Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obufumbo

Obufumbo

Ani Yatandikawo Obufumbo?

Muntu wa ngeri ki Omukristaayo gwe yandisazeewo okuwasa oba okufumbirwa?

Lwaki Omukristaayo ow’amazima teyandiwagidde mutabani we oba muwala we omubatize okuwasa oba okufumbirwa omuntu ateewangayo eri Yakuwa era n’abatizibwa?

1Ko 7:39; 2Ko 6:​14, 15

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Lub 24:​1-4, 7​—Ibulayimu akaddiye mumalirivu okufunira mutabani we Isaaka omukazi mu baweereza ba Yakuwa, so si mu Bakanani abaweereza bakatonda abalala

    • Lub 28:​1-4​—Isaaka agamba mutabani we Yakobo okufuna omukazi mu baweereza ba Yakuwa, so si mu Bakanani

Yakuwa atwala atya abaweereza be abawasa oba abafumbirwa abantu abatamuweereza?

Ma 7:​3, 4

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 1Sk 11:​1-6, 9-11​—Yakuwa asunguwalira Kabaka Sulemaani olw’okujeemera ekiragiro kye yawa ekikwata ku butawasa abakazi abagwira, n’olw’okukkiriza abakazi abo okumusendasenda okusinza bakatonda ab’obulimba

    • Nek 13:​23-27​—Okufaananako Yakuwa, Nekkemiya musunguwavu olw’okuba abasajja Abayisirayiri baawasa abakazi abagwira abataweereza Yakuwa, era akangavvula abasajja abo

Lwaki kya magezi okuwasa oba okufumbirwa omuntu aweereza Yakuwa n’obwesigwa era amanyiddwa nti muntu mulungi?

Nge 18:22; 31:​10, 28

Laba ne Bef 5:​28-31, 33

  • Ebyokulabirako okuva Bayibuli:

    • 1Sa 25:​2, 3, 14-17​—Nabbali musajja mugagga nnyo, naye mukambwe era ayisa bubi abalala; si mwami mulungi

    • Nge 21:9​—Bwe tuteegendereza nga tulonda ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa, kisobola okutuviirako okubulwa emirembe n’essanyu mu bufumbo

    • Bar 7:2​—Omutume Pawulo agamba nti omukazi bw’afumbirwa, aba wansi w’obuyinza bw’omwami we atatuukiridde; n’olwekyo omukazi asaanidde okwegendereza ennyo ng’asalawo oyo gw’anaafumbirwa

Okweteekerateekera obufumbo

Lwaki omusajja alina okukakasa nti asobola okulabirira omukazi n’abaana nga tannalowooza ku kya kuwasa?

1Ti 5:8

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Nge 24:27​—Omusajja nga tannawasa era oboolyawo nga tannafuna baana, alina okuba omukozi omunyiikivu abe ng’asobola okulabirira ab’omu maka ge

Lwaki abo ababa boogerezeganya basaanidde okwebuuza ku balala okubawa amagezi n’okufuba buli omu okumanya munne obulungi, mu kifo ky’okumalira ebirowoozo ku ndabika ey’oku ngulu?

Nge 13:10; 1Pe 3:​3-6

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Lus 2:​4-7, 10-12​—Bowaazi amanya ebikwata ku Luusi ng’alaba engeri gy’akolamu emirimu, ng’alowooza ku bintu ebirungi ebimwogerwako, ng’alaba engeri gy’ayisaamu Nawomi, era ng’akiraba nti ayagala nnyo Yakuwa

    • Lus 2:​8, 9, 20​—Luusi akiraba nti Bowaazi wa kisa, mugabi, era nti ayagala nnyo Yakuwa

Lwaki Yakuwa yeetaagisa abo aboogerezeganya okusigala nga balongoofu?

Bag 5:19; Bak 3:5; 1Se 4:4

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Nge 5:​18, 19​—Ebikolwa ebimu eby’okulagaŋŋana omukwano biba bya bafumbo bokka

    • Luy 1:2; 2:6​—Omulenzi omusumba n’omuwala Omusulamu balagaŋŋana omukwano mu ngeri esaanira

    • Luy 4:12; 8:​8-10​—Omuwala Omusulamu asigala mulongoofu era yeefuga; alinga ennimiro eriko olukomera

Lwaki omwami n’omukyala basaanidde okufumbiriganwa nga bagoberera amateeka g’ensi mwe bali?

Obuvunaanyizibwa bw’omwami

Buvunaanyizibwa ki obukulu omwami bw’alina?

Abaami balina kukoppa ani nga batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu maka?

Lwaki omwami alina okwagala mukyala we era n’okumanya bye yeetaaga n’enneewulira ye?

Bak 3:19; 1Pe 3:7

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Lub 21:​8-12​—Yakuwa agamba Ibulayimu okuwuliriza mukyala we Saala, wadde ng’ekyo Saala ky’ayogedde tekisanyusizza Ibulayimu

    • Nge 31:​10, 11, 16, 28​—Omwami alina omukyala omulungi, nga bwe kyogerwako mu nnyiriri zino, awa mukyala we eddembe okukola ebintu ebitali bimu era tamunoonyaamu nsobi; mu kifo ky’ekyo, amwesiga era amusiima

    • Bef 5:33​—Omutume Pawulo akiraga nti omukyala yeetaaga okukimanya nti omwami we amwagala

Obuvunaanyizibwa bw’omukyala

Buvunaanyizibwa ki obukulu Yakuwa bwe yawa omukyala Omukristaayo?

Obuvunaanyizibwa bw’omukyala bumufeebya?

Lub 1:​26-28, 31; 2:18

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Nge 1:8; 1Ko 7:4​—Katonda yawa abakyala ne bamaama obuyinza obw’ekigero mu maka

    • 1Ko 11:3​—Omutume Pawulo akiraga nti mu nteekateeka ya Yakuwa, ffenna tulina abatukulembera okuggyako Katonda Omuyinza w’Ebintu byonna

    • Beb 13:​7, 17​—Mu kibiina, abasajja n’abakazi basaanidde okukolagana obulungi n’abo abatwala obukulembeze n’okubagondera

Omukyala Omukristaayo alina omwami atali muweereza wa Yakuwa, ayinza atya okusanyusa Yakuwa?

Lwaki omukyala Omukristaayo asaanidde okussaamu omwami we ekitiibwa?

Bef 5:33

  • Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Lub 18:12; 1Pe 3:​5, 6​—Saala assaamu nnyo omwami we ekitiibwa nga ne mu mutima gwe amuyita “mukama we,” oba oyo amukulembera mu by’omwoyo

Okusinziira ku Bayibuli, mukazi wa ngeri ki atenderezebwa?

Nge 19:14; 31:​10, 13-31

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Lub 24:​62-67​—Lebbeeka abudaabuda omwami we Isaaka oluvannyuma lw’okufiirwa maama we

    • 1Sa 25:​14-24, 32-38​—Abbigayiri ataasa omwami we omusirusiru awamu n’ab’omu maka ge nga yeegayirira Dawudi okubasaasira

    • Es 4:​6-17; 5:​1-8; 7:​1-6; 8:​3-6 ​—Nnaabakyala Eseza emirundi ebiri assa obulamu bwe mu kabi ng’agenda ew’omwami we, kabaka, nga tamuyise, okumwegayirira abeeko ky’akolawo abantu ba Katonda baleme okuttibwa

Okugonjoola obutakkaanya

Misingi ki egiyinza okuyamba abafumbo okugonjoola obutakkaanya mu bufumbo?

Misingi ki egiyinza okuyamba abafumbo okusalawo obulungi ku nkozesa ya ssente?

Misingi ki egiyinza okuyamba abafumbo ku ngeri gye basaanidde okukolaganamu n’ab’eŋŋanda zaabwe?

Misingi ki egisobola okuyamba abafumbo bwe kituuka ku by’okwegatta?

Lwaki buli mufumbo asaanidde okussa ebirowoozo ku ngeri za munne ennungi mu kifo ky’okutunuulira ensobi ze?

Lwaki kirungi abafumbo okugonjoola ebizibu mu bwangu era mu ngeri ey’okwagala mu kifo ky’okusiba ekiruyi?

Lwaki obusungu, okuyomba, okuvuma, n’okukuba, tebirina kuba mu bufumbo bw’Abakristaayo?

Omwami n’omukyala bwe bafuna obutakkaanya basaanidde kuba bamalirivu kukola ki?

Abafumbo bwe bakolera ku misingi gya Bayibuli bafuna mikisa ki?

Emitindo egikwata ku bufumbo

Emitindo gya Yakuwa egikwata ku kwegatta ne ku bufumbo gye giruwa?

Abakristaayo bakkirizibwa okuwasa oba okufumbirwa omuntu asukka mu omu mu kiseera kye kimu?

Tukimanya tutya nti obufumbo bulina kuba wakati wa musajja na mukazi?

Lwaki abafumbo buli omu asaanidde okunywerera ku munne?

Nsonga ki yokka mu Byawandiikibwa esinziirwako okugattululwa?

Yakuwa atwala atya abo abagattululwa nga basinziira ku nsonga ezitali za mu Byawandiikibwa?

Omu ku bafumbo bw’afa, oyo aba asigaddewo akkirizibwa okuddamu okuwasa oba okufumbirwa?