
Obulongoofu
2Ko 11:3; 1Ti 4:12; 5:1, 2, 22; 1Pe 3:1, 2
Laba ne Bef 4:8; Tit 2:3-5
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 39:4-12—Yusufu teyekkiriranya wadde nga muka Potifaali amupikiriza buli lunaku okwegatta naye
-
Luy 4:12; 8:6—Omuwala Omusulamu anywerera ku musajja gw’ayagala; alinga ennimiro eriko olukomera
-
Okwesiga Yakuwa
Laba “Okwesiga Yakuwa”
Okutwala abalala nti batusinga
Laba “Obwetoowaze”
Okuba abamativu
Laba “Okuba Abamativu”
Okukolagana obulungi n’abalala
Mub 4:9, 10; 1Ko 16:16; Bef 4:15, 16
Laba ne Zb 110:3; Baf 1:27, 28; Beb 13:17
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
1By 25:1-8—Kabaka Dawudi ateekateeka abayimbi n’abakuba ebivuga basobole okukolera awamu obulungi emirimu gyabwe egy’obuweereza obutukuvu
-
Nek 3:1, 2, 8, 9, 12; 4:6-8, 14-18, 22, 23; 5:16; 6:15—Yakuwa awa abantu be emikisa olw’okukolera awamu ne basobola okumaliriza okuzimba bbugwe wa Yerusaalemi mu nnaku 52 zokka
-
Obuvumu
Laba “Obuvumu”
Okuzzaamu abalala amaanyi; okuzimba abalala
Is 35:3, 4; Bar 1:11, 12; Beb 10:24, 25
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
1Sa 23:15-18—Dawudi ayigganyizibwa Kabaka Sawulo, naye Yonasaani amuzzaamu amaanyi
-
Bik 15:22-31—Akakiiko akafuzi ak’omu kyasa ekyasooka kasindikira ebibiina ebbaluwa okuyitira mu balabirizi abakyalira ebibiina, era ebibiina bizzibwamu amaanyi
-
Okugumiikiriza; okuba omunywevu
Mat 24:13; Luk 21:19; 1Ko 15:58; Bag 6:9; Beb 10:36
Laba ne Bar 12:12; 1Ti 4:16; Kub 2:2, 3
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Beb 12:1-3—Omutume Pawulo akubiriza Abakristaayo okugumiikiriza ng’akozesa ekyokulabirako kya Yesu
-
Yak 5:10, 11—Yakobo ayogera ku bugumiikiriza bwa Yobu era alaga nti Yakuwa yamuwa emikisa mingi
-
Okuba abeesigwa mu bintu byonna
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Dan 1:3-5, 8-20—Nnabbi Danyeri ne banne abasatu banywerera ku biragiro ebiri mu Mateeka ga Musa ebikwata ku bintu ebirina okuliibwa n’ebitalina kuliibwa
-
Luk 21:1-4—Yesu alaga nti ekyo ekitono nnamwandu ky’awaddeyo kiraga nti alina okukkiriza okw’amaanyi
-
Okutya Yakuwa
Laba ne Zb 111:10
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Nek 5:14-19—Okutya Yakuwa kiyamba Gavana Nekkemiya obutattika bantu mugugu bagavana abalala gwe baabattikanga
-
Beb 5:7, 8—Yesu assaawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kutya Katonda
-
Ekibala ky’omwoyo
Okugaba
Laba “Okugaba”
Okwemalira ku Katonda
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Bik 10:1-7—Wadde nga Koluneeriyo munnaggwanga, Yakuwa akiraba nti amwemaliddeko, anyiikirira okusaba, atya Katonda, era mugabi
-
1Ti 3:16—Yesu yassaawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kwemalira ku Katonda
-
Ebigambo eby’ekisa era ebirungi
Okuba ow’Amazima
Laba “Okuba ow’Amazima”
Okusembeza abagenyi
Laba “Okusembeza Abagenyi”
Obwetoowaze
Laba “Obwetoowaze”
Obutasosola
Laba “Obutasosola”
Okukola n’obunyiikivu; okukola n’omutima gwonna
Laba “Okukola Emirimu”
Obugolokofu
Laba “Obugolokofu”
Okufaayo ku balala
Obwesigwa
Laba “Obwesigwa”
Obusaasizi
Laba “Obusaasizi”
Okuba abeegendereza
Laba ne Nge 23:1-3; 25:16
Obuwulize
Laba “Obuwulize”
Okuba n’enteekateeka ennungi
Okunyiikirira okusaba
Zb 141:1, 2; Bar 12:12; Bak 4:2; 1Se 5:17; 1Pe 4:7
Laba ne “Okusaba”
Okuba abeetegefu okusonyiwa
Laba “Okusonyiwa”
Okuwa abalala ekitiibwa
Laba ne Bef 5:33; 1Pe 3:1, 2, 7
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Kbl 14:1-4, 11—Abayisirayiri tebassa kitiibwa mu nnabbi Musa ne Alooni Kabona Asinga Obukulu, era Yakuwa akitwala nti ye gwe batassizzaamu kitiibwa
-
Mat 21:33-41—Yesu akozesa olugero okulaga ekijja okutuuka ku abo abatassa kitiibwa mu bannabbi be ne mu Mwana we
-
Okubeera omuntu ow’eby’omwoyo; okukulembeza Yakuwa by’ayagala
Mat 6:33; Bar 8:5; 1Ko 2:14-16
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Beb 11:8-10—Olw’okuba Obwakabaka bwa Katonda bwa ddala eri Ibulayimu, mwetegefu okubeera mu weema ng’omugwira
-
Beb 11:24-27—Ebyo Musa by’asalawo mu bulamu bwe biraga nti Yakuwa wa ddala gy’ali
-
Okugondera abatusingako
Laba ne Yok 6:38; Bef 5:22-24; Bak 3:18
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Luk 22:40-43—Yesu assaawo ekyokulabirako ekirungi mu kukola Kitaawe by’ayagala ne mu mbeera enzibu ennyo
-
1Pe 3:1-6—Omutume Peetero alaga nti Saala yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kugondera omwami we, abakazi Abakristaayo kye basaanidde okukoppa
-
Okulumirirwa
Laba “Obusaasizi”
Okwogera amazima
Laba “Obwesimbu”