Ennyanjula
Ekitabo Emisingi gya Bayibuli Egisobola Okutuyamba mu Bulamu kijja kukusobozesa okuzuula amangu ebyawandiikibwa mu Bayibuli ebisobola okukuyamba mu mbeera ezitali zimu mu bulamu. Ate era kijja kukuyamba okuzuula ebyawandiikibwa by’osobola okukozesa okuzzaamu abalala amaanyi n’okubayamba okusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa. Ogenda ku mutwe awali ensonga gy’oyagala era nga buli nsonga eriko ebyawandiikibwa n’ebibuuzo ebisobola okukuyamba okuzuula ky’oyagala. (Laba akasanduuko “ Engeri y’Okukozesaamu Ekitabo Kino.”) Ojja kuzuula ebyawandiikibwa ebijja okukuyamba okufuna obulagirizi era ebijja okukubudaabuda. Ate era ojja kuzuula emisingi gya Bayibuli gy’osobola okukozesa okuyamba abalala n’okubazzaamu amaanyi.
Tekiri nti ebyawandiikibwa ebiragibwa ku buli nsonga eri mu kitabo kino bye byokka ebyogera ku nsonga eyo. Naye ekitabo kino kikuyamba okufuna w’otandikira okunoonyereza. (Nge 2:1-6) Okusobola okunoonyereza ebisingawo, kebera ebyawandiikibwa ebiri mu miwaatwa mu Enkyusa ey’Ensi Empya. Kozesa ne Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza oba Watch Tower Publications Index okusobola okumanya mu bujjuvu amakulu g’ekyawandiikibwa oba engeri gy’oyinza okukikolerako. Kozesa ebitabo byaffe ebyakasembayo okwogera ku nsonga gy’onoonyerezaako okakase nti otegeera Ebyawandiikibwa mu ngeri entuufu.
Ekitabo Emisingi gya Bayibuli Egisobola Okutuyamba mu Bulamu ka kikuyambe okuzuula amagezi, okumanya, n’okutegeera ebiri mu Byawandiikibwa Ebitukuvu. Ng’okozesa ekitabo kino, ojja kweyongera okuba omukakafu nti “ekigambo kya Katonda kiramu, [era] kya maanyi.”—Beb 4:12.